Ganyulwa mu Bujjuvu mu Kusoma Bayibuli
“Mazima ddala nsanyukira etteeka lya Katonda.”—BAR. 7:22.
1-3. Miganyulo ki abo abasoma Bayibuli era ne bakolera ku ebyo bye bayiga gye bafuna?
MWANNYINAFFE omu nnamukadde yagamba nti “Nneebaza Yakuwa buli lunaku olw’okunnyamba okutegeera Bayibuli.” Wadde nga mwannyinaffe oyo asomye Bayibuli n’agimalako emirungi egisukka mu 40, akyeyongera okugisoma. Mwannyinaffe omulala omuto yagamba nti okusoma Bayibuli kimuyambye okukiraba nti Yakuwa muntu wa ddala. Era ekyo kimuyambye okuba n’enkolagana ey’oku lusegere naye n’okufuna essanyu!
2 Omutume Peetero yakubiriza abantu bonna ‘okwegombanga amata amalongoofu ag’ekigambo kya Katonda.’ (1 Peet. 2:2) Abo abasoma Bayibuli era ne bakolera ku ebyo bye bayiga baba n’omuntu ow’omunda omuyonjo era baba n’ekigendererwa mu bulamu. Baba n’enkolagana ennungi n’abo abaagala Katonda ow’amazima era abamuweereza. Ebyo byonna bibaleetera ‘okusanyukira etteeka lya Katonda.’ (Bar. 7:22) Kyokka waliwo n’emiganyulo emirala mingi abo abasoma Bayibuli gye bafuna. Egimu ku gyo gye giruwa?
3 Gy’okoma okuyiga ebikwata ku Yakuwa n’Omwana we, gy’okoma okubaagala n’okwagala bantu banno. Bw’osoma Bayibuli osobola okutegeera engeri Katonda gy’ajja okuwonyaawo abantu abalungi bw’anaaba azikiriza enteekateeka eno ey’ebintu. Ate era bw’osoma Bayibuli, oba n’amawulire amalungi g’osobola okubuulirako abalala. Yakuwa ajja kukuwa emikisa singa obuulira abalala ku bintu ebirungi by’oyize ng’osoma Ekigambo kye.
SOMA ERA OFUMIITIRIZE
4. Ebigambo ebiri mu Yoswa 1:8 bitegeeza ki?
4 Yakuwa tayagala baweereza be basome Kigambo kye nga bapapa. Yagamba Yoswa nti: “Ekitabo kino eky’amateeka tekivanga mu kamwa ko, era onookisomanga n’okifumiitirizaako emisana n’ekiro.” (Yos. 1:8, NW; Zab. 1:2) Ebigambo ebyo bitegeeza nti bw’oba osoma Bayibuli, osaanidde okugisomera ku sipiidi ekusobozesa okufumiitiriza ku ebyo by’oba osoma. Bw’osoma nga bw’ofumiitiriza, osobola okulaba ennyiriri mw’oyinza okuggya eby’okuyiga ebinaakuyamba mu bulamu bwo. Ennyiriri ng’ezo kiba kirungi n’ozisoma mpolampola, oboolyawo n’ozisoma nga bw’oyatula n’ebigambo ebizirimu. Bw’onookola bw’otyo, ebyo by’osoma bijja kukutuuka ku mutima. Lwaki ekyo kikulu? Kikulu kubanga bw’otegeera obulungi ebyo by’osoma kiba kyangu okubikolerako.
5-7. Waayo ekyokulabirako ekiraga nti okusoma Ekigambo kya Katonda era n’okifumiitirizaako kisobola okukuyamba (a) okusigala ng’oli muyonjo mu maaso ga Katonda; (b) okuba ow’ekisa eri abalala; (c) okwesiga Yakuwa ne mu biseera ebizibu.
