Engeri Yakuwa Gy’akozesaamu Omwoyo Omutukuvu Okutuukiriza Ekigendererwa Kye
“Ekigambo kyange ekiva mu kamwa kange . . . kiriraba omukisa mu ekyo kye nnakitumirira.”—IS. 55:11.
1. Waayo ekyokulabirako okulaga enjawulo eriwo wakati w’okuba ne pulaani n’okuba n’ekigendererwa.
LOWOOZA ku basajja babiri nga buli omu ku bo ateekateeka okubaako gy’agenda ng’ali mu mmotoka ye. Omu asalawo ekkubo limu mw’agenda okuyita okutuuka gy’alaga. Omulala amanyi bulungi gy’alaga, naye era akimanyi nti waliwo amakubo mangi agasobola okumutuusaayo. Singa afuna obuzibu mu kkubo erimu, mwetegefu okukwata ekkubo eddala okusobola okutuuka gy’alaga. Engeri abasajja abo gye beeteekateekamu eraga enjawulo eri wakati wa pulaani n’ekigendererwa. Okuba ne pulaani kiyinza okugeraageranyizibwa ku kusalawo ekkubo erimu mw’ogenda okuyita okutuuka gy’olaga, so ng’ate okuba n’ekigendererwa kwe kuba ne ky’oluubirira wadde nga tolina ngeri emu yokka ya kukituukako.
2, 3. (a) Ekigendererwa kya Yakuwa kizingiramu ki, era yakola ki nga Adamu ne Kaawa boonoonye? (b) Lwaki tulina okutegeera obulungi ekigendererwa kya Katonda n’okufuba okutuukana nakyo?
2 Ku bikwata ku kutuukiriza by’ayagala, Yakuwa tagoberera pulaani wabula aba na kigendererwa. (Bef. 3:11) Ekigendererwa kino kizingiramu ekyo kye yayagaliza abantu n’ensi okuviira ddala ku ntandikwa. Yayagala ensi eno ebeere olusuku lwe nga mulimu abantu abatuukiridde, abali mu mirembe era nga basanyufu emirembe gyonna. (Lub. 1:28) Adamu ne Kaawa bwe baayonoona, amangu ago Yakuwa yakola enteekateeka okulaba nti ekigendererwa kye kituukirira. (Soma Olubereberye 3:15.) Yakuwa yasalawo nti omukazi we ow’akabonero azaale “ezzadde,” oba Omwana, eyandizikirizza Sitaani era n’aggyawo n’ebizibu byonna bye yali aleeseewo.—Beb. 2:14; 1 Yok. 3:8.
3 Tewali kintu kyonna mu ggulu oba ku nsi kisobola kulemesa Katonda kutuukiriza kigendererwa kye. (Is. 46:9-11) Lwaki tugamba bwe tutyo? Kubanga Yakuwa akozesa omwoyo gwe omutukuvu okusobola okutuukiriza ekigendererwa ekyo. Okuva bwe kiri nti tewali kisobola kuziyiza maanyi ago, kituwa obukakafu nti ekigendererwa kya Katonda kijja ‘kulaba omukisa.’ (Is. 55:10, 11) Tulina okutegeera obulungi ekigendererwa kya Katonda n’okufuba okutuukana nakyo. Essuubi lyaffe ery’ebiseera eby’omu maaso lyesigamye ku kutuukirizibwa kw’ekigendererwa ekyo. Era kituzzaamu nnyo amaanyi okulaba engeri Yakuwa gy’akozesaamu omwoyo omutukuvu. N’olwekyo, ka twetegeereze engeri Yakuwa gye yakozesaamu omwoyo gwe omutukuvu mu biseera by’edda, gy’agukozesaamu mu kiseera kino, era n’engeri gy’aligukozesaamu mu biseera eby’omu maaso okusobola okutuukiriza ekigendererwa kye.
