LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w01 10/1 lup. 19-24
  • Mukoppe Yakuwa nga Mukuza Abaana Bammwe

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Mukoppe Yakuwa nga Mukuza Abaana Bammwe
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Ekizingirwa mu Kukangavvula
  • Okwagala Kwe Kukubiriza
  • Mubeere n’Empuliziganya Ennungi
  • Temubeera Bakakanyavu
  • Okuyiga kw’Amaka Mukufuule Okunyuma
  • Abazadde—Mutendeke Abaana Bammwe mu Kwagala
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
  • Abazadde—Muyambe Abaana Bammwe Okwagala Yakuwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2022
  • Tendeka Omwana Wo Okuva mu Buwere
    Ekyama eky’Okufuna Essanyu mu Maka
  • Abaana Baffe—Busika bwa Muwendo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
w01 10/1 lup. 19-24

Mukoppe Yakuwa nga Mukuza Abaana Bammwe

“Abazadde bonna tebawabula baana baabwe?”​—ABAEBBULANIYA 12:7, Contemporary English Version.

1, 2. Lwaki abazadde bafuna obuzibu mu kukuza abaana?

OKUNOONYEREZA okwakolebwa mu Japan emyaka mitono egiyise, kwalaga nti kumpi kimu kya kubiri ku bantu abakulu abaabuuzibwa ebibuuzo, baalina endowooza nti empuliziganya wakati w’abazadde n’abaana baabwe yali ntono nnyo, era nti abazadde bawa abaana baabwe eddembe lingi nnyo. Mu kunoonyereza okulala mu nsi y’emu, kumpi kimu kya kuna ku abo abaabuuzibwa baagamba nti baali tebamanyi ngeri yakukolaganamu na baana baabwe. Embeera eno teri mu nsi za Buvanjuba zokka. Olupapula lw’amawulire oluyitibwa The Toronto Star, lwagamba nti “abazadde bangi mu nsi ya Canada baagamba nti tebamanyi obanga balina obusobozi bw’okubeera abazadde abalungi.” Mu buli kifo, abazadde bakisanga nga kizibu okukuza abaana baabwe.

2 Lwaki abazadde bafuna obuzibu mu kukuza abaana baabwe? Ensonga emu enkulu eri nti tuli mu “nnaku ez’oluvannyuma,” era mu ‘biro eby’okulaba ennaku.’ (2 Timoseewo 3:1) Okugatta ku ekyo, Baibuli egamba, “okulowooza okw’omu mutima gw’omuntu kubi okuva mu buto bwe.” (Olubereberye 8:21) Okufaananako ‘empologoma ewuluguma,’ Setaani kimwanguyira okulumba abavubuka abatalina bumanyirivu. (1 Peetero 5:8) Mazima ddala, abazadde Abakristaayo bafuna obuzibu mu kukuza abaana baabwe ‘mu kukangavvula ne mu kubuulirira kwa Yakuwa.’ (Abaefeso 6:4) Abazadde bayinza batya okuyamba abaana baabwe okufuuka abasinza ba Yakuwa abakuze mu by’omwoyo abasobola okwawulawo ‘ekituufu n’ekikyamu’?​—Abaebbulaniya 5:14.

3. Okusobola okubakuza obulungi abaana baabwe, lwaki kyetaagisa abazadde okubatendeka n’okubawa obulagirizi?

3 Kabaka Sulemaani ow’amagezi yagamba: “Obusirusiru busibibwa mu mutima gw’omwana omuto.” (Engero 13:1; 22:15) Abazadde beetaaga okuwabula abaana baabwe mu ngeri ey’okwagala okusobola okuggya obusirusiru ng’obwo mu mitima gyabwe. Kyokka, abavubuka tebatera kukkiriza kuwabulwa ng’okwo. Mu butuufu, tebatera kukkiriza kubuulirirwa ka kube nga kuvudde eri ani. N’olwekyo, abazadde bateekwa okuyiga ‘okukuza abaana abato mu kkubo eribagwanira okutambuliramu.’ (Engero 22:6) Abaana bwe bakkiriza okukangavvula ng’okwo, kiyinza okubaviiramu obulamu. (Engero 4:13) Nga kikulu nnyo abazadde okumanya ekizingirwa mu kutendeka abaana baabwe!

