LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w25 Jjulaayi lup. 14-19
  • Weeyongere Okubaako by’Oyigira ku Njigiriza za Bayibuli Ezisookerwako

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Weeyongere Okubaako by’Oyigira ku Njigiriza za Bayibuli Ezisookerwako
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
  • Subheadings
  • Similar Material
  • YAKUWA YE MUTONZI
  • ENSONGA LWAKI KATONDA AKYALESEEWO OKUBONAABONA
  • TULI MU “NNAKU EZ’ENKOMERERO”
  • WEEYONGERE OKUSIIMA EBYO YAKUWA BY’ATUJJUKIZA
  • Beera Mwetoowaze Bwe Wabaawo Ebintu by’Otategeera
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
  • Ssaayo Omwoyo ng’Ebibuuzo Bino Biddibwamu
    Programu y’Olukuŋŋaana Olunene olw’Olunaku Olumu Olubaako Omulabirizi Akyalira Ebibiina Olwa 2025-2026
  • Okusalawo mu Ngeri Eraga nti Twesiga Yakuwa
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2023
  • Osobola Okwawulawo Amazima ku Bulimba?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2024
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
w25 Jjulaayi lup. 14-19

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 30

OLUYIMBA 97 Obulamu Bwaffe Bwesigamye ku Kigambo kya Katonda

Weeyongere Okubaako by’Oyigira ku Njigiriza za Bayibuli Ezisookerwako

“Nja kubajjukizanga ebintu bino wadde nga mubimanyi era nga munyweredde mu mazima.”—2 PEET. 1:12.

EKIGENDERERWA

Tugenda kulaba engeri gy’oyinza okweyongera okuganyulwa mu njigiriza za Bayibuli ezisookerwako.

1. Ebintu bye wasooka okuyiga mu Bayibuli byakukwatako bitya?

ENJIGIRIZA za Bayibuli ezisookerwako zaakyusa obulamu bwaffe. Ng’ekyokulabirako, bwe twayiga nti erinnya lya Katonda ye Yakuwa, twawulira nga twagala okufuuka mikwano gye. (Is. 42:8) Bwe twayiga ekyo ekituuka ku muntu ng’afudde, twalekera awo okwebuuza obanga abantu baffe abaafa babonaabona. (Mub. 9:10) Ate era bwe twayiga ku kisuubizo kya Katonda eky’Ensi Empya, twalekera awo okweraliikirira ebikwata ku biseera eby’omu maaso. Twakitegeera nti tusobola okubeerawo emirembe gyonna, so si myaka 70 oba 80 gyokka.—Zab. 37:29; 90:10.

2. Okusinziira ku 2 Peetero 1:​12, 13, lwaki Abakristaayo abakulu mu by’omwoyo nabo baganyulwa bwe beekenneenya enjigiriza za Bayibuli ezisookerwako?

2 Enjigiriza za Bayibuli ze twasooka okuyiga mu Bayibuli nkulu nnyo era tetusaanidde kuzeerabira. Ebbaluwa ye ey’okubiri, omutume Peetero yagiwandiikira Abakristaayo abaali ‘banyweredde mu mazima.’ (Soma 2 Peetero 1:​12, 13.) Naye mu kiseera ekyo, waaliwo abantu ababi abaali mu kibiina abaali baagala okuwabya ab’oluganda okubaggya mu mazima. (2 Peet. 2:​1-3) Peetero yali ayagala kunyweza bakkiriza banne baleme okulimbibwalimbibwa abo abaali bayigiriza eby’obulimba. N’olwekyo, yabajjukiza ebimu ku bintu bye baali bayize mu Kigambo kya Katonda. Ebintu ebyo byandibayambye okusigala nga beesigwa eri Yakuwa okutuukira ddala ku nkomerero.

