Okulaga Empisa Ennungi ng’Abaweereza ba Katonda
“Mukoppe Katonda.”—BEF. 5:1.
1, 2. (a) Lwaki kikulu okuba n’empisa ennungi? (b) Kiki kye tugenda okwetegereza mu kitundu kino?
NG’AYOGERA ku mpisa ennungi, omuwandiisi w’ebitabo ayitibwa Sue Fox yagamba nti: “Okulaga empisa ennungi tekibaako kuwummulamu. Empisa ennungi zeetaagisa buli wamu era buli kiseera.” Omuntu bw’aba yeeyisa bulungi tatera kufuna bizibu na balala, era asobola n’okubyewalira ddala. Ate omuntu eyeeyisa obubi afuna ebizibu bingi. Okuyisa abalala obubi kireeta obukuubagano, obukyayi n’ennaku.
2 Okutwalira awamu, Abakristaayo ab’amazima balina empisa ennungi. Wadde kiri kityo, tulina okwegendereza obutatwalirizibwa mpisa mbi ezibunye mu bantu leero. Ka tulabe engeri emisingi gya Baibuli gye gituyambamu okukuuma empisa ennungi era ne tusikiriza abantu okujja mu kusinza okw’amazima. Okusobola okumanya ebizingirwa mu kuba n’empisa ennungi, lowooza ku kyokulabirako kya Yakuwa Katonda n’Omwana we.
Yakuwa n’Omwana We—Byakulabirako mu Kulaga Empisa Ennungi
3. Yakuwa atuteerawo atya ekyokulabirako mu kulaga empisa ennungi?
3 Yakuwa Katonda atuteerawo ekyokulabirako ekituukiridde mu kulaga empisa ennungi. Wadde nga ye Mufuzi w’obutonde bwonna, ayisa bulungi abantu era abawa ekitiibwa. Bwe yali ayogera ne Ibulayimu ne Musa, Yakuwa yakozesa ekigambo ky’Olwebbulaniya ekiraga nti yali abasaba busabi mu kifo ky’okubalagira. (Lub. 13:14; Kuv. 4:6) Abaweereza be bwe basobya, Yakuwa ‘abasaasira, abakwatirwa ekisa, alwawo okusunguwala era alina okusaasira n’amazima mangi.’ (Zab. 86:15) Talinga abantu ababuubuuka nga waliwo abakoze ekikyamu.
4. Tuyinza tutya okukoppa Yakuwa ng’abalala balina kye batugamba?
4 Katonda era alaga empisa ennungi mu ngeri gy’awulirizaamu abantu. Ibulayimu bwe yamubuuza ebibuuzo ku bantu b’omu Sodomu, byonna Yakuwa yabiddamu. (Lub. 18:23-32) Teyakitwala nti Ibulayimu yali amwonoonera biseera. Yakuwa awuliriza okusaba kw’abaweereza be n’okwegayirira kw’aboonoonyi abeenenya. (Soma Zabbuli 51:11, 17.) Tetwandikoppye Yakuwa ne tuwuliriza abalala nga balina kye batugamba?
5. Okukoppa ekyokulabirako kya Yesu mu kulaga empisa ennungi kituyamba kitya okulongoosa enkolagana yaffe n’abalala?
5 Ekimu ku bintu Yesu Kristo bye yayigira ku Kitaawe z’empisa ennungi. Oluusi kyamwetaagisanga okukozesa ebiseera bingi n’amaanyi mangi mu buweereza, naye yakikolanga n’obugumiikiriza n’ekisa. Abagenge ne bamuzibe abaasabirizanga, n’abalala abaalinga mu bwetaavu baakizuula nti Yesu yali mwetegefu okubayamba, wadde nga baamugwangako bugwi. Oluusi yayimirizangamu ku by’akola asobole okuyamba omuntu ali mu bwetaavu. Yesu era yafangayo nnyo ku bantu abaali bamukkiririzaamu. (Mak. 5:30-34; Luk. 18:35-41) Ng’Abakristaayo, naffe tusaanidde okulaga abalala ekisa n’okubayamba nga Yesu bwe yakola. Ebikolwa ebirungi ng’ebyo ab’eŋŋanda zaffe, baliraanwa n’abalala babiraba. Ate era biweesa Yakuwa ekitiibwa era bituleetera essanyu.
