LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w10 11/15 lup. 3-7
  • Abavubuka—Mukulemberwe Ekigambo kya Katonda

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Abavubuka—Mukulemberwe Ekigambo kya Katonda
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Mu Maka
  • Mu Ngeri gy’Okozesaamu Ssente
  • Ng’Oli Wekka
  • Sanyusa Omutima gwa Yakuwa
  • Abazadde—Mutendeke Abaana Bammwe mu Kwagala
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
  • Abazadde n’Abaana​—Mube n’Empuliziganya Ennungi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Mukoppe Yakuwa nga Mukuza Abaana Bammwe
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
  • Okuwa Bazadde Baffe Abakaddiye Ekitiibwa
    Ekyama eky’Okufuna Essanyu mu Maka
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
w10 11/15 lup. 3-7

Abavubuka—Mukulemberwe Ekigambo kya Katonda

“Funa amagezi, funa okutegeera.”​—NGE. 4:5.

1, 2. (a) Kiki ekyayamba omutume Pawulo okwaŋŋanga obuzibu bwe yalina? (b) Oyinza otya okufuna amagezi n’okutegeera?

“BWE njagala okukola ekituufu, ekibi kiba nange.” Omanyi omuntu eyayogera ebigambo ebyo? Si mulala yenna wabula ye mutume Pawulo. Wadde nga Pawulo yali ayagala nnyo Yakuwa, ebiseera ebimu yakisanganga nga kizibu okukola ekituufu. Kino kyamuleetera kuwulira atya? Yagamba nti: “Nze nga ndi muntu munaku!” (Bar. 7:​21-​24) Kyandiba nti naawe oli mu mbeera ng’eyo? Naawe oluusi okisanga nga kizibu okukola ekituufu? Okufaananako Pawulo, ekyo kikuleetera okuwulira ennaku? Bwe kiba kityo, tosaanidde kuggwaamu maanyi. Pawulo yasobola okuvvuunuka obuzibu obwo era naawe osobola okubuvvuunuka.

2 Pawulo yasobola okuvvuunuka obuzibu obwo olw’okuba yakkiriza okukulemberwa “ebigambo eby’obulamu.” (2 Tim. 1:​13, 14) N’ekyavaamu, yasobola okufuna amagezi n’okutegeera ebyamuyamba okwaŋŋanga obuzibu bwe yalina n’okusalawo mu ngeri ey’amagezi. Naawe Yakuwa Katonda asobola okukuyamba okufuna amagezi n’okutegeera. (Nge. 4:5) Okuyitira mu Kigambo kye, Baibuli, atuwa amagezi agasingayo obulungi. (Soma 2 Timoseewo 3:​16, 17.) Lowooza ku ngeri emisingi egiri mu Byawandiikibwa gye giyinza okukuyamba ng’okolagana ne bazadde bo, mu ngeri gy’okozesaamu ssente, era ng’oli wekka.

Mu Maka

3, 4. Lwaki oluusi kiyinza okukuzibuwalira okugondera amateeka g’abazadde bo, naye lwaki bazadde bo bakuteerawo amateeka?

3 Okisanga nga kizibu okugondera amateeka ga bazadde bo? Lwaki oluusi kiyinza okukuzibuwalira? Ensonga emu eyinza okuba nti oyagala okuweebwa eddembe erisingako. Kituufu nti omuntu bw’agenda akula, aba ayagala okuweebwa eddembe erisingawo. Naye kijjukire nti bw’oba okyali mu maka ga bazadde bo, oba olina okubagondera.​—Bef. 6:​1-3.

4 Okutegeera ensonga lwaki bazadde bo bakuteerawo amateeka kiyinza okukuyamba okwanguyirwa okugagondera. Oluusi oyinza okuwulira ng’omuvubuka ow’emyaka 18 ayitibwa Brielle,a eyayogera bw’ati ku bazadde be: “Beerabiridde ddala kye kitegeeza okubeera mu myaka gyange. Tebaagala kumpuliriza wadde okundeka okwesalirawo kye njagala.” Okufaananako Brielle, naawe oyinza okuwulira nti bazadde bo tebakuwa ddembe lye basaanidde kukuwa. Kyokka, bazadde bo bakuteerawo amateeka olw’okuba bakufaako. Okugatta ku ekyo, abazadde Abakristaayo bakimanyi nti bavunaanyizibwa mu maaso ga Yakuwa olw’engeri gye bakulabiriramu.​​—⁠1 Tim. 5:8.

