LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w13 4/15 lup. 12-16
  • Ganyulwa mu Kigambo kya Katonda era Kikozese Okuyamba Abalala

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ganyulwa mu Kigambo kya Katonda era Kikozese Okuyamba Abalala
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Subheadings
  • Similar Material
  • “KIGASA MU KUYIGIRIZA”
  • “KIGASA . . . MU KUNENYA”
  • “KIGASA . . . MU KUTEREEZA EBINTU”
  • “KIGASA . . . MU KUKANGAVVULA MU BUTUUKIRIVU”
  • EKIRABO EKY’OMUWENDO KATONDA KYE YATUWA
  • Abakadde—Mweyongere Okukoppa Omutume Pawulo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2022
  • Engeri gy’Owabulamu Abalala ‘Esanyusa Omutima’?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2022
  • Kkirizanga Okukangavvula kwa Yakuwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
  • “Ekigambo kya Katonda . . . kya Maanyi”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2017
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
w13 4/15 lup. 12-16

Ganyulwa mu Kusoma Bayibuli era Gikozese Okuyamba Abalala

“Ndowooza ebiragiro byo byonna eby’ebigambo byonna nga bya nsonga.”​—ZAB. 119:128.

WANDIZZEEMU OTYA?

  • Oyinza otya okukozesa obulungi Ebyawandiikibwa ng’oyigiriza abalala?

  • Kiki Pawulo kye yali ategeeza bwe yayogera ku “kutereeza ebintu”?

  • Abakadde n’abazadde bayinza batya ‘okukangavvula abalala mu butuukirivu’?

1. Lwaki tusaanidde okukkiririza mu Kigambo kya Katonda?

OMUYIZI wa Bayibuli bw’aba tannatandika kubuulira, ateekwa okusooka okiraga nti akkiriza nti Bayibuli Kigambo kya Katonda.a Ffenna twetaaga okukiraga mu bigambo ne mu bikolwa nti tukkiririza mu Kigambo kya Katonda. Lwaki? Kubanga bwe tukkiririza mu Kigambo kya Katonda era ne tuyiga okukikozesa obulungi nga tubuulira, tujja kusobola okuyamba abalala okumanya Yakuwa n’okumanya ekyo kye balina okukola okusobola okulokolebwa.

2. Lwaki tusaanidde ‘okweyongera okutambulira mu bintu bye twayiga’?

2 Omutume Pawulo yakiraga bulungi nti Ekigambo kya Katonda kya mugaso nnyo. Yagamba Timoseewo nti: “Weeyongere okutambulira mu bintu bye wayiga era bye wakkiriza nti bituufu.” ‘Ebintu’ Pawulo bye yali ayogerako ge mazima agali mu Bayibuli Timoseewo ge yali ayize agaamuyamba okuba n’okukkiriza okw’amaanyi. Ebyo bye tuyiga mu Bayibuli naffe bisobola okutuyamba okuba n’okukkiriza okw’amaanyi era bisobola okutuyamba okuba ‘abagezi ne tusobola okufuna obulokozi.’ (2 Tim. 3:14, 15) Ebigambo Pawulo bye yaddako okwogera ebiri mu lunyiriri olwa 16, tutera okubikozesa okulaga abantu nti Bayibuli yaluŋŋamizibwa Katonda. Naye waliwo n’ebintu ebirala bye tusobola okuyigira ku bigambo ebyo. (Soma 2 Timoseewo 3:16.) Mu kitundu kino tugenda kwekenneenya ebigambo ebiri mu lunyiriri olwo era ekyo kijja kutuyamba okukiraba nti ebintu byonna Yakuwa by’atuyigiriza bituufu.​—Zab. 119:128.

“KIGASA MU KUYIGIRIZA”

3-5. (a) Oluvannyuma lw’okuwulira ebyo Peetero bye yayogera ku Pentekooti, abantu bangi baakola ki, era lwaki? (b) Lwaki abantu bangi mu Sessaloniika bakkiriza amazima? (c) Kiki abantu kye beetegerezza ku Bajulirwa ba Yakuwa?

