OLUYIMBA 57
Okubuulira Abantu aba Buli Ngeri
- 1. Twagala nnyo ’kukoppa Katonda, - Nga twewal’o kuba ’basosoze. - Ayaniriza abantu bonna - Kuba ’yagala balokolebwe. - (CHORUS) - Ekising’o bukulu - Gwe mutima gw’omuntu. - Buulira ’bantu ’ba buli ngeri. - Twagala ’bantu bonna - Bamanye nti Katonda - Ayagala babe mikwano gye. 
- 2. Endabika y’omuntu kungulu - Oba ekifo we tumusanze - Katonda ye si by’atunuulira; - Afa ku kiri mu mutima gwe. - (CHORUS) - Ekising’o bukulu - Gwe mutima gw’omuntu. - Buulira ’bantu ’ba buli ngeri. - Twagala ’bantu bonna - Bamanye nti Katonda - Ayagala babe mikwano gye. 
- 3. Yakuwa ’sembeza buli muntu - Eyeesamba ensi ya Sitaani. - Ekyo akituyigirizza ffe, - Kyetuva tubabuulira bonna. - (CHORUS) - Ekising’o bukulu - Gwe mutima gw’omuntu. - Buulira ’bantu ’ba buli ngeri. - Twagala ’bantu bonna - Bamanye nti Katonda - Ayagala babe mikwano gye. 
(Laba ne Yok. 12:32; Bik. 10:34; 1 Tim. 4:10; Tit. 2:11.)