5. Okugondera bazadde bo kikuganyula kitya?

5 Mu butuufu, okugondera bazadde bo kiyinza okugeraageranyizibwa ku kusasula ebbanja lya banka​​—⁠bw’oba ng’otera okusasula ebbanja lyo mu budde, ne banka kigyanguyira okukuwola ssente endala. Mu ngeri y’emu, naawe olina ebbanja​​—⁠okugondera bazadde bo n’okubassaamu ekitiibwa. (Soma Engero 1:8.) Gy’onookoma okubagondera, nabo gye bajja okukoma okukuwa eddembe. (Luk. 16:10) Kya lwatu nti singa otera okumenya amateeka ga bazadde bo, nabo bajja kukendeeza ku ddembe lye bakuwa oba okulikuggirako ddala.

6. Abazadde bayinza batya okuyamba abaana baabwe okubagondera?

6 Engeri emu abazadde gye bayinza okuyamba abaana baabwe okugondera amateeka gaabwe kwe kubateerawo ekyokulabirako ekirungi. Abazadde bwe bafuba okukola ebyo Yakuwa by’abeetaagisa, baba bakiraga nti amateeka ga Katonda si makakali. Kino kiyamba abaana okutunuulira amateeka ga bazadde baabwe mu ngeri y’emu. (1 Yok. 5:3) Baibuli eraga nti oluusi Yakuwa yawanga abaweereza be akakisa okuwa endowooza yaabwe ku nsonga ezimu. (Lub. 18:​22-​32; 1 Bassek. 22:​19-​22) N’abazadde oluusi kiyinza okubeetaagisa okuwa abaana baabwe akakisa okubaako kye boogera ku nsonga ezimu.

7, 8. (a) Buzibu ki abavubuka abamu bwe boolekagana nabwo? (b) Kiki ekiyinza okukuyamba okuganyulwa mu kukangavvulwa?

7 Abavubuka abamu bayinza okuwulira nti bazadde baabwe buli kiseera baba babanoonyamu nsobi. Naawe oyinza okuba nga wali owuliddeko ng’omuvubuka ayitibwa Craig, eyagamba nti, “Maama yali nga mbega wa poliisi​​—⁠buli kiseera yalinga annoonyamu nsobi.”

8 Emirundi egisinga bwe tuwabulwa oba bwe tukangavvulwa tekituyisa bulungi. Ne Baibuli ekiraga nti okukangavvulwa, ne bwe kuba nga ddala kutusaana, oluusi kiba kizibu okukukkiriza. (Beb. 12:11) Kati olwo kiki ekiyinza okukuyamba okuganyulwa mu kukangavvula kw’abazadde bo? Kikulu okukijjukira nti bazadde bo bakuwabula olw’okuba bakwagala. (Nge. 3:​12) Baagala okukuyamba okwewala emize emibi osobole okuba n’empisa ennungi. Bazadde bo bakimanyi nti singa tebabaako kye bakola kukugolola, baba tebakwagala! (Soma Engero 13:24.) Ate era kimanye nti ffenna tulina kye tuyiga mu nsobi ze tukola. N’olwekyo, bw’owabulwa, gezaako okubaako ky’oyiga mu ebyo ebiba bikugambiddwa. “Obuguzi [bw’amagezi] businga obuguzi obwa ffeeza, n’amagoba gaago gakira zaabu ennungi.”​—Nge. 3:​13, 14.

