LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • mwbr21 Noovemba lup. 1-12
  • Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe
  • Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—2021
  • Subheadings
  • NOOVEMBA 1-7
Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—2021
mwbr21 Noovemba lup. 1-12

Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe

NOOVEMBA 1-7

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | YOSWA 18-19

“Yakuwa Yagabanyaamu Ensi mu Ngeri ey’Amagezi”

it-1-E lup. 359 ¶1

Ensalo

N’olwekyo kirabika ebintu bino ebibiri bye byasinziirwako nga bagabanyaamu ensi: ebyo ebyaava mu kukuba obululu n’obunene bw’ekika. Okukuba obululu kiyinza okuba nga kyayambako okulaga ekitundu buli kika gye kyandifunye obusika bwakyo. Ekyo kyabasobozesa okumanya obanga ekitundu ky’ekika eky’obusika kyali bukiikakkono oba bukiikaddyo, buvanjuba oba bugwanjuba, mu kitundu eky’ensozi, oba ku lubalama lw’ennyanja. Byonna ebyava mu kukuba obululu byava eri Yakuwa. Ekyo kyayambako ebika obutakwatirwagana buggya oba kuyombagana. (Nge 16:33) Ate era okuyitira mu kukuba obululu, Katonda yandisobozesezza buli kika okufuna ekitundu kyakyo eky’obusika okusinziira ku bunnabbi Yakobo bwe yayogera ng’anaatera okufa obuli mu Olubereberye 49:1-33.

it-1-E lup. 1200 ¶1

Obusika

Ebitundu eby’obusika. Yakuwa ye yawa Abayisirayiri ebitundu eby’obusika, era yalaga Musa ensalo z’ensi. (Kbl 34:1-12; Yos 1:4) Ab’ekika kya Gaadi, ekya Lewubeeni, n’ekitundu ekimu eky’okubiri eky’ekika kya Manase, Musa ye yabagabanyizaamu ebitundu byabwe. (Kbl 32:33; Yos 14:3) Ate Yakuwa yakozesa Yoswa ne Eriyazaali okugabanyizaamu ebika ebirala ebitundu byabyo. (Yos 14:1, 2) Ng’obunnabbi bwa Yakobo obuli mu Olubereberye 49:5, 7 bwe bulaga, ebitundu eby’obusika eby’ekika kya Simiyoni n’ekya Leevi tebyali mu kitundu kimu. Ekitundu eky’obusika ekya Simiyooni (awamu n’ebibuga ebitali bimu) kyali munda mu kitundu eky’obusika ekya Yuda. (Yos 19:1-9) Ate ab’ekika kya Leevi baaweebwa ebibuga 48 ebyali mu bitundu ebitali bimu mu Isirayiri. Olw’okuba Abaleevi baali baaweebwa obuvunaanyizibwa obw’okuweereza mu kifo ekitukuvu, Yakuwa ye yali obusika bwabwe. Baaweebwanga ekitundu kimu kya kkumi ng’omugabo gwabwe oba obusika bwabwe olw’emirimu gye baakolanga. (Kbl 18:20, 21; 35:6, 7) Abantu ab’empya ezitali zimu baaweebwanga emirimu egy’okukola mu bitundu eby’obusika eby’ebika byabwe. Empya bwe zandyeyongedde okugejja, abaana abalenzi ne basikira ettaka, ebitundu eby’obusika byandibadde byeyongera okwawulibwamu ebitundu ebitonotono.

it-1-E lup. 359 ¶2

Ensalo

Oluvannyuma lw’obululu okulaga wa buli kika gye kyandifuye obusika bwakyo, kati kyali kyetaagisa okumanya kitundu kyenkana wa buli kika kye kyandifunye. Abayisirayiri baagambibwa nti: “Ensi mujja kugigabana nga mukuba kalulu okusinziira ku mpya zammwe. Ekibinja ekirimu abantu abangi mujja kukiwa ekitundu kinene okuba obusika, ate ekirimu abatono mujja kukiwa ekitundu kitono okuba obusika. Buli omu akalulu we kanaamuteeka we wajja okuba obusika bwe.” (Kbl 33:54) Ekitundu akalulu gye kaalaga nti ekika gye kyandifunye obusika bwakyo, kyali tekisobola kukyusibwa. Naye obunene bw’ekitundu ky’obusika bwali busobola okukyusibwa. N’olwekyo bwe kyazuulibwa nti ekitundu ky’obusika eky’ekika kya Yuda kyali kinene nnyo, kyakendeezebwako ekitundu ekimu ne kiweebwa ekika kya Simiyooni.​—Yos 19:9.

Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

it-1-E lup. 359 ¶5

Ensalo

Bayibuli eraga nti mu kitundu eky’ebugwanjuba wa Yoludaani, ekika kya Yuda (Yos 15:1-63), ekya Yusufu (Efulayimu) (Yos 16:1-10), n’ekitundu ekimu eky’okubiri eky’ekika kya Manase (Yos 17:1-13) bye byasooka okukubirwa obululu, era ensalo zaabyo ne zirambikibwa bulungi awamu n’ebibuga byabyo. Oluvannyuma lw’ekyo, kirabika baayimirizaamu okugabanyaamu ensi, kubanga Bayibuli eraga nti oluvannyuma Abayisirayiri baava e Girugaali ne bagenda ne basiisira e Siiro. (Yos 14:6; 18:1) Ekiseera kye baamala nga bayimirizzaamu okugabanyaamu ensi Bayibuli tekiraga, naye oluvannyuma Yoswa yanenya ebika ebirala omusanvu ebyali bitannafuna bitundu byabyo eby’obusika olw’okugayaala okuwamba ekitundu ky’ensi ekyali kisigaddeyo. (Yos 18:2, 3) Abantu bawadde endoooza ez’enjawulo ku kiyinza okuba nga kye kyaviirako ebika omusanvu okulwawo okuwamba ebitundu by’ensi ebyali bisigaddeyo. Abamu bagamba nti omunyago omungi Abayisirayiri gwe baafuna mu bitundu bye baali bawambye, n’okuba nti baali tebatya nti basobola okulumbibwa Abakanani abaali bakyasigaddewo, kiyinza okuba nga kye kyabaviirako obutanguwa kuwamba bitundu bya nsi ebyali bisigadde. Ate era okulwawo okuwamba ebitundu by’ensi ebyali bikyasigaddeyo, kiyinza okuba nga kyava ku kuba nti Abayisaryiri baali tebaagala kwaŋŋanga Abakanani abamu abaali ab’amaanyi. (Yos 13:1-7) Kiyinzika n’okuba nti baali tebamanyi bulungi bitundu bya Nsi Nsuubize bye baali batannaba kuwamba nga bwe baali bamanyi obulungi ebyo bye baali bamaze okuwamba.

