OLUYIMBA 114
“Mugumiikirize”
Printed Edition
1. Yakuwa, erinnya lye
Mazima lya kitiibwa nnyo.
Ayagala nnyo ddala
Lisangulibwek’e nziro.
Obugumiikiriza
Bw’alaze bwa kitalo
Mu kuba nti ababi
Akyabaleseewo.
’Bugumiikiriza bwe
Tebujja kuba bwa busa,
Olw’okuba ’yagala
’Bantu okulokolebwa.
2. Obugumiikiriza
Mazima kintu kikulu.
Buleeta emirembe;
Butangira obusungu;
Bulaba ebirungi
Mu bantu abalala.
Bwe tuba n’ebizibu
Tetuterebuka.
Obugumiikiriza
’Wamu n’engeri endala
Z’omwoyo gwa Katonda
Bituyamb’o kumukoppa.
(Laba ne Kuv. 34:14; Is. 40:28; 1 Kol. 13:4, 7; 1 Tim. 2:4.)