OLUYIMBA 111
Ebituleetera Essanyu
- 1. Bingi nnyo ebitusanyusa; - ’Ssanyu lyaffe lyeyongera. - Eby’omuwendo by’amawanga - Byonger’o kkuŋŋaanyizibwa. - Essanyu lyaffe lisibuka - Mu Kigambo kya Katonda. - Tukisoma buli lunaku; - Tunyweza okukkiriza. - Essanyu lye tulina liri - Ng’omuliro mu mutima. - Wadde tuba n’emitawaana - Yakuwa ’tubudaabuda. - (CHORUS) - Yakuwa lye ssanyu lyaffe; - By’akola bitusanyusa. - Emirimu gye gya kitalo nnyo; - Mulungi era wa maanyi! 
- 2. Bye yakola bitusanyusa; - Eggulu, ensi, n’ennyanja. - Twewuunya bwe tutunuulira - Buli kimu kye yakola. - Tubulangirira n’essanyu - ’Bwakabaka bwa Katonda. - Tubwogerako buli wamu - N’emikisa gye buleeta. - Essanyu eritaliggwaawo - Liri kumpi okutuuka. - Ensi empya n’eggulu eppya - Bireeta essanyu eryo. - (CHORUS) - Yakuwa lye ssanyu lyaffe; - By’akola bitusanyusa. - Emirimu gye gya kitalo nnyo; - Mulungi era wa maanyi! 
(Laba ne Ma. 16:15; Is. 12:6; Yok. 15:11.)