Beewaayo Kyeyagalire mu Mexico
KITUZZAAMU nnyo amaanyi okulaba ng’abavubuka bangi Abajulirwa ba Yakuwa balina ebintu bingi bye beerekerezza okusobola okugaziya ku buweereza bwabwe. (Mat. 6:22) Nkyukakyuka ki ze bakoze? Buzibu ki bwe boolekagana nabwo? Okusobola okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo, ka tulabe ebikwata ku bavubuka abaweerereza mu Mexico.
“TWALINA OKUKOLA ENKYUKAKYUKA”
Dustin ne Jassa
Dustin ne Jassa abaava mu Amerika baafumbiriganwa mu Jjanwali 2007. Nga wayise akaseera katono, baatuuka ku kirooto kyabwe. Baasobola okugula eryato, era mu lyato eryo mwe baasulanga. Eryato lyabwe eryo baalisimbanga ku mwalo gw’e Astoria, Oregon, Amerika, oguli ku Nnyanja Pacific. Omwalo ogwo gwetoolooddwa ensozi okuli ebibira n’omuzira. Dustin agamba nti: “Ekifo ekyo kyali kirabika bulungi nnyo!” Dustin ne Jassa baali balowooza nti baali tebeejalabya, era nti baali beemalidde ku Yakuwa okuva bwe kiri nti baali basula mu lyato lya ffuuti 26 zokka, nga bakola emirimu egitali gya kiseera kyonna, nga bakuŋŋaanira mu kibiina eky’olulimi olugwira, era ng’oluusi baweerezaako nga bapayoniya abawagizi. Kyokka oluvannyuma baakiraba nti baali beerimbalimba. Dustin agamba nti: “Mu kifo ky’okuwagira ekibiina mwe twali, ebiseera byaffe ebisinga obungi twali tubimala tuddaabiriza lyato lyaffe. Twakiraba nti bwe tuba ab’okukulembeza Yakuwa by’ayagala, twali tulina okukola enkyukakyuka mu bulamu bwaffe.”
Jassa agamba nti: “Bwe nnali sinnafumbirwa, nnali mbeera mu Mexico, era nnali nkuŋŋaanira mu kibiina eky’Olungereza. Nnanyumirwanga nnyo okuweereza mu Mexico, era nnali njagala okuddayo.” Olw’okuba Dustin ne Jassa baali balowooza ku ky’okugenda okuweereza mu bitundu awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako, mu kusinza kwabwe okw’amaka, baasalawo okusoma ku b’oluganda abatali bamu abaagenda okuweereza mu bitundu ng’ebyo. (Yok. 4:35) Dustin agamba nti: “Naffe twali twagala okufuna ku ssanyu ab’oluganda abo lye bafuna.” Mikwano gyabwe bwe baabategeeza nti mu Mexico waaliwo ekibiina ekyali kyakatandikibwawo era nti mu kibiina ekyo mwalimu obwetaavu, Dustin ne Jassa baasalawo okugenda okuweereza mu kibiina ekyo. Baaleka emirimu gyabwe, ne batunda eryato lyabwe, era ne bagenda e Mexico.
‘EKINTU EKIRUNGI ENNYO KYE TWAKOLA’
Dustin ne Jassa baatandika okubeera mu kibuga Tecomán, ekisangibwa mayiro 2,700 mu bukiikaddyo bwa Astoria era nga nakyo kiri kumpi n’Ennyanja Pacific. Dustin agamba nti: “Obutafaananako kifo gye twali awaali akawewo akalungi n’ensozi ezirabika obulungi, kati gye tuli eriyo ebbugumu lingi era n’emiti gy’enniimu mingi.” Mu kusooka emirimu gyababula. Olw’okuba baali tebakyalina ssente zimala, buli lunaku, eky’emisana n’ekyeggulo, baalyanga muceere na bijanjaalo. Jassa agamba nti: “Embeera bwe yeeyongera okukaluba, abayizi baffe aba Bayibuli baatandika okutuwa emiyembe, amenvu, amapaapaali, awamu n’enniimu!” Oluvannyuma lw’ekiseera, Dustin ne Jassa baafuna omulimu mu ssomero erisomeseza abantu ennimi ku Intaneeti. Ssente ze bafuna mu mulimu gwabwe ogwo zibamala okweyimirizaawo.
Dustin ne Jassa bawulira batya olw’ekyo kye baasalawo okukola? Bagamba nti: “Ekyo kye kimu ku bintu ebirungi ennyo bye twali tukoze. Kati enkolagana yaffe ne Yakuwa era n’enkolagana gye tulina mu maka yeeyongedde okunywera. Buli lunaku tukolera wamu ebintu bingi. Tugendera wamu okubuulira, twogera ku ngeri gye tuyinza okuyambamu abayizi baffe aba Bayibuli, era tutegekera wamu enkuŋŋaana. Ebintu ebyatweraliikirizanga edda kati tebikyatweraliikiriza. Mu butuufu, tulabye obutuufu bw’ebigambo ebiri mu Zabbuli 34:8, awagamba nti: ‘Mulegeeko mutegeere nga Yakuwa mulungi.’”