Ekizingirwa mu Kukangavvula

4. Ekigambo ‘okukangavvula’ nga bwe kikozesebwa mu Baibuli, okusingira ddala kirina makulu ki?

4 Olw’okutya okuvunaanibwa okuyisa obubi abaana baabwe mu mubiri, mu bigambo oba mu nneewulira ez’omunda, abazadde abamu beewala okuwabula abaana baabwe. Tetuteekwa kuba na kutya ng’okwo. Ekigambo ‘okukangavvula,’ nga bwe kikozesebwa mu Baibuli, tekirina makulu ga kuyisa bubi muntu oba okubeera omukambwe. Ekigambo ky’Oluyonaani ekikyusibwa ‘okukangavvula’ okusingira ddala kitegeeza okuyigiriza, okuwabula era emirundi egimu okubonereza mu ngeri ey’okwagala.

5. Lwaki kyamuganyulo okwekenneenya engeri Yakuwa gy’akolaganamu n’abantu be?

5 Mu kuwa okukangavvula ng’okwo, Yakuwa Katonda atuteerawo ekyokulabirako ekirungi. Ng’ageraageranya Yakuwa ku taata, omutume Pawulo yawandiika: “Abazadde bonna tebawabula baana baabwe? . . . Bazadde baffe batukangavvulira ekiseera kitono, era mu ngeri gye balaba nti y’esinga obulungi. Naye Katonda atukangavvula olw’okutugasa, kubanga ayagala tubeere batukuvu.” (Abaebbulaniya 12:7-10, Contemporary English Version) Yee, Yakuwa akangavvula abantu be basobole okubeera abatukuvu, oba abalongoofu. Mazima ddala tuyinza okuyiga ebintu bingi ku kukangavvula abaana nga twekenneenya engeri Yakuwa gy’akangavvuddemu abantu be.​—Ekyamateeka 32:4; Matayo 7:11; Abaefeso 5:1.

Okwagala Kwe Kukubiriza

6. Lwaki kiyinza obutaba kyangu abazadde okukoppa okwagala kwa Yakuwa?

6 Yokaana yagamba: “Katonda kwagala.” N’olwekyo, okukangavvula Yakuwa kw’awa kukubirizibwa kwagala. (1 Yokaana 4:8; Engero 3:11, 12) Kino kitegeeza nti abazadde abaagala abaana baabwe bandikisanze nga kyangu okumukoppa mu nsonga eno? Nedda. Okwagala kwa Yakuwa kwesigamye ku misingi. Era omukugu omu mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani agamba nti okwagala ng’okwo okwesigamiziddwa ku musingi “si kwangu kwoleka mu mbeera zaffe eza bulijjo.” Katonda tasalawo ng’akubirizibwa enneewulira ze. Bulijjo asalawo okusinziira ku ekyo ekisinga okuganyula abantu be.​—Isaaya 30:20; 48:17.

7, 8. (a) Kyakulabirako ki eky’okwagala Yakuwa kye yassaawo ng’akolagana n’abantu be? (b) Abazadde bayinza batya okukoppa Yakuwa mu kuyamba abaana baabwe okukulaakulanya obusobozi bw’okugoberera emisingi gya Baibuli?

7 Lowooza ku kwagala Yakuwa kwe yalaga ng’akolagana n’Abaisiraeri. Musa yakozesa ekyokulabirako kino ekirungi okunnyonnyola okwagala kwa Yakuwa eri eggwanga lya Isiraeri. Tusoma bwe tuti: “Ng’empungu esaasaanya ekisu kyayo, [e]paapaalira ku bwana bwayo, [y]ayanjuluza ebiwaawaatiro bye, n’abatwala, [n]’abasitulira ku byoya bye. Mukama yekka ye yakulembera [Yakobo].” (Ekyamateeka 32:9, 11, 12) Okusobola okuyigiriza abaana baayo okubuuka, empungu “esaasaanya ekisu kyayo,” n’ekuba ebiwaawaatiro byayo ng’ekubiriza abaana baayo okubuuka. Ekinnyonnyi ekito bwe kibuuka okuva mu kisu kyakyo, maama wakyo ‘abuukira waggulu’ wakyo. Bwe kirabika nti ekinnyonnyi ekito kiyinza okuggwa ku ttaka, maama wakyo abuuka n’akisitulira ku biwaawaatiro bye.’ Mu ngeri ey’okwagala, Yakuwa yafaayo ku ggwanga lya Isiraeri eryali lyakatondebwawo mu ngeri y’emu. Yawa abantu Amateeka ge okuyitira mu Musa. (Zabbuli 78:5-7) Katonda n’akuuma abantu be nga mwetegefu okubanunula nga bagudde mu mitawaana.