Engeri Gye Yagukozesaamu mu Biseera eby’Edda
4. Yakuwa agenze abikkula atya ebikwata ku kigendererwa kye?
4 Mu biseera bya Baibuli, Yakuwa yagenda abikkula mpolampola ebikwata ku kigendererwa kye. Mu kusooka, ebikwata ku Zzadde eryasuubizibwa kyali “kyama ekitukuvu.” (1 Kol. 2:7) Oluvannyuma lw’emyaka nga 2,000, Yakuwa yaddamu okwogera ku zzadde eryo. (Soma Olubereberye 12:7; 22:15-18.) Ekisuubizo kya Yakuwa ekyo eri Ibulayimu kyalina amakulu agasingako awo. Ebigambo “mu zzadde lyo” byalaga bulungi nti Ezzadde lino lyandyeyolese ng’omuntu, era ng’omuntu oyo yandibadde muzzukulu wa Ibulayimu. Kya lwatu Sitaani yali yeetegereza ng’ebintu bino bibikkulwa. Omulabe oyo ateekwa okuba nga yali ayagala okuzikkiriza oba okulemesa ezzadde eryo okuyitira mu lunyiriri lwa Ibulayimu, bw’atyo alemese ekigendererwa kya Katonda okutuukirira. Naye ekyo tekyasoboka kubanga omwoyo gwa Katonda ogutalabika gwali gukola. Mu ngeri ki?
5, 6. Yakuwa yakozesa atya omwoyo gwe okukuuma abantu abaali mu lunyiriri olwandivuddemu Ezzadde?
5 Yakuwa yakozesa omwoyo gwe okukuuma abantu abaali mu lunyiriri olwandivuddemu Ezzadde. Yagamba Ibulaamu (Ibulayimu) nti: “Nze ngabo yo.” (Lub. 15:1) Ebigambo ebyo byali bya mazima. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ebyo ebyaliwo awo nga mu mwaka gwa 1919 E.E.T. (ng’Embala Eno Tennatandika) Ibulayimu ne Saala bwe baali mu Gerali. Olw’okuba yali tamanyi nti Saala yali mukka Ibulayimu, Abimereki, kabaka wa Gerali, yatwala Saala ng’ayagala kumufuula mukazi we. Kyandiba nti Sitaani ye yali emabega wa bino byonna, ng’ayagala kulemesa Saala okuzaala ezzadde lya Ibulayimu? Ekyo Baibuli tekiraga. Ky’etulaga kiri nti Yakuwa yayingira mu nsonga eyo. Yaloosa Abimereki n’amulabula obutakwata ku Saala.—Lub. 20:1-18.
6 Guno si gwe mulundi gwokka Yakuwa lwe yabakuuma. Yakuwa yakuuma Ibulayimu n’ab’omu maka ge mu mbeera eziwerako. (Lub. 12:14-20; 14:13-20; 26:26-29) Ng’ayogera ku Ibulayimu ne bazzukulu be, omuwandiisi wa Zabbuli yagamba nti: “[Yakuwa] teyaganya muntu kuboonoona; weewaawo, yanenya bakabaka ku lwabwe; ng’ayogera nti Temukwatanga ku abo be nnafukako amafuta, so temukolanga bubi bannabbi bange.”—Zab. 105:14, 15.
7. Yakuwa yakuuma atya eggwanga lya Isiraeri?
7 Yakuwa yakozesa omwoyo gwe okukuuma eggwanga lya Isiraeri, eryali ery’okuvaamu Ezzadde. Ng’akozesa omwoyo gwe, Yakuwa yawa Abaisiraeri Amateeka ge, agaakuuma Abayudaaya ne balema kwonoonebwa mu by’omwoyo, mu mpisa, ne mu mubiri. (Kuv. 31:18; 2 Kol. 3:3) Mu biseera by’Abalamuzi, omwoyo gwa Yakuwa gwawa abasajja abamu amaanyi ne basobola okununula Abaisiraeri okuva mu mikono gy’abalabe baabwe. (Balam. 3:9, 10) Okumala ebyasa ebiwerako nga Yesu—ezzadde lya Ibulayimu ekkulu—tannazaalibwa, omwoyo omutukuvu guteekwa okuba nga gwakozesebwa okukuuma Yerusaalemi, Besirekemu, ne yeekaalu—nga bino byonna byalina akakwate n’okutuukirizibwa kw’obunnabbi obukwata ku Yesu.