9. Mu kifo ky’okumalira ebirowoozo ku ngeri bazadde baabwe gye baba boogeddemu, kiki abavubuka kye bandikoze?

9 Kyokka abazadde nabo bakola ensobi. (Yak. 3:2) Bwe baba bakukangavvula oluusi bayinza okwogera mu ngeri etali nnungi. (Nge. 12:18) Kiki ekiyinza okuleetera bazadde bo okwogera mu ngeri eyo? Bayinza okuba nga balina ebibasumbuwa oba nga balowooza nti ensobi gy’okoze evudde ku kuba nti tebatuukirizza bulungi buvunaanyizibwa bwabwe ng’abazadde. Mu kifo ky’okudda awo okulowooza ku ngeri bazadde bo gye baba boogeddemu, lwaki tobasiima olw’ekyo kye baba bakoze okukuyamba? Bw’okkiriza okukangavvulwa kijja kukuyamba nnyo ng’okuze.

10. Kiki ekinaakuyamba okwanguyirwa okugondera amateeka ga bazadde bo n’okukkiriza okukangavvulwa?

10 Oyagala kikwanguyire okugondera amateeka ga bazadde bo n’okukkiriza okukangavvulwa? Bwe kiba kityo, olina okuyiga engeri ey’okwogeramu n’abalala. Ekyo oyinza kukikola otya? Ekisooka, yiga okuwuliriza. Baibuli egamba nti: “Buli muntu abe mwangu wa kuwuliriza, alwewo okwogera, alwewo okusunguwala.” (Yak. 1:​19) Mu kifo ky’okwanguyiriza okwewozaako, fuba okufuga obusungu bwo era owulirize ekyo bazadde bo kye bagamba. Lowooza ku ebyo bye baba boogedde, so si ku ngeri gye baba babyogeddemu. Oluvannyuma kirage nti otegedde bye bakugambye ng’okkiriza ensobi yo. Ate kiri kitya singa oba oyagala okunnyonnyola ensonga lwaki wayogedde oba wakoze ekintu ekimu? Emirundi egisinga, kiba kya magezi ‘okuziyiza emimwa gyo’ okutuusa ng’omaze okukola ekyo bazadde bo kye baagala. (Nge. 10:19) Bazadde bo bwe banaakiraba nti obawulirizza, nabo bajja kukuwuliriza. Bw’onookola bw’otyo, ojja kulaga nti okulemberwa Ekigambo kya Katonda.

Mu Ngeri gy’Okozesaamu Ssente

11, 12. (a) Bwe kituuka ku ssente, Ekigambo kya Katonda kitukubiriza ki, era lwaki? (b) Bazadde bo bayinza batya okukuyamba okuyiga okukozesa obulungi ssente?

11 Baibuli egamba nti: ‘Ssente ziwa obukuumi.’ Kyokka olunyiriri olwo lwennyini era lulaga nti amagezi ga muwendo nnyo okusinga ssente. (Mub. 7:​12, NW ) Ekigambo kya Katonda kitukubiriza okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku ssente, so si kuzaagala. Lwaki tusaanidde okwewala okwagala ssente? Lowooza ku kyokulabirako kino: Akambe akasala ennyo kaba ka mugaso eri omufumbi alina obumanyirivu. Kyokka akambe ng’ako kaba ka bulabe eri omuntu atalina bumanyirivu oba omulagajjavu. Bwe zikozesebwa obulungi, ssente zisobola okuba ez’omugaso ennyo. Naye abo “abamaliridde okugaggawala” emirundi egisinga balagajjalira ab’omu maka gaabwe, mikwano gyabwe, awamu n’enkolagana yaabwe ne Katonda. N’ekivaamu, “beereetera obulumi bungi.”​​—⁠Soma 1 Timoseewo 6:​9, 10.

12 Kiki ekinaakuyamba okuyiga okukozesa obulungi ssente? Saba bazadde bo bakuwe amagezi ku ngeri ey’okukozesaamu ssente. Sulemaani yawandiika nti: ‘Omuntu ow’amagezi awulira ne yeeyongera okuyiga; era omusajja alina okutegeera afuna okuteesa okutuufu.’ (Nge. 1:5) Omuvubuka ayitibwa Anna yasaba bazadde be okumuwa ku magezi. Agamba nti, “Taata yanjigiriza okukola embalirira era n’andaga n’ensonga lwaki kikulu okukozesa obulungi ssente.” Maama we naye yamuyamba nnyo. Anna agamba nti, “Yandaga obukulu bw’okusooka okugeraageranya emiwendo gy’ebintu nga sinnaba kugula kintu kyonna.” Kino kiyambye kitya Anna? Anna agamba nti: “Kati mmanyi bulungi okukozesa ssente zange. Nneegendereza engeri gye nkozesaamu ssente zange, era kino kinnyambye okwewala amabanja agateetaagisa.”

