Sigala mu Kiwonvu kya Yakuwa Omuli Obukuumi
‘Yakuwa alirwana n’amawanga ago nga bwe yalwana ku lunaku olw’olutalo.’—ZEK. 14:3.
1, 2. Lutalo ki olwa ddala olubindabinda, era kiki abaweereza ba Katonda kye batajja kwetaaga kukola?
NGA Okitobba 30, 1938, abantu bangi mu Amerika baalina omuzannyo gwe baali bawuliriza ku leediyo. Omuzannyo ogwo gwali gwesigamiziddwa ku katabo akayitibwa The War of the Worlds. Abazannyi abaali bazannya nga bannamawulire baalangirira nti waaliwo ebintu eby’entiisa ebyali bigenda okuva mu bwengula bigwe ku nsi bisaanyeewo abantu. Wadde nga kyali kirangiriddwa nti ogwo gwali muzannyo buzannyo, abantu abasinga obungi baalowooza nti ebyo ebyali byogeddwa byali bigenda kubaawo ddala era ne batya nnyo. Abantu abamu baatandika n’okwetegekera obulumbaganyi obwo.
2 Leero, waliwo olutalo olwa ddala olubindabinda. Kyokka abantu abasinga obungi tebalwetegekedde. Olutalo olwo lwogerwako mu Kigambo kya Katonda, Bayibuli. Olutalo olwo luyitibwa Kalumagedoni, olutalo Katonda kw’agenda okuzikiririza enteekateeka eno ey’ebintu. (Kub. 16:14-16) Mu lutalo olwo, Abaweereza ba Katonda tekijja kubeetaagisa kwerwanako. Mu kifo ky’ekyo, Yakuwa ajja kukozesa amaanyi ge ag’ekitalo okubakuuma.
3. Bunnabbi ki bwe tugenda okwetegereza, era lwaki obunnabbi obwo bwa makulu nnyo gye tuli?
3 Obunnabbi bwa Bayibuli obuli mu Zekkaliya essuula 14 butuyamba okumanya ebintu bingi ebikwata ku lutalo Kalumagedoni. Obunnabbi obwo bwawandiikibwa emyaka nga 2,500 emabega era bwa makulu nnyo gye tuli leero. (Bar. 15:4) Ebintu ebisinga obungi ebyogerwako mu bunnabbi obwo bikwata ku bintu ebituuse ku bantu ba Katonda okuva Obwakabaka bwa Masiya lwe bwateekebwawo mu ggulu mu 1914 awamu n’ebintu ebinaatera okubaawo. Obunnabbi obwo bwogera ku ‘kiwonvu ekinene ennyo’ ne ku ‘mazzi amalamu.’ (Zek. 14:4, 8) Mu kitundu kino, tujja kutegeera ekiwonvu ekyo kye ki era n’engeri abaweereza ba Yakuwa gye bayinza okufuniramu obukuumi. Ate era tujja kutegeera amazzi amalamu kye ki era n’engeri gye gayinza okutuganyulamu. Ekyo kijja kutuleetera okwagala okunywa amazzi ago. Kati ka twetegereze obunnabbi obwo.—2 Peet. 1:19, 20.
‘OLUNAKU LWA YAKUWA’ LUTANDIKA
4. (a) ‘Olunaku lwa Yakuwa’ lwatandika ddi? (b) Omwaka gwa 1914 bwe gwali tegunnatuuka, kiki abaweereza ba Yakuwa kye baali babuulira abantu, era kiki bannabyabufuzi n’abakulembeze b’amadiini kye baakola?
4 Obunnabbi obuli mu Zekkaliya essuula eya 14 butandika n’ebigambo bino: ‘Laba, olunaku lwa Yakuwa lujja.’ (Soma Zekkaliya 14:1, 2.) Olunaku olwo lwe luliwa? Lwe “lunaku lwa Mukama waffe,” olwatandika ‘obwakabaka bw’ensi bwe bwafuuka obwakabaka bwa Mukama waffe era obwa Kristo we.’ (Kub. 1:10; 11:15) Olunaku olwo lwatandika mu 1914, Obwakabaka bwa Masiya bwe bwateekebwawo mu ggulu. Okumala emyaka mingi ng’omwaka gwa 1914 tegunnatuuka, abaweereza ba Yakuwa baabuuliranga abantu nti “ebiseera ebigereke eby’amawanga” byandiweddeko mu mwaka ogwo, era nti okuva mu mwaka ogwo ensi yandyeyongedde okutabanguka. (Luk. 21:24) Kiki amawanga kye gaakola? Mu kifo ky’okubawuliriza, bannabyabufuzi n’abakulembeze b’amadiini baabasekerera era ne batandika okubayigganya. Mu kukola batyo, bannabyabufuzi n’abakulembeze b’amadiini baali basekerera Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna, kubanga Abakristaayo abaafukibwako amafuta bakiikirira “Yerusaalemi eky’omu ggulu,” Obwakabaka bwa Masiya.—Beb. 12:22, 28.