NOOVEMBA 8-14

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | YOSWA 20-22

“Bye Tuyigira ku Butakkaanya Obwaliwo”

w06 5/1 lup. 5 ¶3

Ebinaakuyamba Okuba n’Empuliziganya Ennungi ne Munno mu Bufumbo

Omuntu bw’annyonnyola obulungi ensonga, omulala tasobola kumutegeera bubi. Ng’ekyokulabirako, okusinziira ku byafaayo by’Abayisirayiri, ab’ekika kya Lewubeeni, Gaadi, n’ekitundu ky’ekika kya Manase abaali babeera ebuvanjuba wa Yoludaani bwe baazimba “ekyoto ekinene ennyo” okumpi n’omugga Yoludaani, ebika ebirala byabategeera bubi. Nga balowooza nti baganda baabwe abaali ebuvanjuba wa Yoludaani baali bakoze ekikolwa eky’obwewagguzi, ebika ebyali ebugwanjuba byateekateeka okulumba baganda baabwe abo be baalowooza okuba ‘bakyewaggula.’ Nga tebannabalumba, baasooka kubatumira babaka. Ng’ekyo kyali kya magezi nnyo! Baakizuula nti ekyoto ebika ebyali ebuvanjuba wa Yoludaani kye byali bizimbye tekyali kya kuweerako ssaddaaka ezaali zitakkirizibwa mu Mateeka. Baakitegeera nti baakizimba lwa kuba nti baali beeraliikirira nti mu maaso eyo bazukkulu b’ebika ebiri ebugwanjuba wa Yoludaani bandigambye bazzukulu baabwe nti ‘tebaalina kakwate na Yakuwa Katonda wa Isirayiri.’ Ekyoto ekyo baali bakikoze bube obujulirwa obulaga nti nabo baali baweereza ba Yakuwa. (Yos. 22:10-29) N’olw’ensonga eyo, baakiyita Mujulirwa kubanga kyali kikola ng’obujulirwa obulaga nti nabo baali bakimanyi nti Yakuwa ye Katonda w’amazima.​—Yos. 22:34.

w08 11/15 lup. 18 ¶5

“‘Luubirira Ebintu Ebireeta Emirembe’”

Abayisirayiri abamu bayinza okuba nga baali balaba nti ekyoto ekyo bwali bujulizi bwa nkukunala obulaga nti amateeka gaali gamenyeddwa, era nti okubazinduukiriza kyali kijja kubayamba obutafiirwa balwanyi bangi. Naye mu kifo ky’okupapa, ab’ebika ebyali ebugwanjuba wa Yoludaani baasalawo okutuma ababaka bagende eri baganda baabwe boogere nabo ku nsonga eyo. Baababuuza nti: “Kikolwa ki kino ekitali kya bwesigwa kye mukoze mu maaso ga Katonda wa Isirayiri?” Ekituufu kyali nti ab’ebika ebyazimba ekyoto baali tebalina kikyamu kyonna kye bakoze. Naye bandyeyisiza batya nga banenyezeddwa mu bukyamu? Bandiyombesezza abo ababanenya oba bandigaanye okwogera nabo? Baddamu na bukkakkamu ne babannyonnyola nti ekyoto baali bakizimbye lwa kwagala kuweereza Yakuwa. Okuddamu bwe batyo kyabayamba okukuuma enkolagana yaabwe ne Katonda era beewala okuyiwa omusaayi. Ate era, okwogera n’obukkakkamu kyayamba okumalawo obutakkaanya obwo n’okuzzaawo emirembe.​—Yos. 22:13-34.

Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

it-1-E lup. 402 ¶3

Kanani

Wadde ng’Abakanani bangi baawonawo ng’Abayisirayiri bawambye Ensi Ensuubize, era nga baagaana okufugibwa Abayisirayiri, kiyinza okugambibwa nti ‘Yakuwa yawa Isirayiri ensi yonna gye yalayira okuwa bajjajjaabwe,’ nti yabawa “ekiwummulo ku njuyi zonna,” era nti “tewali kisuubizo na kimu ekitaatuukirira ku bisuubizo byonna ebirungi Yakuwa bye yasuubiza ennyumba ya Isirayiri; byonna byatuukirira.” (Yos 21:43-45) Abalabe ba Isirayiri ku njuyi zonna baali mu kutya era baali tebasobola kubalumba. Emabegako, Katonda yali agambe Abayisirayiri nti yandibadde agoba Abakanani mu nsi “mpolampola” ensolo ez’omu nsiko zireme kuyitirira bungi mu nsi. (Kuv 23:29, 30; Ma 7:22) Wadde nga kituufu nti Abakanani baalina eby’okulwanyisa eby’amaanyi omwali n’amagaali g’olutalo agaalina nnamuziga ezaaliko ebyuma ebisala, Abayisirayiri okulemererwa okuwamba ebitundu ebimu eby’ensi tekyava ku kuba nti Yakuwa yalemererwa okutuukiriza ekisuubizo kye. (Yos 17:16-18; Bal 4:13) Ebyawandiikibwa biraga nti obutali bwesigwa bw’Abayisirayiri bwe bwabaviirako okuwangulwa mu bitundu ebimu.​—Kbl 14:44, 45; Yos 7:1-12.

