ESSOMO 18
Okukozesa Baibuli ng’Oddamu Ebibuuzo
BWE tubuuzibwa ebikwata ku nzikiriza yaffe, ku nneeyisa yaffe, ku ndowooza gye tulina ku biriwo mu nsi, oba ku ssuubi lyaffe ery’ebiseera eby’omu maaso, tufuba okukozesa Baibuli nga tuddamu. Lwaki? Kubanga kye Kigambo kya Katonda. Enzikiriza zaffe zeesigamiziddwa ku Baibuli. Enneeyisa yaffe yeesigamiziddwa ku Baibuli. Y’etuyamba okufuna endowooza entuufu ku biriwo mu nsi. Essuubi lyaffe ery’ebiseera eby’omu maaso lyesigamye ku bisuubizo bya Baibuli.—2 Tim. 3:16, 17.
Tumanyi bulungi obuvunaanyizibwa bwe tulina obukwataganyizibwa n’erinnya lye tuyitibwa. Tuyitibwa Bajulirwa ba Yakuwa. (Is. 43:12) N’olwekyo, bwe tuba tuddamu ebibuuzo tetwesigama ku ndowooza z’abantu, wabula ku Kigambo kya Yakuwa ekyaluŋŋamizibwa. Kyo kituufu nti, ng’abantu kinnoomu, tulina endowooza ezaffe ku bwaffe ku nsonga ezitali zimu, naye tuleka Ekigambo kya Katonda okutereeza endowooza yaffe nga tukakasizza ddala nti ge mazima. Kya lwatu, Baibuli etuwa eddembe okwesalirawo. N’olwekyo, mu kifo ky’okukakaatika endowooza zaffe ku bantu abalala, tubayigiriza emisingi egiri mu Byawandiikibwa, mu ngeri eyo, ne tubawa eddembe ery’okwesalirawo nga naffe lye tulina. Okufaananako omutume Pawulo, twagala ‘okukkiriza kwe kuba kukubiriza abantu okwoleka obuwulize.’—Bar. 16:26.
Mu Okubikkulirwa 3:14, Yesu Kristo ayogerwako nga “omujulirwa omwesigwa era ow’amazima.” Yaddangamu atya ebibuuzo ebyamubuuzibwanga, era kiki kye yakolanga ng’ayolekaganye n’embeera ezitali zimu? Ebiseera ebimu yakozesanga ebyokulabirako ebyaleeteranga abantu okulowooza. Ate oluusi yabuuzanga oyo eyabanga amubuuzizza engeri gy’ategeeramu ekyawandiikibwa. Emirundi mingi yajulizanga ebyawandiikibwa butereevu oba yabyogerangako bwogezi. (Mat. 4:3-10; 12:1-8; Luk. 10:25-28; 17:32) Mu kyasa ekyasooka, emizingo gy’Ebyawandiikibwa gyaterekebwanga mu makuŋŋaaniro. Tewaliiwo bukakafu bulaga nti Yesu yalina emizingo egigye ku bubwe, naye yali amanyi bulungi Ebyawandiikibwa era yabijulizanga buli lwe yabanga ayigiriza abalala. (Luk. 24:27, 44-47) Yali asobola bulungi okugamba nti bye yali ayigiriza tebyali bibye ku bubwe. Yayogeranga ebyo bye yali awulidde okuva eri Kitaawe.—Yok. 8:26.
Twagala okugoberera ekyokulabirako kya Yesu. Obutafaananako Yesu, ffe tetuwulirangako Katonda ng’ayogera. Naye Baibuli Kigambo kya Katonda. Bwe tugikozesa okuddamu ebibuuzo, tuba twewala abantu okutwala endowooza yaffe. Mu kifo ky’okugoberera endowooza z’abantu abatatuukiridde, tuli bamalirivu okutwala Katonda ky’agamba okuba nti kye kituufu.—Yok. 7:18; Bar. 3:4.
Kya lwatu, twagala okukozesa Baibuli mu ngeri eneesinga okuganyula oyo atuwuliriza. Twagala atuwulirize bulungi ng’alina endowooza ennuŋŋamu. Okusinziira ku ndowooza omuntu gy’aba nayo, oyinza okutandika okukubaganya naye ebirowoozo ku Baibuli ng’omubuuza: “Tokikkiriza nti Katonda ky’agamba kye twanditutte ng’ekikulu?” Oba oyinza okugamba bw’oti: “Obadde okimanyi nti Baibuli eddamu ekibuuzo ekyo?” Bw’oba ng’oyogera n’omuntu atakkiririza mu Baibuli, kiyinza okukwetaagisa okukozesa ennyanjula ey’enjawulo. Oyinza okugamba: “Nnandyagadde okukubaganyako naawe ebirowoozo ku bunnabbi buno.” Oba oyinza okugamba: “Ekitabo ekisingiddeyo ddala okubunyisibwa kigamba bwe kiti . . . ”
Emirundi egimu, oyinza okusalawo okutegeeza obutegeeza omuntu ebiri mu kyawandiikibwa ekimu. Kyokka, ekyandisinze obulungi kwe kumubikkulira n’omulaga Baibuli ky’egamba. Bwe kiba kisoboka mulage ekyawandiikibwa ekyo mu Baibuli ye yennyini. Okukozesa Baibuli obutereevu, kirina kinene nnyo kye kikola ku bantu.—Beb. 4:12.
Nnaddala abakadde mu kibiina bagwanidde okukozesa Baibuli nga baddamu ebibuuzo ebiba bibabuuziddwa. Kiri bwe kityo kubanga ekimu ku bisaanyizo by’okuweereza ng’omukadde kwe kuba nti ow’oluganda oyo ‘anywerera ku kigambo eky’amazima ng’ayigiriza.’ (Tito 1:9) Omu ku b’oluganda mu kibiina ayinza okubaako ekintu ekikulu ky’asalawo oluvannyuma lw’omukadde okumubuulirira. Nga kiba kikulu nnyo omukadde okwesigamya okubuulirirwa okwo ku Byawandiikibwa! Abalala bayinza okukoppa ekyokulabirako ky’omukadde kino ekirungi nga bayigiriza.