3 Yesu yagamba eggwanga lya Isiraeri nti: “Ntuma gye muli bannabbi, n’abasajja ab’amagezi, n’abayigiriza.” (Mat. 23:34) Yesu yali ayogera ku bayigirizwa be be yali ayigirizza okukozesa obulungi Ebyawandiikibwa nga babuulira. Ku Pentekooti mu mwaka gwa 33 E.E., omutume Peetero, omu ku ‘bayigiriza’ abo, bwe yali ayogera eri ekibiina ky’abantu abaali bakuŋŋaanidde mu Yerusaalemi, yajuliza ebyawandiikibwa ebitali bimu mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya. Oluvannyuma lw’okuwulira engeri Peetero gye yannyonnyolamu ebyawandiikibwa ebyo, abantu bangi ‘baalumwa mu mitima gyabwe’ era ne beenenya ebibi byabwe. Ku olwo, abantu ng’enkumi ssatu baafuuka Abakristaayo.​—Bik. 2:37-41.

4 Omutume Pawulo, omuyigiriza omulala, yabuulira amawulire amalungi mu bitundu bingi ebyali ewala okuva e Yerusaalemi. Ng’ekyokulabirako, bwe yali mu kibuga kya Makedoni eky’e Sessaloniika, omutume Pawulo yabuulira abantu abaali bagenze okusinza mu kkuŋŋaaniro. Pawulo yamala ssabbiiti ssatu ‘ng’akubaganya nabo ebirowoozo ku Byawandiikibwa, ng’annyonnyola era ng’awa obukakafu ng’akozesa obuwandiike okulaga nti Kristo yalina okubonaabona n’okuzuukizibwa mu bafu.’ Biki ebyavaamu? ‘Abamu ku Bayudaaya n’Abayonaani bangi baafuuka bakkiriza.’​—Bik. 17:1-4.

5 Ne leero abantu bangi bakirabye nti ebyo Abajulirwa ba Yakuwa bye bayigiriza babyesigamya ku Bayibuli. Mwannyinaffe omu ow’omu Switzerland bwe yamala okusomera omusajja omu ekyawandiikibwa, omusajja oyo yabuuza nti: “Muli ba ddiini ki?” Mwannyinaffe yamuddamu nti: “Tuli Bajulirwa ba Yakuwa.” Omusajja oyo yagamba nti: “Mbadde seetaaga na kubabuuza kibuuzo ekyo, kubanga ng’oggyeko Abajulirwa ba Yakuwa, bantu ki abalala abayinza okujja ewange okunsomera Bayibuli?”

6, 7. (a) Abo abayigiriza mu kibiina bayinza batya okukozesa obulungi Bayibuli? (b) Tuyinza tutya okukozesa obulungi Ebyawandiikibwa nga tuyigiriza abantu Bayibuli?

6 Tuyinza tutya okukozesa obulungi Bayibuli nga tuyigiriza? Bw’oba ng’olina enkizo ey’okuyigiriza mu kibiina, kozesa ebyawandiikibwa ebiggyayo obulungi ensonga gy’oba oyogerako. Mu kifo ky’okwogera obwogezi ku ebyo ebiri mu byawandiikibwa oba okubisomera ku mpapula kw’oba obiwandiise oba ku kompyuta oba ku ssimu, bikkula Bayibuli osome butereevu ebyawandiikibwa, era okubirize n’abawuliriza okukola kye kimu. Era yamba abawuliriza okulaba engeri gye bayinza okukolera ku ebyo ebiri mu byawandiikibwa by’oba osomye. Mu kifo ky’okukozesa ebyokulabirako ebizibu okutegeera n’ebyo ebisesa obusesa abantu, kozesa bulungi ebiseera by’olina okunnyonnyola Ekigambo kya Katonda.

