BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Engeri y’Okuyigiriza Omuntu nga Tukozesa Brocuwa Amawulire Amalungi
Soma ekibuuzo ekiri mu nnukuta enkwafu kisobozese gw’oyigiriza okussaayo omwoyo ku nsonga enkulu.
Soma akatundu akali wansi w’ekibuuzo.
Soma ebyawandiikibwa ebiriko ekigambo Soma era okozese ebibuuzo okuyamba gw’oyigiriza okulaba engeri ebyawandiikibwa ebyo gye biddamu ekibuuzo.
Bwe wabaawo akatundu akalala wansi w’ekibuuzo, goberera omutendera 2 ne 3. Bwe wabaawo vidiyo ku jw.org ekwatagana n’ensonga gye mwogerako, girage omuyizi.
Okukakasa nti gw’oyigiriza ategedde bulungi, musabe addemu ekibuuzo ekiri mu nnukuta enkwafu.