LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Okubala 8
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Alooni akoleeza ettaala omusanvu (1-4)

      • Abaleevi batukuzibwa; batandika okuweereza (5-22)

      • Emyaka gy’Abaleevi abakkirizibwa okuweereza (23-26)

Okubala 8:2

Marginal References

  • +Kuv 25:37; 40:24, 25; Lev 24:2

Okubala 8:3

Marginal References

  • +Beb 9:2

Okubala 8:4

Marginal References

  • +Kuv 37:17
  • +Kuv 25:9, 40; 1By 28:12, 19

Okubala 8:6

Marginal References

  • +Kuv 29:4; Is 52:11

Okubala 8:7

Marginal References

  • +Kuv 30:18, 19; Lev 16:28; Kbl 19:7

Okubala 8:8

Marginal References

  • +Lev 1:3
  • +Lev 2:1
  • +Lev 4:3

Okubala 8:9

Marginal References

  • +Lev 8:2, 3

Okubala 8:10

Marginal References

  • +Kbl 3:9, 41

Okubala 8:11

Footnotes

  • *

    Obut., “kuwuubawuuba,” kwe kugamba, okubazza emabega ne mu maaso.

Marginal References

  • +Lev 7:30; Kbl 8:21
  • +Kbl 1:50; 3:6; 2By 31:2

Okubala 8:12

Marginal References

  • +Kuv 29:10
  • +Lev 1:4

Okubala 8:13

Footnotes

  • *

    Obut., “obawuubewuube,” kwe kugamba, obazze emabega ne mu maaso.

Okubala 8:14

Marginal References

  • +Kbl 3:45; 16:9

Okubala 8:15

Footnotes

  • *

    Obut., “n’obawuubawuuba,” kwe kugamba, n’obazza emabega ne mu maaso.

Okubala 8:16

Footnotes

  • *

    Oba, “ababereberye bonna abaggula enda.”

Marginal References

  • +Kbl 3:12

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    5/1/1992, lup. 19-20

Okubala 8:17

Marginal References

  • +Kuv 13:2, 12; Lev 27:26
  • +Kuv 12:29; 13:15

Okubala 8:19

Marginal References

  • +Kbl 3:9; 18:6; 1By 23:32; Ezk 44:11
  • +Kbl 1:53; 18:5; 1Sa 6:19

Okubala 8:21

Footnotes

  • *

    Obut., “n’abawuubawuuba,” kwe kugamba, n’abazza emabega ne mu maaso.

Marginal References

  • +Kbl 8:7
  • +Kbl 8:11
  • +Kbl 8:12

Okubala 8:25

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    8/1/2004, lup. 30

Okubala 8:26

Marginal References

  • +Kbl 1:53; 3:32; 18:4

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    8/1/2004, lup. 30

General

Kubal. 8:2Kuv 25:37; 40:24, 25; Lev 24:2
Kubal. 8:3Beb 9:2
Kubal. 8:4Kuv 37:17
Kubal. 8:4Kuv 25:9, 40; 1By 28:12, 19
Kubal. 8:6Kuv 29:4; Is 52:11
Kubal. 8:7Kuv 30:18, 19; Lev 16:28; Kbl 19:7
Kubal. 8:8Lev 1:3
Kubal. 8:8Lev 2:1
Kubal. 8:8Lev 4:3
Kubal. 8:9Lev 8:2, 3
Kubal. 8:10Kbl 3:9, 41
Kubal. 8:11Lev 7:30; Kbl 8:21
Kubal. 8:11Kbl 1:50; 3:6; 2By 31:2
Kubal. 8:12Kuv 29:10
Kubal. 8:12Lev 1:4
Kubal. 8:14Kbl 3:45; 16:9
Kubal. 8:16Kbl 3:12
Kubal. 8:17Kuv 13:2, 12; Lev 27:26
Kubal. 8:17Kuv 12:29; 13:15
Kubal. 8:19Kbl 3:9; 18:6; 1By 23:32; Ezk 44:11
Kubal. 8:19Kbl 1:53; 18:5; 1Sa 6:19
Kubal. 8:21Kbl 8:7
Kubal. 8:21Kbl 8:11
Kubal. 8:21Kbl 8:12
Kubal. 8:26Kbl 1:53; 3:32; 18:4
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
  • 26
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Okubala 8:1-26

Okubala

8 Yakuwa n’ayogera ne Musa n’amugamba nti: 2 “Gamba Alooni nti, ‘Bw’onookoleezanga ettaala omusanvu eziri ku kikondo ky’ettaala, ettaala ezo zinaamulisanga ekifo ekiri mu maaso g’ekikondo ky’ettaala.’”+ 3 Awo Alooni n’akola bw’ati: N’akoleeza ettaala zaakyo okumulisa ekifo ekiri mu maaso g’ekikondo ky’ettaala,+ nga Yakuwa bwe yalagira Musa. 4 Bwe kiti ekikondo ky’ettaala bwe kyakolebwa: Kyaweesebwa mu zzaabu nga bakozesa nnyondo.+ Okuva ku nduli yaakyo okutuuka ku bimuli byakyo kyaweesebwa na nnyondo. Ekikondo ky’ettaala kyakolebwa nga Yakuwa bwe yalaga Musa mu kwolesebwa.+

