LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • g16 Na. 4 lup. 10-11
  • Ky’Oyinza Okukola nga Wazzeewo Enkyukakyuka

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ky’Oyinza Okukola nga Wazzeewo Enkyukakyuka
  • Zuukuka!—2016
  • Subheadings
  • Similar Material
  • OKUSOOMOOZA
  • BY’OSAANIDDE OKUMANYA
  • KY’OYINZA OKUKOLA
  • Obutapondooka
    Zuukuka!—2019
  • Sigala ng’Otunula mu by’Omwoyo nga Wazzeewo Enkyukakyuka
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2017
  • Koppa Yakuwa nga Toba Mukakanyavu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2023
  • Okuba Omulamu Obulungi n’Okugumira Embeera
    Zuukuka!—2018
Zuukuka!—2016
g16 Na. 4 lup. 10-11
Omuwala nga munakuwavu olw’okuba mukwano gwe asenguka

AMAGEZI AGAYAMBA AMAKA | ABAVUBUKA

Ky’Oyinza Okukola nga Wazzeewo Enkyukakyuka

OKUSOOMOOZA

  • Omulimu gwa muzadde wo gubeetaagisa okugenda okubeera mu kifo ekirala.

  • Mukwano gwo gw’oyagala ennyo agenda kusenguka.

  • Mukulu wo agenda kufumbirwa.

Kiki ekiyinza okukuyamba okwaŋŋanga enkyukakyuka ng’ezo?

Omuti nga gwewunzise olw’embuyaga

Omuti ogwewunzikira ku ludda omuyaga gye gudda emirundi mingi tegumenyeka. Okufaananako omuti ogwo, naawe osobola okutuukana n’enkyukakyuka eziba zizzeewo, naddala ezo z’otolina ky’oyinza kuzikolako. Naye nga tetunnalaba ngeri ekyo gy’oyinza kukikolamu, ka tusooke tulabe ebintu ebimu by’osaanidde okumanya ku nkyukakyuka ezijjawo.

BY’OSAANIDDE OKUMANYA

Tosobola kwewala nkyukakyuka. Ng’eyogera ku bantu, Bayibuli egamba nti: “Ebintu ebitasuubirwa bibatuukako bonna.” (Omubuulizi 9:⁠11) Ekiseera kyonna suubira okwolekagana n’enkyukakyuka. Naye tekiri nti buli nkyukakyuka ejjawo nga tetugisuubira eba mbi. Enkyukakyuka ezimu mu kusooka ezirabika ng’embi, oluvannyuma zivaamu ebirungi. Kyokka abantu abasinga obungi tekibanguyira kwaŋŋanga nkyukakyuka eziba zizzeewo ka zibe nnungi oba mbi.

Okusingira ddala abaana abali mu myaka egya kaabuvubuka bakaluubirirwa nnyo nga wazzeewo enkyukakyuka. Lwaki? Alexa agamba nti: “Oba oyolekagana n’enkyukakyuka ez’amaanyi ezigenda mu maaso mu mubiri gwo ate ne wajjawo enkyukakyuka endala.”

Abantu abakulu bwe boolekagana n’enkyukakyuka basobola okulowooza ku ngeri gye baakwatamu embeera efaananako ng’eyo mu biseera eby’emabega ne kibayamba okwaŋŋanga enkyukakyuka eyo eba ezzeewo. Naye bo abavubuka embeera ezimu baba tebaziyitangamuko.

Yiga okutuukana n’embeera. Abantu abatuukana n’embeera baba basobola bulungi okwaŋŋanga enkyukakyuka eziba zizzeewo. Enkyukakyuka bwe zijjawo, bazigumira era essira balissa ku birungi ebiyinza okuva mu nkyukakyuka ezo. Abavubuka abasobola okutuukana n’embeera, tebatera kukozesa biragalalagala oba kunywa mwenge nga wazzeewo embeera ebakaluubiridde.

KY’OYINZA OKUKOLA

Kkiriza enkyukakyuka. Kya lwatu nti wandyagadde buli kimu mu bulamu bwo kigende nga bw’okyagala, naye ekyo tekisoboka. Ekiseera kijja kutuuka mikwano gyo basenguke oba bafumbirwe; baganda bo bajja kukula bave awaka; embeera ziyinza okubeetaagisa okuva mu kitundu we mubeera okudda mu kirala, bw’otyo n’oleka mikwano gyo n’ebintu by’omanyidde. Kya magezi okukkiriza enkyukakyuka mu kifo ky’okubeera awo ng’olowooza ku bintu ebikumalamu amaanyi.​​—⁠Amagezi okuva mu Bayibuli: Omubuulizi 7:​10.

