LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU Watchtower
Watchtower
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • ENKUŊŊAANA
  • w13 12/1 lup. 16
  • Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino

Vidiyo teriiyo.

Vidiyo efunyeemu obuzibu.

  • Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Laba Ebirala
  • Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Obwakabaka bwa Katonda Kye Ki?
    Amawulire Amalungi Okuva eri Katonda!
Laba Ebirara
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
w13 12/1 lup. 16
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 16]

BAYIBULI EDDAMU EBIBUUZO BINO

Lwaki Yesu agenda kudda?

Yesu Kristo bwe yali tannagenda mu ggulu mu mwaka 33 embala eno, yasuubiza nti ajja kudda. Yeegeraageranya ku musajja omulangira eyagenda awantu n’amalayo ekiseera ekiwanvu, oluvannyuma n’akomawo ng’aweereddwa obuyinza okufuga nga kabaka. Yesu agenda kudda afuge ensi yonna nga Kabaka.​—Soma Lukka 19:11, 12.

Yesu agenda kudda afuge ensi yonna nga Kabaka

Yesu Kristo anaakomawo na mubiri gwa ngeri ki? Yazuukizibwa na mubiri gwa mwoyo ogutalabika. (1 Peetero 3:18) Oluvannyuma yagenda mu ggulu n’atuula ku mukono gwa Katonda ogwa ddyo. (Zabbuli 110:1) Nga wayiseewo ekiseera, Yesu yaleetebwa mu maaso ga Yakuwa Katonda, “omukadde eyaakamala ennaku ennyingi” era Yakuwa yamuwa obuyinza okufuga abantu bonna. N’olwekyo, Yesu ajja kukomawo nga Kabaka naye nga tetusobola kumulaba, kubanga tajja kuba na mubiri gwa nnyama.​—Soma Danyeri 7:13, 14.

Kiki Yesu ky’anaakola ng’akomyewo?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 16]

Yesu ajja kujja ne bamalayika be okusala omusango. Abantu ababi bajja kuzikirizibwa naye abo abamukkiririzaamu baweebwe obulamu obutaggwaawo.​—Soma Matayo 25:31-33, 46.

Yesu bw’anaaba afuga ensi, ajja kugifuula olusuku lwa Katonda. Ajja kuzuukiza abafu basobole okunyumirwa obulamu ku nsi.​—Soma Lukka 23:42, 43.

Okumanya ebisingawo, laba olupapula 73-85 mu katabo, Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa

Osobola okukafuna ku mukutu www.pr418.com

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Vaamu
    Yingira
    • Luganda
    • Weereza
    • By'Oyagala
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Privacy Policy
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Yingira
    Weereza