8. Bintu ki ebiraga nti omwoyo omutukuvu gwayamba Omwana wa Katonda mu bulamu bwe ne mu buweereza bwe?
8 Omwoyo omutukuvu gwayamba Yesu mu bulamu bwe ne mu buweereza bwe. Nga gukolera mu lubuto lwa Maliyamu eyali embeerera, omwoyo omutukuvu gwakola ekintu ekyali kitabangawo era ekitaddangamu kubaawo. Gwasobozesa omukazi eyali tatuukiridde okufuna olubuto n’azaala Omwana atuukiridde, ataalina kibi kiviirako kufa. (Luk. 1:26-31, 34, 35) Era omwoyo ogwo gwakuuma Yesu eyali omuwere n’alema okuttibwa ng’ekiseera kye tekinnatuuka. (Mat. 2:7, 8, 12, 13) Yesu bwe yali wa myaka nga 30, Katonda yamufukako omwoyo omutukuvu, bw’atyo n’amulonda okuba omusika w’entebe ya Dawudi era n’amuwa omulimu ogw’okubuulira. (Luk. 1:32, 33; 4:16-21) Omwoyo omutukuvu gwasobozesa Yesu okukola ebyamagero, omwali okuwonya abalwadde, okuliisa ebibiina, n’okuzuukiza abafu. Ebyamagero bino byonna byali bisonga ku mikisa egy’ekitalo gye tusuubira okufuna mu bufuzi bwa Yesu.
9, 10. (a) Omwoyo omutukuvu gwayamba gutya abayigirizwa ba Yesu mu kyasa ekyasooka? (b) Kintu ki ekikwata ku kutuukirizibwa kw’ekigendererwa kya Yakuwa ekyabikkulwa mu kyasa ekyasooka?
9 Okuva ku lunaku lwa Pentekooti 33 E.E., (Embala Eno) Yakuwa yakozesa omwoyo gwe okufuka amafuta ku bantu abalala abandibadde mu zzadde lya Ibulayimu, nga bangi ku bo tebaali bazzukulu ba Ibulayimu. (Bar. 8:15-17; Bag. 3:29) Omwoyo omutukuvu gwayamba abayigirizwa ba Yesu mu kyasa ekyasooka okubuulira n’obunyiikivu n’okukola ebyamagero. (Bik. 1:8; 2:1-4; 1 Kol. 12:7-11) Okuba nti baasobola okufuna ebirabo by’omwoyo omutukuvu, omwali n’okukola ebyamagero, kyayoleka ekintu ekipya ekikwata ku ngeri Yakuwa gye yandituukirizzaamu ekigendererwa kye. Yakuwa yali takyayagala bantu kumusinza mu ngeri gye baamusinzangamu ebyasa bingi emabega, nga basinziza ku yeekaalu e Yerusaalemi. Yali akyusizzaamu ng’atandise kukolagana na kibiina Ekikristaayo ekyali kyakatandikibwawo. Okuva olwo, Yakuwa abadde akozesa ekibiina ekyo eky’abaafukibwako amafuta okusobola okutuukiriza ekigendererwa kye.
10 Mu biseera bya Baibuli, ezimu ku ngeri Yakuwa mwe yakozesezanga omwoyo gwe omutukuvu okusobola okutuukiriza ekigendererwa kye mwe mwali okuwa obukuumi, okuwa amaanyi, n’okufuka amafuta ku bantu. Ate kiri kitya mu kiseera kyaffe? Yakuwa akozesa atya omwoyo gwe okusobola okutuukiriza ekigendererwa kye? Twetaaga okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo kituyambe okukolera awamu n’omwoyo ogwo. Kati ka twetegerezeeyo engeri nnya.