13. Oyinza otya okwefuga bwe kituuka ku kukozesa ssente?

13 Oyinza okwesanga mu mabanja singa ogula ebintu olw’okuba okwatiddwa ekinyegenyege oba olw’okwagala okusanyusa mikwano gyo. Kiki ekinaakuyamba obutagwa mu mitego gino? Bwe kituuka ku kukukozesa ssente, olina okuyiga okwefuga. Kino kyennyini Ellena, ali mu myaka 20 ky’akola. Agamba nti, “Bwe mba ŋŋenda okugula ebintu nga ndi wamu ne mikwano gyange, nsooka kukola mbalirira era nteekawo ekkomo ku ssente ze mba ŋŋenda okukozesa. . . . Nkisanze nga kya magezi okugenda n’abo bokka abamanyi okukekkereza ssente era abaankubiriza okusooka okulamuza n’obutagulirawo kintu nga nnaakakiraba.”

14. Lwaki tusaanidde okwewala “obulimba bw’obugagga”?

14 Okukola ssente n’okuzikozesa bintu bikulu mu bulamu. Naye Yesu yagamba nti abo abafuna essanyu erya nnamaddala beebo “abamanyi obwetaavu bwabwe obw’eby’omwoyo.” (Mat. 5:3) Yakiraga nti “obulimba bw’obugagga” kye kimu ku bintu ebiyinza okuleetera omuntu okunafuwa mu by’omwoyo. (Mak. 4:​19) N’olwekyo, nga kikulu nnyo okukkiriza okukulemberwa Ekigambo kya Katonda n’okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku ssente!

Ng’Oli Wekka

15. Ddi obwesigwa bwo eri Katonda lwe buyinza okusinga okugezesebwa?

15 Olowooza ddi obwesigwa bwo eri Katonda lwe buyinza okusinga okugezesebwa​​—⁠ng’oli n’abalala oba ng’oli wekka? Bw’oba ku ssomero oba ku mulimu, kiyinza okukubeerera ekyangu okuba obulindaala mu by’omwoyo. Kyokka bw’oba mu ggandaalo era nga toli bulindaala, kiba kyangu okukola ekintu ekitali kituufu.

16. Lwaki osaanidde okugondera Katonda ne bw’oba ng’oli wekka?

16 Lwaki osaanidde okugondera Katonda ne bw’oba ng’oli wekka? Kijjukire nti: Osobola okunakuwaza Yakuwa oba okusanyusa omutima gwe. (Lub. 6:​5, 6; Nge. 27:11) Yakuwa akwatibwako nnyo engeri gye weeyisaamu kubanga ‘akufaako.’ (1 Peet. 5:7) Ayagala omuwulirize osobole okuganyulwa. (Is. 48:​17, 18) Abamu ku baweereza ba Yakuwa mu Isiraeri ey’edda bwe baamujeemera, ekyo kyamunakuwaza nnyo. (Zab. 78:​40, 41) Ku luuyi olulala, Yakuwa yasanyukira nnyo nnabbi Danyeri, malayika gwe yayogerako ‘ng’omusajja omwagalwa ennyo.’ (Dan. 10:11) Lwaki yamusanyukira? Danyeri yali mwesigwa eri Yakuwa bwe yabeeranga mu bantu ne bwe yabeeranga yekka.​—Soma Danyeri 6:​10.