3. Lwaki Abakristaayo bonna basaanidde okufumiitiriza ku njigiriza za Bayibuli ezisookerwako? Waayo ekyokulabirako.

3 Ne bwe tuba nga tugenda tweyongera okukula mu by’omwoyo, waliwo ebintu ebipya bye tusobola okuyiga bwe twekenneenya enjigiriza za Bayibuli ezisookerwako. Ng’ekyokulabirako, omufumbi alina obumanyirivu n’oyo ayiga obuyizi okufumba bombi basobola okukozesa ebirungo bye bimu okufumba ekijjulo. Naye omufumbi alina obumanyirivu, asobola okukozesa ebirungo ebyo bye bimu okufumba ebijjulo eby’enjawulo era ebiwooma mu ngeri ez’enjawulo. Mu ngeri y’emu, abayizi ba Bayibuli abapya n’abo abamaze ekiseera ekiwanvu nga baweereza Yakuwa, bonna basobola okubaako ebintu eby’enjawulo bye bayiga bwe beekenneenya enjigiriza za Bayibuli ezisookerwako. Enkizo ze tulina mu kibiina n’ebintu bye tuyitamu mu bulamu biyinza okuba nga bikyuse nnyo okuva lwe twabatizibwa. Naye bwe twekenneenya enjigiriza za Bayibuli ze twayiga tusobola okuzuula ebintu ebipya ebisobola okutuyamba mu mbeera gye tuba tulimu. Ka tulabeyo enjigiriza za Bayibuli ssatu n’ebyo Abakristaayo abakuze mu by’omwoyo bye basobola okuziyigirako.

YAKUWA YE MUTONZI

4. Twakwatibwako tutya bwe twakitegeera nti Yakuwa ye Mutonzi?

4 Tukimanyi nti waliwo Omutonzi ow’amagezi era ow’amaanyi eyatonda ensi ne byonna ebigirimu. Bayibuli egamba nti: “Eyakola ebintu byonna ye Katonda.” (Beb. 3:4) Olw’okuba Yakuwa ye Mutonzi, amanyi buli kimu ekitukwatako, atufaako, era atwagaliza birungi. Okukimanya nti Yakuwa ye Mutonzi kikyusizza obulamu bwaffe, era kati bulina ekigendererwa.

5. Kiki ekisobola okutuyamba okuba abeetoowaze? (Isaaya 45:​9-12)

5 Ate era okukimanya nti Yakuwa ye Mutonzi, kisobola okutuyamba okuba abeetoowaze. Ng’ekyokulabirako, Yobu bwe yeerowoozaako ennyo era n’agezaako okulaga abalala nti ye mutuufu, Yakuwa yamujjukiza nti ye Mutonzi w’ebintu byonna. (Yob. 38:​1-4) Ekyo kyayamba Yobu okukitegeera nti bulijjo ebyo Yakuwa by’akola biba bituufu. Ng’ayogera ku nsonga y’emu, nnabbi Isaaya yagamba nti: “Ebbumba liyinza okubuuza Omubumbi nti: ‘Kiki ekyo ky’okola?’”—Soma Isaaya 45:​9-12.

6. Ddi lwe kiyinza okutwetaagisa okufumiitiriza ku magezi n’amaanyi Omutonzi waffe by’alina? (Laba n’ebifaananyi.)

6 Omukristaayo bw’afuna obumanyirivu ayinza okutandika okwesiga endowooza ye, mu kifo ky’okunoonya obulagirizi obuva eri Yakuwa ne mu Kigambo kye. (Yob. 37:​23, 24) Naye watya singa afumiitiriza ku magezi agatenkanika n’amaanyi Omutonzi we by’alina? (Is. 40:22; 55:​8, 9) Okufumiitiriza ku bintu ebyo kijja kumuyamba okukitegeera nti ebirowoozo bya Yakuwa bya waggulu nnyo ku bibye, ekyo kimuyambe okuba omwetoowaze.

Ebifaananyi: 1. Omukadde aliko ekiteeso ky’awa bakadde banne mu lukuŋŋaana lwabwe, naye tebakisembye. 2. Oluvannyuma omukadde eyabadde n’ekiteeso atunudde ku ggulu eririko emmunyeenye ekiro era afumiitiriza.