7 Kiki kye tulina okujjukira nga tuyigiriza omuntu Bayibuli? Bwe tuba tuyigiriza omuntu Bayibuli nga tukozesa ebitabo byaffe, kikulu nnyo okusoma ebyawandiikibwa ebiba biweereddwa era ne tumuyamba okubitegeera obulungi. Era tusaanidde okukubiriza omuyizi wa Bayibuli okusoma ebyawandiikibwa byonna ebiba biweereddwa mu katabo ng’ategeka. Bwe tuba tumuyamba okutegeera ebyawandiikibwa tusaanidde okwewala okwogera ennyo. Mu kifo ky’ekyo, tusaanidde okumuwa akakisa okwogera ekyo ky’alowooza. Mu kifo ky’okumubuulira ebyo by’alina okukkiriza oba okumubuulira ekyo ky’asaanidde okukola, tusaanidde okukozesa ebibuuzo ebinaamuyamba okutegeera ekyo kyennyini Bayibuli ky’eyigiriza.b

“KIGASA . . . MU KUNENYA”

8. Lutalo ki Pawulo lwe yali alwana?

8 Abakadde mu kibiina balina obuvunaanyizibwa ‘okunenya’ oba okukangavvula abo ababa bakoze ebibi. (1 Tim. 5:20; Tit. 1:13) Naye naffe tusaanidde okubaako kye tukolawo okwetereeza. Pawulo yali Mukristaayo mwesigwa era yalina omuntu ow’omunda omuyonjo. (2 Tim. 1:3) Wadde kyali kityo, yalina olutalo lwe yalina okulwana. Yagamba nti: “Mu mubiri gwange ndaba etteeka eddala erirwanyisa etteeka ery’omu birowoozo byange, era linfuula omuddu w’etteeka ly’ekibi.” Kati ka tulabe ekyo Pawulo kye yalina okukola okusobola okulwanyisa obunafu bwe.​—Soma Abaruumi 7:21-25.

9, 10. (a) Bunafu ki Pawulo bw’ayinza okuba nga yalina? (b) Kiki ekiyinza okuba nga kyayamba Pawulo okulwanyisa obunafu bwe?

9 Bunafu ki Pawulo bwe yalina? Wadde nga teyayogera butereevu bunafu obwo, bwe yali awandiikira Timoseewo, Pawulo yagamba nti edda yali muntu “atawa balala kitiibwa.” (1 Tim. 1:13) Bwe yali tannafuuka Mukristaayo, Pawulo yayigganya nnyo Abakristaayo. Yagamba nti ‘yasunguwalira nnyo’ abagoberezi ba Kristo. (Bik. 26:11) Wadde nga Pawulo yayiga okufuga obusungu bwe, ebiseera ebimu yalemererwanga okubufuga. (Bik. 15:36-39) Naye kiki ekyayamba Pawulo okulwanyisa obunafu bwe?

10 Bwe yali awandiikira Abakristaayo abaali mu Kkolinso, Pawulo yalaga ekyo kye yakola okusobola okulwanyisa obunafu bwe. (Soma 1 Abakkolinso 9:26, 27.) Pawulo yafuba nnyo okulwanyisa obunafu bwe. Pawulo ateekwa okuba nga yanoonyanga obulagirizi mu Byawandiikibwa, n’asaba Yakuwa okumuyamba okubukolerako, era n’afuba okubukolerako.c Ekyokulabirako kya Pawulo kisobola okutuganyula okuva bwe kiri nti naffe tulina obunafu bwe twetaaga okulwanyisa.

