Oluyimba 14
Ebintu Byonna Bizziddwa Buggya
1. ’Bufuzi bwa Katonda butandise.
Omwana we atudde ku ntebe.
Awangudde ’lutalo mu ggulu,
Ne ku nsi kinaaba kityo mangu.
(CHORUS)
Sanyuka kuba Katonda,
Anaabeeranga n’abantu.
Tewaabenga nate kulumwa,
Okukaaba wadde okufa;
Kuba ‘byonna abizzizza buggya.’
Bigambo bya mazima.
2. Mulabe Yerusaalemi Ekiggya,
Omugole w’Omwana gw’Endiga.
Yenna kati anekaanekanye,
Yakuwa yekka gwe musana gwe.
(CHORUS)
Sanyuka kuba Katonda,
Anaabeeranga n’abantu.
Tewaabenga nate kulumwa,
Okukaaba wadde okufa;
Kuba ‘byonna abizzizza buggya.’
Bigambo bya mazima.
3. Ekibuga kino kisanyusa nnyo.
Kiggule emisana n’ekiro.
Mmwe abaweereza ba Katonda,
Musana gwakyo mugwolekenga.
(CHORUS)
Sanyuka kuba Katonda,
Anaabeeranga n’abantu.
Tewaabenga nate kulumwa,
Okukaaba wadde okufa;
Kuba ‘byonna abizzizza buggya.’
Bigambo bya mazima.
(Era laba Mat. 16:3; Kub. 12:7-9; 21:23-25.)