NOOVEMBA 15-21

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | YOSWA 23-24

“Okubuulirira Yoswa Kwe Yasembayo Okuwa Abayisirayiri”

it-1-E lup. 75

Emikago

Waliwo embeera endala eyajjawo ng’Abayisirayiri bamaze okuyingira mu Nsi Ensuubize. Katonda, Omufuzi ow’Okuntikko, yali awadde Abayisirayiri ensi ya Kanani nga bwe yali asuubizza bajjajjaabwe. N’olwekyo bwe baayingira mu nsi eyo, tebaali bagwira era Yakuwa yabagaana okukola omukago n’amawanga agaali gasinza bakatonda ab’obulimba. (Kuv 23:31-33; 34:11-16) Baali ba kukwata amateeka ga Katonda gokka n’ebiragiro bye, so si ag’amawanga agaalina okugobebwa mu nsi eyo. (Lev 18:3, 4; 20:22-24) Ate era baalabulwa obutafumbiriganwa na bantu ba mawanga ago. Okufumbiriganwa n’abantu b’amawanga ago kyandiviiriddeko Abayisirayiri okuba n’ab’eŋŋanda zaabwe abatasinza Yakuwa. Era kyandibaviiriddeko okwenyigira mu bulombolombo obw’ekikaafiiri. Ekyo kyandireeseewo obwa kyewaggula mu Isirayiri era kyandibadde kyambika gye bali.​—Ma 7:2-4; Kuv 34:16; Yos 23:12, 13.

w07 11/1 lup. 26 ¶19-20

Ekigambo kya Yakuwa Tekiremererwa

19 Mazima ddala okusinziira ku bye tulabye n’amaaso gaffe, tuyinza okugamba nti: ‘Tewali kigambo kyonna ku bisuubizo byonna ebirungi Yakuwa Katonda waffe bye yabasuubiza ekitatuukiridde.’ (Yos. 23:14) Yakuwa anunula, akuuma, era alabirira abaweereza be. Oyinza okunokolayo ekisuubizo kye kyonna ekitaatuukirira mu kiseera kye ekigereke? Tosobola n’akatono. Kya magezi okwesiga Ekigambo kya Katonda.

20 Kiri kitya ku biseera eby’omu maaso? Yakuwa atusuubiza nti abasinga obungi ku ffe tujja kubeera mu nsi eneeba efuuliddwa olusuku lwa Katonda. Abamu ku ffe balina essuubi ery’okufugira awamu ne Kristo mu ggulu. Naye ka tube nga tulina ssuubi ki, tulina ensonga entuufu okukuuma okukkiriza kwaffe nga kunywevu nga Yoswa. Olunaku lujja kutuuka ebyo bye tusuubira bituukirire. Olwo nno tulijjukira ebisuubizo bya Yakuwa byonna, ne tugamba nti: “Byonna bituukiridde.”

Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

w05 4/1 lup. 32 ¶2

Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Yoswa

24:2​—Kitaawe wa Ibulayimu, Teera, yali musinza wa bifaananyi? Okusooka, Teera yali tasinza Yakuwa Katonda. Kirabika yasinzanga katonda ow’omwezi ayitibwa Sini​—eyali asinzibwa ennyo mu Uli. Okusinziira ku Bayudaaya, Teera ayinza n’okuba nga yali mukozi wa bifaananyi. Kyokka, Ibulayimu bwe yava mu Uli nga Katonda bwe yali amulagidde, Teera yagenda naye e Kalani.​—Lub. 11:31.

NOOVEMBA 22-28

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | EKYABALAMUZI 1-3

“Ekikolwa Ekyoleka Obuvumu”

w04-E 3/15 lup. 31 ¶3

Ekudi Amenya Ekikoligo ky’Omulabe

Okuba nti olukwe Ekudi lwe yakola lwayitamu, tekyava ku kuba nti yali mugezi nnyo oba nti abalabe ba Isirayiri tebaali ba maanyi. Ekigendererwa kya Yakuwa okusobola okutuukirira, tekisinziira ku nteekateeka z’abantu. Yakuwa ye yasobozesa Ekudi okutuuka ku buwanguzi, era ekyo Ekudi kye yakola kyali kituukagana n’ekigendererwa kya Yakuwa eky’okununula abantu be. Yakuwa ye yassaawo Ekudi, era ‘buli Yakuwa lwe yawanga Abayisirayiri omulamuzi, yabeeranga n’omulamuzi oyo.’​—Balam. 2:18; 3:15.

w04-E 3/15 lup. 30 ¶1-3

Ekudi Amenya Ekikoligo ky’Omulabe

Ekintu Ekudi kye yasooka okukola, kwe ‘kwekolera ekitala’ ekyali kisala eruuyi n’eruuyi, era kyali kimpi ne kiba nti yali asobola okukikweka mu byambalo bye. Ateekwa okuba nga yali akimanyi nti baali bagenda kumwaza. Ebitala baateranga kubisiba ku luuyi olwa kkono, era ekyo kyasobozesanga abantu abakozesa omukono ogwa ddyo okubisowolayo amangu. Olw’okuba Ekudi yali akozesa mukono gwa kkono, yakweka ekitala kye wansi ‘w’ekisambi kye ekya ddyo munda mu lugoye lwe,’ abakuumi ba kabaka we baali bayinza obutaaza. Bwe kityo awatali kukugirwa kwonna, ‘Ekudi yatuuka eri Eguloni kabaka wa Mowaabu n’amuwa ekirabo kye yali asabye.’​—Ekyabalamuzi 3:16, 17.

Ebyo ebyaliwo mu lubiri lwa Eguloni nga Ekudi atutteyo ekirabo, Bayibuli tebitubuulira. Egamba bugambi nti: “Ekudi bwe yamala okuwaayo ekirabo, n’agenda n’abantu abajja bakyetisse.” (Ekyabalamuzi 3:18) Ekudi bwe yamala okuwaayo ekirabo, yaddayo n’abantu abaali bakyetisse. Naye oluvannyuma nga bamaze okutambulako akabanga, yakyusa n’akomawo mu lubiri bo n’abaleka ne beeyongerayo. Lwaki? Yali azze n’abasajja abo olw’okuba yali ayagala kufuna bukuumi, yali ayagala kutambula butambuzi nabo, oba yali ayagala bamuyambeko okwetikka ekirabo? Era okusooka okufuluma olubiri, yali ayagala basooke bagende baleme kutuukibwako kabi ng’atuukiriza olukwe lwe yali akoze? Ka kibe ki Ekudi kye yali alowooza, yakomawo yekka mu lubiri.

