OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Okwagala Kwe Kwawulawo Abakristaayo ab’Amazima—Kuuma Obumu Bwe Tulina
LWAKI KIKULU: Mu kiro ekyasembayo Yesu alyoke attibwe, yasaba nti abayigirizwa be “babeerere ddala bumu.” (Yok 17:23, obugambo obuli wansi) Okusobola okusigala nga tuli bumu, tulina okwoleka okwagala kubanga okwagala “tekusiba kiruyi.”—1Ko 13:5.
ENGERI Y’OKUKIKOLAMU:
- Koppa Yakuwa ng’ossa ebirowoozo byo ku birungi abalala bye bakola 
- Sonyiwa abalala 
- Bwe mumala okugonjoola obutategeeragana obubaddewo wakati wo n’omuntu omulala, toddamu kunonooza nsonga eyo.—Nge 17:9 
MULABE VIDIYO “MWAGALANENGA”—TOSIBA KIRUYI, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:
- Mu kitundu ekisoose ekya vidiyo eyo, Helen akiraze atya nti abadde anyiigidde muganda we? 
- Mu kitundu eky’okubiri, kiki ekiyambye Helen okufuna endowooza ennuŋŋamu? 
- Helen akuumye atya obumu bw’ekibiina? 
Bwe tusiba ekiruyi ani asinga okukosebwa?