EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | MATAYO 4-5
Bye Tuyiga mu Kuyigiriza kwa Yesu okw’Oku Lusozi
Omanyi obwetaavu bwo obw’eby’omwoyo?
Ebigambo “abamanyi obwetaavu bwabwe obw’eby’omwoyo” obutereevu bivvuunulwa nti “abo abasabiriza omwoyo.” (Mat 5:3; obugambo obuli wansi.) Tusobola okulaga nti tulina obwetaavu obw’eby’omwoyo nga . . .
- tusoma Bayibuli buli lunaku 
- tweteekerateekera enkuŋŋaana era nga tuzibeeramu obutayosa 
- tufuba okusoma ebitabo byaffe n’ebintu ebirala ebiri ku mukutu gwaffe 
- tulaba programu ya buli mwezi ebeera ku JW Broadcasting 
Nnyinza ntya okwongera ku biseera bye mmala nga ndya emmere ey’eby’omwoyo?