5 Bwe tuba tusoma ebitabo bya Bayibuli ebituzibuwalira okutegeera, tuba twetaaga okubisoma empolampola. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku w’oluganda omuto asoma ebyo ebiri mu bunnabbi bwa Koseya. Oluvannyuma lw’okusoma Koseya essuula 4 olunyiriri 11 okutuuka ku lunyiriri 13 asiriikiriramu n’afumiitiriza. (Soma Koseya 4:11-13.) Lwaki asiriikiriramu n’afumiitiriza ku nnyiriri ezo? Ennyiriri ezo zimukwatako nnyo kubanga bw’abeera ku ssomero awulira ng’akemebwa okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu. Kyokka bw’afumiitiriza ku nnyiriri ezo, akiraba nti Yakuwa alaba ebintu ebibi abantu bye bakola ne bwe baba nga babikola mu nkukutu. Olw’okuba tayagala kunyiiza Yakuwa, ow’oluganda oyo amalirira mu mutima gwe okusigala nga muyonjo mu maaso ga Yakuwa.
6 Kati ate lowooza ku mwannyinaffe asoma obunnabbi obuli mu Yoweeri n’atuuka ku Yoweeri essuula 2, olunyiriri 13. (Soma Yoweeri 2:13.) Bw’aba asoma olunyiriri olwo, afumiitiriza ku ngeri gy’ayinza okukoppamu Yakuwa, Katonda ‘ow’ekisa, ajjudde okusaasira, era alwawo okusunguwala.’ Akiraba nti ebiseera ebimu ayogera bubi n’omwami we awamu n’abantu abalala era asalawo okukyusaamu.
7 Kati ate lowooza ku w’oluganda, afiiriddwa omulimu gwe era nga yeeraliikirira engeri gy’ayinza okuyimirizaawo ab’omu maka ge. Asoma Nakkumu 1:7, awagamba nti Yakuwa “amanyi abo abamwesiga” era abakuuma ‘ku lunaku olw’okulabiramu ennaku.’ Bw’afumiitiriza ku lunyiriri olwo, addamu amaanyi. Akiraba nti Yakuwa afaayo ku bantu be era n’alekera awo okweraliikirira ennyo. Asoma n’olunyiriri 15 era n’alufumiitirizaako. (Soma Nakkumu 1:15.) Ow’oluganda oyo akiraba nti singa yeeyongera okubuulira ne mu biseera ebizibu, aba akiraga nti yeesiga Yakuwa. Ng’eno bw’anoonya omulimu, ow’oluganda oyo asalawo okutandika okuwagira enteekateeka z’okubuulira ezibaawo wakati mu wiiki.
8. Mu bufunze, yogera ku kintu kye wasoma mu Bayibuli ekyakuzzaamu amaanyi.
8 Amagezi ago amalungi ge tulabye gasangibwa mu bitabo abamu bye balowooza nti bizibu okutegeera. Bw’osoma ekitabo kya Koseya, Yoweeri, ne Nakkumu era n’ofumiitiriza ku by’osoma, ojja kukiraba nti mulimu n’ennyiriri endala ezisobola okukuganyula ennyo. Mu bitabo ebyo mulimu amagezi amalungi mangi era ebirimu bisobola okutubudaabuda. Ate kiri kitya ku bitabo bya Bayibuli ebirala? Nabyo birimu amagezi agasobola okutuganyula. Ekigambo kya Katonda kiyinza okugeraageranyizibwa ku kirombe kya zzaabu. Bw’oba osoma Ekigambo kya Katonda gezaako okunoonya “zzaabu,” kwe kugamba, amagezi agakirimu.
FUBA OKUTEGEERA EBYO BY’OSOMA
9. Kiki kye tuyinza okukola okusobola okwongera okutegeera Bayibuli?
9 Kyo kituufu nti kikulu nnyo okusoma Bayibuli buli lunaku, naye osaanidde okukakasa nti otegeera ebyo by’osoma. Ebitabo ebikubibwa omuddu omwesigwa bisobola okukuyamba okumanya ebikwata ku bantu, ebifo, n’ebintu ebitali bimu by’oba osomye mu Bayibuli. Ate bwe kiba nti waliwo ekintu ky’oba osomye mu Bayibuli naye nga tolaba ngeri gye kikuyambamu, saba abakadde oba Abakristaayo abakuze mu by’omwoyo bakuyambe. Okusobola okulaba ensonga lwaki tusaanidde okwongera okutegeera Ekigambo kya Katonda, ka tulabe ebikwata ku Apolo, Omukristaayo eyaliwo mu kyasa ekyasooka.