Kiki ekiyinza okutuyamba okukimanya nti endowooza yaffe tesinga ya Yakuwa? (Laba akatundu 6)d


7. Kiki Rahela kye yakola ekyamuyamba okukkiriza obulagirizi obupya?

7 Rahela, abeera mu Slovenia, akirabye nti bw’afumiitiriza ku Mutonzi we, kimuyamba okukkiriza enkyukakyuka eziba zikoleddwa ekibiina kya Yakuwa. Agamba nti: “Emirundi egimu, tekibadde kyangu gye ndi okukkiriza ebyo ebiba bisaliddwawo abo abatwala obukulembeze. Ng’ekyokulabirako, ne bwe nnamala okulaba Lipoota ey’Omunaana Okuva ku Kakiiko Akafuzi eya 2023, nneewuunya nnyo lwe nnasooka okulaba ow’oluganda alina ebirevu ng’awa emboozi. N’olwekyo nnasaba Yakuwa annyambe nsobole okutuukana n’enkyukakyuka eyo.” Rahela yakitegeera nti olw’okuba Yakuwa ye Mutonzi w’ebintu byonna, asobola okuwa ekibiina kye obulagirizi obusingayo obulungi. Bw’oba okisanga nga kizibu okukkiriza engeri empya gye tutegeeramu ebyawandiikibwa oba okukkiriza obulagirizi obupya, fumiitiriza ku maanyi n’amagezi Omutonzi waffe by’alina.—Bar. 11:​33-36.

ENSONGA LWAKI KATONDA AKYALESEEWO OKUBONAABONA

8. Okutegeera ensonga lwaki Katonda akyaleseewo okubonaabona kituganyudde kitya?

8 Lwaki Katonda akyaleseewo okubonaabona? Abantu abamu abalemeddwa okufuna eky’okuddamu mu kibuuzo ekyo basunguwalidde Katonda, ne batuuka n’okugamba nti taliiyo! (Nge. 19:3) Okwawukana ku bantu abo, ggwe oyize nti ekibi kye twasikira n’obutali butuukirivu, bye biviirako abantu okubonaabona, so si Yakuwa. Ate era oyize nti olw’okuba Yakuwa mugumiikiriza kisobozesezza abantu bukadde na bukadde okumumanya, era n’okutegeera engeri gy’agenda okuggirawo ddala okubonaabona. (2 Peet. 3:​9, 15) Okumanya amazima ago kikuyambye okuwulira obuweerero, era n’okufuuka mukwano gwa Katonda.

9. Ddi lwe tuyinza okwetaaga okufumiitiriza ku nsonga lwaki Katonda akyaleseewo okubonaabona?

9 Tusaanidde okuba abagumiikiriza nga tulindirira Yakuwa okumalawo okubonaabona. Kyokka ebintu gamba ng’okufiirwa oba okuyisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya bwe bitutuukako oba bwe bituuka ku mikwano gyaffe n’ab’eŋŋanda zaffe, tuyinza okwebuuza ensonga lwaki Yakuwa aluddewo okuggyawo okubonaabona. (Kaab. 1:​2, 3) Mu mbeera ng’eyo, kiba kirungi okufumiitiriza ku nsonga lwaki Katonda aleka abantu abatuukirivu okufuna ebizibu.a (Zab. 34:19) Ate era tusaanidde okufumiitiriza ku kisuubizo kya Yakuwa eky’okumalirawo ddala okubonaabona.

10. Kiki ekiyambye Anne okuguma, oluvannyuma lw’okufiirwa maama we?

10 Bwe tumanya ensonga lwaki Katonda akyaleseewo okubonaabona kituyamba okugumira ebizibu. Mwannyinaffe Anne, abeera ku kizinga Mayotte, ekiri mu Indian Ocean, agamba nti: “Bwe nnafiirwa maama wange emyaka mitono egiyise, nnawulira ennaku ey’amaanyi. Naye bulijjo nkijjukira nti Yakuwa si y’aleeta okubonaabona okuliwo, era ayagala nnyo okumalawo okubonaabona kwonna n’okuzuukiza abantu baffe abaafa. Bwe nfumiitiriza ku mazima ago mbudaabudibwa era nfuna emirembe ku mutima.”