11. Tuyinza tutya ‘okwekebera’ okulaba obanga tukyatambulira mu mazima?

11 Bulijjo tusaanidde okweyongera okulwanyisa obunafu bwaffe. Tulina ‘okwekeberanga’ buli kiseera tulabe obanga tukyatambulira mu mazima. (2 Kol. 13:5) Bwe tuba tusoma ebyawandiikibwa, gamba nga Abakkolosaayi 3:5-10, tuyinza okwebuuza: ‘Nfuba okulwanyisa okwegomba okubi oba kyandiba nti ntandise okwagala ebintu Yakuwa by’akyawa? Bwe mba nkozesa Intaneeti ne kujjako ebifaananyi eby’obugwenyufu, nfuba okubyewala oba ŋŋenda bugenzi mu maaso ne mbiraba?’ Bwe tufumiitiriza ku ngeri gye tuyinza okukolera ku magezi agali mu Kigambo kya Katonda, kijja kutuyamba okusigala “nga tutunula era nga tutegeera bulungi.”​—1 Bas. 5:6-8.

“KIGASA . . . MU KUTEREEZA EBINTU”

12, 13. (a) Ebigambo ‘okutereeza ebintu’ bitegeeza ki? (b) Bwe tuba twagala ‘okutereeza ebintu,’ kiki kye tusaanidde okwewala?

12 Bayibuli bw’eyogera ku “kutereeza ebintu” eba etegeeza okugolola ebintu, oba okubizza mu mbeera mwe birina okubeera. Ebiseera ebimu kiyinza okutwetaagisa okutereeza ebintu, bwe wabaawo omuntu aba atutegedde obubi. Ng’ekyokulabirako, abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya tebaasanyuka bwe baalaba nga Yesu alaga ekisa ‘abasolooza b’omusolo n’aboonoonyi.’ Yesu yabagamba nti: “Abalamu tebeetaaga musawo, wabula abalwadde be bamwetaaga. Kale nno, mugende mutegeere amakulu g’ebigambo bino, ‘Njagala busaasizi so si ssaddaaka.’” (Mat. 9:11-13) Yesu yabanga mugumiikiriza era wa kisa ng’ayigiriza abantu ebikwata ku Katonda. Bwe kityo, abantu abawombeefu baakitegeera nti Yakuwa ye “Katonda ajjudde okusaasira era ow’ekisa, alwawo okusunguwala, era alina okusaasira okungi n’amazima amangi.” (Kuv. 34:6) N’ekyavaamu, abantu bangi bakkiriza amawulire amalungi.

13 Ekyokulabirako Yesu kye yateekawo kituyamba okulaba engeri gye tusaanidde okuyambamu abalala. Ebigambo ebiri mu 2 Timoseewo 3:16 tebitegeeza nti tulina kwogera mu ngeri ya bukambwe okusobola okutereeza ebintu. Mu butuufu, Ebyawandiikibwa tebituwa bbeetu kwogera bubi na balala. Bwe twogera obubi n’abalala, ebigambo byaffe biba ‘ng’okufumita kw’ekitala.’ Biyinza okubaleetera okuwulira obubi era ebiseera ebisinga tekivaamu kalungi konna.​—Nge. 12:18.

14-16. (a) Abakadde bayinza batya okukozesa Ebyawandiikibwa nga bayamba abo abalina ebizibu? (b) Lwaki abazadde basaanidde okukozesa Ebyawandiikibwa nga bayamba ab’omu maka gaabwe?

14 Tuyinza tutya okwoleka obugumiikiriza n’ekisa nga tukozesa Bayibuli okuyamba abalala? Lowooza ku mwami n’omukyala abatera okuyombayomba. Basaba omukadde abayambe okugonjoola ekizibu kyabwe. Kiki omukadde ky’ayinza okukola? Nga talina kyekubiira, akubaganya nabo ebirowoozo ku misingi gya Bayibuli, oboolyawo ng’akozesa essuula 3 ey’akatabo Ekyama Ky’Okufuna Essanyu mu Maka. Omukadde bw’agenda akubaganya nabo ebirowoozo ku misingi egyo, omwami ne mukyala we bayinza okukiraba nti waliwo enkyukakyuka ze beetaga okukola mu bulamu bwabwe. Nga wayiseewo ekiseera, omukadde addamu n’abuuza omwami oyo ne mukyala we obanga embeera yaabwe egenze erongooka, era ayinza n’okwongera okubawa obuyambi obulala bwe kiba nga kyetaagisa.