10, 11. (a) Apolo yayambibwa atya okulongoosa mu ngeri gye yali ayigirizaamu? (b) Ebyo bye tusoma ku Apolo bituyigiriza ki? (Laba akasanduuko “By’Oyigiriza Bituukana n’Ekitangaala Ekigenze Kyeyongerayongera?”)
10 Apolo yali Mukristaayo Omuyudaaya, ‘eyali amanyi obulungi Ebyawandiikibwa’ era “ng’ayaka n’omwoyo.” Ekitabo ky’Ebikolwa by’Abatume kigamba nti yali “abuulira era ng’ayigiriza ebintu ebituufu ebikwata ku Yesu, naye ng’amanyi kubatiza kwa Yokaana kwokka.” Apolo yali tamanyi nti Yesu yali ayigirizza abayigirizwa be ekintu ekipya ekikwata ku kubatizibwa. Oluvannyuma lw’okumuwulira ng’ayigiriza mu Efeso, Akula ne mukyala we Pulisikira ‘baamunnyonnyola bulungi ekkubo lya Katonda.’ (Bik. 18:24-26) Ekyo kyaganyula kitya Apolo?
11 Bwe yamala okubuulira mu Efeso, Apolo yagenda mu Akaya. “Bwe yatuukayo, [y]ayamba nnyo abo abaali bafuuse abakkiriza olw’ekisa kya Katonda eky’ensusso; yakiraga mu lujjudde nti Abayudaaya bakyamu ng’akozesa Ebyawandiikibwa okulaga nti Yesu ye Kristo.” (Bik. 18:27, 28) Mu kiseera ekyo, Apolo yali asobola bulungi okunnyonnyola ebikwata ku kubatizibwa kw’Ekikristaayo. Ekyo kyamusobozesa ‘okuyamba’ abapya okukulaakulana. Ekyo kituyigiriza ki? Okufaananako Apolo, naffe tusaanidde okufuba okutegeera ebyo bye tusoma mu Bayibuli. Ate era mukkiriza munnaffe bw’atulaga wa we twetaaga okulongoosa mu ngeri gye tuyigirizaamu, tusaanidde okuba abawombeefu ne tukolera ku ebyo by’aba atugambye. Ekyo kijja kutuyamba okulongoosa mu ngeri gye tuyigirizaamu.
KOZESA EBYO BY’OYIGA OKUYAMBA ABALALA
12, 13. Waayo ekyokulabirako ekiraga engeri gy’oyinza okukozesa obulungi ebyawandiikibwa okuyamba omuyizi wa Bayibuli okukulaakulana?
12 Okufaananako Pulisikira, Akula, ne Apolo, naffe tusobola okuyamba abalala. Bw’oyamba omuyizi wa Bayibuli okuvvuunuka ekizibu ekimulemesa okukulaakulana, owulira otya? Oba bwe kiba nti oli mukadde, owulira otya mukkiriza munno bw’akwebaza olw’amagezi ge wamuwa okuva mu Byawandiikibwa agaamuyamba okuyita mu mbeera enzibu? Kya lwatu nti bw’okozesa Ekigambo kya Katonda okuyamba abalala okukola enkyukakyuka mu bulamu bwabwe, kikuleetera essanyu lingi.a Ekyo oyinza kukikola otya?