8 Abazadde Abakristaayo bayinza batya okukoppa okwagala kwa Yakuwa? Okusooka, bateekwa okuyigiriza abaana baabwe emisingi n’emitindo egiri mu Kigambo kya Katonda. (Ekyamateeka 6:4-9) Ekiruubirirwa kyabwe kwe kuyamba abaana okuyiga okusalawo mu ngeri etuukagana n’emisingi gya Baibuli. Mu kukola ekyo, abazadde abaagazi baba bakuuma abaana baabwe, era nga beetegereza n’engeri abaana baabwe gye bassa mu nkola emisingi gye bayize. Abaana bwe beeyongera okukula era ne baweebwa eddembe erisingako, abazadde abafaayo baba beetegefu ‘okusitulira abaana baabwe ku biwaawaatiro byabwe’ buli lwe wabaawo akabi. Kabi ka ngeri ki?

9. Nnaddala kabi ki abazadde ke bayinza okwekuuma? Waayo ekyokulabirako.

9 Yakuwa Katonda yalabula Abaisiraeri ku byandivudde mu mikwano emibi. (Okubala 25:1-18; Ezera 10:10-14) Okukolagana n’abantu ababi kabi ka maanyi nnyo leero. (1 Abakkolinso 15:33) Kiba kirungi abazadde Abakristaayo okukoppa Yakuwa mu nsonga eno. Omuwala ow’emyaka 15 ayitibwa Lisa yafuna omukwano n’omulenzi eyali tasiima mitindo gya mpisa ennungi n’eby’omwoyo. Lisa agamba nti, “mangu ddala bazadde bange baalaba enkyukakyuka mu ndowooza yange era ne kibeeraliikiriza. Emirundi egimu bampabula, ate olulala ne banzizaamu amaanyi.” Baatuula wamu ne Lisa era ne bamuwuliriza, bwe kityo ne bamuyamba okwaŋŋanga ekyo ekyavaako omutawaana​—okwagala okukkirizibwa banne.a

Mubeere n’Empuliziganya Ennungi

10. Mu ngeri ki Yakuwa gye yassaawo ekyokulabirako ekirungi mu kukolagana n’Abaisiraeri?

10 Okusobola okutuuka ku buwanguzi mu kukuza abaana, abazadde bateekwa okubeera n’empuliziganya ennungi n’abaana baabwe. Wadde Yakuwa amanyi ekiri mu mutima gwaffe, atukubiriza okwogera naye mu kusaba. (1 Ebyomumirembe 28:9) Oluvannyuma lw’okuwa Abaisiraeri Amateeka ge, Yakuwa yakwasa Abaleevi obuvunaanyizibwa obw’okubayigiriza, era n’abasindikira bannabbi okwogera nabo era n’okubawabula. Era yalaga nti mwetegefu okuwulira okusaba kwabwe.​—2 Ebyomumirembe 17:7-9; Zabbuli 65:2; Isaaya 1:1-3, 18-20; Yeremiya 25:4; Abaggalatiya 3:22-24.

11. (a) Abazadde bayinza batya okubeera n’empuliziganya ennungi n’abaana baabwe? (b) Lwaki kikulu abazadde okuwuliriza abaana baabwe?