5, 6. (a) Kiki amawanga kye gaakola “ekibuga” awamu ‘n’abatuuze’ baakyo? (b) ‘Ekitundu eky’abantu ekyasigalawo’ kye ki?
5 Nnabbi Zekkaliya yayogera ku ekyo amawanga kye gandikoze. Yagamba nti: “Ekibuga [Yerusaalemi] kirimenyebwa.” “Ekibuga” ekyo kikiikirira Obwakabaka bwa Masiya. ‘Abatuuze’ baakyo, ensigalira y’Abakristaayo abaafukibwako amafuta, be bakikiikirira ku nsi. (Baf. 3:20) Mu Ssematalo I, ab’oluganda abaali batwala obukulembeze mu kitundu eky’oku nsi eky’ekibiina kya Yakuwa ‘baamenyebwa,’ kwe kugamba, baakwatibwa ne basibibwa mu kkomera mu Atlanta, Georgia, Amerika. ‘Ennyumba z’ekibuga zaanyagibwa’ mu ngeri nti ab’oluganda abo awamu n’abalala abaali abeesigwa baatulugunyizibwa nnyo era ne bayisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya. Abalabe baawera ebitabo by’Abakristaayo abo abaafukibwako amafuta, era baagezaako n’okubagaana okubuulira.
6 Wadde ng’abalabe abaali ab’amaanyi baayigganya nnyo abantu ba Katonda era ne baboogerako eby’obulimba, tebaasobola kusaanyaawo kusinza okw’amazima. Waaliwo ‘ekitundu ky’abantu ekyasigalawo,’ kwe kugamba, ensigalira y’Abakristaayo abaafukibwako amafuta abaagaana ‘okumalibwawo mu kibuga.’
7. Ekyokulabirako abaweereza ba Yakuwa abaafukibwako amafuta kye bataddewo kituganyula kitya?
7 Abalabe baalekera awo okuyigganya abantu ba Katonda Ssematalo I bwe yaggwa? Nedda. Okuyigganyizibwa nnabbi Zekkaliya kwe yayogerako kweyongera mu maaso n’oluvannyuma lwa Ssematalo I. (Kub. 12:17) Ekyo kyeyoleka bulungi mu Ssematalo II. Ekyokulabirako Abakristaayo abaafukibwako amafuta kye bataddewo kitukubiriza okuba abamalirivu okugumira okugezesebwa kwonna kwe tuyinza okwolekagana nakwo, nga muno mw’otwalidde okuziyizibwa ab’eŋŋanda zaffe abatali bakkiriza, bakozi bannaffe, oba bayizi bannaffe. (1 Peet. 1:6, 7) Ffenna tuli bamalirivu ‘okuba abanywevu mu mwoyo gumu,’ nga ‘tetutiisibwatiisibwa balabe baffe.’ (Baf. 1:27, 28) Naye, kiki ekinaatuyamba okufuna obukuumi wadde ng’ensi etukyawa?—Yok. 15:17-19.
YAKUWA ATEEKAWO “EKIWONVU EKINENE ENNYO”
8. (a) Mu Bayibuli oluusi ensozi zikiikirira ki? (b) ‘Olusozi lwa Zeyituuni’ lukiikirira ki?
8 Okuva bwe kiri nti “ekibuga,” Yerusaalemi, kikiikirira Yerusaalemi eky’omu ggulu, ‘olusozi olwa Zeyituuni olwolekedde Yerusaalemi,’ nalwo luteekwa okuba nga lulina kye lukiikirira. Olusozi olwo lukiikirira ki? Okuba nti ‘lwatikamu wakati’ ne lufuuka ensozi bbiri kitegeeza ki? Lwaki ensozi ezo Yakuwa aziyita ‘ensozi ze’? (Soma Zekkaliya 14:3-5.) Mu Bayibuli oluusi ensozi zikiikirira obwakabaka, oba gavumenti. Ate era Bayibuli etera okulaga nti emikisa n’obukuumi biva ku lusozi lwa Katonda. (Zab. 72:3; Is. 25:6, 7) N’olwekyo, olusozi lwa Zeyituuni Katonda kw’ayimirira lukiikirira obufuzi bwa Yakuwa obw’obutonde bwonna.
