Yoswa
22 Awo Yoswa n’ayita Abalewubeeni n’Abagaadi n’ab’ekitundu ekimu eky’okubiri eky’ekika kya Manase 2 n’abagamba nti: “Mukoze byonna Musa omuweereza wa Yakuwa bye yabalagira,+ era muŋŋondedde mu byonna bye nnabalagira.+ 3 Temwabulidde baganda bammwe ebbanga eryo lyonna n’okutuusa leero,+ era mukutte ebiragiro bya Yakuwa Katonda wammwe.+ 4 Kaakano Yakuwa Katonda wammwe awadde baganda bammwe ekiwummulo, nga bwe yabasuubiza.+ Kati musobola okuddayo awali weema zammwe mu kitundu Musa omuweereza wa Yakuwa kye yabawa emitala wa Yoludaani.*+ 5 Naye mufubenga okukwata ebiragiro n’Amateeka Musa omuweereza wa Yakuwa bye yabawa,+ mwagalenga Yakuwa Katonda wammwe,+ mutambulirenga mu makubo ge gonna,+ mukwatenga ebiragiro bye,+ mumunywerereko,+ era mumuweerezenga+ n’omutima gwammwe gwonna n’obulamu bwammwe bwonna.”+
6 Awo Yoswa n’abawa omukisa, n’abasiibula ne bagenda awali weema zaabwe. 7 Ab’ekitundu ekimu eky’okubiri eky’ekika kya Manase, Musa yali abawadde obusika mu Basani,+ ate ab’ekitundu ekimu eky’okubiri ekirala, Yoswa yabawa ettaka awamu ne baganda baabwe ebugwanjuba wa Yoludaani.+ Nabo Yoswa bwe yali ng’abasiibula okuddayo awali weema zaabwe, yabawa omukisa, 8 n’abagamba nti: “Muddeeyo mu weema zammwe nga mulina eby’obugagga bingi, n’amagana, ne ffeeza, ne zzaabu, n’ekikomo, n’ekyuma, n’ebyambalo bingi nnyo.+ Mutwale bye munyaze+ ku balabe bammwe mubigabane ne baganda bammwe.”
9 Oluvannyuma lw’ekyo, Abalewubeeni n’Abagaadi n’ekitundu ekimu eky’okubiri eky’ab’ekika kya Manase baaleka Abayisirayiri abalala e Siiro, ekiri mu nsi ya Kanani, ne baddayo mu kitundu ky’e Gireyaadi+ ekyabaweebwa, nga Yakuwa bwe yalagira okuyitira mu Musa.+ 10 Bwe baatuuka mu bitundu ebiriraanye Yoludaani mu nsi ya Kanani, Abalewubeeni n’Abagaadi n’ekitundu ekimu eky’okubiri eky’ab’ekika kya Manase ne bazimba ekyoto ekinene ennyo okumpi ne Yoludaani. 11 Oluvannyuma Abayisirayiri abalala baawulira+ nga kigambibwa nti: “Laba! Abalewubeeni n’Abagaadi n’ekitundu ekimu eky’okubiri eky’ab’ekika kya Manase bazimbye ekyoto ku nsalo y’ensi ya Kanani mu bitundu ebiriraanye Yoludaani ku luuyi olw’Abayisirayiri.” 12 Abayisirayiri bwe baakiwulira, ekibiina kyonna eky’Abayisirayiri ne kikuŋŋaanira e Siiro+ kigende kibalwanyise.
13 Awo Abayisirayiri ne batuma Fenekaasi+ mutabani wa Eriyazaali kabona eri Abalewubeeni n’Abagaadi n’ekitundu ekimu eky’okubiri eky’ab’ekika kya Manase, mu kitundu ky’e Gireyaadi, 14 era yali wamu n’abaami kkumi, omwami omu omu okuva mu buli nnyumba ya bakitaabwe mu bika byonna ebya Isirayiri, era buli omu yali mukulu wa nnyumba ya bakitaabe mu nkumi* za Isirayiri.+ 15 Bwe baatuuka eri Abalewubeeni n’Abagaadi n’ekitundu ekimu eky’okubiri eky’ab’ekika kya Manase, mu kitundu ky’e Gireyaadi, ne babagamba nti:
16 “Ekibiina kya Yakuwa kyonna kigambye nti: ‘Kikolwa ki kino ekitali kya bwesigwa+ kye mukoze mu maaso ga Katonda wa Isirayiri? Muvudde ku Yakuwa leero ne muzimba ekyoto era ne mujeemera Yakuwa.+ 17 Ekibi ekyakolebwa e Pyoli tekyatumala? Tetunnakyerongoosaako n’okutuusa leero, wadde ng’omutawaana gwajjira ekibiina kya Yakuwa.+ 18 Mwagala kuva ku Yakuwa? Bwe munaajeemera Yakuwa leero, enkya ajja kusunguwalira ekibiina kya Isirayiri kyonna.+ 19 Bwe kiba nti ekyo mukikoze lwa kuba nti ekitundu kye mwaweebwa si kirongoofu, mukomeewo mu nsi ya Yakuwa+ awali weema ya Yakuwa entukuvu+ mubeere wamu naffe, naye temujeemera Yakuwa era temutuleetera kumujeemera nga muzimba ekyoto ekirala, ng’ate ekyoto kya Yakuwa Katonda waffe weekiri.+ 20 Akani mutabani+ wa Zeera bwe yakola ekikolwa ekitali kya bwesigwa n’abba ekintu ekyalina okuzikirizibwa, Katonda teyasunguwalira kibiina kya Isirayiri kyonna?+ Era si ye yafa yekka olw’ensobi ye.’”+