6. Kyakulabirako ki Yesu kye yassaawo mu kulaga empisa ennungi?
6 Yesu era yakozesanga amannya g’abantu ng’ayogera nabo okulaga nti abawa ekitiibwa. Kyokka abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya ekyo tebaakikolanga. Baayisanga abantu abatamanyi Mateeka ‘ng’abaakolimirwa.’ (Yok. 7:49) Naye Omwana wa Katonda ye si bwe yakolanga. Abantu nga Maliza, Maliyamu, Zaakayo, n’abalala bangi yabayitanga amannya gaabwe. (Luk. 10:41, 42; 19:5) Wadde ng’engeri omuntu gy’ayogeramu n’abalala esinziira nnyo ku buwangwa n’embeera eriwo, abaweereza ba Yakuwa bafuba okwogera obulungi n’abalala.a Tebasosola basinza bannaabwe na bantu balala olw’okuba ba wansi.—Soma Yakobo 2:1-4.
7. Emisingi gya Baibuli gituyamba gitya okuyisa abalala obulungi?
7 Engeri Katonda n’Omwana we gye bayisaamu abantu ab’amawanga gonna eraga nti babawa ekitiibwa era ekyo kisikiriza abantu ab’emitima emirungi okujja mu mazima. Kya lwatu nti empisa ennungi ziba za njawulo mu bitundu ebitali bimu. N’olwekyo bwe kituuka ku mpisa, tewali mateeka gali awo ge tulina kugoberera. Naye okugoberera emisingi gya Baibuli kituyamba okumanya engeri gye tuyinza okuwaamu ekitiibwa abantu aba buli ngeri. Ka tulabe engeri okuwa abalala ekitiibwa gye kiyinza okutuyamba okufuna ebibala mu buweereza bw’Ekikristaayo.
Okulamusa Abantu n’Okwogera Nabo
8, 9. (a) Kintu ki ekiyisa abantu obubi? (b) Bwe kituuka ku ngeri y’okuyisaamu abantu, lwaki tusaanidde okukolera ku bigambo bya Yesu ebiri mu Matayo 5:47?
8 Mu bulamu buno obw’akayisanyo, kyangu abantu okuyisiŋŋanya nga tewali agambye munne nti “nkulamusiza” oba nti “osibye otya nno?” Kyo kituufu nti abantu abangi be tusanga mu kkubo tetusobola kubalamusa bonna. Naye waliwo embeera endala nnyingi lwe kiba nga kyetaagisa okulamusa abalala. Mpisa yo okulamusa abantu? Oba obayitako buyisi nga tobanyeze kigambo? Omuntu asobola okufuna omuze omubi ng’ogwo mu butali bugenderevu.
9 Yesu yagamba nti: “Bwe mubuuza baganda bammwe bokka, kintu ki eky’enjawulo kye muba mukoze? N’ab’amawanga tebakola bwe batyo?” (Mat. 5:47) Ku nsonga eno, omukugu omu ayitibwa Donald Weiss yawandiika nti: “Abantu tebayisibwa bulungi abalala bwe babayitako obuyisi. Tewali nsonga gy’oyinza kuwa muntu ng’omuyiseeko n’otomubuuza. Eky’okukola kyangu: Lamusa abantu. Yogera nabo.” Obuteewulirira ku bantu kituyamba okufuna akakisa okwogera nabo, era kivaamu ebibala bingi.
10. Okulaga empisa ennungi kiyinza kitya okutuyamba okufuna ebibala mu buweereza? (Laba akasanduuko “Ssaako Akamwenyumwenyu.”)