11 Abazadde bayinza batya okukoppa Yakuwa nga boogera n’abaana baabwe? Ekisooka era ekisingayo obukulu, bateekwa okuwaayo ebiseera okubeera n’abaana baabwe. Era abazadde beewala okwogera mu ngeri ekudaala gamba nga, “Ky’ogamba akasonga ako ke kakweraliikiriza? Mbadde ndowooza nti kintu kikulu”; “Ekyo tekirina makulu”; “Ggwe ate olowooza kiki ekyandivuddemu? Okyali mwana muto nnyo.” (Engero 12:18) Okukubiriza abaana baabwe okwogera ebibali ku mutima, abazadde ab’amagezi bafuba okuwuliriza abaana baabwe bye boogera. Abazadde bwe batafaayo ku baana baabwe nga bakyali bato n’abaana baabwe bayinza obutabafaako nga bakuze. Bulijjo Yakuwa abadde mwetegefu okuwuliriza abantu be. Awuliriza abo abamutuukirira mu kusaba.​—Zabbuli 91:15; Yeremiya 29:12; Lukka 11:9-13.

12. Ngeri ki abazadde ze bandyolese ezandireetedde abaana baabwe okwanguyirwa okubatuukirira?

12 Era lowooza ku ngeri za Katonda ezimu ezireetedde abantu be okumutuukirira awatali kutya. Ng’ekyokulabirako, Nnabbi Nasani yatuukirira Dawudi, Kabaka wa Isiraeri ey’edda ku bikwata ku bwenzi bwe yakola ne Basuseba. Olw’okuba yali tatuukiridde, Dawudi yakola ebibi ebirala eby’amaanyi. Kyokka, teyalemererwa n’akamu kutuukirira Yakuwa okumusaba okumusonyiwa n’okumuwabula. Awatali kubuusabuusa, ekisa n’obusaasizi bya Yakuwa byaleetera Dawudi okumweyuna. (Zabbuli 103:8) Bwe booleka engeri za Katonda ng’ekisa n’obusaasizi, abazadde bayinza okubeera n’empuliziganya ennungi n’abaana baabwe ababa basobezza.​—Zabbuli 103:13; Malaki 3:17.

Temubeera Bakakanyavu

13. Obutaba mukakanyavu kizingiramu ki?

13 Nga bawuliriza abaana baabwe, abazadde bateekwa obutabeera bakakanyavu era ne booleka “amagezi agava waggulu.” (Yakobo 3:17) Omutume Pawulo yawandiika nti ‘obutali bukakanyavu bwammwe bweyoleke eri abantu bonna.’ (Abafiripi 4:5, NW) Kitegeeza ki obutabeera mukakanyavu? Enyinnyonnyola emu ey’ekigambo ekivvuunulwa ‘obutaba mukakanyavu’ eri “obutakalambira ku mateeka.” Wadde nga balina okunywerera ku mitindo gy’empisa n’eby’omwoyo, abazadde bayinza batya obutaba bakakanyavu?

14. Yakuwa yayoleka atya obutali bukakanyavu ng’akolagana ne Lutti?

14 Yakuwa yassaawo ekyokulabirako ekirungi mu butaba mukakanyavu. (Zabbuli 10:17) Bwe yakubiriza Lutti n’amaka ge okuva mu kibuga kya Sodomu ekyali kigenda okuzikirizibwa, Lutti ‘yalwa.’ Oluvannyuma, malayika wa Yakuwa bwe yamugamba addukire mu nsozi, Lutti yagamba: “Siyinza kuddukira ku lusozi luno, . . . “Ekibuga ekyo [Zoya] kwe kumpi okukiddukiramu, era kye kibuga ekitono: nkwegayiridde, nzirukire omwo, (si kitono?)” Yakuwa yamuddamu atya? Yamugamba: “Nkukkirizza ne mu kigambo ekyo, obutasuula kibuga ky’oyogeddeko.” (Olubereberye 19:16-21, 30) Yakuwa yali mwetegefu okukkiriza Lutti kye yamusaba. Kituufu nti abazadde beetaaga okunywerera ku mitindo Yakuwa Katonda gy’atadde mu Kigambo kye, Baibuli. Wadde kiri kityo, basobola okukkiriza abaana baabwe bye basaba bwe biba nga tebimenya misingi gya Baibuli.