15 Abazadde bayinza batya okuyamba abaana baabwe? Ka tugambe nti oyagala kuyamba muwala wo avubuse alina omuntu gw’atandise okufuula mukwano gwe, kyokka ng’olowooza nti omuntu oyo ayinza okumwonoona. Okusookera ddala, oba weetaaga okumanya ebisingawo ebikwata ku muntu oyo. Bw’okiraba nti omuntu oyo ayinza okuba ow’omukwano omubi, osobola okwogerako ne muwala wo, oboolyawo ng’okozesa ebyo ebiri mu katabo Questions Young People Ask​—Answers That Work, Omuzingo 2. Kiyinza okukwetaagisa okutandika okumala ne muwala wo ebiseera ebisingako ku ebyo by’obadde omala naye. Era kikulu n’okufaayo ku ngeri gye yeeyisaamu nga muli mu buweereza bw’ennimiro oba nga mwesanyusaamu ng’amaka. Singa oyoleka obugumiikiriza n’ekisa, muwala wo ajja kukiraba nti omwagala era omufaako. Ekyo kijja kumukubiriza okukolera ku magezi g’omuwa kimuyambe okusalawo obulungi.

Abazadde bwe booleka ekisa era ne bakozesa Bayibuli nga bayamba abaana baabwe, basobola okubayamba okwewala ebizibu bingi (Laba akatundu 15)

16 Ate era bwe tuba abagumiikiriza era ab’ekisa, tusobola okuyamba abo abalina obulwadde obw’amaanyi, abo abaweddemu amaanyi olw’okufiirwa emirimu gyabwe, oba abo abakaluubirirwa okutegeera enjigiriza za Bayibuli ezimu. Bwe tukozesa Ekigambo kya Katonda ‘okutereeza ebintu’ kivaamu emiganyulo mingi.

“KIGASA . . . MU KUKANGAVVULA MU BUTUUKIRIVU”

17. Lwaki tusaanidde okukkiriza okukangavvulwa?

17 “Okukangavvula kwonna okw’omu kiseera kino tekulabika nga kwa ssanyu, wabula kwa nnaku; naye oluvannyuma abo abatendekeddwa okukangavvula okwo, babala ekibala eky’emirembe, kwe kugamba, obutuukirivu.” (Beb. 12:11) Abakristaayo bangi abakulidde mu mazima bagamba nti okuba nti bazadde baabwe baabakangavvulanga, kyabayamba nnyo. Ate era bwe tukkiriza okukangavvula Yakuwa kw’atuwa okuyitira mu bakadde, kituyamba okusigala mu kkubo ery’obulamu.​—Nge. 4:13.

18, 19. (a) Lwaki abakadde basaanidde okukolera ku magezi agali mu Engero 18:13 nga bakangavvula abalala? (b) Abakadde bwe baba abakkakkamu era ne booleka ekisa nga bayamba omwonoonyi, kiki ekiyinza okuvaamu?

18 Yakuwa akubiriza Abakristaayo okukangavvula abalala “mu butuukirivu.” (2 Tim. 3:16) N’olwekyo, bwe tuba tukangavvula abalala, tusaanidde okukozesa emisingi egiri mu Bayibuli. Ogumu ku misingi egyo gwegwo oguli mu Engero 18:13, awagamba nti: “Addamu nga tannawulira, busirusiru n’ensonyi gy’ali.” N’olwekyo, singa omuntu agamba abakadde nti waliwo ow’oluganda akoze ekibi eky’amaanyi, abakadde baba beetaaga okusooka okunoonyereza ekimala nga tebannakangavvula wa luganda oyo. (Ma. 13:14) Bwe bakola bwe batyo, baba basobola okukangavvula ow’oluganda oyo “mu butuukirivu.”

