Lwakutaano, Okitobba 17
Mweyongere okutambula ng’abaana b’ekitangaala.—Bef. 5:8.
Twetaaga obuyambi bw’omwoyo gwa Katonda omutukuvu tusobole okweyongera okweyisa “ng’abaana b’ekitangaala.” Lwaki? Kubanga kizibu nnyo okusigala nga tuli balongoofu mu nsi eno ejjudde ebikolwa eby’obugwenyufu. (1 Bas. 4:3-5, 7, 8) Omwoyo omutukuvu gusobola okutuyamba okwewala endowooza y’ensi ezingiramu obufirosoofo n’ebintu ebikyamu ebikontana n’endowooza ya Katonda. Ate era gusobola okutuyamba okukulaakulanya “obulungi n’obutuukirivu n’amazima ebya buli kika.” (Bef. 5:9) Engeri emu gye tuyinza okufunamu omwoyo omutukuvu kwe kusaba Katonda agutuwe. Yesu yagamba nti Yakuwa awa “omwoyo omutukuvu abo abamusaba.” (Luk. 11:13) Ate era bwe tutendereza Yakuwa nga tuli wamu ne bannaffe mu nkuŋŋaana, tufuna omwoyo omutukuvu. (Bef. 5:19, 20) Omwoyo gwa Katonda omutukuvu gutuyamba okweyisa mu ngeri esanyusa Katonda. w24.03 23-24 ¶13-15
Lwamukaaga, Okitobba 18
Musabenga, muliweebwa; munoonyenga, mulizuula; mukonkonenga, muliggulirwawo.—Luk. 11:9.
Weetaaga okweyongera okuba omugumiikiriza? Bwe kiba kityo, saba Yakuwa akuyambe. Obugumiikiriza kye kimu ku ebyo ebiri mu kibala ky’omwoyo omutukuvu. (Bag. 5:22, 23) Tusobola okusaba Yakuwa atuwe omwoyo gwe omutukuvu kituyambe okukulaakulanya ekibala kyagwo. Bwe twolekagana n’embeera etwetaagisa okuba abagumiikiriza, tusaanidde ‘okusabanga’ Yakuwa atuwe omwoyo gwe omutukuvu gutuyambe okuba abagumiikiriza. (Luk. 11:13) Ate era tusaanidde okusaba Yakuwa atuyambe okutunuulira ebintu nga bw’abitunuulira. Oluvannyuma lw’okusaba, tulina okufuba ennyo okuba abagumiikiriza buli lunaku. Gye tukoma okusaba Yakuwa atuyambe okuba abagumiikiriza, era ne tufuba okwoleka obugumiikiriza, ajja kutuyamba okubwoleka wadde nga mu kusooka tetwali bantu bagumiikiriza. Okufumiitiriza ku bantu aboogerwako mu Bayibuli nakyo kijja kukuyamba. Bayibuli eyogera ku bantu bangi abaayoleka obugumiikiriza. Bwe tufumiitiriza ku ebyo by’eboogerako, tuyinza okuyiga okwoleka obugumiikiriza. w23.08 22 ¶10-11
Ssande, Okitobba 19
Musuule obutimba bwammwe muvube.—Luk. 5:4.
Yesu yayamba omutume Peetero okukimanya nti Yakuwa yandimulabiridde. Oluvannyuma lw’okuzuukira, yaddamu n’asobozesa Peetero n’abatume abalala okuvuba ebyennyanja mu ngeri ey’ekyamagero. (Yok. 21:4-6) Ekyamagero ekyo kiteekwa okuba nga kyayamba Peetero okukiraba nti Yakuwa yandibadde akola ku byetaago bye eby’omubiri. Oboolyawo Peetero yajjukira ekyo Yesu kye yayogera nti Yakuwa yandirabiridde abo ‘abasooka okunoonya Obwakabaka.’ (Mat. 6:33) Ebyo byonna byayamba Peetero okukulembeza omulimu gw’okubuulira, so si bizineesi y’okuvuba n’okutunda ebyennyanja. Yawa obujulirwa n’obuvumu ku lunaku lwa Pentekooti mu mwaka 33 E.E., n’ayamba abantu abangi nnyo okukkiriza amawulire amalungi ag’Obwakabaka. (Bik. 2:14, 37-41) Oluvannyuma yayamba Abasamaliya n’ab’amawanga okukkiriza Kristo. (Bik. 8:14-17; 10:44-48) Mazima ddala Yakuwa yakozesa nnyo Peetero okuleeta abantu aba buli ngeri mu kibiina Ekikristaayo. w23.09 20 ¶1; 23 ¶11