21 Awo Abalewubeeni n’Abagaadi n’ekitundu ekimu eky’okubiri eky’ab’ekika kya Manase ne baddamu abakulu b’enkumi* za Isirayiri nti:+ 22 “Yakuwa Katonda wa bakatonda!+ Yakuwa Katonda wa bakatonda! Amanyi era ne Isirayiri ejja kumanya. Bwe kiba nti tubadde bajeemu era nga tetuli beesigwa eri Yakuwa, k’aleme okutulokola leero. 23 Bwe kiba nti twazimba ekyoto kino olw’okuva ku Yakuwa, era olw’okuweerako ebiweebwayo ebyokebwa, n’ebiweebwayo eby’emmere ey’empeke, ne ssaddaaka ez’emirembe, Yakuwa ajja kutubonereza.+ 24 Kino twakikola lwa nsonga ndala, kubanga twalowooza nti, ‘Mu biseera eby’omu maaso abaana bammwe bajja kugamba abaana baffe nti: “Mulina kakwate ki ne Yakuwa Katonda wa Isirayiri? 25 Yakuwa yassaawo Yoludaani ng’ensalo wakati waffe nammwe, Abalewubeeni n’Abagaadi. Temulina mugabo gwonna mu Yakuwa.” Era abaana bammwe bajja kulemesa abaana baffe okusinza* Yakuwa.’
26 “N’olwekyo twagamba nti, ‘Ka twezimbire ekyoto, nga si kya biweebwayo ebyokebwa oba ssaddaaka, 27 naye kibe obujulizi wakati wammwe naffe+ ne bazzukulu baffe abalituddirira, nti tujja kuweereza Yakuwa nga tuwaayo gy’ali ebiweebwayo ebyokebwa, ne ssaddaaka zaffe ez’emirembe,+ era ne ssaddaaka endala, abaana bammwe baleme okugamba abaana baffe mu biseera eby’omu maaso nti: “Temulina mugabo gwonna mu Yakuwa.”’ 28 N’olwekyo twagamba nti, ‘Bwe balitugamba bwe batyo oba ne bagamba bwe batyo bazzukulu baffe mu biseera eby’omu maaso, tulibagamba nti: “Mulabe ekyoto bajjajjaffe kye baakola ekifaananira ddala ekyoto kya Yakuwa, si kya biweebwayo ebyokebwa oba ssaddaaka, wabula bujulizi wakati waffe nammwe.”’ 29 Kikafuuwe ffe okujeemera Yakuwa, ne tuva ku Yakuwa leero+ nga tuzimba ekyoto ekirala eky’ebiweebwayo ebyokebwa, n’ebiweebwayo eby’emmere ey’empeke, ne ssaddaaka, ng’ate waliwo ekyoto kya Yakuwa Katonda waffe mu maaso ga weema ye entukuvu!”+
30 Fenekaasi kabona n’abaami b’ekibiina n’abakulu b’enkumi* za Isirayiri abaali naye bwe baawulira ebigambo bazzukulu ba Lewubeeni ne Gaadi ne Manase bye baayogera, ne bamatira.+ 31 Fenekaasi mutabani wa Eriyazaali kabona n’agamba bazzukulu ba Lewubeeni ne Gaadi ne Manase nti: “Leero tutegedde nti Yakuwa ali mu ffe, kubanga temujeemedde Yakuwa. Kaakano mulokodde Abayisirayiri mu mukono gwa Yakuwa.”
32 Awo Fenekaasi mutabani wa Eriyazaali kabona n’abaami ne bava mu kitundu ky’e Gireyaadi awaali Abalewubeeni n’Abagaadi, ne baddayo mu nsi ya Kanani eri Abayisirayiri abalala, ne babategeeza bye baali boogedde. 33 Abayisirayiri bwe baabiwulira ne bamatira, ne batendereza Katonda, era ne bataddamu kwogera ku kya kwambuka kulwanyisa Balewubeeni n’Abagaadi era ne ku ky’okuzikiriza ensi mwe baali babeera.
34 Awo Abalewubeeni n’Abagaadi ne batuuma ekyoto erinnya,* kubanga baagamba nti, “ekyoto kino bujulizi wakati waffe nammwe nti Yakuwa ye Katonda ow’amazima.”