9. Okuba nti ‘olusozi lwa Zeyituuni’ lwatikamu wakati kitegeeza ki?
9 Okuba nti olusozi lwa Zeyituuni lwatikamu wakati kitegeeza ki? Kitegeeza nti Yakuwa ateekawo obufuzi obulala, nga buno bwe Bwakabaka bwa Masiya obufugibwa Yesu Kristo. Eyo ye nsonga lwaki ensozi ebbiri ezijjawo ‘ng’olusozi lwa Zeyituuni’ lwatiseemu Yakuwa aziyita ‘ensozi ze.’ (Zek. 14:4) Ensozi ezo zombi za Yakuwa.
10. “Ekiwonvu ekinene ennyo” ekiri wakati w’ensozi ebbiri kikiikirira ki?
10 Olusozi olwa Zeyituuni bwe lwatikamu wakati, ekitundu ekimu ne kigenda ebukiikakkono ate ekirala ne kigenda ebukiikaddyo, ebigere bya Yakuwa bisigala ku nsozi zombi ebbiri. Olusozi bwe lwatikamu wakati wajjawo “ekiwonvu ekinene ennyo.” Ekiwonvu ekyo kikiikirira obukuumi Yakuwa bw’awa abantu be okuyitira mu bufuzi bwe obw’obutonde bwonna ne mu Bwakabaka bwa Masiya obufugibwa Omwana we. Yakuwa tajja kukkiriza kusinza okw’amazima kusaanyizibwawo. Olusozi lwa Zeyituuni lwayatikamu ddi? Ekyo kyaliwo Obwakabaka bwa Masiya bwe bwateekebwawo mu 1914 ng’ebiseera by’Ab’amawanga biweddeko. Abantu ba Yakuwa baatandika ddi okuddukira mu kiwonvu eky’akabonero?
ABANTU BA KATONDA BATANDIKA OKUDDUKIRA MU KIWONVU!
11, 12. (a) Abantu ba Yakuwa baatandika ddi okuddukira mu kiwonvu eky’akabonero? (b) Kiki ekiraga nti Yakuwa abadde akozesa omukono gwe ogw’amaanyi okukuuma abantu be?
11 Yesu yagamba abagoberezi be nti: “Mulikyayibwa amawanga gonna ku lw’erinnya lyange.” (Mat. 24:9) Mu nnaku zino ez’oluvannyuma ez’enteekateeka eno ey’ebintu, ezaatandika mu 1914, abagoberezi ba Yesu bayigganyiziddwa nnyo. Mu Ssematalo I, abalabe baayigganya nnyo ensigalira y’abaafukibwako amafuta naye tebaasobola kusaanyaawo kusinza okw’amazima. Mu 1919 abantu ba Katonda baanunulibwa okuva mu Babulooni Ekinene, amadiini gonna ag’obulimba. (Kub. 11:11, 12)a Mu mwaka ogwo abantu ba Katonda baatandika okuddukira mu kiwonvu ekiri wakati w’ensozi za Yakuwa.
12 Okuva mu 1919 abantu ba Yakuwa babadde bafuna obukuumi mu kiwonvu eky’akabonero. Okumala emyaka mingi, mu nsi ezitali zimu, gavumenti zigezezzaako okuwera omulimu gw’Abajulirwa ba Yakuwa awamu n’ebitabo byabwe. Era mu nsi ezimu omulimu gwaffe gukyawereddwa. Kyokka, amawanga ka gakole ki, tegajja kusobola kusaanyaawo kusinza okw’amazima! Yakuwa ajja kweyongera okukozesa omukono gwe ogw’amaanyi okukuuma abantu be.—Ma. 11:2.
13. Tuyinza tutya okusigala mu kiwonvu kya Yakuwa omuli obukuumi, era lwaki kikulu nnyo leero okusigala mu kiwonvu ekyo?
13 Bwe tunywerera ku Yakuwa, Yakuwa n’Omwana we Yesu Kristo bajja kweyongera okutukuuma. Yakuwa tajja kukkiriza muntu yenna oba kintu kyonna ‘kutukwakkula mu mukono gwe.’ (Yok. 10:28, 29) Yakuwa mwetegefu okutuyamba tusobole okweyongera okumugondera ng’Omufuzi w’Obutonde Bwonna n’okunywerera ku Bwakabaka bwa Masiya. N’olwekyo kikulu nnyo okusigala mu kiwonvu kya Yakuwa omuli obukuumi, kubanga ekiwonvu ekyo kijja kutuyamba nnyo naddala mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene ekinaatera okutuuka.
‘OLUNAKU LWA KATONDA OLW’OKULWANA’ LUTUUKA
14, 15. Ku ‘lunaku Katonda lw’agenda okulwana’ n’abalabe be, kiki ekinaatuuka ku abo abanaasangibwa ebweru ‘w’ekiwonvu ekinene’?
