OLUYIMBA 61
Mugende mu Maaso, Mmwe Abajulirwa!
- 1. Mu nnaku zino ez’enkomerero, - Tulin’o bubaka obukulu ennyo. - Wadde Sitaani yeecwacwanye, - Katonda waffe atuwa amaanyi. - (CHORUS) - Mugende mu maaso, mmwe Abajulirwa! - Munyiikirir’o mulimu gwa Katonda! - Mumanyise Olusuku lwa Katonda - Kuba luli kumpi okutuuka. 
- 2. ’Baweereza ba Ya tebagayaala; - Ensi tebagezaako ’kugisanyusa. - ’Mabala gaayo bageewala - Ne bakuumira ddala obwesigwa. - (CHORUS) - Mugende mu maaso, mmwe Abajulirwa! - Munyiikirir’o mulimu gwa Katonda! - Mumanyise Olusuku lwa Katonda - Kuba luli kumpi okutuuka. 
- 3. Obwakabaka bwa Ya bugaaniddwa; - ’Linnya lye ’kkulu ’bantu balijolonga. - Tufube okulitukuza - N’okulirangirira mu nsi yonna. - (CHORUS) - Mugende mu maaso, mmwe Abajulirwa! - Munyiikirir’o mulimu gwa Katonda! - Mumanyise Olusuku lwa Katonda - Kuba luli kumpi okutuuka. 
(Laba ne Kuv. 9:16; Baf. 1:7; 2 Tim. 2:3, 4; Yak. 1:27.)