LWAKI AB’OLUGANDA BANGI BAASALAWO OKWEWAAYO KYEYAGALIRE?
Baganda baffe ne bannyinaffe abasukka mu 2,900, abafumbo n’abatali bafumbo, era nga bangi ku bo bali wakati w’emyaka 20 ne 40, baasalawo okugenda okuweereza mu bitundu bya Mexico ebitali bimu awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako. Lwaki ab’oluganda abo baasalawo okugenda okubuulira mu bitundu ebyo? Bangi ku bo bwe baabuuzibwa ekibuuzo ekyo, baawa ensonga enkulu ssatu. Ensonga ezo ze ziruwa?
Leticia ne Hermilo
Okwagala kwe balina eri Yakuwa n’eri bantu bannaabwe. Leticia yabatizibwa nga wa myaka 18. Agamba nti: “Bwe nnamala okwewaayo eri Yakuwa, nnakimanya nti nnalina okumuweereza n’omutima gwange gwonna n’obulamu bwange bwonna. N’olwekyo, okusobola okulaga nti njagala Yakuwa n’omutima gwange gwonna, nnasalawo okwongera ku biseera bye nnali mmala mu buweereza bwange.” (Mak. 12:30) Hermilo, eyawasa Leticia, yali mu myaka 20 we yagendera okuweereza mu kitundu awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako. Agamba nti: “Nnakiraba nti okuyamba abantu okuyiga ebikwata ku Katonda ye ngeri esingayo obulungi gye nnali nsobola okulaga nti njagala bantu bannange.” (Mak. 12:31) Hermilo yali abeera mu kibuga Monterrey, ng’akola mu bbanka, era ng’afuna ssente eziwera. Naye yasalawo okuva mu kibuga ekyo n’asengukira mu kabuga akatono.
Essly
Okusobola okufuna essanyu erya nnamaddala. Nga wayise ekiseera kitono oluvannyuma lw’okubatizibwa, Leticia yawerekerako mwannyinaffe omu aweereza nga payoniya ng’agenda okubuulira mu kitundu ekyesudde. Baamala omwezi mulamba nga babuulira mu kitundu ekyo. Leticia agamba nti: “Okulaba engeri abantu gye baakwatibwangako nga bawulidde obubaka bwaffe kyansanyusa nnyo. Omwezi ogwo bwe gwagwako, nnawulira nga njagala obulamu bwange bwonna mbumale nga nnyamba abantu okuyiga ebikwata ku Katonda.” Essly, mwannyinaffe ali obwannamunigina era ali mu myaka 20, naye okwagala okufuna essanyu erya nnamaddala kye kyamuleetera okwagala okuweereza awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako. Bwe yali akyasoma, mwannyinaffe oyo yeetegerezanga nnyo Abajulirwa abaali baweereza mu bitundu awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako. Agamba nti, “Okulaba essanyu ab’oluganda abo lye baalina kyandeetera okwagala okubeera nga bo.” Waliwo ne bannyinaffe abalala bangi abasazeewo okukola nga Essly. Mu butuufu, mu Mexico waliyo bannyinnaffe abali obwannamunigina abasukka mu 680 abaweereza awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako. Bannyinnaffe abo bataddewo ekyokulabirako ekirungi eri abakulu n’abato!
Okuba n’obulamu obw’amakulu era obumatiza. Bwe yamala emisomo gye egya siniya, Essly yaweebwa sikaala okugenda okusoma mu yunivasite. Mikwano gye baamukubiriza okukkiriza sikaala eyo asobole okufuna diguli, omulimu omulungi, n’emmotoka. Kyokka teyabawuliriza. Essly agamba nti: “Mikwano gyange abamu Abakristaayo baasalawo okuluubirira ebintu ebyo, n’ekyavaamu baalekera awo okutwala ebintu eby’omwoyo ng’ekintu ekikulu. Nnakiraba nti tebaali basanyufu era baalina ebizibu bingi olw’okuba baali beemalidde nnyo ku bintu by’ensi. Nnasalawo okukozesa emyaka gyange egy’obuvubuka okuweereza Yakuwa mu bujjuvu.”
Racquel ne Phillip
Essly yasalawo okubaako ebintu by’ayiga kimuyambe okweyimirizaawo ng’aweereza nga payoniya, era oluvannyuma yagenda okuweereza awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako. Okugatta ku ekyo, yasalawo okuyiga olulimi olwogerwa Abatoomi n’Abatalapeneko. Kati Essly amaze emyaka esatu miramba ng’abuulira mu bitundu ebyesudde. Agamba nti: “Okuweereza mu bitundu awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako kinnyambye okuba n’obulamu obw’amakulu era obumatiza. N’ekisinga obukulu, kinnyambye okunyweza enkolagana yange ne Yakuwa.” Phillip ne mukyala we Racquel, abali mu myaka 30, abaava mu Amerika, bagamba nti: “Okuva bwe kiri nti ensi ekyukakyuka buli kiseera, abantu bangi bawulira ng’obulamu bwabwe buli mu kabi. Naye okuweereza mu bitundu awakyali abantu abangi abaagala okuyiga Bayibuli kituyambye okuba n’obulamu obw’amakulu era obumatiza!”