5 Yakuwa era n’ayogera ne Musa n’amugamba nti: 6 “Ggya Abaleevi mu Bayisirayiri obatukuze.+ 7 Bw’oti bw’onoobatukuza: Ojja kubamansirako amazzi aganaazaako ekibi, era bajja kumwa omubiri gwabwe gwonna n’akamweso, booze ebyambalo byabwe, era beetukuze.+ 8 Bajja kuleeta ente ennume ento+ n’ekiweebwayo ekigenderako eky’emmere ey’empeke,+ nga buwunga obutaliimu mpulunguse obutabuddwamu amafuta g’ezzeyituuni, era ojja kuleeta ente endala ennume ento ey’ekiweebwayo olw’ekibi.+ 9 Ojja kuleeta Abaleevi mu maaso ga weema ey’okusisinkaniramu era okuŋŋaanye ekibiina kyonna eky’Abayisirayiri.+ 10 Bw’onooleeta Abaleevi mu maaso ga Yakuwa, Abayisirayiri bajja kubassaako emikono gyabwe.+ 11 Alooni ajja kuwaayo* Abaleevi mu maaso ga Yakuwa ng’ekiweebwayo ekiwuubibwa+ ekiweereddwayo Abayisirayiri, era bajja kukola emirimu gya Yakuwa.+

12 “Abaleevi bajja kussa emikono gyabwe ku mitwe gy’ente ennume.+ Oluvannyuma bajja kuziwaayo eri Yakuwa, emu ng’ekiweebwayo olw’ekibi ate endala ng’ekiweebwayo ekyokebwa, okusobola okutangirira+ Abaleevi. 13 Ojja kuyimiriza Abaleevi mu maaso ga Alooni ne batabani be obaweeyo* eri Yakuwa ng’ekiweebwayo ekiwuubibwa. 14 Ojja kwawula Abaleevi ku Bayisirayiri abalala, era Abaleevi bajja kuba bange.+ 15 Oluvannyuma Abaleevi bajja kujja baweereze ku weema ey’okusisinkaniramu. Bw’otyo bw’onoobatukuza n’obawaayo* ng’ekiweebwayo ekiwuubibwa. 16 Bampeereddwa ng’ebirabo okuva mu Bayisirayiri. Nja kubatwala mu kifo ky’ababereberye bonna* ab’Abayisirayiri.+ 17 Kubanga buli mubereberye mu Bayisirayiri wange, mu bantu ne mu nsolo.+ Nnabeetukuliza ku lunaku lwe nnatta ababereberye bonna mu nsi ya Misiri.+ 18 Nja kutwala Abaleevi mu kifo ky’ababereberye bonna mu Bayisirayiri. 19 Alooni ne batabani be nja kubawa Abaleevi ng’ebirabo okuva mu Bayisirayiri, bakole emirimu ku lw’Abayisirayiri ku weema ey’okusisinkaniramu+ era babatangirire, akabi kaleme okutuuka ku Bayisirayiri+ olw’okusemberera ekifo ekitukuvu.”

20 Bwe batyo Musa ne Alooni n’ekibiina kyonna eky’Abayisirayiri bwe baakola Abaleevi. Abayisirayiri baakola byonna ebikwata ku Baleevi nga Yakuwa bwe yalagira Musa. 21 Awo Abaleevi ne beetukuza ne booza ebyambalo byabwe,+ oluvannyuma Alooni n’abawaayo* ng’ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Yakuwa.+ Ebyo bwe byaggwa, Alooni n’abatangirira okubatukuza.+ 22 Oluvannyuma Abaleevi ne bajja okukola emirimu gyabwe mu maaso ga Alooni ne batabani be ku weema ey’okusisinkaniramu. Abantu baakola byonna Yakuwa bye yalagira Musa okukola ku Baleevi.

23 Awo Yakuwa n’ayogera ne Musa n’amugamba nti: 24 “Bino bikwata ku Baleevi: Anaabanga awezezza emyaka 25 n’okudda waggulu, aneegattanga ku kibinja ky’abo abaweereza ku weema ey’okusisinkaniramu. 25 Naye bw’anaawezanga emyaka 50 anaawummulanga n’alekera awo okuweereza mu kibinja ekiweereza. 26 Anaayambanga ku baganda be nga bakola emirimu gyabwe ku weema ey’okusisinkaniramu, naye ye taaweerezenga. Bw’otyo bw’onookolanga ku bikwata ku Baleevi n’emirimu gyabwe.”+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share