13 Mu kiseera kya Eriya, Abaisiraeri bangi baali balemereddwa okusalawo okuweereza Yakuwa. Ebyo Eriya bye yabagamba bisobola okuyamba omuyizi wa Bayibuli akyalemereddwa okusalawo okuweereza Yakuwa. (Soma 1 Bassekabaka 18:21.) Ate watya singa omuntu atya okuyiga Bayibuli ng’alowooza nti mikwano gye oba ab’eŋŋanda ze bajja kumunyiigira. Osobola okuyamba omuntu ng’oyo okusalawo okusinza Yakuwa ng’okubaganya naye ebirowoozo ku Isaaya 51:12, 13.—Soma.
14. Kiki ekinaakuyamba okujjukira ebyawandiikibwa by’osobola okukozesa okuyamba abalala?
14 Mu Bayibuli mulimu ebyawandiikibwa bingi ebisobola okutuzzaamu amaanyi, okututereeza, n’okunyweza okukkiriza kwaffe. Naye oyinza okuba nga weebuuza, ‘Nnyinza ntya okumanya ebyawandiikibwa ebisobola okunnyamba mu mbeera ezitali zimu?’ Soma Bayibuli buli lunaku era ofumiitirize ku ebyo by’osoma. Bw’onookola bw’otyo, ojja kumanya ebyawandiikibwa bingi era Yakuwa ajja kukozesa omwoyo gwe omutukuvu okukuyamba okujjukira ebyawandiikibwa ebyo buli w’onooba obyetaagira.—Mak. 13:11; soma Yokaana 14:26.b
15. Kiki ekinaakuyamba okwongera okutegeera Ekigambo kya Katonda?
15 Okufaananako Kabaka Sulemaani, saba Yakuwa akuwe amagezi. Ekyo kijja kukuyamba okutuukiriza obulungi obuvunaanyizibwa Katonda bw’akuwadde. (2 Byom. 1:7-10) Era okufaananako bannabbi abaaliwo mu biseera by’edda, ‘fuba okunoonyereza n’obwegendereza’ mu Kigambo kya Katonda osobole okufuna okumanya okutuufu okukwata ku Yakuwa n’ekigendererwa kye. (1 Peet. 1:10-12) Omutume Pawulo yakubiriza Timoseewo okweriisa “ebigambo eby’okukkiriza n’eby’okuyigiriza okulungi.” (1 Tim. 4:6) Bw’oneeyongera okusoma Ekigambo kya Katonda, ojja kusobola okuyamba abalala mu by’omwoyo era ojja kunyweza okukkiriza kwo.
OKUSOMA EKIGAMBO KYA KATONDA KITUKUUMA
16. (a) ‘Okwekenneenyanga n’obwegendereza Ebyawandiikibwa buli lunaku’ kyayamba kitya ab’e Beroya? (b) Lwaki kikulu nnyo okusoma Bayibuli buli lunaku?
16 Abayudaaya abaali babeera mu Kibuga ky’e Makedoni ekiyitibwa Beroya ‘beekenneenyanga n’obwegendereza Ebyawandiikibwa buli lunaku.’ Pawulo bwe yababuulira amawulire amalungi, baageraageranyanga ebyo bye yali abayigiriza n’ebyo ebiri mu Byawandiikibwa. N’ekyavaamu, bangi ku bo baakiraba nti ebyo bye yali abayigiriza byali bituufu era “ne bafuuka bakkiriza.” (Bik. 17:10-12) Ekyo kiraga nti okusoma Bayibuli buli lunaku kituyamba okuba n’okukkiriza okw’amaanyi. Okukkiriza okw’amaanyi kujja kutuyamba okuwonawo tuyingire mu nsi ya Katonda empya.—Beb. 11:1.
17, 18. (a) Okukkiriza okw’amaanyi n’okwagala biyinza bitya okukuuma omutima gw’Omukristaayo ogw’akabonero? (b) Essuubi litukuuma litya?