Engeri gy’Agukozesaamu mu Kiseera Kino
11. Kiki ekiraga nti omwoyo omutukuvu guyamba abantu ba Katonda okusigala nga bayonjo, era oyinza otya okukiraga nti okulemberwa omwoyo ogwo?
11 Esooka, omwoyo omutukuvu guyamba abantu ba Katonda okusigala nga bayonjo. Abo abakolera ku kigendererwa kya Yakuwa balina okusigala nga bayonjo mu mpisa. (Soma 1 Abakkolinso 6:9-11.) Abamu ku abo abafuuka Abakristaayo ab’amazima baali beenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu gamba ng’obukaba, obwenzi, n’okulya ebisiyaga. Okwegomba okuzaala ekibi kuyinza okuba nga kwali kwasimba amakanda mu mitima gyabwe. (Yak. 1:14, 15) Kyokka kati abantu ng’abo ‘banaaziddwa,’ ekiraga nti bakoze enkyukakyuka ezeetaagisa mu bulamu bwabwe okusobola okusanyusa Katonda. Kiki ekiyamba omuntu ayagala Katonda okwewala okwegomba okubi? Gwe ‘mwoyo gwa Katonda waffe,’ nga bwe kiragibwa mu 1 Abakkolinso 6:11. Bw’ofuba okusigala ng’oli muyonjo mu mpisa, oba okiraga nti okkiriza omwoyo ogwo okukukulembera.
12. (a) Okusinziira ku kwolesebwa kwa Ezeekyeri, Yakuwa akulembera atya ekibiina kye? (b) Osobola otya okulaga nti okolera wamu n’omwoyo omutukuvu?
12 Ey’okubiri, Yakuwa akozesa omwoyo gwe okuwa ekibiina kye obulagirizi. Mu kwolesebwa kwa Ezeekyeri, ekitundu ky’ekibiina kya Yakuwa eky’omu ggulu kikiikirirwa eggaali ery’omu ggulu eritasobola kuziyizibwa nga ligenda mu maaso okutuukiriza ekigendererwa kya Yakuwa. Kiki ekisobozesa eggaali lino okugenda gye lirina okugenda? Omwoyo omutukuvu. (Ez. 1:20, 21) Tusaanidde okukijjukira nti ekibiina kya Yakuwa kirimu ebitundu bibiri, ekimu kiri mu ggulu n’ekirala kiri ku nsi. Bwe kiba ng’ekitundu eky’omu ggulu kikulemberwa omwoyo omutukuvu, n’ekitundu eky’oku nsi kirina okuba nga kikulemberwa omwoyo ogwo. Bw’oba omuwulize era ng’ogoberera obulagirizi obutuweebwa ekitundu ky’ekibiina kya Katonda eky’oku nsi, oba okyoleka nti otambulira wamu n’eggaali lya Yakuwa ery’omu ggulu era nti okolera wamu n’omwoyo omutukuvu.—Beb. 13:17.
13, 14. (a) Baani abali mu ‘mulembe’ Yesu gwe yayogerako? (b) Kyakulabirako ki ekiraga nti omwoyo omutukuvu gutuyamba okutegeera amazima ga Baibuli. (Laba akasanduuko “Olabye Ekitangaala Ekigenda Kyeyongerayongera?”)
13 Ey’okusatu, Yakuwa akozesa omwoyo omutukuvu okutuyamba okutegeera amazima agali mu Baibuli. (Nge. 4:18) “Omuddu omwesigwa era ow’amagezi” amaze ebbanga ddene ng’akozesa magazini eno ng’omukutu omukulu okututuusaako ekitangaala ekigenda kyeyongerayongera. (Mat. 24:45) Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ngeri gye tutegeeramu abo abali mu ‘mulembe’ Yesu gwe yayogerako. (Soma Matayo 24:32-34.) Mulembe ki Yesu gwe yali ayogerako? Ekitundu ekyaliko omutwe ogugamba nti “Okubeerawo kwa Kristo Kulina Makulu Ki gy’Oli?” kyalaga nti Yesu yali tayogera ku bantu babi, wabula yali ayogera ku bayigirizwa be, abaali banaatera okufukibwako omwoyo omutukuvu.a Abagoberezi ba Yesu abaafukibwako amafuta, abaaliwo mu kyasa ekyasooka n’abo abaliwo mu kiseera kino, tebandikomye ku kulaba bulabi kabonero akalaga nti Yesu “ali kumpi, ku luggi,” naye era banditegedde n’amakulu gaako.
