Mutukuziddwa
“Munaaziddwa, mutukuziddwa.”—1 KOL. 6:11.
1. Nekkemiya bwe yakomawo e Yerusaalemi, biki bye yasanga? (Laba ekifaananyi waggulu.)
ABANTU b’omu Yerusaalemi ebintu bibasobedde. Lwaki? Munnagwanga, omulabe wa Yakuwa, akkiriziddwa okusula mu kisenge kya yeekaalu. Abaleevi tebakyakola mirimu gyabwe. Mu kifo ky’okutwala obukulembeze mu kusinza okw’amazima, abakadde bali mu kukola bizineesi ku lunaku lwa Ssabbiiti. Abaisiraeri bangi bafumbiriganwa n’abantu abatali Bayudaaya. Ebyo bye bimu ku bintu Nekkemiya by’asanga ng’akomyewo mu Yerusaalemi.—Nek. 13:6.
2. Isiraeri yafuuka etya eggwanga ettukuvu?
2 Isiraeri lyali ggwanga eryewaddeyo eri Katonda. Mu 1513 E.E.T, Abaisiraeri beeyama okukola Yakuwa by’ayagala. Baagamba nti: “Ebigambo byonna Mukama by’ayogedde tulibikola.” (Kuv. 24:3) Bwe kityo, Katonda yabatukuza, oba yabalonda okuba abantu be. Ng’eyo yali nkizo ya maanyi! Nga wayise emyaka 40, Musa yajjukiza Abaisiraeri nti: “Gw’oli ggwanga ttukuvu eri Mukama Katonda wo: Mukama Katonda wo yakulonda okuba eggwanga ery’envuma gy’ali, okusinga amawanga gonna agali ku maaso g’ensi.”—Ma. 7:6.
3. Nekkemiya we yakomerawo mu Yerusaalemi omulundi ogw’okubiri, Abayudaaya baali batwala batya okusinza okw’amazima?
3 Eky’ennaku, eggwanga lya Isiraeri telyatuukiriza ekyo kye lyeyama okukola. Wadde nga waaliwo Abayudaaya abamu abaaweerezanga Katonda n’obwesigwa, Abayudaaya abasinga obungi tebaali beetegefu kukola Katonda by’ayagala. Beefuulanga okuba abatukuvu naye nga mu butuufu tebaali batukuvu. Nekkemiya we yakomerawo mu Yerusaalemi omulundi ogw’okubiri, waali wayise emyaka nga kikumi bukya Abayudaaya bakomawo okuva mu Babulooni okuzzaawo okusinza okw’amazima. Naye mu kiseera ekyo, okusinza okw’amazima Abayudaaya baali tebakyakutwala ng’ekintu ekikulu mu bulamu bwabwe.
4. Bintu ki bye tugenda okulaba ebinaatuyamba okusigala nga tuli batukuvu mu maaso ga Yakuwa?
4 Okufaananako Abaisiraeri, Abajulirwa ba Yakuwa ng’ekibiina nabo Katonda abatukuzza. Abakristaayo abaafukibwako amafuta ‘n’ab’ekibiina ekinene’ bonna batukuvu era baweereza Yakuwa yekka. (Kub. 7:9, 14, 15; 1 Kol. 6:11) Abaisiraeri baafiirwa enkolagana yaabwe ne Yakuwa olw’okuba baalemererwa okusigala nga batukuvu. Tetwagala ekyo kututuukako. Kiki ekiyinza okutuyamba okusigala nga tuli batukuvu era nga tusiimibwa mu maaso ga Yakuwa? Mu Nekkemiya essuula 13 tugenda kulaba ebintu bina ebinaatuyamba: (1) Okwewala emikwano emibi; (2) okuwagira omulimu gwa Yakuwa; (3) okukulembeza ebintu eby’omwoyo; ne (4) okunywerera ku mitindo gy’Ekikristaayo. Kati ka twetegereze ebintu ebyo.
OKWEWALA EMIKWANO EMIBI
Nekkemiya yalaga atya nti yali anyweredde ku mateeka ga Yakuwa? (Laba akatundu 5, 6)
5, 6. Eriyasibu ne Tobiya baali baani, era lwaki Eriyasibu yali mukwano gwa Tobiya?
