Ebibuuzo Abantu Bye Batera Okwebuuza / Bye Tukkiririzaamu / Lwaki Abajulirwa ba Yakuwa Tebakkiriza Kuteekebwako Musaayi?
Endowooza enkyamu abantu ze balina
Endowooza enkyamu: Abajulirwa ba Yakuwa tebakozesa ddagala era tebagenda mu ddwaliro.
Ekituufu: Bwe tulwala oba ab’omu maka gaffe bwe balwala, tunoonya obujjanjabi obusingayo obulungi. Ate era tunoonya abasawo abalina obukugu mu kujjanjaba n’okulongoosa nga tebakozesezza musaayi. Tusiima enkulaakulana etuukiddwako mu by’ekisawo. Mu butuufu, enzijjanjaba ezaateekebwawo okujjanjaba Abajulirwa ba Yakuwa nga tebateekeddwako musaayi kati zikozesebwa abantu bangi. Mu nsi nnyingi buli mulwadde asobola okusalawo okukozesa enzijjanjaba eziteetaagisa kuteekebwako musaayi, ne kimusobozesa okwewala ebizibu ebiyinza okuvaamu gamba ng’endwadde ezisasaanira mu musaayi, okukosa abasirikale b’omubiri, n’ensobi endala abasawo ze bayinza okukola nga bassaako abantu omusaayi.
Ekikyamu: Abajulirwa ba Yakuwa bagamba nti omuntu bwaba n’okukkiriza asobola okuwona ne bwaba nga tafunye bujjanjabi.
Ekituufu: Tetusabira bantu kuwona mu ngeri ya kyamagero.
Endowooza enkyamu: Okukozesa enzijjanjaba ezizingiramu obutateekebwako musaayi kitwala ssente nnyingi.
Ekituufu: Obujjanjabi obuteetaagisa kuteekebwako musaayi tebutwala ssente nnyingi.a
Endowooza enkyamu: Abajulirwa ba Yakuwa bangi, nga mw’otwalidde n’abaana, bafa buli mwaka olwokugaana okuteekebwako omusaayi.
Ekituufu: Ekyo kikyamu. Abasawo bulijjo balongoosa abalwadde b’emitima, ennyingo, oba enkizi nga tebabataddeeko musaayi.b Abalwadde nga mw’otwalidde n’abaana abajjanjabibwa nga tebatekeddwako musaayi, nabo bawona. Oluusi bawona bulungi n’okusinga abo ababa batekeddwako omusaayi.c N’olwekyo omuntu tasobola kugamba nti omulwadde ajja kufa olwobutakkiriza kuteekebwako musaayi, oba nti ajja kuwona ng’akkirizza okuteekebwako omusaayi.
Lwaki Abajulirwa ba Yakuwa Tebakkiriza Kuteekebwako Musaayi?
Ensonga etuleetera obutakkiriza kuteekebwako musaayi erina akakwate n’ebyo bye tukkiririzaamu so si na bya bujjanjabi. Bayibuli etulagira okwewala omusaayi mu Ndagaano Empya n’Enkadde. (Olubereberye 9:4; Eby’Abaleevi 17:10; Ekyamateeka 12:23; Ebikolwa 15:28, 29) Ate era mu maaso ga Katonda, omusaayi gukiikirira obulamu. (Eby’Abaleevi 17:14) N’olwekyo twewala omusaayi olw’okuba tugondera Katonda n’okumussaamu ekitiibwa olw’okuba ye nsibuko y’obulamu.
Endowooza abantu gye baalina ekyuse
Omuntu asobola okulongoosebwa nga tateekeddwako musaayi
Mu kusooka, enkola ez’obujjanjabi eziteetaagisa kuteekebwako musaayi, abasawo baali bazitwala ng’ez’obulabe era ezisobola okuviirako omuntu okufiirwa obulamu bwe, naye gye buvuddeko ebintu byakyuka. Ng’ekyokulabirako, mu 2004, akatabo akamu akakwata ku by’ekisawo kaagamba nti: “Nnyingi ku nkola ezaateekebwawo okujjanjaba Abajulirwa ba Yakuwa, mu myaka egijja zijja kukozesebwa okujjanjaba abantu bonna.”d Mu 2010, ekitundu ekimu mu katabo akayitibwa the journal Heart, Lung and Circulation kaagamba nti: “Enkola ey’okulongoosa abalwadde nga tebateekeddwako musaayi esaanidde okukozesebwa ku bantu bonna so si ku Bajulirwa ba Yakuwa bokka.”
Abasawo bangi okwetooloola ensi kati bakozesa enkola eziziyiza omuntu okuvaamu omusaayi omungi ng’alongosebwa ne kiba nga tekyetaagisa kumuteekako musaayi. Enkola ezo kati zikozesebwa ne mu nsi ezikyakula era abalwadde bangi abatali Bajulirwa ba Yakuwa bazikozesa.
a See Transfusion and Apheresis Science, Volume 33, No. 3, p. 349.
b See The Journal of Thoracic and Cardiovascular Surgery, Volume 134, No. 2, pp. 287-288; Texas Heart Institute Journal, Volume 38, No. 5, p. 563; Basics of Blood Management, p. 2; and Continuing Education in Anaesthesia, Critical Care & Pain, Volume 4, No. 2, p. 39.
c See The Journal of Thoracic and Cardiovascular Surgery, Volume 89, No. 6, p. 918; and Heart, Lung and Circulation, Volume 19, p. 658.
d Continuing Education in Anaesthesia, Critical Care & Pain, Volume 4, No. 2, page 39