15, 16. Abazadde bayiga ki ku kyokulabirako ekiri mu Isaaya 28:24, 25?

15 Obutabeera mukakanyavu kitwaliramu okuteekateeka emitima gy’abaana babe nga beetegefu okukkiriza okubuulirirwa. Mu ngeri ey’akabonero, Isaaya yageraageranya Yakuwa ku mulimi ng’agamba: “Omulimi alima lutata okusiga? [A]kabala lutata n’akuba amavunike ag’ettaka lye? Bw’amala okulittaanya lyonna, tayiwa ntinnamuti, n’asaasaanya kumino, n’asiga eŋŋaano ennyiriri ne sayiri mu kifo ekiragiddwa n’obulo ku lubibiro lwako?”​—Isaaya 28:24, 25.

16 Yakuwa ‘alima okusobola okusiga’ era ‘akabala n’akuba amavunike ag’ettaka lye.’ Bwe kityo, ateekateeka emitima gy’abantu be nga tannabakangavvula. Mu kukangavvula abaana baabwe, abazadde bayinza batya okutuuka ku mitima gy’abaana baabwe? Taata omu yakoppa Yakuwa bwe yali akangavvula mutabani we ow’emyaka ena. Mutabani we bwe yakuba omulenzi ow’oku muliraano, taata yasooka n’awuliriza ensonga z’omwana we. Okusobola okutuuka ku mutima gw’omwana we, taata yamubuulira olugero olw’akalenzi akato akaayisibwa obubi ennyo omwana akiggyanya abalala. Bwe yawulira olugero olwo, omwana yagamba nti, oyo akiggyanya abalala ateekwa okubonerezebwa. ‘Okulima’ ng’okwo kwateekateeka omutima gw’omulenzi era ne kimwanguyira okulaba nti okukuba omwana wa muliraanwa kyali kikolwa ky’omuntu akiggyanya abalala era nti kikyamu.​—2 Samwiri 12:1-14.

17. Kya kuyiga ki ekikwata ku ngeri abazadde gye bandikangavvuddemu ekiri mu Isaaya 28:26-29?

17 Era Isaaya yageraageranya engeri Yakuwa gy’akangavvulamu ku ngeri endala ey’obulimi​—okuwuula. Omulimi akozesa engeri za njawulo ez’okuwuula okusinziira ku bugumu bw’ebisusunku by’ensigo. Omuggo oba oluga bikozesebwa ku nsigo ezirina ebisusunku ebitali bigumu ate namuziga w’eggaali ku nsigo ezirina ebisusunku ebigumu. Wadde kiri kityo, ensigo ezirina ebisusunku ebigumu ennyo teziwuulibwa kisukkiridde. Mu ngeri y’emu, Yakuwa bw’aba ayagala okuggya engeri yonna embi mu bantu be, akikola okusinziira ku byetaago n’embeera ebaawo. Takikola na bukambwe oba na lyanyi. (Isaaya 28:26-29) Abaana abamu babaako kye bakolawo ng’abazadde baabwe babakubye eriiso kyokka. Abalala beetaaga okujjukizibwa buli kiseera, ng’ate abalala beetaaga okukubirizibwa mu ngeri ey’amaanyi. Abazadde abatali bakakanyavu bakangavvula abaana okusinziira ku byetaago by’abaana baabwe.