5 Soma Nekkemiya 13:4-9. Olw’okuba twetooloddwa abantu ababi, si kyangu kusigala nga tuli batukuvu. Lowooza ku Eriyasibu ne Tobiya. Eriyasibu yali kabona asinga obukulu, ate Tobiya yali Mwamoni era nga kirabika yali muweereza wa kabaka wa Buperusi mu Buyudaaya. Emabegako, Tobiya ne banne baali bagezezzaako okuziyiza Nekkemiya okuzimba bbugwe wa Yerusaalemi. (Nek. 2:10) Abaamoni baali tebakkirizibwa kusemberera yeekaalu. (Ma. 23:3) Kati olwo lwaki Eriyasibu yakkiriza Tobiya okukozesa ekisenge ekiriirwamu mu yeekaalu?
6 Tobiya yali afuuse mukwano gwa Eriyasibu ow’oku lusegere. Tobiya ne mutabani we Yekokanani baali bawasizza abakazi Abayudaaya, era Abayudaaya bangi baali boogera bulungi ku Tobiya. (Nek. 6:17-19) Omu ku bazzukulu ba Eriyasibu yawasa muwala wa Sanubalaati, eyali gavana wa Samaliya, ate nga Sanubalaati yali mukwano gwa Tobiya. (Nek. 13:28) Ebyo biyinza okuba nga bye byaleetera Kabona Asinga Obukulu Eriyasibu okukkiriza omusajja ataali muweereza wa Yakuwa era eyali aziyiza omulimu gw’abantu ba Katonda okumukozesa ekintu ekikyamu. Kyokka ye Nekkemiya yakiraga nti yali anyweredde ku mateeka ga Yakuwa bwe yasuula ebintu bya Tobiya byonna ebweru.
7. Kiki abantu ba Katonda bonna, nga mw’otwalidde n’abakadde, kye bafuba okukola okusobola okusigala nga batukuvu mu maaso ga Yakuwa?
7 Okuva bwe kiri nti twewaayo eri Katonda, tulina okuba abeesigwa gy’ali okusinga okuba abeesigwa eri omuntu omulala yenna. Okusobola okusigala nga tuli batukuvu mu maaso ge, tulina okunywerera ku mitindo gye egy’obutuukirivu. Tetulina kukkiriza nkolagana gye tulina n’ab’eŋŋanda zaffe kutuleetera kusambajja misingi gya Bayibuli. Abakadde bwe baba balina kye basalawo, bafuba okumanya endowooza Yakuwa gy’alina ku kintu ekyo mu kifo ky’okukolera ku magezi gaabwe. (1 Tim. 5:21) Abakadde beewala okukola ekintu kyonna ekiyinza okubaleetera okufiirwa enkolagana yaabwe ne Katonda.—1 Tim. 2:8.
8. Bwe kituuka ku bantu be tufuula mikwano gyaffe, kiki ffenna kye tusaanidde okujjukira?
8 Tusaanidde okukijjukira nti “emikwano emibi gyonoona empisa ennungi.” (1 Kol. 15:33) Abamu ku b’eŋŋanda zaffe bayinza okutuleetera okukola ebintu ebibi. Mu kusooka Eriyasibu yali muntu mulungi era yayamba nnyo Nekkemiya bwe yali azimba bbugwe wa Yerusaalemi. (Nek. 3:1) Kyokka oluvannyuma, Tobiya n’abantu abalala baaleetera Eriyasibu okukola ebintu ebibi, ebyamufuula atali mutukuvu mu maaso ga Yakuwa. Emikwano emirungi gitukubiriza okukola ebintu ebirungi, gamba ng’okusoma Bayibuli, okugenda mu nkuŋŋaana, n’okubuulira. Tusiima nnyo ab’eŋŋanda zaffe abatukubiriza okukola ebintu ebirungi.
OKUWAGIRA OMULIMU GWA YAKUWA
9. Lwaki emirimu gya yeekaalu gyali tegitambula bulungi, era baani Nekkemiya be yanenya?
9 Soma Nekkemiya 13:10-13. Kirabika Nekkemiya we yaddirayo e Yerusaalemi abantu baali tebakyawaayo kuwagira mirimu gya yeekaalu. Olw’okuba Abaleevi baali tebakyaweebwa mugabo gwabwe, baasalawo okuva ku mirimu gyabwe ne bagenda okukola mu nnimiro zaabwe. Nekkemiya yanenya abakulu olw’embeera eyo. Kirabika baali balagajjalidde omulimu gwabwe. Bayinza okuba nga baali tebakyakuŋŋaanya kimu kya kkumi oba nga tebakyakiweereza mu yeekaalu, nga bwe baalina okukola. (Nek. 12:44) Bwe kityo, Nekkemiya yakola enteekateeka okulaba nti ekimu eky’ekkumi kiddamu okukuŋŋaanyizibwa. Yalonda abasajja abeesigwa okulabirira amaterekero ga yeekaalu n’okukakasa nti Abaleevi baweebwa omugabo gwabwe.
