LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w14 8/1 lup. 15
  • Ani Eyatonda Katonda?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ani Eyatonda Katonda?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • Similar Material
  • Tusobola Okuba Abalamu Emirembe Gyonna
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2022
  • Omutonzi Agwanidde Okutenderezebwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Katonda y’Ani?
    Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
  • Erinnya lya Katonda y’Ani?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2019
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
w14 8/1 lup. 15
Emmunyeenye mu bwengula

ABASOMI BAFFE BABUUZA . . .

Ani Eyatonda Katonda?

Kuba akafaananyi nga taata ayogera ne mutabani we ow’emyaka omusanvu. Taata agamba mutabani we nti, “Edda ennyo, Katonda yatonda ensi n’ebintu byonna ebigiriko, era ye yatonda enjuba, omwezi, n’emmunyeenye.” Omulenzi akirowoozaako okumala akaseera era oluvannyuma abuuza kitaawe we nti, “Taata, ani eyatonda Katonda?”

Kitaawe amuddamu nti, “Tewali yatonda Katonda. Katonda abaddewo emirembe gyonna.” Omulenzi akkiriza ekyo kitaawe ky’amugambye. Naye bw’agenda akula, yeeyongera okwebuuza ekibuuzo ekyo. Kimuzibuwalira okukkiriza nti waliwo ekintu kyonna ekisobola okubaawo nga tekirina ntandikwa. Yeeyongera okwebuuza nti, ‘Katonda yava wa?’

Bayibuli eddamu etya ekibuuzo ekyo? Ekiddamu mu ngeri y’emu, ng’omuzadde ali mu kyokulabirako ekyo waggulu bwe yaddamu mutabani we. Musa omuweereza wa Katonda yawandiika nti: ‘Mukama, ensozi nga tezinnazaalibwa, era nga tonnabumba nsi n’ebintu, okuva mu mirembe gyonna okutuusa mu mirembe gyonna, ggwe Katonda.’ (Zabbuli 90:1, 2) Ne nnabbi Isaaya yagamba nti: “Tomanyi? Towuliranga? Yakuwa Omutonzi w’ensi yonna ye Katonda ow’emirembe n’emirembe”! (Isaaya 40:28, NW) Ate era, okusinziira ku bbaluwa ya Yuda, Katonda abaddewo “okuva edda n’edda.”​—Yuda 25.

Ebyawandiikibwa ebyo biraga nti Katonda ye “Kabaka ow’emirembe n’emirembe,” ng’omutume Pawulo bwe yamwogerako. (1 Timoseewo 1:17) Ekyo kitegeeza nti Katonda abaddewo okuva edda n’edda, era emyaka gy’amaze tetuyinza na kugiteebereza. Ate era ajja kubeerawo emirembe gyonna. (Okubikkulirwa 1:8) Ekyo tekyewuunyisa, kubanga Katonda ye Muyinza w’Ebintu Byonna.

Lwaki ekyo kituzibuwalira okutegeera? Kubanga ffe abantu tuwangaala emyaka mitono nnyo era n’engeri gye tubalamu ebiseera ya njawulo ku ngeri Katonda gy’abibalamu. Olw’okuba Katonda abeerawo emirembe gyonna, mu maaso ge emyaka olukumi giringa olunaku lumu. (2 Peetero 3:8) Ng’ekyokulabirako, olowooza ejjanzi eribeerawo ennaku nga 50 zokka ne lifa, lisobola okutegeera emyaka 70 oba 80 omuntu gy’awangaala? Nedda! Bayibuli egamba nti ffe abantu bwe tugeraageranyizibwa ku Katonda tulinga amayanzi. N’engeri gye tulowoozaamu ya wansi nnyo ku ya Katonda. (Isaaya 40:22; 55:8, 9) N’olwekyo bwe wabaawo ebintu ebikwata ku Yakuwa ebituzibuwalira okutegeera, tekyanditwewuunyisizza.

Wadde nga kiyinza okutuzibuwalira okukkiriza nti Katonda abaddewo emirembe gyonna, kya makulu okukkiriza bwe tutyo. Lwaki? Singa waliwo eyatonda Katonda, oyo ye yandibadde Omutonzi. Kyokka Bayibuli egamba nti Yakuwa Katonda ye ‘yatonda ebintu byonna.’ (Okubikkulirwa 4:11) Okugatta ku ekyo, tukimanyi nti eggulu n’ensi tebyaliwo. (Olubereberye 1:1, 2) Kati olwo byava wa? Eyabitonda yalina okubisooka okubaawo. Ate era Katonda yaliwo ng’Omwana we eyazaalibwa omu yekka ne bamalayika tebannatondebwa. (Yobu 38:4, 7; Abakkolosaayi 1:15) Ekyo kitegeeza nti Katonda yasooka kubeerawo yekka. Teyatondebwa, kubanga tewaaliwo kintu kyonna kyandimutonze.

Eky’okuba nti weetuli era nga n’ebitonde ebirala byonna weebiri, bukakafu obulaga nti Katonda abaddewo emirembe gyonna. Ye yatonda ebintu byonna, era ye yateekawo amateeka kwe bitambulira. Okugatta ku ekyo, ye yawa buli kiramu omukka gwe kissa.​—Yobu 33:4.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share