Ekudi bwe yatuuka awaali ebifaananyi ebyole e Girugaali, ye n’addayo eri kabaka n’amugamba nti: “Ai kabaka, nnina obubaka obw’okukutegeeza mu kyama.” Ebyawandiikibwa tebiraga ngeri gye yasobola okuddamu okutuuka mu maaso ga Eguloni. Abakuumi tebaamwekengera? Kyandiba nti baalowooza nti olw’okuba yali yekka, yali talina bulabe bwonna bwe yali ayinza kutuusa ku mukama waabwe? Oba kyandiba nti baalowooza nti olw’okuba yajja yekka, yali alyamu abantu b’omu nsi ye olukwe? Ka kibe ki kye baalowooza, Ekudi yasaba okwogerako ne kabaka nga bali bokka, era n’akkirizibwa.​—Ekyabalamuzi 3:19.

Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

w05 3/1 lup. 8 ¶7

Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo ky’Ekyabalamuzi

2:10-12. Tulina okwesomesa Bayibuli obutayosa ‘tuleme kwerabira bikolwa bya Yakuwa.’ (Zab. 103:2) Abazadde basaanidde okuyigiriza abaana baabwe amazima agali mu Kigambo kya Katonda.​—Ma. 6:6-9.

NOOVEMBA 29–DDESEMBA 5

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | EKYABALAMUZI 4-5

“Yakuwa Yakozesa Abakazi Babiri Okununula Abantu Be”

w15 8/1 lup. 13 ¶1

‘Nnayimuka nga Maama Okuyamba Isirayiri’

Abayisirayiri baali batya nnyo Sisera. Engeri Abakanani gye beeyisangamu n’engeri gye baasinzangamu yalimu ebikolwa ebibi gamba ng’okusaddaaka abaana n’obwamalaaya mu yeekaalu. Kati olwo embeera yali etya nga Sisera n’eggye lye be bafuga Abayisirayiri? Mu luyimba Debola lwe yayimba yalaga nti kyabanga kya bulabe okutambulira mu makubo era nti abantu baali tebakyabeera mu byalo. (Balam. 5:6, 7) Kuba akafaananyi ng’abantu beekwese mu nsiko oba mu nsozi, nga batya okubeera oba okulimira mu byalo ebitaliiko nkomera era nga batya okutambulira mu makubo olw’okuba baali bayinza okulumbibwa, abaana baabwe okuwambibwa, oba bakazi baabwe okukwatibwa.

w15 8/1 lup. 13 ¶2

‘Nnayimuka nga Maama Okuyamba Isirayiri’

Abayisirayiri baali mu ntiisa ey’engeri eyo okumala emyaka 20, okutuusa Yakuwa lwe yalaba nti baali baboneredde, oba ng’oluyimba lwa Debola ne Balaki olwaluŋŋamizibwa bwe lugamba nti, “Okutuusa nze Debola lwe nnayimuka, okutuusa lwe nnayimuka nga maama okuyamba Isirayiri.” Tetumanyi obanga Debola mukazi wa Lappidosi yazaala abaana. Ka kibe nti yazaala oba teyazaala, ekigambo “maama” kikozesebwa mu ngeri ya kabonero. Kiraga nti Yakuwa yawa Debola obuvunaanyizibwa obw’okuyamba Abayisirayiri nga maama bw’ayamba abaana be. Ng’akolera ku bulagirizi bwa Yakuwa, Debola yatumya Omulamuzi Balaki, omusajja eyalina okukkiriza okw’amaanyi, n’amugamba alwanyise Sisera.​—Balam. 4:3, 6, 7; 5:7.

w15 8/1 lup. 15 ¶2

‘Nnayimuka nga Maama Okuyamba Isirayiri’

Yayeeri yalina okuyiiya eky’okukola mu bwangu. Yalaga Sisera aw’okuwummulira. Sisera yamugamba obutabuulira muntu yenna amunoonya nti yeekwese mu weema. Bwe yeebaka, Yayeeri yamubikka bulangiti era bwe yasaba amazzi yamuwaamu mata amasunde. Mu kaseera katono Sisera yeebaka otulo otw’amaanyi. Yayeeri yakwata enkondo n’ennyondo, ebintu abakazi abaabeeranga mu weema bye baakozesanga ennyo. Yasooba n’asembera kumpi n’omutwe gwa Sisera, asobole okumutta. Singa yalwawo oba singa waabaawo ekintu kyonna ne kizuukusa Sisera, yandisse Yayeeri. Yayeeri yandiba nga yalowooza ku bantu ba Katonda n’engeri omusajja oyo gye yali abatulugunyizzaamu okumala emyaka mingi? Oba yalowooza ku nkizo ey’okulaga nti ali ku ludda lwa Yakuwa? Bayibuli teyogera ku nsonga ezo, naye eraga nti Yayeeri yatta Sisera!​—Balam. 4:18-21; 5:24-27.

Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

w05 3/1 lup. 9 ¶5

Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo ky’Ekyabalamuzi

5:20​—Emmunyeenye okuva mu ggulu zaalwanirira zitya Balaki? Bayibuli tetubuulira obanga kino kyali kizingiramu obuyambi bwa bamalayika, oba nti ku ggulu kwalabikako obubonero obwataputibwa abasajja ba Sisera abagezigezi nti olutalo lwali lugenda kubagendera bubi, oba nti abalaguzisa emmunyeenye baalagula eby’obulimba. Ekituufu kiri nti Katonda yayamba abantu be.

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

w06-E 3/1 lup. 28-29

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Kiki omutume Pawulo kye yali ategeeza bwe yagamba nti abakazi “basirikenga mu kibiina”?