10, 11. Tuyinza tutya okuwagira okusinza okw’amazima?
10 Ekyo kituyigiriza ki? Kituyigiriza nti ffenna tulina enkizo okussaamu Yakuwa ekitiibwa nga tumuwa ku bintu byaffe eby’omuwendo. (Nge. 3:9) Bwe tubaako kye tuwaddeyo okuwagira omulimu gwa Yakuwa, tuba tumuwadde ku bibye. (1 Byom. 29:14-16) Tuyinza okulowooza nti tetulina kya maanyi kye tusobola kuwaayo, naye bwe tuba nga ddala twagala okubaako kye tuwaayo, ffenna tusobola okubaako kye tuwaayo.—2 Kol. 8:12.
11 Okumala emyaka mingi, waliwo amaka agamu agaayanirizanga ow’oluganda omu ne mukyala we bannamukadde era abaali baweereza nga payoniya ab’enjawulo okuliirangako awamu nabo emmere omulundi gumu buli wiiki. Wadde nga mu maka ago mwalimu abaana munaana, maama waabwe yateranga okugamba nti, ‘Okuva bwe kiri nti mbadde nfumba emmere ya bantu kkumi, okwongerako ey’abantu ababiri si kizibu.’ Ekyo kirabika ng’ekintu ekitono, naye bapayoniya abo bateekwa okuba nga baasiima nnyo ab’omu maka ago! Ab’omu maka ago nabo baaganyulwa mu kubeerangako awamu ne bapayoniya abo. Ebyo bapayoniya abo bye baayogeranga byayamba abaana b’omu maka ago okukulaakulana mu by’omwoyo. Oluvannyuma, abaana abo bonna baayingira obuweereza obw’ekiseera kyonna.
12. Kyakulabirako ki ekirungi abo abatwala obukulembeze mu kibiina kye bateekawo?
12 Ekintu ekirala kye tuyiga kye kino: Okufaananako Nekkemiya, abo abatwala obukulembeze mu kibiina basaanidde okussaawo ekyokulabirako ekirungi mu kuwagira omulimu gwa Yakuwa. Ekyo kiganyula nnyo abalala mu kibiina. Mu kukola batyo, abakadde baba bakoppa ekyokulabirako kya Pawulo. Yawagira okusinza okw’amazima era yawa bakkiriza banne amagezi ku ngeri gye bayinza okukola enteekateeka okubaako kye bawaayo okuwagira okusinza okw’amazima.—1 Kol. 16:1-3; 2 Kol. 9:5-7.
OKUKULEMBEZA EBINTU EBY’OMWOYO
13. Abayudaaya abamu baakiraga batya nti baali tebassa kitiibwa mu Ssabbiiti?
13 Soma Nekkemiya 13:15-21. Bwe tumalira ebiseera byaffe ku kulowooza ku by’obugagga oba ku kwenoonyeza eby’obugagga, tusobola okufiirwa enkolagana yaffe ne Yakuwa. Okusinziira ku Okuva 31:13, Ssabbiiti eya buli wiiki yajjukizanga Abaisiraeri nti baali bantu abatukuziddwa. Olunaku lwa Ssabbiiti Abaisiraeri baalina okulukozesa okusinza ng’amaka, okusaba, n’okufumiitiriza ku Mateeka ga Katonda. Naye Abaisiraeri abamu abaaliwo mu kiseera kya Nekkemiya, olunaku lwa Ssabbiiti baali balutwala ng’olunaku olulala lwonna, nga balukolerako bizineesi. Okusinza Katonda si kye kintu kye baali bakulembeza mu bulamu bwabwe. Bwe kityo, Nekkemiya yagoba abasuubuzi bonna abagwira era n’alagira emiryango gy’ekibuga giggalwe ng’olunaku lwa Ssabbiiti terunnatandika.
