Akasanduko K’ebibuuzo
◼ Miganyulo ki egiri mu kubeera mu kibiina ekitwala ekitundu gy’obeera?
Okuyitira mu nteekateeka y’ekibiina, tukubirizibwa okwoleka ‘okwagala n’ebikolwa ebirungi.’ (Beb. 10:24, 25) Okuyitira mu kibiina tuyiga amazima era ne tuyambibwa okutuukiriza omulimu gwaffe ogw’okufuula abantu abayigirizwa. (Mat. 28:19, 20) Tunywezebwa okusobola okugumira ebizibu era tuweereddwa n’abalabirizi abatuwa obuyambi okusobola okwolekagana nabyo. Kya lwatu, ekibiina kituyamba nnyo okukuuma embeera yaffe ey’eby’omwoyo. Naye, waliwo emiganyulo gy’oyinza okufuna bw’obeera mu kibiina ekitwala ekitundu gy’obeera?
Embeera za buli omu zaawukana, era ebintu gamba ng’omulimu, okubeera ne munno mu bufumbo atali mukkiriza, n’entambula biyinza okubaako ne kye bikola ku ngeri omuntu gy’asalawo ekibiina ky’anaakuŋŋaaniramu. Kyokka, waliwo emiganyulo gy’ofuna mu by’omwoyo ne mu ngeri endala bw’okuŋŋaanira mu kibiina ekitwala ekitundu gy’obeera. Abakadde basobola okutuuka mangu ku babuulizi bonna nga wabaddewo ekizibu. Obusanduuko bw’Ebibuuzo obw’emabega bwalaga emiganyulo emirala mingi.—Maayi 1991, Apuli 1976, ne Jjanwali 1967.
Okutwalira awamu, kiba kyangu okugenda mu kibiina ekiri okumpi. Kitusobozesa okutuuka nga bukyali ne tusobola okwogera n’abalala, okukola ebintu ebyetaagisa, era n’okwenyigira mu kuyimba oluyimba oluggulawo n’okusaba. Singa mu kitundu gye tubeera mubaamu abappya abaagala okuyiga, kitubeerera kyangu okubatuukirira, okubayigiriza Baibuli, era n’okubalagirira ekibiina ekibali okumpi.
Tuli bakakafu nti emitwe gy’amaka bajja kuteeka ensonga eno mu kusaba era bajja kwekenneenya byonna ebizingirwamu mu kusalawo ekyo ekinaasinga okuyamba amaka gaabwe mu by’omwoyo ne mu ngeri endala.—1 Tim. 5:8.