14 Bino birina makulu ki gye tuli? Wadde nga tetusobola kutegeerera ddala buwanvu bwa ‘mulembe guno,’ waliwo ebintu ebiwerako bye tusaanidde okujjukira ebikwata ku kigambo “omulembe”: Kitera okukozesebwa okutegeeza abantu ab’emyaka egy’enjawulo ababeerawo mu kiseera ekimu; omulembe tegutera kuba muwanvu nnyo; era gubaako we gukoma. (Kuv. 1:6) Kati olwo “omulembe guno” Yesu gwe yayogerako tusaanidde kugutegeera tutya? Kye yali ategeeza kiri nti abaafukibwako amafuta abaliraba entandikwa y’ekibonyoobonyo ekinene, balina okuba nga baabaawoko mu kiseera kye kimu ne bannaabwe abaalaba ng’akabonero ak’okubeerawo kwa Kristo katandise okweyoleka mu 1914. Omulembe ogwo gwaliko entandikwa, era gujja kubaako enkomerero. Eky’okuba nti ebintu ebiwerako ebiri mu kabonero ako bituukiridde kiraga nti ekibonyoobonyo ekyo kiri kumpi. Bw’omanya obukulu bw’ebiseera bye tulimu era n’ofuba okusigala ng’oli bulindaala, oba okiraga nti olabye ekitangaala eky’eby’omwoyo ekigenda kyeyongerayongera, era nti okolera ku bulagirizi bw’omwoyo omutukuvu.—Mak. 13:37.
15. Kiki ekiraga nti omwoyo omutukuvu gutuwa amaanyi nga tubuulira amawulire amalungi?
15 Ey’okuna, omwoyo omutukuvu gutuwa amaanyi nga tubuulira amawulire amalungi. (Bik. 1:8) Amawulire amalungi tegandisobose kubuulirwa mu nsi yonna awatali buyambi bwa mwoyo mutukuvu. Ng’ekyokulabirako, oyinza okuba nga wali weetya oba nga walina ensonyi, era nga wali olowooza nti, ‘Nze sisobola kubuulira nnyumba ku nnyumba!’ Kyokka, kati okola omulimu ogwo n’obunyiikivu.b Abajulirwa ba Yakuwa bangi tebalekera awo kubuulira wadde nga baziyizibwa oba nga bayigganyizibwa. Omwoyo gwa Katonda omutukuvu gwe gutuwa amaanyi ne tusobola okugumira embeera enzibu era ne tusobola okukola ebintu bye tutandisobodde kukola mu maanyi gaffe. (Mi. 3:8; Mat. 17:20) Bwe weenyigira mu bujjuvu mu mulimu gw’okubuulira, oba okiraga nti okolera wamu n’omwoyo ogwo.
Engeri gy’Aligukozesaamu mu Biseera eby’Omu Maaso
16. Lwaki tusobola okuba abakakafu nti Yakuwa ajja kukuuma abantu be mu kibonyoobonyo ekinene?
16 Mu biseera eby’omu maaso, Yakuwa ajja kukozesa omwoyo gwe omutukuvu mu ngeri ey’ekitalo okutuukiriza ekigendererwa kye. Lowooza ku ngeri gy’ajja okukuumamu abantu be. Nga bwe tulabye, mu biseera by’edda Yakuwa yakozesa omwoyo gwe okukuuma abantu era n’eggwanga lya Isiraeri okutwalira awamu. N’olwekyo, tetulina kubuusabuusa nti ajja kukozesa omwoyo gwe ogwo ogw’amaanyi okukuuma abantu be mu kibonyoobonyo ekinene ekinaatera okutuuka. Tekitwetaagisa kuteebereza ngeri Yakuwa gy’ajja kutukuumamu mu kiseera ekyo. Mu kifo ky’ekyo, tusaanidde okukimanya nti tewali kintu kyonna kijja kulemesa Yakuwa kukozesa mwoyo gwe omutukuvu kukuuma abo bonna abamwagala yonna gye banaaba.—2 Byom. 16:9; Zab. 139:7-12.
