ESSOMO 11
Okwogera n’Ebbugumu
Abaruumi 12:11
MU BUFUNZE: Yogera n’ebbugumu kiyambe abakuwuliriza okussaayo omwoyo n’okubaako kye bakolawo.
ENGERI Y’OKUKIKOLAMU:
Omutima gwo gusse ku ebyo by’ogenda okwogerako. Bw’oba otegeka emboozi yo, lowooza ku muganyulo oguli mu ebyo by’ogenda okuyigiriza. Tegeera bulungi by’ogenda okwogerako osobole okubyogera nga biviira ddala ku mutima.
Lowooza ku banaakuwuliriza. Fumiitiriza ku ngeri ebyo by’ogenda okusoma oba okuyigiriza abalala gye binaabaganyulamu. Lowooza ku ngeri ez’enjawulo z’oyinza okuyigirizaamu, osobole okuyamba abanaakuwuliriza okwongera okusiima by’onoobayigiriza.
Yoleka ebbugumu ng’oyogera. Yogera n’ebbugumu. Kozesa ebitundu byo eby’omubiri n’endabika yo ey’oku maaso mu ngeri eyoleka enneewulira gy’olina ku kintu ky’oyogerako.