17. Bibuuzo ki by’osaanidde okwebuuza nga tonnalonda bya kwesanyusaamu?

17 Okusobola okusigala ng’oli mwesigwa eri Katonda ng’oli wekka, kikwetaagisa okutendeka ‘obusobozi bwo obw’okutegeera okusobola okwawulawo ekituufu n’ekikyamu’ era kino oyinza okukikola ng’okolera ku ebyo by’omanyi nti bituufu. (Beb. 5:​14) Ng’ekyokulabirako, bw’oba olonda ennyimba ez’okuwuliriza, firimu ez’okulaba, oba omukutu gwa Internet gw’onookozesa, ebibuuzo bino wammanga bijja kukuyamba okusobola okwawulawo ekituufu n’ekikyamu. Weebuuze: ‘Ebintu bino binankubiriza okuba ow’ekisa oba binandeetera okusanyukira “obuyinike”?’ (Nge. 17:5) ‘Binannyamba “okwagala obulungi” oba binandeetera okuzibuwalirwa “okukyawa obubi”?’ (Am. 5:​15) Ebyo by’okola ng’oli wekka biragira ddala ekyo ky’osinga okwagala.​—Luk. 6:​45.

18. Kiki ky’olina okukola bwe kiba nti olina ebikolwa ebikyamu by’obadde okola mu nkukutu, era lwaki?

18 Kiki ky’olina okukola bwe kiba nti olina ebikolwa ebikyamu by’obadde okola mu nkukutu? Jjukira nti omuntu “abikka ku kusobya kwe taliraba mukisa: naye buli akwatula n’akuleka alifuna okusaasirwa.” (Nge. 28:13) Nga tekiba kya magezi kweyongera kutambulira mu kkubo ebbi, ekintu ekiyinza okukuleetera ‘okunakuwaza omwoyo gwa Katonda omutukuvu’! (Bef. 4:​30) Bw’oba okoze ekibi, kikwetaagisa okwenenya eri Katonda n’eri bazadde bo. Bw’okola bw’otyo, ekyo naawe kennyini kikuganyula. Mu nsonga eno, “abakadde b’ekibiina” basobola okukuyamba. Omuyigirizwa Yakobo agamba nti: “[Omwonoonyi] bamusabire era bamusiigeko amafuta mu linnya lya Yakuwa. Era okusaba okw’okukkiriza kujja kuwonya omulwadde era Yakuwa ajja kumussuusa. Ate era bw’aba ng’alina ebibi bye yakola bijja kumusonyiyibwa.” (Yak. 5:​14, 15) Kyo kituufu nti ekyo kiyinza okukuleetera okuwulira okuswala oboolyawo n’okukangavvulwa. Naye bw’ofuna obuvumu n’osaba obuyambi, ojja kwewala ebizibu bingi era ojja kuddamu okuba n’omuntu ow’omunda omulungi.​—Zab. 32:​1-5.

Sanyusa Omutima gwa Yakuwa

19, 20. Yakuwa akwagaliza ki, naye kiki ky’olina okukola?

19 Yakuwa ye “Katonda omusanyufu,” era ayagala naawe obe musanyufu. (1 Tim. 1:​11) Akufaako nnyo. Ne bwe kiba nti tewali n’omu ategeera nti ofuba okukola ekituufu, ye alaba okufuba kwo. Tewali kintu kyonna Yakuwa ky’atalaba. Akutunuulira, si kukunoonyamu nsobi, wabula lwa kwagala kukuyamba okukola ekituufu. “Amaaso ga [Katonda] gatambulatambula wano ne wali okubuna ensi zonna, okweraga bw’ali ow’amaanyi eri abo abalina omutima ogutuukiridde gy’ali.”​—2 Byom. 16:9.

20 N’olwekyo, kkiriza okukulemberwa Ekigambo kya Katonda era okolere ku magezi agakirimu. Kino kijja kukuyamba okufuna amagezi n’okutegeera ebyetaagisa okwaŋŋanga ebizibu eby’amaanyi n’okusalawo obulungi mu bulamu. Ojja kusanyusa nnyo Yakuwa ne bazadde bo, era ojja kufuna essanyu erya nnamaddala mu bulamu.

[Obugambo obuli wansi]

a Amannya gakyusiddwa.

Wandizzeemu Otya?

• Kiki ekiyinza okuyamba abavubuka okugondera amateeka g’abazadde baabwe n’okugaganyulwamu?

• Lwaki kikulu okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku ssente?

• Kiki ekinaakuyamba okusigala ng’oli mwesigwa eri Yakuwa ng’oli wekka?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 6]

Onoosigala ng’oli mwesigwa eri Katonda ng’oli wekka?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share