17. Yakuwa alikozesa atya omwoyo gwe omutukuvu mu nsi empya?
17 Yakuwa anaakozesa atya omwoyo gwe omutukuvu mu nsi empya? Omwoyo ogwo gujja kukozesebwa mu kuwandiikibwa kw’emizingo emipya egiryanjuluzibwa mu kiseera ekyo. (Kub. 20:12) Bintu ki ebiriba mu mizingo egyo? Gijja kubaamu ebintu Yakuwa by’ajja okutwetaagisa okukola mu myaka olukumi. Weesunga okwekenneenya ebyo ebinaaba mu mizingo egyo? Mu butuufu, twesunga nnyo ensi eyo empya. Tetusobola kutegeerera ddala bwe kiriba mu kiseera ekyo nga Yakuwa akozesa omwoyo gwe omutukuvu okutuukiriza ekigendererwa kye eri ensi awamu n’abantu abaligibeerako.
18. Omaliridde kukola ki?
18 Tetusaanidde kwerabira nti ekigendererwa kya Yakuwa kijja kulaba omukisa, kubanga akozesa omwoyo gwe omutukuvu—amaanyi agasingayo mu butonde bwonna—okukituukiriza. Ekigendererwa ekyo naawe kikukwatako. N’olwekyo, ba mumalirivu bulijjo okwegayirira Yakuwa akuwe omwoyo gwe omutukuvu era ofube okukolera ku bulagirizi bwagwo. (Luk. 11:13) Bw’onookola bw’otyo, ojja kuba n’essuubi ery’okubeera mu Lusuku lwa Katonda ku nsi emirembe gyonna, ng’ekigendererwa kya Yakuwa bwe kyali.
[Obugambo obuli wansi]
b Laba ekyokulabirako ky’ow’oluganda eyavvuunuka ekizibu ky’okwetya n’asobola okubuulira n’obunyiikivu, mu Watchtower eya Ssebutemba 15, 1993, olupapula 19.
Ojjukira?
• Yakuwa yakozesa atya omwoyo gwe omutukuvu mu biseera bya Baibuli okusobola okutuukiriza ekigendererwa kye?
• Yakuwa akozesa atya omwoyo gwe mu kiseera kino?
• Yakuwa alikozesa atya omwoyo gwe okusobola okutuukiriza ekigendererwa kye mu biseera eby’omu maaso?
[Akasanduuko akali ku lupapula 10]
Olabye Ekitangaala Ekigenda Kyeyongerayongera?
Yakuwa yeeyongera okuwa abantu be ekitangaala eky’eby’omwoyo. Ebimu ku bintu ebigenze byeyongera okutangaazibwako ebifulumidde mu Omunaala gw’Omukuumi bye biruwa?
▪ Olugero lwa Yesu olw’ekizimbulukusa lutuyigiriza ki ku ngeri omulimu gw’obwakabaka gye gukulaakulanamu? (Mat. 13:33)—Jjulaayi 15, 2008, olupapula 19-20.
▪ Okuyitibwa kw’Abakristaayo abalina essuubi ery’okugenda mu ggulu kukoma ddi?—Maayi 1, 2007 (Lungereza), olupapula 30-31.
▪ Kitegeeza ki okusinza Yakuwa “mu mwoyo”? (Yok. 4:24)—Agusito 1, 2002, olupapula 13.
▪ Luggya ki ab’ekibiina ekinene mwe baweerereza? (Kub. 7:15)—Maayi 1, 2002 (Lungereza), olupapula 30-31.
▪ Okwawula endiga okuva mu mbuzi kubaawo ddi? (Mat. 25:31-33)—Noovemba 1, 1995, olupapula 7-16.