Okuyiga kw’Amaka Mukufuule Okunyuma

18. Abazadde bayinza batya okugula ebiseera eby’okuyiga Baibuli ng’amaka obutayosa?

18 Ezimu ku ngeri ezisingayo obulungi ez’okuyigiriza abaana kwe kuyigira awamu Baibuli ng’amaka obutayosa n’okukubaganya ebirowoozo ku Byawandiikibwa buli lunaku. Okuyiga kw’amaka kuganyula nnyo bwe kukolebwa obutayosa. Bwe kutakolerwa nteekateeka nnungi, tekuyinza kukolebwa butayosa. N’olwekyo, abazadde bateekwa ‘okugula ebiseera’ eby’okuyiga. (Abaefeso 5:15-17) Okulonda ebiseera ebyanguyira buli omu kuyinza okubeera okusoomooza kwa maanyi. Taata omu yakisanga nti abaana baabwe bwe beeyongera okukula, enteekateeka zaabwe ez’enjawulo zaakifuula kizibu okufuna ekiseera eky’okuyigira awamu ng’amaka. Kyokka, ab’omu maka bonna baabeeranga wamu ku nnaku z’enkuŋŋaana z’ekibiina. N’olwekyo, taata yateekateeka okuba n’okuyiga kw’amaka ku nnaku ezo. Enteekateeka eno yakola bulungi. Kati abaana be abasatu baweereza ba Yakuwa ababatize.

19. Abazadde bayinza batya okukoppa Yakuwa mu kuyiga kw’amaka?

19 Kyokka, tekimala okuyita obuyisi mu Byawandiikibwa mu kuyiga kw’amaka. Yakuwa yayigiriza Abaisiraeri okuyitira mu bakabona, ‘abannyonnyola’ amateeka, ‘bye baasoma ne bitegeerekeka.’ (Nekkemiya 8:8) Taata omu eyayamba abaana be bonna omusanvu okuweereza Yakuwa yagendanga mu kisenge kye okuteekateeka ng’okuyiga kw’amaka tekunnatandika, bwe kityo eby’okuyiga ne biba nga bituukagana n’ebyetaago bya buli mwana. Ekiseera eky’okuyiga n’abaana kyabanga kya ssanyu. Omwana omu akuze agamba nti “okuyiga kwatunyumiranga.Bwe twabanga tuzannya omupiira ne batuyita mu kuyiga kw’amaka, amangu ago twalekanga omupiira ne tugenda okuyiga. Kyali ekimu ku biseera ebyatuleeteranga essanyu eppitirivu mu wiiki.”

20. Kizibu ki ekiyinza okujjawo mu kukuza abaana ekijja okwogerwako?

20 Omuwandiisi wa Zabbuli yagamba: “Laba, abaana bwe busika bwa Mukama: n’ebibala eby’olubuto ye mpeera ye.” (Zabbuli 127:3) Okukuza abaana baffe kyetaagisa ebiseera n’okufuba, naye okufuba okukola ekyo kiyinza okuviiramu abaana baffe okufuna obulamu obutaggwaawo. Ng’eyo eriba mpeera ya kitalo! N’olwekyo, ka tukoppe Yakuwa nga tukuza abaana baffe. Kyokka, wadde ng’abazadde bakwasiddwa obuvunaanyizibwa ‘bw’okukuzanga abaana mu kukangavvula ne mu kubuulirira kwa Yakuwa,’ ekyo tekitegeeza nti bajja kutuuka ku buwanguzi buli kiseera. (Abaefeso 6:4. NW) Omwana ne bw’alabirirwa obulungi ennyo ayinza okujeema n’alekera awo okuweereza Yakuwa. Kati olwo kiki ekyandikoleddwa mu mbeera ng’eyo? Ekyo kye kijja okwogerwako mu kitundu ekiddako.

[Obugambo obuli wansi]

a Ebyokulabirako ebiri mu kitundu kino n’ekiddako biyinza okuba biva mu nsi ezirina empisa ez’enjawulo ku nsi yo. Gezaako okutegeera emisingi egizingirwamu, era ogikozese mu mpisa zammwe.

Wandizzeemu Ki?

• Abazadde bayinza batya okukoppa okwagala kwa Yakuwa okwogerwako mu Ekyamateeka 32:11, 12?

• Kiki ky’oyize ku ngeri Yakuwa gye yakolaganamu n’Abaisiraeri?

• Kiki kye tuyigira ku Yakuwa okuwuliriza Lutti?

• Kiki ky’oyize ku kukangavvula abaana mu byokulabirako ebiri mu Isaaya 28:24-29?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 21]

Musa yageraageranya engeri Yakuwa gy’atendekamu abantu be ku mpungu n’abaana baayo

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 22]

Abazadde balina okuwaayo ebiseera eri abaana baabwe

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 23]

“Kyali kimu ku biseera ebyatuleeteranga essanyu eppitirivu mu wiiki”

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share