3 | Ebyokulabirako by’Abantu Aboogerwako mu Bayibuli
BAYIBULI EYOGERA KU . . . Basajja n’abakazi abeesigwa abaayita mu mbeera ng’ezaffe.—YAKOBO 5:17.
Kye Kitegeeza
Bayibuli eyogera ku basajja n’abakazi bangi abaafuna obulumi mu birowoozo, olw’ebizibu bye baali boolekagana nabyo. Bwe tusoma ku bantu abo, tukiraba nti abamu ku bo baayita mu mbeera ng’eyaffe.
Engeri Ekyo Gye Kiyinza Okutuyamba
Ffenna twagala abalala babe nga bategeera engeri gye twewuliramu. Ekyo tukyetaaga nnyo naddala nga tulina obulwadde obukosa ebirowoozo. Bwe tusoma Bayibuli tukiraba nti abamu ku bantu b’eyogerako baayolekaganako n’embeera gye twolekagana nayo. Ekyo kituyamba okukiraba nti waliwo n’abalala abaayitako mu bulumi bwe tuyitamu olw’okweraliikirira ennyo, oba olw’okutawaanyizibwa mu birowoozo.
Mu Bayibuli mulimu ebigambo ebyayogerwa abantu abaawulira ng’embeera ebasukkiriddeko era nga basobeddwa. Wali owuliddeko nga tokyasobola kugumira mbeera gy’oyitamu? Musa, Eriya, ne Dawudi, baawulirako bwe batyo.—Okubala 11:14; 1 Bassekabaka 19:4; Zabbuli 55:4.
Bayibuli eyogera ku mukazi ayitibwa Kaana ‘eyafuna ennaku ey’amaanyi’ olw’obutazaala, n’olw’okuba nti muggya we yamuyeeyanga.—1 Samwiri 1:6, 10.
Bayibuli eyogera ne ku musajja ayitibwa Yobu eyayolekagana n’ebizibu bingi naffe bye twolekagana nabyo. Wadde nga Yobu yalina okukkiriza okw’amaanyi, yafuna obulumi bungi ku mutima n’atuuka n’okugamba nti: “Nneetamiddwa obulamu; sikyayagala kweyongera kuba mulamu.”—Yobu 7:16.
Bwe tumanya ekyo abantu aboogerwako mu Bayibuli kye baakolawo nga balina endowooza emalamu amaanyi, kituyamba okuguma ne tusobola okwaŋŋanga embeera enzibu gye tubaamu.