OBUZIBU BWE BOOLEKAGANA NABWO
Verónica
Kya lwatu nti ab’oluganda abaweereza mu bitundu awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako boolekagana n’obuzibu obutali bumu. Ab’oluganda ng’abo tekibabeerera kyangu kufuna mirimu. Baba balina okukola enkyukakyuka ez’amaanyi mu bulamu bwabwe. Verónica, mwannyinaffe amaze emyaka mingi ng’aweereza nga payoniya, agamba nti: “Mu kifo ekimu gye nnagenda okuweereza nnatundanga mmere. Mu kifo ekirala, nnatundanga ngoye era nga nsala n’abantu enviiri. Kati gye ndi, nnina omuntu gwe nnongooseza ennyumba era nsomesa n’abazadde engeri y’okuwuliziganyamu n’abaana baabwe.”
Obuzibu obulala abantu abagenda okuweereza mu bitundu awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako bwe boolekagana nabwo kwe kuyiga empisa z’abantu b’omu kitundu. Phillip ne Racquel abaweereza mu kitundu omuli abantu aboogera Olunahuyati nabo boolekagana n’obuzibu obwo. Phillip agamba nti: “Obuwangwa bw’abantu b’omu kitundu gye tuli bwa njawulo nnyo ku bwaffe.” Kiki ekibayambye okukola enkyukakyuka? Phillip agamba nti: “Essira tulissa ku bintu ebirungi bye tulaba mu bantu aboogera Olunahuyati. Abantu abo bafaayo nnyo ku b’omu maka gaabwe, bakolagana bulungi n’abantu abalala, era balina omwoyo omugabi.” Racquel agamba nti: “Okubeera mu kitundu kino n’okukolera awamu n’ab’oluganda ababeera mu kitundu kino kituyambye okuyiga ebintu bingi.”
ENGERI GY’OYINZA OKWETEEKATEEKAMU
Bwe kiba nti oyagala okuweereza mu kitundu awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako, oyinza kweteekateeka otya? Ab’oluganda abamaze ekiseera nga baweereza mu bitundu ng’ebyo bagamba nti: Nga tonnagenda mu bitundu ng’ebyo, oba olina okweggyako ebintu ebiteetaagisa era n’okuyiga okuba omumativu. (Baf. 4:11, 12) Kiki ekirala ky’oyinza okukola? Leticia agamba nti: “Nneewalanga okukola emirimu egyanneetaagisanga okubeera mu kifo ekimu okumala ekiseera ekiwanvu. Ekyo nnakikolanga olw’okuba nnali njagala okugenda yonna gye njagala ekiseera kyonna we nnabanga njagalidde.” Hermilo agamba nti: “Nnayiga okufumba, okwoza, n’okugolola.” Verónica agamba nti: “Bwe nnali nkyabeera awaka, nnayambangako mu kulongoosa awaka n’okufumba emmere. Era nnayiga okukekkereza ssente.”
Amelia ne Levi
Levi ne Amelia abaava mu Amerika era abamaze emyaka munaana nga bafumbo, bagamba nti okubuulira Yakuwa ekyo kyennyini kye beetaaga kyabayamba okweteekateeka okuweereza mu Mexico. Levi agamba nti: “Twabalirira ssente ze twali twetaaga okweyimirizaawo nga tuweereza mu Mexico okumala omwaka mulamba, era ne tusaba Yakuwa atuyambe okufuna ssente ezo.” Mu myezi mitono, baasobola okufuna ssente ezo era ne bagenderawo. Levi agamba nti: “Twakiraba nti Yakuwa yali azzeemu okusaba kwaffe era nga kyali kisigadde eri ffe okugenda.” Amelia agattako nti: “Twali tulowooza nti tujja kumalayo omwaka gumu gwokka, naye kati twakamalayo emyaka musanvu era tetulowooza nti tujja kuvaayo! Yakuwa atuyambye nnyo nga tuweereza mu kitundu kino. Mu butuufu tukirabye nti Yakuwa mulungi nnyo.”
Adam ne Jennifer
Adam ne mukyala we Jennifer, abaava mu Amerika era nga kati baweereza mu kibiina eky’Olungereza mu Mexico, nabo okusaba kwabayamba nnyo. Bagamba nti: “Tolinda kumala kubeera mu mbeera nnungi. Bw’oba oyagala okuweereza mu nsi endala, saba Yakuwa akuyambe era okolere ku kusaba kwo. Weggyeko ebintu ebiteetaagisa, wandiikira ofiisi y’ettabi eri mu nsi gy’oyagala okugenda okuweereza, balirira ssente ze weetaaga, era oluvannyuma genda oweereze!”a Bw’onoogenda okuweereza awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako, ojja kufuna emikisa mingi.
a Okumanya ebisingawo, laba Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Agusito 2011 wansi w’omutwe “Osobola ‘Okugenda e Makedoni’?”