11. Okumanya ensonga lwaki Yakuwa akyaleseewo okubonaabona kituyamba kitya okweyongera okubuulira?

11 Okumanya ensonga lwaki Katonda akyaleseewo okubonaabona kitukubiriza okweyongera okubuulira. Omutume Peetero yalaga nti Yakuwa mugumiikiriza kubanga ayagala abantu beenenye basobole okulokolebwa. Yagamba nti: “Mulowooze ku ekyo kye musaanidde okubeera. Musaanidde okubeera abantu abalina empisa entukuvu era abakola ebikolwa ebiraga nti mwemalidde ku Katonda.” (2 Peet. 3:11) Ekimu ku bikolwa ‘ebiraga nti twemalidde ku Katonda,’ kwe kwenyigira mu mulimu gw’okubuulira. Okufaananako Kitaffe ow’omu ggulu, naffe twagala nnyo abantu. Twagala babeere mu nsi empya ey’obutuukirivu. Olw’okuba Yakuwa mugumiikiriza, awadde abantu mu kitundu gy’obeera akakisa okumusinza. Nga nkizo ya maanyi okukolera awamu ne Yakuwa okuyamba abantu bangi nga bwe kisoboka okuyiga ebimukwatako ng’enkomerero tennajja!—1 Kol. 3:9.

TULI MU “NNAKU EZ’ENKOMERERO”

12. Okukimanya nti tuli mu “nnaku ez’enkomerero,” kituleetera kuba bakakafu ku ki?

12 Bayibuli eraga bulungi engeri abantu gye bandibadde beeyisaamu mu “nnaku ez’enkomerero.” (2 Tim. 3:​1-5) Bwe tulaba engeri abantu be tubeeramu gye beeyisaamu, tukiraba nti ekyo Bayibuli kye yayogera kituufu. Ate era bwe tulaba engeri empisa z’abantu n’endowooza zaabwe gye byeyongera okwonoonekamu, tweyongera okuba abakakafu nti Bayibuli yeesigika.—2 Tim. 3:​13-15.

13. Okusinziira ku lugero lwa Yesu oluli mu Lukka 12:​15-21, bibuuzo ki bye tusobola okwebuuza?

13 Ate era okukimanya nti tuli mu nnaku ez’enkomerero kituyamba okumalira ebirowoozo byaffe ku bintu ebisinga obukulu. Ka tulabe ensonga lwaki ekyo kikulu nga twetegereza ekyokulabirako Yesu kye yawa ekisangibwa mu Lukka 12:​15-21. (Soma.) Lwaki omusajja omugagga yayogerwako nga ‘omusirusiru’? Teyayitibwa musirusiru olw’okuba yali mugagga, naye lwa kuba nti yali takulembeza bintu ebisinga obukulu. Omusajja oyo yali yeeterekedde “eby’obugagga naye nga si mugagga mu maaso ga Katonda.” Lwaki ekyo kye yakola kyali kikyamu? Katonda yamugamba nti: “Mu kiro kino bagenda kukuggyako obulamu bwo.” Olugero lwa Yesu olwo lutuyigiriza ki? Ng’enkomerero y’enteekateeka eno ey’ebintu enaatera okutuuka, kirungi okwebuuza nti: ‘Ebiruubirirwa byange bikiraga nti nneemalidde ku bintu ebisinga obukulu? Abaana bange mbakubiriza kweteerawo biruubirirwa ki? Okusingira ddala nkozesa amaanyi gange, ebiseera byange, ne ssente zange, okwetuumako ebintu, okwefunira eby’obugagga, oba mbikozesa okweterekera eby’obugagga mu ggulu?’