Lowooza ku by’omu maaso. Okumalira ebirowoozo ku bintu eby’emabega kiba ng’okuvuga emmotoka ng’amaaso go ogamalidde mu kalabirwamu akalaga ebintu eby’emabega. Wadde ng’omuvuzi w’emmotoka kimwetaagisa okugira n’atunulako katono mu kalabirwamu ako, amaaso ge alina kugassa mu maaso gy’alaga. Bwe kityo bwe kirina okuba nga wazzeewo enkyukakyuka mu bulamu bwo. Ebirowoozo byo fuba okubikuumira ku bintu eby’omu maaso. (Engero 4:​25) Ng’ekyokulabirako, kiruubirirwa ki kye wandyagadde okutuukako mu mwezi ogujja oba mu myezi omukaaga egijja?

Essira lisse ku birungi. Omuvubuka ayitibwa Laura agamba nti: “Endowooza omuntu gy’aba nayo ekola kinene mu kumuyamba okutuukana n’embeera. Kiba kirungi okulowooza ku bintu ebirungi ebiri mu nkyukakyuka eba ezzeewo.” Osobola okunokolayo waakiri ekintu kimu ekirungi ekiri mu nkyukakyuka gy’oyolekagana nayo?​​—⁠Amagezi okuva mu Bayibuli: Omubuulizi 6:⁠9.

Omuwala ayitibwa Victoria ow’emyaka 21 agamba nti bwe yali mu myaka gye egy’obutiini, mikwano gye gyonna baasenguka ne bagenda. Agamba nti: “Nnawulira ekiwuubaalo eky’amaanyi, nga muli ŋŋamba nti singa ebintu bisigadde nga bwe bibadde bulijjo. Naye bwe ndowooza ku kiseera ekyo, nkiraba nti awo we nnatandikira okukula mu birowoozo. Nnakiraba nti omuntu okukula mu birowoozo aba alina okuyita mu nkyukakyuka. Ate era awo we nnakirabira nti waaliwo abantu abalala bangi be nnali nsobola okufuula mikwano gyange.”​​—⁠Amagezi okuva mu Bayibuli: Engero 27:10.

Okumalira ebirowoozo ku bintu eby’emabega kiba ng’okuvuga emmotoka ng’amaaso go ogamalidde mu kalabirwamu akalaga ebintu eby’emabega

Kolera abalala ebirungi. Bayibuli egamba nti: ‘Temufaayo ku byammwe byokka naye mufeeyo ne ku by’abalala.’ (Abafiripi 2:⁠4) Ekimu ku biyinza okukuyamba okwaŋŋanga okusoomooza kw’oyitamu kwe kuyamba abalala aboolekagana n’okusoomooza okutali kumu. Anna, ow’emyaka 17, agamba nti: “Bwe nzize nkula, nkirabye nti bwe nnyamba ku muntu ayolekagana n’okusoomooza okufaananako n’okwange, oba okw’amaanyi okusinga okwange, kinnyamba nnyo!”

a Amannya agamu mu kitundu kino gakyusiddwa.

EBYAWANDIIKIBWA EBIKULU

  • “Tobuuzanga nti, ‘Lwaki ebiseera ebyayita bisinga bino ebiriwo kati?’”​—⁠Omubuulizi 7:​10.

  • “Okusanyusibwa ebintu amaaso bye galabako kisinga okwegomba ebintu by’otayinza kufuna.”​​—⁠Omubuulizi 6:⁠9.

  • “Munno ali okumpi asinga ow’oluganda ali ewala.”​​—⁠Engero 27:10.

Juan

JUAN

“Abavubuka basobola okutuukana n’enkyukakyuka singa bafuba okutegeera obulungi embeera eba ezzeewo era ne bakimanya nti enkyukakyuka zirina okubaawo mu bulamu. Ekyo omuntu bw’ayanguwa okukitegeera, kimwanguyira okutuukana amangu n’embeera eba ezzeewo. Buli lukya embeera yeeyongera okutereera.”

Carissa

CARISSA

“Bwe mmala okuyita mu mbeera enzibu, nfuba okulaba nti siddamu kugirowoozaako. Ntunuulira ebyo ebijja mu maaso. Nkiraba nti okusobola okutuukana n’embeera kinneetaagisa okussa ebirowoozo ku bintu eby’omu maaso so si ku by’emabega.”

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share