10 Lowooza ku Tom ne mukyala we Carol ababeera mu kibuga ekimu ekinene mu Amerika. Okunyumyako ne baliraanwa baabwe baakifuula kitundu kya buweereza bwabwe. Bakikola batya? Ng’ajuliza Yakobo 3:18, Tom agamba: “Tufuba okwogera obulungi n’abantu n’okuba ab’emirembe. Twogera n’abantu be tusanga wabweru w’amayumba gaabwe n’abo ababa bali ku mirimu gyabwe. Tuteekako akamwenyumwenyu ne tubalamusa. Twogera ku bintu ebibakwatako gamba ng’abaana baabwe, embwa zaabwe, amaka gaabwe, n’emirimu gyabwe. Oluvannyuma batandika okututwala nga mikwano gyabwe.” Carol agattako nti: “Bwe tuddayo okubakyalira tubabuulira amannya gaffe era nabo tubabuuza agaabwe. Mu bumpimpi, tubategeeza omulimu gwe tukola mu kitundu. Oluvannyuma lw’ekiseera tubawa obujulirwa.” Olw’okukola batyo, Tom ne Carol kati basobola okwogera ne baliraanwa baabwe nga tebabeekengera. Abamu bakkirizza okutwala ebitabo ebinnyonnyola Baibuli, n’abalala bakkirizza okuyiga amazima.
Okulaga Empisa Ennungi mu Mbeera Enzibu
11, 12. Lwaki tusuubira okuyisibwa obubi nga tubuulira amawulire amalungi, era tusaanidde kukola ki?
11 Oluusi tusanga abantu abatuyisa obubi nga tubuulira amawulire amalungi. Kino tukisuubira kubanga Kristo Yesu yagamba abayigirizwa be nti: “Oba nga nze banjigganyizza, nammwe bajja kubayigganya.” (Yok. 15:20) Omuntu bw’ayogera obubi naffe ne tumuddamu bubi tekivaamu kalungi konna. Kati olwo tulina kukola ki? Omutume Peetero yawandiika nti: “Mutukuzenga Kristo nga Mukama wammwe mu mitima gyammwe, nga bulijjo muba beetegefu okuddamu buli muntu ababuuza ebikwata ku ssuubi lyammwe, nga mu kikola n’obukkakkamu era nga mumussaamu ekitiibwa.” (1 Peet. 3:15) Okulaga empisa ennungi nga tuddamu n’obukkakkamu era mu ngeri eraga okuwa ekitiibwa kiyinza okuleetera abo abatuvuma okuwuliriza obubaka bwaffe.—Tit. 2:7, 8.
12 Tuyinza okweteekateeka ne tusobola okwanukula abo abatwogerera obubi mu ngeri esanyusa Katonda? Yee. Pawulo yagamba nti: “Ebigambo byammwe bulijjo bibeerenga bya kisa, era nga binoze omunnyo, musobole okumanya engeri gye musaanidde okuddamu buli muntu.” (Bak. 4:6) Bwe tweyisa obulungi nga tuli n’ab’omu maka gaffe, bakozi bannaffe, ab’oluganda, ne baliraanwa baffe, tujja kusobola okuddamu abo abatujerega n’abatuvuma mu ngeri egwanira Abakristaayo.—Soma Abaruumi 12:17-21.
13. Waayo ekyokulabirako ekiraga nti okweyisa obulungi kiyinza okuleetera abalabe baffe okutuwuliriza.
13 Okulaga empisa ennungi mu mbeera enzibu kivaamu ebirungi bingi. Ng’ekyokulabirako, Omujulirwa omu mu Japan yagenda mu maka agamu okubuulira, nnyinimu n’omugenyi we ne bamuvuma. Ow’oluganda yasigala mukkakkamu, era yatambula n’abaviira. Yali akyali mu kitundu ekyo ng’abuulira, n’alengera omugenyi eyali amuvumye ng’amutunuulidde. Ow’oluganda bwe yamutuukirira, omusajja oyo yamugamba nti: “Nsaba kunsonyiwa olw’ebyo ebibaddewo. Nkirabye nti wadde nga tukuvumye osigadde n’akamwenyumwenyu. Nnyinza kukola ki okuba nga ggwe?” Olw’okuba omusajja oyo yali takyalina mulimu era nga ne nnyina yaakafa, yali tasuubira nti aliddamu okuba omusanyufu. Ow’oluganda yamusaba batandike okuyiga Baibuli n’akkiriza, era mu bbanga ttono baali basoma emirundi ebiri buli wiiki.