14. Ekyokulabirako kya Miki kiraga kitya nti kikulu okukijjukira nti tuli mu nnaku ez’enkomerero?

14 Okukimanya nti tuli mu nnaku ez’enkomerero kisobola okutuyamba okusalawo obulungi engeri gye tunaakozesaamu obulamu bwaffe. Ekyo mwannyinaffe Miki yakitegeera. Agamba nti: “Bwe nnamaliriza emisomo gyange egya siniya, nnali njagala okufuna omulimu ogwandinsobozesezza okusoma ebikwata ku bisolo. Mu kiseera kye kimu, nnalina ekiruubirirwa eky’okuweereza nga payoniya owa bulijjo n’okuweereza mu kitundu awali obwetaavu obusingako. Mikwano gyange abakulu mu by’omwoyo bankubiriza okufumiitiriza ndabe obanga nnandisobodde okukola omulimu gwe njagala, ate mu kiseera kye kimu ne ntuuka ku biruubirirwa byange eby’eby’omwoyo. Banzijukiza nti enkomerero enaatera okutuuka. Ate era baŋŋamba nti mu nsi empya nja kuba n’ebiseera bingi okusoma ku bisolo byonna bye njagala. N’olwekyo nnasalawo okusomerera omulimu ogutanneetaagisa kusomera kiseera kiwanvu. Ekyo kyannyamba okufuna omulimu ogwansobozesa okweyimirizaawo nga mpeereza nga payoniya owa bulijjo, era oluvannyuma nnagenda mu Ecuador, awaali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako.” Miki n’omwami we kati baweerereza wamu mu mulimu gw’okukyalira ebibiina mu nsi eyo.

15. Ekyokulabirako kya Yakobo kiraga kitya nti tusaanidde okweyongera okubuulira abantu abatannaba kukkiriza mawulire malungi? (Laba n’ebifaananyi.)

15 Tetusaanidde kuggwaamu maanyi abantu be tubuulira mu kusooka bwe batakkiriza bubaka bwaffe. Abantu basobola okukyuka. Lowooza ku Yakobo, muganda wa Yesu. Yalaba Yesu ng’akula, ng’afuuka Masiya, era ng’ayigiriza bulungi okusinga omuntu omulala yenna. Kyokka okumala emyaka mingi, Yakobo teyafuuka mugoberezi wa Yesu. Yesu yamala kuzuukizibwa, Yakobo n’alyoka afuuka omuyigirizwa we, era yali munyiikivu nnyo!b (Yok. 7:5; Bag. 2:9) Kikulu obutakoowa kubuulira ba ŋŋanda zaffe ne bwe kiba nti mu kusooka tebaawuliriza bubaka bwaffe. Kijjukire nti tuli mu nnaku za nkomerero era omulimu gw’okubuulira tusaanidde okugukola mu bwangu. Ebyo by’obabuulira leero biyinza okubakwatako oluvannyuma, oboolyawo nga n’ekibonyoobonyo ekinene kimaze okutandika.c

Mwannyinaffe ali mu kwesomesa akubidde muganda we atali Mujulirwa wa Yakuwa essimu. Muganda we ali ne kawala ke bagula bintu.

Kiki ekisobola okutukubiriza okweyongera okubuulira ab’eŋŋanda zaffe abatali bakkiriza? (Laba akatundu 15)e


WEEYONGERE OKUSIIMA EBYO YAKUWA BY’ATUJJUKIZA

16. Oganyuddwa otya mu ebyo Yakuwa by’atujjukiza? (Laba n’akasanduuko “Bikozese Okuyamba Abalala.”)

16 Emmere emu ey’eby’omwoyo gye tufuna eba eteekeddwateekeddwa okuyamba abantu abatawulirangako njigiriza za Bayibuli ezisookerwako. Ng’ekyokulabirako, okwogera kwa bonna okubaawo buli wiiki, ebitundu ebimu ne vidiyo ebiba ku mukutu jw.org, n’Omunaala gwa bonna, okusingira ddala biba bitegekeddwa okuyamba abantu abatali Bajulirwa ba Yakuwa. Wadde kiri kityo, naffe ebintu ebyo bituganyula. Bituyamba okweyongera okwagala Yakuwa, okweyongera okukkiririza mu Kigambo kye, era bituyamba okuyigiriza obulungi abalala enjigiriza za Bayibuli ezisookerwako.—Zab. 19:7.