19 Ate era Ekigambo kya Katonda kikubiriza abakadde okuba ‘abakkakkamu’ nga batereeza abalala. (Soma 2 Timoseewo 2:24-26.) Kyo kituufu nti ekintu omuntu ky’aba akoze kiyinza okuba nga kireese ekivume ku linnya lya Yakuwa oba nga kirumizza abantu abalala. Wadde kiri kityo, singa abakadde banenya omuntu oyo mu bukambwe, baba tebasobola kumuyamba. Naye singa abakadde booleka ekisa nga Yakuwa, bayinza okuleetera omwonoonyi okwenenya.​—Bar. 2:4.

20. Misingi ki abazadde gye basaanidde okukolerako nga bakangavvula abaana baabwe?

20 Abazadde nabo beetaaga okukolera ku misingi gya Bayibuli bwe baba ab’okukuza abaana baabwe ‘mu kukangavvula kwa Yakuwa era bwe baba ab’okubateekamu endowooza ye.’ (Bef. 6:4) Ng’ekyokulabirako, singa wabaawo omuntu agamba taata nti mutabani we alina ekintu ekibi ky’akoze, taata aba alina okusooka okufuna obukakafu obumala nga tannabonereza mutabani we. Ate era abazadde Abakristaayo basaanidde okwewala okukangavvula abaana baabwe mu ngeri ey’obukambwe. ‘Yakuwa alina okwagala kungi era musaasizi.’ Abazadde basaanidde okumukoppa nga bakangavvula abaana baabwe.​—Yak. 5:11.

EKIRABO EKY’OMUWENDO KATONDA KYE YATUWA

21, 22. Bigambo ki ebiri mu Zabbuli 119:97-104, ebiraga engeri gy’otwalamu Ekigambo kya Yakuwa?

21 Omuweereza wa Katonda omu yalaga ensonga lwaki yali ayagala nnyo amateeka ga Yakuwa. (Soma Zabbuli 119:97-104.) Okusoma amateeka ga Katonda kyamuyamba okufuna amagezi, okutegeera, n’okumanya. Okukwata amateeka ago kyamuyamba okwewala okukwata amakubo amabi. Okusoma Ebyawandiikibwa kyamuleeteranga essanyu lingi. Yali mumalirivu okweyongera okukwata amateeka ga Katonda obulamu bwe bwonna kubanga yali akirabye nti gaali gamuyambye nnyo.

22 Naawe ‘Ebyawandiikibwa’ obitwala nga bya muwendo nnyo? Ebyawandiikibwa bisobola okukuyamba okunyweza okukkiriza kwo. Amagezi agali mu Bayibuli gasobola okukuyamba okwewala okukola ekibi. Ate era osobola okukozesa Bayibuli okuyamba abalala okutandika okutambulira mu kkubo ery’obulamu n’okulisigalamu. N’olwekyo, ka ffenna tweyongere okukozesa obulungi Ebyawandiikibwa nga tuweereza Yakuwa, Katonda waffe ow’okwagala era ow’amagezi.

a Laba akatabo Organized to Do Jehovah’s Will, olupapula 79.

b Bwe yabanga ayigiriza, Yesu yateranga okubuuza abantu nti: “Mulowooza mutya?” era n’abaleka okubaako kye baddamu.​—Mat. 18:12; 21:28.

c Mu bbaluwa Pawulo ze yawandiika, yakubiriza Abakristaayo okulwanyisa okwegomba kw’omubiri. (Bar. 6:12; Bag. 5:16-18) Pawulo ateekwa okuba nga naye yakoleranga ku magezi ge yawanga abalala.​—Bar. 2:21.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share