17 Omutume Pawulo yagamba nti: “Ffe ab’emisana, ka tusigale nga tutegeera bulungi, nga twambadde eky’omu kifuba eky’okukkiriza n’okwagala, era essuubi ery’obulokozi litubeerere nga sseppeewo.” (1 Bas. 5:8) Mu biseera by’edda, abasirikale baalinanga okwambala eky’omu kifuba okusobola okukuuma omutima gwabwe abalabe baleme kugutuusaako kabi. Mu ngeri y’emu, Abakristaayo balina okukuuma omutima gwabwe ogw’akabonero guleme kwonoonebwa. Omukristaayo bw’aba n’okukkiriza okw’amaanyi mu bisuubizo bya Katonda era ng’ayagala nnyo Yakuwa ne bantu banne, ekyo kimuyamba okukuuma omutima gwe ogw’akabonero. Omukristaayo ng’oyo akola kyonna ekisoboka okulaba nti asigala ng’asiimibwa mu maaso ga Katonda.
18 Pawulo era yalaga nti tulina okwambala sseppeewo, nga lino lye ‘ssuubi ery’obulokozi.’ Mu biseera by’edda, omusirikale bwe yabanga agenda mu lutalo, yayambalanga sseppeewo okusobola okukuuma omutwe gwe obutatuusibwako kabi. Mu ngeri y’emu, essuubi lyaffe lisobola okukuuma ebirowoozo byaffe. Okusobola okuba n’essuubi erinywevu twetaaga okusoma Ekigambo kya Katonda. Bwe tuba n’essuubi erinywevu kisobola okutuyamba okuziyiza bakyewaggula awamu ‘n’ebigambo byabwe ebitaliimu nsa.’ (2 Tim. 2:16-19) Era essuubi lyaffe lijja kutuyamba okwewala okukola ebintu Yakuwa by’akyawa.
OKUSOMA BAYIBULI KIJJA KUTUYAMBA OKUWONAWO
19, 20. Lwaki Ekigambo kya Katonda tusaanidde okukitwala nga kya muwendo nnyo? (Laba akasanduuko “Yakuwa Ampa Ekyo Kyennyini Kye Nneetaaga.”)
19 Okuva bwe kiri nti enkomerero enaatera okutuuka, twetaaga nnyo obulagirizi obuli mu Kigambo kya Yakuwa. Obulagirizi obwo butuyamba okulwanyisa okwegomba okubi n’okulekayo emize emibi. Ekigambo kya Katonda kijja kutuyamba okugumira ebizibu byonna bye tuyinza okwolekagana nabyo ebiva eri Sitaani n’ensi ye. Obulagirizi Yakuwa bw’atuwa okuyitira mu Kigambo kye, bujja kutuyamba okweyongera okutambulira mu kkubo ery’obulamu.
20 Kijjukire nti Katonda ayagala “abantu aba buli ngeri okulokolebwa.” Mu ‘bantu aba buli ngeri’ mwe muli abaweereza ba Yakuwa awamu n’abantu be bayinza okuyamba okuyitira mu mulimu gwabwe ogw’okubuulira n’okuyigiriza. Kyokka abo bonna abaagala okulokolebwa, balina ‘okutegeerera ddala amazima.’ (1 Tim. 2:4) N’olwekyo, okusobola okuwonawo mu nnaku zino ez’oluvannyuma, tulina okusoma Bayibuli buli lunaku n’okukolera ku ebyo bye tusoma. Bwe tunaakola bwe tutyo, kijja kulaga nti Ekigambo kya Yakuwa eky’amazima tukitwala nga kya muwendo nnyo.—Yok. 17:17.
a Tetusaanidde kukozesa Bayibuli kusalira balala musango oba kubawaliriza kukola nkyukakyuka mu bulamu bwabwe. Mu kifo ky’ekyo, tusaanidde okukoppa Yakuwa nga tuba bagumiikiriza era ba kisa eri abayizi baffe aba Bayibuli.—Zab. 103:8.
b Watya singa ojjukira ebimu ku bigambo ebiri mu kyawandiikibwa naye nga tomanyi wa we kisangibwa mu Bayibuli? Osobola okuzuula ekyawandiikibwa ekyo ng’okozesa Watchtower Library, concordance eya New World Translation, oba olukalala lw’ebigambo ebiri mu Bayibuli.