OLUYIMBA 87
Jjangu Ozzibwemu Amaanyi
- 1. Twetooloddwa abantu abajeemu; - Yakuwa tebamumanyi. - Okwekuumira mu kkubo ettuufu, - Twetaaga ’bulagirizi. - Enkuŋŋaana zaffe zituganyula; - Zinyweza okukkiriza; - Zitukubiriza ’kkola ’birungi; - Zituzzaamu nnyo amaanyi. - Tunyweredde ku Yakuwa ky’agamba; - By’ayagala tubyagala. - Tuyiga bingi mu nkuŋŋaana zaffe - Ebituzzaamu amaanyi. 
- 2. Yakuwa amanyi ffe bye twetaaga; - Tuwulire ky’atugamba. - Tulaga nti twagal’e Kigambo kye - Bwe tubaawo mu nkuŋŋaana. - Tuyigirizibwa bulungi ddala - Ne tumany’e ky’okukola. - Bwe tuba awamu n’ab’oluganda, - Tuba basanyufu ddala. - Nga bwe tulindirira ensi empya, - Ka tukuŋŋaanenga nabo. - Tuyige ’ngeri y’okutambuzaamu - ’Bulamu bwaffe bulijjo. 
(Laba ne Zab. 37:18; 140:1; Nge. 18:1; Bef. 5:16; Yak. 3:17.)