LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Okubala 28:3-8
    Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
    • 3 “Era bagambe nti, ‘Kino kye kiweebwayo ekyokebwa n’omuliro kye munaawangayo eri Yakuwa: buli lunaku endiga ento ennume bbiri ennamu obulungi, nga buli emu ya mwaka gumu, ng’ekiweebwayo ekyokebwa ekiweebwayo obutayosa.+ 4 Endiga emu ojjanga kugiwaayo ku makya, ate endala ogiweeyo akawungeezi;*+ 5 ojjanga kugiweerayo wamu ne kimu kya kkumi ekya efa* y’obuwunga obutaliimu mpulunguse nga butabuddwamu ekitundu kimu kya kuna ekya yini* y’amafuta agaggiddwa mu zzeyituuni enkube, okuba ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke.+ 6 Ekyo kye kiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku,+ ekiweebwayo okuba evvumbe eddungi* ekyalagirwa ku Lusozi Sinaayi, ekiweebwayo eri Yakuwa ekyokebwa n’omuliro, 7 awamu n’ekiweebwayo eky’eby’okunywa ekigenderako, nga kimu kya kuna ekya yini ku buli ndiga ento ennume.+ Eky’okunywa eky’omwenge ojja kukiyiwa mu kifo ekitukuvu okuba ekiweebwayo eri Yakuwa eky’eby’okunywa. 8 Era endiga endala ojjanga kugiwaayo akawungeezi.* Ojja kugiweerayo wamu n’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke ekiri ng’ekyo eky’oku makya era n’ekiweebwayo eky’eby’okunywa ekigenderako ekiri ng’ekyo eky’oku makya, okuba ekiweebwayo ekyokebwa n’omuliro, okuba evvumbe eddungi* eri Yakuwa.+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share