14, 15. (a) Kiki ekiyinza okututuukako singa tumala ebiseera bingi nga tunoonya ssente? (b) Tuyinza tutya okuyingira mu kiwummulo kya Katonda?
14 Kiki kye tuyigira ku Nekkemiya? Ekimu ku ebyo bye tuyiga kiri nti singa tumala ebiseera bingi nga tunoonya ssente, tusobola okuwugulibwa okuva ku bintu eby’omwoyo. Omulimu gwaffe gusobola okutuwugula naddala singa tuba tugwagala nnyo. Naye tusaanidde okukijjukira nti Yesu yagamba nti tetusobola kubeera baddu ba baami babiri. (Soma Matayo 6:24.) Nekkemiya yali asobola okukola ssente nnyingi ng’ali mu Yerusaalemi era yali asobola okukola bizineesi n’Abatuulo oba n’abasuubuzi abalala. Naye yakozesa atya ebiseera bye? (Nek. 5:14-18) Yakozesa ebiseera bye okuyamba baganda be n’okukola ebintu ebyandireetedde erinnya lya Yakuwa okutukuzibwa. Mu ngeri y’emu leero, abakadde n’abaweereza mu kibiina bakozesa ebiseera byabwe n’amaanyi gaabwe okuyamba ekibiina, era bakkiriza bannaabwe babaagala nnyo olw’omwoyo omulungi gwe balaga. N’ekivuddemu, abantu ba Katonda baagalana, bali mu mirembe, era balina obukuumi.—Ez. 34:25, 28.
15 Wadde ng’Abakristaayo tekibeetaagisa kukwata Ssabbiiti eya buli wiiki, Pawulo yagamba nti “wakyasigaddeyo ekiwummulo kya ssabbiiti eri abantu ba Katonda.” Era yagattako nti: “Omuntu ayingidde mu kiwummulo kya Katonda naye kennyini aba awumudde emirimu gye, nga ne Katonda bwe yawummula egigye.” (Beb. 4:9, 10) Tusobola okuyingira mu kiwummulo kya Katonda nga tumugondera era nga tufuba okutuukanya obulamu bwaffe n’ekigendererwa kye. Ggwe awamu n’ab’omu maka go okusinza kw’amaka, okubaawo mu nkuŋŋaana, n’okubuulira, bye mukulembeza mu bulamu bwammwe? Bakama baffe oba abo be tukola nabo bizineesi bayinza okuba ng’ebintu ebyo tebabitwala ng’ekikulu. Bwe kityo, kiyinza okutwetaagisa okuba abavumu ne tubalaga nti ebintu eby’omwoyo bye tutwala ng’ekintu ekisinga obukulu mu bulamu bwaffe. Bwe tukola bwe tutyo, tuba nga Nekkemiya eyagoba Abatuulo era n’aggala emiryango gy’ekibuga. Yakiraga nti Yakuwa gwe yali akulembeza mu bulamu bwe. Okuva bwe kiri nti tuli bantu abatukuziddwa, buli omu ku ffe asaanidde okwebuuza, ‘Ebyo bye nkola biraga nti Yakuwa gwe nkulembeza mu bulamu bwange?’—Mat. 6:33.
NYWERERA KU MITINDO GY’EKIKRISTAAYO
16. Mu kiseera kya Nekkemiya, kiki ekyali kigenda okuleetera Abaisiraeri okufiirwa enkizo gye baalina ng’abantu ba Katonda ab’enjawulo?
16 Soma Nekkemiya 13:23-27. Mu kiseera kya Nekkemiya, abasajja Abaisiraeri baali bawasa abakazi ab’amawanga amalala. Ku mulundi Nekkemiya lwe yasooka okugenda e Yerusaalemi, yakozesa abakadde bonna endagaano obutawasa bakazi ab’amawanga amalala. (Nek. 9:38; 10:30) Naye Nekkemiya bwe yaddayo e Yerusaalemi omulundi ogw’okubiri, yasanga abasajja Abayudaaya bawasizza abakazi abagwira era nga banaatera okufiirwa enkizo gye baalina ng’abantu ba Katonda ab’enjawulo. Era abaana be baali bazadde baali tebasobola kusoma Lwebbulaniya wadde okulwogera. Abaana abo bwe bandikuze, bandibadde beetwala okuba Abaisiraeri? Oba bandibadde beetwala okuba Abasudodi, Abaamoni, oba Abamowaabu? Okuva bwe kiri nti baali tebamanyi Lwebbulaniya, bandisobodde okutegeera Amateeka ga Katonda? Bandisobodde batya okutegeera Yakuwa era ne basalawo okumuweereza mu kifo ky’okuweereza bakatonda ab’obulimba bamaama baabwe be baasinzanga? Nekkemiya alina kye yakolawo mu bwangu okulaba nti Abaisiraeri basigala nga batukuvu mu maaso ga Katonda.—Nek. 13:28.
