LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • wp23 Na. 1 lup. 12-13
  • 4 | Bayibuli Erimu Amagezi Agatuyamba

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • 4 | Bayibuli Erimu Amagezi Agatuyamba
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2023
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Kye Kitegeeza
  • Engeri Bayibuli gy’Eyinza Okukuyamba
  • “Abeetoowaze baba ba magezi.” —ENGERO 11:2.
  • Engeri Amagezi Agali mu Bayibuli Gye Gayamba Abo Abalina Obulwadde Obukosa Ebirowoozo
  • Obulwadde Obukosa Ebirowoozo Buli mu Nsi Yonna
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2023
  • 3 | Ebyokulabirako by’Abantu Aboogerwako mu Bayibuli
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2023
  • Okuyamba Abalina Obulwadde Obukosa Ebirowoozo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2023
  • Onooganyulwa Otya mu Kusoma Bayibuli?
    munaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2017
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2023
wp23 Na. 1 lup. 12-13
Omukazi omusanyufu ng’avuga eggaali.

4 | Bayibuli Erimu Amagezi Agatuyamba

BAYIBULI EGAMBA NTI: “Buli Kyawandiikibwa . . . kigasa.”—2 TIMOSEEWO 3:16.

Kye Kitegeeza

Wadde nga Bayibuli si kitabo ekikwata ku by’obujjanjabi, erimu amagezi agasobola okutuyamba. Amagezi ago gasobola okuyamba omuntu ng’alina obulwadde obumuviirako okukosebwa mu birowoozo. Ka tulabeyo ebyokulabirako.

Engeri Bayibuli gy’Eyinza Okukuyamba

“Abalamu tebeetaaga musawo; abalwadde be bamwetaaga.” —MATAYO 9:12.

Bayibuli eraga nti oluusi kiyinza okutwetaagisa okufuna obujjanjabi. Bangi basobodde okufuna obuweerero bwe basomye ebikwata ku bulwadde bwabwe okuva mu nsonda ezeesigika, oba bwe balabye omusawo omukugu asobola okubayamba.

“Olubatu lumu olw’okuwummula lusinga embatu bbiri ez’okukola ennyo.”—OMUBUULIZI 4:6.

Okukola ebintu ebiyamba omubiri gwo kiyinza n’okukuyamba mu birowoozo. Ebintu ng’okukola dduyiro obutayosa, okulya emmere erimu ekiriisa, n’okwebaka ekimala, bisobola okukuyamba.

“Omutima omusanyufu ddagala ddungi, naye omwoyo omwennyamivu gunafuya omubiri.”—ENGERO 17:22.

Okusoma ebyawandiikibwa ebizzaamu amaanyi n’okweteerawo ebiruubirirwa by’osobola okutuukako, kisobola okukuyamba okuba omusanyufu. Bw’ossa ebirowoozo byo ku bintu ebirungi, era n’oba ng’okikkiriza nti embeera ejja kutereera mu biseera eby’omu maaso, kisobola okukuyamba ng’otawaanyizibwa obulwadde obukuviirako okukosebwa mu birowoozo.

“Abeetoowaze baba ba magezi.” —ENGERO 11:2.

Oluusi oyinza obutasobola kukola buli kintu kyonna kye wandyagadde okukola. N’olwekyo kiba kya magezi okukkiriza abalala okukuyamba. Mikwano gyo n’ab’eŋŋanda zo bayinza okwagala okukuyamba, naye bayinza okuba nga tebamanyi ngeri ya kukuyambamu. Bategeeze engeri gye basobola okukuyambamu. Tobasuubiramu kisukkiridde, era bulijjo siima obuyambi bwe bakuwa.

Engeri Amagezi Agali mu Bayibuli Gye Gayamba Abo Abalina Obulwadde Obukosa Ebirowoozo

“Nnakiraba nti nnalina ekizibu, era bwe kityo nnagenda okulaba omusawo. Omusawo yankebera era n’annyamba okutegeera ekizibu kyange n’okumanya obujjanjabi bwe nnali nneetaaga okufuna.”—Nicole,a atawaanyizibwa ekizibu eky’okukyukakyuka mu mbeera ne mu birowoozo.

Omukazi ng’ayogera n’omusawo.

“Nkirabye nti okusoma Bayibuli ne mukyala wange buli lunaku kinnyamba okwewala ebirowoozo ebimalamu amaanyi. Emirundi mingi ekizibu kyange we kibeerera eky’amaanyi ennyo, wabaawo olunyiriri mu Bayibuli olunzizaamu amaanyi.”—Peter, alina ekizibu ky’okwekyawa.

“Tekyannyanguyira kubuulira balala kizibu kyange, kubanga nnali mpulira nti kinswaza. Naye mukwano gwange ow’oku lusegere yampuliriza bulungi era yagezaako okutegeera engeri gye nnali nneewuliramu. Ekyo kyannyamba okuwulira obulungi era kyandeetera okuwulira nti ssiri nzekka.”—Ji-yoo, alina obulwadde obumuleetera okulya ekisukkiridde.

“Bayibuli ennyambye okumanya obukulu bw’okuwummula ekimala, n’obutakola kisukkiridde. Amagezi agagirimu gannyambye nnyo okwaŋŋanga ekizibu kyange.”—Timothy, alina ekizibu ky’okweraliikirira ekisukkiridde n’okuba nga buli kiseera alowooza ku bintu ebimalamu amaanyi.

a Amannya agamu gakyusiddwa.

Vidiyo ey’okukuba bukatuuni erina omutwe “From Sad to Glad.”
Ebirala Ebisobola Okukuyamba:

Laba vidiyo ku jw.org vidiyo ey’okukuba bukatuuni erina omutwe, From Sad to Glad.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share