Engeri Esingayo Obulungi ey’Okuyiga Empisa
14, 15. Mu biseera bya Baibuli, abaweereza ba Yakuwa baatendekanga batya abaana baabwe?
14 Mu biseera bya Baibuli, abazadde abatya Katonda baayigirizanga abaana baabwe empisa ennungi awaka. Lowooza ku ngeri Ibulayimu ne mutabani we Isaaka gye baayogeramu mu Olubereberye 22:7. Kyeyoleka bulungi nti ne Yusufu yali yatendekebwa bazadde be. Bwe yali mu kkomera, yeeyisa bulungi eri bonna, nga mw’otwalidde ne basibe banne. (Lub. 40:8, 14) Engeri gye yayogeramu ne Falaawo eraga nti yali yayigirizibwa okwogera n’abantu ab’ekitiibwa.—Lub. 41:16, 33, 34.
15 Mu Mateeka Ekkumi agaaweebwa abaana ba Isiraeri mwalimu ekiragiro kino: “Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa: ennaku zo zibe nnyingi ku nsi gy’akuwadde Mukama Katonda wo.” (Kuv. 20:12) Engeri emu abaana gye bawaamu bazadde baabwe ekitiibwa kwe kweyisa obulungi awaka. Muwala wa Yefusa yalaga nti yali assaamu nnyo kitaawe ekitiibwa bwe yakkiriza okukola nga kitaawe bwe yali yeeyamye wadde nga tekyali kyangu.—Balam. 11:35-40.
16-18. (a) Abazadde bayinza batya okuyigiriza abaana baabwe empisa? (b) Birungi ki ebiyinza okuva mu kuyigiriza abaana empisa?
16 Kikulu nnyo okuyigiriza abaana baffe empisa ennungi. Okusobola okufuuka ab’obuvunaanyizibwa nga bakuze, abaana balina okuyiga okubuuza abagenyi, okwogerera ku ssimu, n’okuliira awamu n’abalala. Balina okuyigirizibwa lwaki kirungi okuyamba abalwadde ne bannamukadde, okusitulirako abo abakutte ebizito, n’okukwatirako abalala ku luggi nga bayitawo. Era balina okuyiga obukulu bw’okukozesa ebigambo gamba nga “nsaba,” “weebale nnyo,” “weebale kusiima,” “ng’olabye,” ne “nsonyiwa.”
17 Okuyigiriza abaana empisa si kizibu. Engeri esingayo obulungi kwe kubateerawo ekyokulabirako ekirungi. Ng’ayogera ku ngeri ye ne baganda be abasatu gye baayigamu empisa, Kurt ow’emyaka 25 agamba nti: “Twalabanga era twawuliranga engeri Taata ne Maama baayogerangamu n’engeri gye baakwatangamu abalala n’obugumiikiriza. Bwe twabanga ku Kizimbe ky’Obwakabaka ng’enkuŋŋaana tezinnatandika oba nga ziwedde, Taata yabeeranga nange ng’anyumyako n’ab’oluganda. Nnawuliranga engeri gye yabalamusangamu era ne ndaba n’engeri gye yabawangamu ekitiibwa.” Kurt agattako nti: “Oluvannyuma lw’ekiseera, nnali nneeyisiza ddala nga ye. Okuyisa abalala obulungi kyafuuka kya bulijjo. Nkikola lwa kwagala so si lwa buwaze.”
18 Kiki ekiyinza okuvaamu singa abazadde bayigiriza abaana baabwe empisa ennungi? Abaana bajja kwanguyirwa okukola emikwano era bajja kuba n’emirembe n’abantu abalala. Bajja kusobola okukolagana obulungi ne bakama baabwe era ne bakozi bannaabwe. Ate era abaana ab’empisa ennungi baleetera bazadde baabwe essanyu lingi n’obumativu.—Soma Engero 23:24, 25.
