OLUYIMBA 62
Oluyimba Olupya
Printed Edition
1. Luyimba lupya; Luyimbirenga Katonda.
Manyisa by’akoze N’ebyo by’alikola.
Tenda ’maanyi ge Kubanga ye muwanguzi.
Mu butuukirivu,
Alamula ensi.
(CHORUS)
Tuyimbe
Oluyimb’o lupya!
Tuyimbe!
Yakuwa Kabaka.
2. Yimba n’essanyu; Yimbira Katonda waffe!
Mugulumizenga; Tenda erinnya lye.
Yimbira wamu N’abantu be abeesigwa.
’Nnanga n’ekkondeere
Bimutendereza.
(CHORUS)
Tuyimbe
Oluyimb’o lupya!
Tuyimbe!
Yakuwa Kabaka.
3. Ennyanja n’ebyo Ebirimu bimutende.
’Bantu bonna ku nsi Bamutendereze.
N’emigga nagyo Ka gikubenga mu ngalo.
’Nsozi n’ebiwonvu
Bimuwe ettendo.
(CHORUS)
Tuyimbe
Oluyimb’o lupya!
Tuyimbe!
Yakuwa Kabaka.
(Laba ne Zab. 96:1; 149:1; Is. 42:10.)