OLUYIMBA 45
Okufumiitiriza kw’Omutima Gwange
Printed Edition
1. Ebyo bye nfumiitiriza,
Byonna nze bye ndowoozaako,
Bisanyus’o mutima gwo
Onkuumire mu kkubo lyo.
Bwe mba nneeraliikiridde
Er’o tulo ne tumbula,
Ka nkulowoozengako ggwe
Ne bye mmanyi nti bisaana.
2. Ebintu ebirongoofu,
Ebintu eby’amazima,
N’ebyogerwako ’bulungi
Ka bimbeere ku mutima.
’Birowoozo byo Yakuwa
Bingi era bya muwendo;
Ka mbifumiitirizeeko
Era ka mbyemalireko.
(Laba ne Zab. 49:3; 63:6; 139:17, 23; Baf. 4:7, 8; 1 Tim. 4:15.)