Bikozese Okuyamba Abalala

Bw’osoma ekitundu ekimu, n’olaba vidiyo, oba n’owuliriza emboozi, ebyateekebwateekebwa okuyamba abapya, lowooza ku ngeri gy’osobola okubikozesa okuyamba abalala. Oyinza okwebuuza nti:

  • ‘Bukakafu ki obuweereddwa okuyamba abantu okutegeera amazima gano?’

  • ‘Waliwo ekyokulabirako ekikozeseddwa kye nsobola okukozesa nga nnyinnyonnyola omuntu enjigiriza ya Bayibuli eno?’

  • ‘Ani gwe nnyinza okubuulirako ku kintu kino, era ddi lwe nnyinza okukimubuulira?’

17. Ddi lw’osaanidde okufumiitiriza ku njigiriza za Bayibuli ezisookerwako?

17 Ng’Abajulirwa ba Yakuwa, tusanyuka nnyo bwe tufuna okutegeera okupya okukwata ku ekyo kye tubadde tukkiriza. Naye era twagala nnyo enjigiriza za Bayibuli ezisookerwako ezaatusikiriza okuyiga amazima. Bwe tufuna obulagirizi obupya obuva eri ekibiina kya Yakuwa naye ne tutayagala kukyusa ndowooza yaffe, tusaanidde okuba abeetoowaze ne tukijjukira nti Omutonzi waffe ow’amagezi era ow’amaanyi y’awa ekibiina kye obulagirizi. Bwe tufumiitiriza ku nsonga lwaki Yakuwa akyaleseewo okubonaabona, kisobola okutuyamba okuba abagumiikiriza bwe tufuna ebizibu oba omu ku b’eŋŋanda zaffe bw’afuna ebizibu. Ate era bwe tuba nga tusalawo engeri gye tunaakozesaamu ebiseera byaffe n’ebintu byaffe, tusaanidde okukijjukira nti wasigaddeyo ekiseera kitono enkomerero etuuke. Ebyo Yakuwa by’atujjukiza ka bituyambe okweyongera okubeera ab’amagezi, n’okumuweereza n’obwesigwa.

BIKI BYE TUYIGIRA KU NJIGIRIZA ZA BAYIBULI ZINO EZISOOKERWAKO?

  • Yakuwa ye Mutonzi

  • Ensonga lwaki Katonda akyaleseewo okubonaabona

  • Tuli mu “nnaku ez’enkomerero”

OLUYIMBA 95 Ekitangaala Kyeyongera

a Laba ekitundu “Ensonga Lwaki Okubonaabona Kwonna Kunaatera Okukoma” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Jjuuni 1, 2007, lup. 14-17.

b Laba essomo 8 mu katabo Yoleka Okwagala—Ng’Ofuula Abantu Abayigirizwa.

c Laba ekitundu “Kiki Kye Tumanyi ku Misango Yakuwa gy’Agenda Okusala mu Biseera eby’Omu Maaso?” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Maayi 2024, lup. 8-13.

d EBIFAANANYI: Omukadde aliko ekiteeso ky’awa naye abakadde abalala tebakikkirizza. Oluvannyuma atunudde ku ggulu era akitegeera nti ekyo Yakuwa Omutonzi we ky’ayagala kikulu okusinga ye ky’ayagala.

e EBIFAANANYI: Mwannyinaffe bw’aba yeesomesa, yeekenneenya obukakafu obulaga nti tuli mu nnaku ez’enkomerero. Ekyo kimuleeteera okukubira muganda we atali Mujulirwa wa Yakuwa amubuulire.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share