Empisa Ennungi Zitwawula ku Balala
19, 20. Lwaki tusaanidde okufuba okukoppa Katonda waffe n’Omwana we?
19 Pawulo yagamba nti: “Mukoppe Katonda ng’abaana abaagalwa.” (Bef. 5:1) Okukoppa Yakuwa Katonda n’Omwana we kizingiramu okukolera ku misingi gya Baibuli ng’egyo gye tulabye mu kitundu kino. Okukola ekyo kijja kutuyamba okwewala okwefuula ab’empisa ennungi nga twagala kusanyusa busanyusa bakama baffe oba kubaako bye twefunira.—Yud. 16.
20 Mu nnaku zino embi ez’oluvannyuma, Sitaani akola butaweera okulaba nti emitindo gy’empisa Yakuwa gye yassaawo giviirawo ddala. Naye Omulyolyomi tajja kusobola kumalawo mpisa nnungi mu Bakristaayo ab’amazima. Ka ffenna tube bamalirivu okugoberera ekyokulabirako kya Katonda waffe n’Omwana we. Bwe tunaakola tutyo, engeri gye twogeramu ne gye tweyisaamu ejja kuba ya njawulo nnyo ku y’abantu ab’empisa embi. Tujja kuweesa ekitiibwa erinnya lya Katonda waffe, Yakuwa, ow’empisa ennungi, era tujja kusikiriza abantu ab’emitima emirungi okujja mu kusinza okw’amazima.
[Obugambo obuli wansi]
a Mu bitundu ebimu tekiba kya mpisa okuyita omuntu akusinga obukulu erinnya. Kirungi Abakristaayo ne bassa ekitiibwa mu buwangwa ng’obwo.
Ojjukira?
• Kiki kye tuyigira ku Yakuwa n’Omwana we ku ngeri y’okulagamu empisa ennungi?
• Lwaki kirungi Abakristaayo okulamusa abalala?
• Okulaga empisa ennungi kiyinza kitya okutuyamba okufuna ebibala mu buweereza?
• Abazadde bayinza batya okuyigiriza abaana baabwe empisa ennungi?
[Akasanduuko akali ku lupapula 27]
Ssaako Akamwenyumwenyu
Abantu bangi tebaagala kunyumya na muntu gwe batamanyi. Kyokka olw’okuba baagala Katonda ne baliraanwa baabwe, Abajulirwa ba Yakuwa bafuba okuyiga okunyumya n’abalala basobole okubabuulira obubaka bwa Baibuli. Kiki ekinaakuyamba okunyumya obulungi n’abalala?
Abafiripi 2:4 wagamba nti: ‘Temufa ku byammwe byokka naye mufe ne ku by’abalala.’ Lowooza ku bigambo ebyo mu ngeri eno: Omuntu bw’aba takulabangako, ayinza okukwekengera. Kati osobola otya okumuyamba okuggwamu okutya? Okussaako akamwenyumwenyu ng’omulamusa kiyinza okuyamba. Naye waliwo n’ekirala ky’olina okulowoozaako.
Bw’otandika okwogera n’omuntu, oba omuggye ku bintu by’abadde alowooza. Singa oyogera naye ku ebyo by’olowooza nti bikulu nga tofuddeeyo kumanya ye ky’alowooza, ayinza obutakuwuliriza. N’olwekyo, bw’otegeera omuntu ky’abadde alowoozaako, kiba kya magezi n’otandikira ku ekyo okunyumya naye. Yesu bw’atyo bwe yakola bwe yasanga omukazi ku luzzi e Samaliya. (Yok. 4:7-26) Olw’okuba ebirowoozo by’omukazi byali ku kufuna mazzi, ekyo Yesu kye yatandikirako okwogera naye, oluvannyuma n’akikwataganya n’eby’omwoyo.
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 26]
Okukola omukwano ku bantu kiyinza okukuyamba okubawa obujulirwa
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 28]
Empisa ennungi zeetaagisa ekiseera kyonna