Muyambe abaana bammwe okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa (Laba akatundu 17, 18)
17. Abazadde bayinza batya okuyamba abaana baabwe okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa?
17 Leero, tulina okubaako kye tukolawo okusobola okuyamba abaana baffe okuyiga amazima n’okuganywereramu. Abazadde, mwebuuze, ‘Abaana bange bategeera bulungi “olulimi olulongoofu,” nga gano ge mazima agali mu Byawandiikibwa? (Zef. 3:9) Ebyo bye banyumyako biraga nti bakulemberwa mwoyo gwa Katonda oba mwoyo gwa nsi?’ Toggwamu maanyi bw’okiraba nti abaana bo beetaaga okubaako enkyukakyuka ze bakola. Kijjukire nti okuyiga olulimi kitwala ekiseera, naddala nga waliwo ebitawaanya. Mu nsi mulimu ebintu bingi ebiyinza okuwugula abaana bammwe. N’olwekyo, mukozese ekiseera eky’Okusinza kw’Amaka oba akakisa akalala konna okuyamba abaana bammwe okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa. (Ma. 6:6-9) Mubalage emiganyulo egiri mu kwewala okwefaananyiriza ensi ya Sitaani. (Yok. 17:15-17) Era mufube okutuuka ku mitima gyabwe.
18. Lwaki abazadde Abakristaayo be balina obuvunaanyizibwa obusooka obw’okuyamba abaana baabwe okukulaakulana ne beewaayo eri Yakuwa?
18 Kya lwatu nti buli mwana y’alina okwesalirawo obanga anaaweereza Katonda oba nedda. Wadde kiri kityo, abazadde balina kinene kye basobola okukolawo okubayamba. Abazadde basaanidde okuteerawo abaana baabwe ekyokulabirako ekirungi, okubabuulira ebintu bye balina okwewala, era n’okubayamba okumanya ebizibu bye bayinza okufuna singa basalawo bubi. Abazadde, buvunaanyizibwa bwammwe okuyamba abaana bammwe okukulaakulana ne basobola okwewaayo eri Yakuwa. Mwetaaga okubayamba okuyiga amazima n’okuganywereramu. Kya lwatu nti ffenna twetaaga okukuuma ‘ebyambalo byaffe eby’okungulu,’ nga gino gye mitindo gy’empisa egitwawulawo ng’abagoberezi ba Kristo.—Kub. 3:4, 5; 16:15.
YAKUWA AJJA KUTUJJUKIRA ‘ATUKOLERE EBIRUNGI’
19, 20. Bwe tuba twagala Yakuwa okutujjukira era ‘atukolere ebirungi,’ kiki kye tulina okukola?
19 Nnabbi Malaki, omu ku bantu abaaliwo mu kiseera kya Nekkemiya, yagamba nti Yakuwa ajjukira ‘abo abamutya era abalowooza erinnya lye,’ era nti amannya gaabwe agateeka mu ‘kitabo eky’okujjukiza.’ (Mal. 3:16, 17) Katonda tasobola kwerabira abo bonna abamutya era abaagala erinnya lye.—Beb. 6:10.
20 Nekkemiya yasaba nti: “Onzijukiranga, ai Katonda wange, okunkola obulungi.” (Nek. 13:31) Okufaananako Nekkemiya, naffe amannya gaffe gajja kuwandiikibwa mu kitabo kya Katonda eky’okujjukiza singa tufuba okwewala emikwano emibi, era singa tufuba okuwagira omulimu gwa Yakuwa, okukulembeza ebintu eby’omwoyo, n’okunywerera ku mitindo gy’Ekikristaayo. Ka tweyongere ‘okwekeberanga okulaba obanga tuli mu kukkiriza.’ (2 Kol. 13:5) Singa tufuba okusigala nga tuli batukuvu mu maaso ga Yakuwa, ajja kutujjukira era ‘atukolere ebirungi.’