Pawulo yawandiikira Abakristaayo ab’omu Kkolinso n’abagamba nti: “Nga bwe kiri mu bibiina byonna eby’abatukuvu, abakazi basirikenga mu kibiina kubanga tebakkirizibwa kwogera.” (1 Kol. 14:33, 34) Okusobola okutegeera obulungi ekyo Pawulo kye yali ategeeza, tusaanidde okutegeera ensonga gye yali annyonnyola mu ssuula eyo.

Mu 1 Abakkolinso essuula 14, Pawulo yannyonnyola ebikwata ku nkuŋŋaana z’Ekikristaayo. Yayogera ku ebyo ebirina okukubaganyizibwako ebirowoozo mu nkuŋŋaana ezo, era n’awa amagezi ku ngeri gye zisaanidde okukubirizibwamu. (1 Kol. 14:1-6, 26-34) Ate era yalaga nti ekigendererwa ky’enkuŋŋaana z’Ekikristaayo kwe kuba nti ‘ekibiina kyonna kizimbibwa.’​—1 Kol. 14:4, 5, 12, 26.

Obulagirizi Pawulo bwe yawa obukwata ku ‘kusirika’ bulabika emirundi esatu mu 1 Abakkolinso essuula 14. Ku buli mulundi, yabuwa abantu ab’ekiti eky’enjawulo, naye ekigendererwa kyali kye kimu; okuba nti ‘ebintu byonna bikolebwa mu ngeri esaanira era entegeke obulungi.’​—1 Kol. 14:40.

Ekiti ekisooka. Pawulo yagamba nti: “Bwe wabaawo aboogera mu nnimi, babe babiri oba bwe basingawo tebasukka basatu, ate boogere mu mpalo era wabeewo avvuunula. Singa tewabaawo avvuunula, basirike mu kibiina era boogere mu mitima gyabwe eri Katonda.” (1 Kol. 14:27, 28) Ekyo kyali tekitegeeza nti abantu ng’abo baali tebalina kwogera kintu kyonna nga bazze mu nkuŋŋaana, wabula kitegeeza nti waliwo ekiseera lwe baalina okuba nga basirise. Ate era omuntu okwogera olulimi abalala lwe batategeera tekyandituukirizza kigendererwa ekikulu eky’enkuŋŋaana, eky’okuba nti buli omu azimba munne.

Ekiti eky’okubiri. Pawulo yagamba nti: “Bannabbi babiri oba basatu be baba boogera, abalala bafube okufuna amakulu. Singa omu ku abo abatudde afuna okubikkulirwa, abadde ayogera asirike.” Ekyo tekitegeeza nti nnabbi eyabanga asoose okwogera yalina okwewala okubaako ekintu kyonna ky’addamu okwogera mu lukuŋŋaana, wabula kitegeeza nti ebiseera ebimu yalinanga okusirika. Ekyo kyandisobosezza oyo eyabanga afunye okubikkulirwa okwogera eri ekibiina, era mu ngeri eyo ekigendererwa ky’enkuŋŋaana ‘eky’okuzzaamu bonna amaanyi,’ kyandibadde kituukibwako.​—1 Kol. 14:26, 29-31.

Ekiti eky’okusa. Pawulo yagamba abakazi Abakristaayo nti: “Abakazi basirikenga mu kibiina kubanga tebakkirizibwa kwogera, naye babe bawulize.” (1 Kol. 14:34) Lwaki Pawulo yawa bannyinaffe ekiragiro ekyo? Yakibawa, ekibiina kireme kubaamu kavuyo. Yabagamba nti: “Bwe baba baagala okubaako kye bayiga, babuuze babbaabwe awaka, kubanga kiswaza omukazi okwogera mu kibiina.”​—1 Kol. 14:35.

Oboolyawo abakazi abamu Abakristaayo baabanga bawakanya ebyo ebyabanga biyigirizibwa mu kibiina. Okubuulirira Pawulo kwe yawa bannyinaffe abo kwabayamba okwewala ekintu ng’ekyo ekyali kireetawo akavuyo. Era kwabayamba okukkiriza n’obuwombeefu ekifo Yakuwa kye yabawa eky’okuba nti abaami baabwe gwe mutwe gwabwe. (1 Kol. 11:3) Ate era bannyinaffe okusirika mu nkuŋŋaana kyandibadde kiraga nti baali tebaluubirira kuba bayigiriza mu kibiina. Mu bbaluwa Pawulo gye yawandiikira Timoseewo, yakiraga nti kikyamu omukazi okuluubirira okuba omuyigiriza mu kibiina. Yagamba nti: “Sikkiriza mukazi kuyigiriza oba okufuga omusajja, wabula asirikenga.”​—1 Tim. 2:12.

Ekyo kitegeeza nti omukazi Omukristaayo talina kubaako ky’ayogera ng’ali mu lukuŋŋaana? Nedda. Mu kiseera kya Pawulo, waliwo ekiseera abakazi lwe baayogeranga mu nkuŋŋaana. Oboolyawo nga balina omwoyo omutukuvu, baasabanga oba baayogeranga obunnabbi. Bwe baabanga bakola ebintu ng’ebyo, baakiraganga nti bakkiriza ekifo kye balina mu nteekateeka ya Yakuwa ey’obukulembeze, nga babikka ku mitwe gyabwe. (1 Kol. 11:5) Ate era mu kiseera kya Pawulo era ne mu kiseera kyaffe, bannyinaffe awamu ne baganda baffe bakubirizibwa okwatula essuubi lyabwe mu lujjudde. (Beb. 10:23-25) Ekyo bannyinaffe bakikola nga beenyigira mu mulimu gw’okubuulira, nga babaako bye baddamu mu nkuŋŋaana ebizzaamu amaanyi, era nga bafuba okukola obulungi ebitundu ebiba bibaweereddwa okukolako mu nkuŋŋaana.