14 Ng’enkomerero y’enteekateeka eno ey’ebintu egenda esembera, Sitaani ajja kwongera amaanyi mu bulumbaganyi bw’akola ku bantu ba Yakuwa. Kyokka ‘olunaku lwa Katonda olw’okulwana’ n’abalabe be lujja kutuuka era Yakuwa ajja kukomya obulumbaganyi bwa Sitaani. Ku lunaku olwo, okusinga bwe kyali kibadde, kijja kweyoleka kaati nti Yakuwa ye Mulwanyi asinga bonna.—Zek. 14:3.
15 Katonda bw’anaaba alwana n’abalabe be, kiki ekinaatuuka ku abo abanaasangibwa ebweru ‘w’ekiwonvu ekinene’? “Omusana” tegujja kubaakira, kwe kugamba, Katonda tajja kubakuuma. Ku lunaku lwa Katonda olw’okulwana, ‘embalaasi, ennyumbu, eŋŋamira, endogoyi, n’ensolo eza buli kika,’ ezikiikirira eby’okulwanyisa by’amawanga, nazo tezijja kutalizibwa. Eby’okulwanyisa eby’amawanga tebijja kuba na mugaso. Yakuwa era ajja kubonereza abalabe be ng’akozesa “ekibonoobono” oba endwadde. Ku lunaku olwo, ‘amaaso gaabwe n’ennimi zaabwe bijja kuvunda.’ Ka bube ng’obwo bunaaba bulwadde bwa ddala oba nedda, ekituufu kiri nti abalabe ba Katonda bajja kuba tebakyasobola kutukolako kabi konna era bajja kuba tebakyalina kya kwogera. (Zek. 14:6, 7, 12, 15) Tewali kitundu kya nsi ya Sitaani kitajja kuzikirizibwa. Abo abanaaba ku ludda lwa Sitaani bajja kuba bangi nnyo. (Kub. 19:19-21) Bayibuli egamba nti: ‘Abo Yakuwa b’alitta baliva ku nkomerero y’ensi okutuuka ku nkomerero yaayo.’—Yer. 25:32, 33.
16. Bibuuzo ki bye tusaanidde okwebuuza, era kiki kye tujja okwetaaga okukola mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene?
16 Olutalo bwe lubaawo, abantu bonna batera okubonaabona, nga mw’otwalidde n’abo abaluwangula. Naffe tuyinza okubonaabona mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene. Tuyinza okubulwa emmere, okufiirwa ebintu byaffe, oba obutaba na ddembe nga lye tulina leero. Ebintu ng’ebyo bwe binaatutuukako, tunaakola ki? Tunaatya? Tunaggwamu amaanyi ne tulekera awo okuweereza Yakuwa? Nga kijja kuba kya magezi mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene okwongera okwesiga Yakuwa era n’okufuba okusigala mu kiwonvu kye omuli obukuumi!—Soma Kaabakuuku 3:17, 18.
“AMAZZI AMALAMU”
17, 18. (a) “Amazzi amalamu” kye ki? (b) “Ennyanja ey’ebuvanjuba” ne “ennyanja ey’ebugwanjuba” zikiikirira ki? (c) Kiki ky’omaliridde okukola?
17 Oluvannyuma lwa Kalumagedoni, “amazzi amalamu” gajja kukulukuta mu bungi okuva mu Bwakabaka bwa Masiya. ‘Amazzi ago amalamu’ ze nteekateeka Yakuwa z’akoze okusobozesa abantu okufuna obulamu obutaggwaawo. ‘Ennyanja ey’ebuvanjuba’ ye Nnyanja Enfu, ate “ennyanja ey’ebugwanjuba” ye Nnyanja Meditereniyani. Ennyanja ezo zombi zikiikirira bantu. Ennyanja Enfu ekiikirira abo abali emagombe. Okuva bwe kiri nti Ennyanja Meditereniyani ejjudde ebiramu, ekiikirira “ekibiina ekinene” eky’abo abanaawonawo ku Kalumagedoni. (Soma Zekkaliya 14:8, 9; Kub. 7:9-15) Bwe kityo, abantu ab’ebiti ebyo ebibiri bajja kununulibwa okuva mu kibi n’okufa bye twasikira okuva ku Adamu nga banywa ku mazzi amalamu ag’akabonero, oba ku ‘mugga ogw’amazzi ag’obulamu.’—Kub. 22:1, 2.
Beera mumalirivu okusigala mu kiwonvu kya Yakuwa omuli obukuumi
18 Yakuwa ajja kutukuuma bw’anaaba azikiriza enteekateeka eno ey’ebintu, era ajja kutuyingiza mu nsi ye empya ey’obutuukirivu. Wadde ng’amawanga gonna gatukyawa, ka tube bamalirivu okweyongera okuwagira Obwakabaka bwa Katonda n’okufuba okusigala mu kiwonvu kya Yakuwa omuli obukuumi.
a Laba ekitabo Revelation—Its Grand Climax at Hand! olupapula 169-170.