N’olwekyo, abakazi Abakristaayo ‘basirika’ mu nkuŋŋaana nga beewala okuyigiriza, kubanga obuvunaanyizibwa obwo bwaweebwa basajja. Tebabuuza bibuuzo biraga nti bawakanya obuyinza obw’okuyigiriza obwaweebwa abasajja. Bannyinaffe bwe bamanya ekifo kyabwe ekituufu kye balina mu kibiina, bayambako mu kuleetawo emirembe mu kibiina, era ng’ekyo kye kimu ku bisobozesa ‘ebintu byonna ebikolebwa mu kibiina okuba nga bizimba.’​—1 Kol. 14:26, 33.

DDESEMBA 6-12

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | EKYABALAMUZI 6-7

“Genda n’Amaanyi g’Olina”

w02 3/1 lup. 6-7

Emisingi gya Katonda Giyinza Okukuganyula

Omuntu omu eyali teyeetwala nti wa kitalo, ye Gidiyoni, eyali omulamuzi mu Isirayiri ey’edda. Teyaluubirira kuba mukulembeze wa Isirayiri. Bwe yalondebwa okuba mu kifo ekyo, yagamba nti yali tasaanidde. Yagamba bw’ati: “Oluggya mwe nva lwe lusingayo okuba olutono mu Manase, era nze nsingayo okuba owa wansi mu nnyumba ya kitange.”​—Balam. 6:12-16.

w05-E 7/15 lup. 16 ¶3

“Ekitala kya Yakuwa n’Ekya Gidiyoni!”

Kati Abamidiyaani bafuna entiisa ey’amaanyi! Obudde bubadde busirifu, ne bawulira okwatikayatika kw’ensumbi 300, eŋŋombe 300 ezifuuyibwa, n’abasajja 300 abaleekaana. Okusingira ddala ebigambo, “Ekitala kya Yakuwa n’ekya Gidiyoni!,” bitiisa nnyo Abamidiyaani nabo ne batandika okuleekaana era ne wabaawo oluyoogaano olw’amaanyi. Mu kavuvuŋŋano ako, Abamidiyaani kibabeerera kizibu okwawulawo ali ku ludda lwabwe n’omulabe waabwe. Abasajja 300 bayimirira buyimirizi mu bifo byabwe, ng’eno Katonda bw’aleetera abalabe baabwe okuttiŋŋana bokka bokka nga bakozesa ebitala byabwe. Abamidiyaani badduka, Abayisirayiri ne babawondera ne babazikiriza era okuva olwo Midiyaani teyaddamu kulumba Isirayiri. Abamidiyaani baali bamaze ekiseera kiwanvu nga balumba Abayisirayiri ne babatta, naye kati ekyo kyali kikomye.​—Balam. 7:19-25; 8:10-12, 28.

Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

w05 3/1 lup. 10 ¶6

Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo ky’Ekyabalamuzi

6:25-27. Gidiyoni yakozesa amagezi n’atanyiiza abo abaali bamuziyiza. Bwe tuba tubuulira amawulire amalungi, tulina okwegendereza obutamala googera bigambo ebiyinza okunyiiza abo be tubuulira.

DDESEMBA 13-19

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | EKYABALAMUZI 8-9

“Okuba Omwetoowaze Kisinga Okuba ow’Amalala”

w00-E 8/15 lup. 25 ¶3

Ogonjoola Otya Obutakkaanya?

Gidiyoni bwe yali alwanyisa Abamidiyaani, yayita ab’ekika kya Efulayimu okumuyambako. Kyokka olutalo bwe lwaggwa, Abeefulayimu baagenda eri Gidiyoni nga basunguwavu ne bamubuuza ensonga lwaki teyabayita ng’olutalo lutandika. Bayibuli egamba nti ‘baamuyombesa nnyo.’ Kyokka Gidiyooni yabaddamu nti: “Kiki kye nkoze ekiyinza okugeraageranyizibwa ku kye mukoze? Ezzabbibu Efulayimu ly’alonderera terisinga eryo Abi-yezeri ly’akungula? Katonda awaddeyo Olebu ne Zeebu, abaami ba Midiyaani, mu mukono gwammwe; kale nze kiki kye nkoze ekiyinza okugeraageranyizibwa ku kye mukoze?” (Balam. 8:1-3) Olw’ebigambo ebyo ebirungi, Gidiyoni yakkakkanya embeera, bw’atyo n’alemesa olutalo olwandibadde olw’amaanyi okubaawo. Abantu b’ekika kya Efulayimu bayinza okuba nga baalina ekizibu eky’okwetwala nti ba kitalo, n’amalala. Naye ekyo tekyalemesa Gidiyoni kufuba kuleetawo mirembe wakati we nabo. Tusobola tutya okumukoppa?

w17.01 lup. 20 ¶15

Ensonga Lwaki Kikulu Okuba Omwetoowaze

15 Gidiyooni yateekawo ekyokulabirako ekirungi mu kwoleka obwetoowaze. Malayika wa Yakuwa bwe yamulabikira, Gidiyooni yayogera ebigambo ebiraga nti yali mwetoowaze. (Balam. 6:15) Oluvannyuma lw’okukkiriza omulimu Yakuwa gwe yali amuwadde, Gidiyooni yafuba okutegeera ebyo Yakuwa bye yali amwetaagisa okukola, era n’asaba Yakuwa amuwe obulagirizi. (Balam. 6:36-40) Gidiyooni yali muvumu. Wadde kyali kityo, yali musajja mwegendereza. (Balam. 6:11, 27) Teyakozesa nkizo eyali emuweereddwa kwenoonyeza ttutumu. Bwe yamala okukola omulimu ogwali gumuweereddwa, Gidiyooni yaddayo ewuwe.​—Balam. 8:22, 23, 29.

w08 2/15 lup. 9 ¶9

Tambulira mu Makubo ga Yakuwa

9 Okusobola okubeera mikwano gya Katonda, tulina okuba “abawombeefu.” (1 Peet. 3:8; Zab. 138:6) Essuula 9 mu kitabo Ekyabalamuzi eraga obukulu bw’okubeera omuwombeefu. Yosamu mutabani wa Gidiyoni yagamba nti: “Olwatuuka emiti ne gifuluma okufuka amafuta ku kabaka anaagifuganga.” Omuzeyituuni, omutiini, n’omuzabbibu gyasembebwa. Gy’ali gikiikirira abantu abaali basaanira okufuga Baisraeri bannaabwe naye ne batakkiriza. Naye omweramannyo​—omuti ogutaalina mugaso mulala okuggyako okufumbisibwa—​gwali gukiikirira obufuzi bwa Abimereki ow’amalala, omutemu eyali ayagala okunyigiriza abalala. Wadde nga yeefuula ‘mukulu mu Isirayiri okumala emyaka esatu,’ yafa mu kiseera ekyali kitasuubirwa. (Balam. 9:8-15, 22, 50-54) Nga kiba kirungi nnyo okuba “abawombeefu”!

Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

it-1-E lup. 753 ¶1

Efodi, I

Wadde nga Gidiyoni teyalina kigendererwa kikyamu okukola Efodi okujjuukirirangako obuwanguzi Yakuwa bwe yawa Isirayiri, efodi eyo ‘yafuuka ekyambika eri Gidiyoni n’ab’omu nnyumba ye,’ kubanga Abayisirayiri baatandika okugisinza, bwe batyo ne benda mu by’omwoyo. (Bal 8:27) Kyokka Bayibuli teraga nti Gidiyoni naye yagisinza, kubanga Gidiyoni y’omu ku abo omutume Pawulo be yayogerako abali mu kibinja ‘ekinene eky’abajulirwa’ ba Yakuwa abeesigwa abaaliwo nga Yesu tannajja ku nsi.​—Beb 11:32; 12:1.

DDESEMBA 20-26

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | EKYABALAMUZI 10-12

“Yefusa Yali Muntu wa bya Mwoyo”

w16.04 lup. 7 ¶9

Bwe Twoleka Okukkiriza, Tusiimibwa Katonda

9 Ebyokulabirako eby’abaweereza ba Katonda abaayoleka okukkiriza, gamba nga Yusufu, eyalaga baganda be ekisa wadde nga baali baamukyawa, nabyo biteekwa okuba nga byakwata nnyo ku Yefusa. (Lub. 37:4; 45:4, 5) Okufumiitiriza ku byokulabirako ng’ebyo kiteekwa okuba nga kyayamba Yefusa okusalawo okukola ebyo ebisanyusa Yakuwa. Wadde ng’engeri baganda be gye baamuyisaamu teyali nnungi, ekyo tekyamulemesa kweyongera kuweereza Yakuwa n’okuyamba abantu be. (Balam. 11:9) Mu kifo ky’okudda awo okulowooza ku ngeri embi gye baali bamuyisizzaamu, okulwanirira erinnya lya Yakuwa kye kintu ekyali kisinga obukulu eri Yefusa. Yali mumalirivu okusigala nga mwesigwa eri Yakuwa, era ekyo kyamuviiramu emikisa mingi awamu n’abalala.​—Beb. 11:32, 33.

it-2-E lup. 27 ¶2

Yefusa

Olw’okuba Yefusa yali muntu akolerawo, yakkiriza okukulemberamu Abayisirayiri. Yaweereza obubaka eri kabaka wa Amoni, n’amugamba nti Amoni yali nkyamu okulumba Isirayiri. Kabaka wa Amoni yamuddamu nti baali balumbye Isirayiri olw’ekitundu ky’ensi Isirayiri kye yatwala ku Amoni. (Bal 11:12, 13) Mu kumuddamu, Yefusa yakiraga nti teyali mulwanyi bulwanyi kyokka, wabula nti yali amanyi bulungi ebyafaayo nnaddala ebyo ebikwata ku ngeri Katonda gye yakolaganamu n’abantu be. Yefusa yawakanya ekyo kabaka w’Abaamoni kye yagamba era n’amugamba nti (1) Abayisirayiri tebaasosonkerezaako Baamoni, Abamowaabu, oba Abeedomu. (Bal 11:14-18; Ma 2:9, 19, 37; 2By 20:10, 11); (2) Abayisirayiri we baawambira Kanani, ekitundu ky’ensi Abaamoni kye baali bakaayanira si be baali bakibeeramu, wabula Abaamoli be baali bakibeeramu. Era nga Katonda yawaayo kabaka Sikoni ow’Abaamoli mu mukono gw’Abayisirayiri; (3) Abayisirayiri baali baakamala emyaka 300 mu kitundu ekyo, era ng’Abaamoni tebakikaayanira; kati olwo baalina nsonga ki kwe baali basinziira okukikaayanira?​—Bal 11:19-27.

it-2-E lup. 27 ¶3

Yefusa

Yefusa yakiraga nti ensonga yennyini eyali yeetooloolerwako ebyo byonna yali ekwata ku kusinza. Yefusa yagamba nti Yakuwa Katonda yali awadde Abayisirayiri ensi eyo, era nti abo abaali basinza bakatonda ab’obulimba baali tebasobola kubawaako wadde akatundu akatono bwe kati ak’ensi eyo. Yagamba nti Kemosi yali katonda w’Abaamoni. Abamu balowooza nti eyo nsobi. Kyokka, wadde nga katonda w’Abaamoni yali ayitibwa Mirukomu, amawanga ago agaalina oluganda olw’oku lusegere gaali gasinza bakatonda bangi. Sulemaani yatuuka n’okuleeta okusinza kwa Kemosi mu Isirayiri, olw’abakazi abagwira be yawasa. (Bal 11:24; 1Sk 11:1, 7, 8, 33; 2Sk 23:13) Ate era okusinziira ku banoonyereza abamu, erinnya “Kemosi” liyinza okuba nga litegeeza “Omuwanguzi.” (Laba Gesenius’s Hebrew and Chaldee Lexicon, ekyavvuunula S. Tregelles, 1901, lup. 401.) Yefusa ayinza okuba nga yagamba nti Kemosi yali katonda w’Abaamoni olw’okuba yabasobozesa ‘okuwangula’ abalala n’okubawa ensi.

Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

it-2-E lup. 26

Yefusa

Yefusa Teyazaalibwa Bweru wa Bufumbo. Okuba nti Bayibuli egamba nti maama wa Yefusa yali “malaaya,” tekitegeeza nti Yefusa yazaalibwa mu bwamalaaya oba ebweru w’obufumbo. Maama we yali malaaya nga tannafumbirwa Gireyaadi ng’omukazi ow’okubiri, ng’era ne Lakabu bwe yali malaaya nga tannafumbirwa Salumooni. (Bal 11:1; Yos 2:1; Mat 1:5) Ekiraga nti Yefusa teyazaalibwa bweru wa bufumbo kwe kuba nti baganda be, abaana ba muka kitaawe, baamugoba aleme kugabana ku busika bwa kitaabwe. (Bal 11:2) Ate era, oluvannyuma Yefusa yafuuka omukulembeze w’abantu b’omu Gireyaadi (era nga kirabika mu bano mwe mwali ne baganda be). (Bal 11:11) Era yawaayo ne ssaddaaka eri Katonda ku weema entukuvu. (Bal 11:30, 31) Ebyo byonna tebyandisobose singa Yefusa yali mwana eyazaalibwa ebweru w’obufumbo, kubanga amateeka gaali gabamba nti: “Omwana eyazaalibwa ebweru w’obufumbo tajjanga mu kibiina kya Yakuwa; n’okutuukira ddala ku mulembe ogw’ekkumi tewabanga n’omu ku bazzukulu be ajja mu kibiina kya Yakuwa.”​—Ma 23:2.

DDESEMBA 27–JJANWALI 2

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | EKYABALAMUZI 13-14

“Abazadde Bye Basobola Okuyigira ku Manowa ne Mukazi We”

w13 8/15 lup. 16 ¶1

Abazadde​—Mutendeke Abaana Bammwe Okuva nga Bakyali Bawere

Lowooza ku Manowa, eyali abeera mu kibuga Zola ekya Isirayiri era eyalina omukyala omugumba. Malayika wa Yakuwa yalabikira mukyala we n’amugamba nti yali agenda kuzaala omwana ow’obulenzi. (Balam. 13:2, 3) Manowa ne mukyala we bateekwa okuba nga baasanyuka nnyo okuwulira ebigambo ebyo. Wadde kyali kityo, waliwo ekintu ekyali kibeeraliikiriza. Manowa yasaba Yakuwa nti: “Ai Yakuwa, omusajja wa Katonda ow’amazima gw’otumye tukusaba akomewo gye tuli atubuulire kye tusaanidde okukolera omwana ajja okuzaalibwa.” (Balam. 13:8) Manowa ne mukyala we baali baagala okumanya engeri y’okukuzaamu omwana gwe baali bagenda okuzaala. Tewali kubuusabuusa nti omwana waabwe, Samusooni, baamuyigiriza amateeka ga Yakuwa, era kirabika naye yagakolerako. Bayibuli eraga nti Samusooni bwe yali aweereza ng’omulamuzi mu Isirayiri, omwoyo gwa Yakuwa gwamusobozesa okukola ebintu eby’amaanyi bingi.​—Balam. 13:25; 14:5, 6; 15:14, 15.

w05-E 3/15 lup. 25-26

Samusooni Yawangula olw’Amaanyi Yakuwa Ge Yamuwa!

Samusooni bwe yagenda akula, ‘Yakuwa yeeyongera okumuwa emikisa.’ (Ekyabalamuzi 13:24) Lumu yagamba taata we ne maama we nti: “Waliwo omukazi Omufirisuuti gwe ndabye e Timuna; njagala mumunfunire abe mukazi wange.” (Ekyabalamuzi 14:2) Ekyo kiteekwa okuba nga kyabeewuunyisa nnyo. Mu kifo kya mutabani waabwe okununula Abayisirayiri mu mukono gw’Abafirisuuti abaali babanyigiriza, kati yali ayagala kuwasa mukazi Mufirisuuti. Amateeka ga Katonda gaali gaagaana Abayisirayiri okuwasa oba okufumbirwa omuntu asinza bakatonda abalala. (Okuva 34:11-16) Bwe kityo, bazadde be baamugamba nti: “Mu b’eŋŋanda zo oba mu bantu baffe bonna tosobola kufunamu mukazi, mu Bafirisuuti abatali bakomole gy’oyagala okuggya omukazi?” Naye Samusooni yagamba kitaawe nti: “Oyo gw’oba onfunira kubanga y’ansaanira.”​—Ekyabalamuzi 14:3.

Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

w05-E 3/15 lup. 26 ¶1

Samusooni Yawangula olw’Amaanyi Yakuwa Ge Yamuwa!

Mu ngeri ki omukazi oyo Omufirisuuti gye yali nga ‘y’asaanira’ Samusooni? Ekitabo ekimu kigamba nti “okuba nti omukazi oyo ye yali asaanira Samusooni tekitegeeza nti yali alabika bulungi nnyo oba nti yali asikiriza. Wabula kitegeeza nti ye yali amusaanira okusobola okutuukiriza ekigendererwa kye yalina.” Kigendererwa ki Samusooni kye yalina? Ekyabalamuzi 14:4 wagamba nti Samusooni “yali anoonya kakisa okulwanyisa Abafirisuuti.” Eyo ye nsonga lwaki Samusooni yali ayagala okuwasa omukazi oyo. Samusooni bwe yakula, ‘omwoyo gwa Yakuwa gwatandika okumukkako,’ oba okumuleetera okubaako ky’akolawo. (Ekyabalamuzi 13:25) N’olwekyo, omwoyo gwa Yakuwa gwe gwaleetera Samusooni okugamba bazadde be okumufunira omukazi oyo, era gwe gwamusobozesa okukola ebyo byonna bye yakola ng’aweereza ng’omulamuzi mu Isirayiri. Samusooni yatuuka ku kigendererwa kye? Ka tusooke tulabe engeri Yakuwa gye yakakasaamu Samusooni nti yali naye.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share