LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w13 2/15 lup. 22-24
  • Tokkiriza Mutima Gwo Kukulimba

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Tokkiriza Mutima Gwo Kukulimba
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Subheadings
  • Similar Material
  • OYINZA OTYA OKUMAYA EBIRUUBIRIRWA BY’OMUTIMA GWO?
  • OMUTIMA GWO GUYINZA GUTYA OKUKULIMBA?
  • TUSOBOLA OKUKOLA ENKYUKAKYUKA
  • Weereza Yakuwa n’Omutima Gwo Gwonna
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • Funa Omutima Ogusanyusa Yakuwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
  • Kuuma Omutima Gwo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
  • Olina ‘Omutima Ogumanyi’ Yakuwa?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
w13 2/15 lup. 22-24

Tokkiriza Mutima gwo Kukulimba

Bayibuli egamba nti: “Omutima mulimba okusinga ebintu byonna, era gulwadde endwadde etewonyezeka.” (Yer. 17:9) Omutima gwaffe bwe gubaako ekintu kye gwegomba ennyo, tuyinza okutandika okwekwasa obusongasonga tusobole okukikola.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 22]

Ebyawandiikibwa bigamba nti: “Mu mutima mwe muva ebirowoozo ebibi, obutemu, obwenzi, obukaba, obubbi, okuwaayiriza, n’okuvvoola.” (Mat. 15:19) Omutima gwaffe ogw’akabonero guyinza okutulimbalimba ne gutuleetera okukola ebintu ebikontana n’ebyo Katonda by’ayagala. Kyokka tuyinza obutakitegeera nti omutima gwaffe gutulimbye okutuusa nga tumaze okugwa mu ensobi. Kati olwo kiki ekinaatuyamba okumanya ebiruubirirwa by’omutima gwaffe kituyambe obutakwata kkubo kyamu?

OYINZA OTYA OKUMAYA EBIRUUBIRIRWA BY’OMUTIMA GWO?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 23]

Okusoma Bayibuli buli lunaku kituyamba kitya okumanya ekyo ekiri mu mutima gwaffe?

Soma Bayibuli buli lunaku era ofumiitirize ku ebyo by’osoma

. Omutume Pawulo yawandiika nti: “Ekigambo kya Katonda kiramu, kya maanyi, era kyogi okusinga ekitala ekiriko obwogi ku njuyi zaakyo zombi, era kiyingirira ddala n’okwawula ne kyawula obulamu n’omwoyo.” Obubaka obuli mu Bayibuli ‘busobola okutuyamba okutegeera ebirowoozo n’ebiruubirirwa by’omutima’ gwaffe. (Beb. 4:12) Bwe tusoma Bayibuli tulina okwekebera tulabe obanga ebyo bye tukola n’ebyo bye tulowooza bituukana n’ebyo bye tusoma. Ekyo kijja kutuyamba okumanya ebiruubirirwa by’omutima gwaffe. N’olwekyo, kikulu nnyo okusoma Ekigambo kya Katonda buli lunaku n’okufumiitiriza ku ebyo bye tusoma tusobole okutuukanya endowooza yaffe n’eya Yakuwa.

Bwe tufumiitiriza ku ebyo bye tusoma mu Bayibuli era ne tubikolerako, tujja kusobola okutendeka omuntu waffe ow’omunda, oyo ‘awa obujulirwa.’ (Bar. 9:1) Omuntu waffe ow’omunda asobola okutuyamba okwewala okwekwasa obusongasonga okukola ekikyamu. Ate era, Bayibuli erimu ebyokulabirako ‘ebitulabula.’ (1 Kol. 10:11) Okufumiitiriza ku byokulabirako ebyo kijja kutuyamba okwewala okukwata ekkubo ekyamu. Naye kiki buli omu ku ffe ky’asaanidde okukola?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 23]

Okusaba kutuyamba okutegeera ekyo ekiri mu mutima gwaffe

Saba Katonda akuyambe okutegeera ebiruubirirwa by’omutima gwo

. Yakuwa akebera emitima. (1 Byom. 29:17) “Asinga emitima gyaffe era amanyi ebintu byonna.” (1 Yok. 3:20) Tewali n’omu asobola kulimba Yakuwa. Bwe tumusaba ne tumubuulira ebyo ebitweraliikiriza, ebituluma, n’ebyo bye twagala, Yakuwa asobola okutuyamba okutegeera ebiruubirirwa by’omutima gwaffe. Tusobola n’okusaba Katonda ‘atutondemu omutima omulongoofu.’ (Zab. 51:10) N’olwekyo, bwe tusaba Yakuwa, asobola okutuyamba okutegeera ebyo omutima gwaffe bye gwegomba.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 23]

Enkuŋŋaana zaffe zituyamba okutegeera ebiruubirirwa by’omutima gwaffe

Ssaayo omwoyo ng’oli mu nkuŋŋaana

. Okussaayo omwoyo nga tuli mu nkuŋŋaana, kituyamba okukebera ekyo ekiri mu mutima gwaffe ogw’akabonero. Wadde ng’ebintu ebimu bye tuwulira nga tugenze mu nkuŋŋaana tuba tubimanyi, bwe tubaawo mu nkuŋŋaana, tweyongera okutegeera emisingi gya Bayibuli era wabaawo n’ebintu bye tujjukizibwa. Ekyo kituyamba okutegeera ebiruubirirwa by’omutima gwaffe. Ebyo baganda baffe ne bannyinaffe bye baddamu mu nkuŋŋaana nabyo bituyamba okukebera ekyo ekiri mu mutima gwaffe. (Nge. 27:17) Okweyawula ku bakkiriza bannaffe kiba kya kabi gye tuli. (Nge. 18:1) N’olwekyo buli omu ku ffe asaanidde okwebuuza, ‘Nfuba okubeerawo mu nkuŋŋaana zonna era bwe nzibaamu nzisaayo omwoyo ku ebyo ebiyigirizibwa?’​—Beb. 10:24, 25.

OMUTIMA GWO GUYINZA GUTYA OKUKULIMBA?

Waliwo engeri nnyingi omutima gwaffe gye guyinza okutulimba. Ka tulabeyo engeri nnya: okwagala ennyo ebintu, okukozesa obubi omwenge, emikwano gye tulonda, n’eby’okwesanyusaamu bye tulonda.

Okwagala ennyo ebintu.

Ffenna twetaaga eby’okulya, eby’okwambala, n’aw’okusula era si kikyamu okwagala ebintu ebyo. Naye Yesu yakiraga nti kya kabi okukulembeza ebintu mu bulamu bwaffe. Yesu yagera olugero olukwata ku musajja omugagga eyalina amawanika agaali gajjudde ebirime. Ennimiro y’omusajja oyo yabala nnyo n’aba nga talina wa kutereka birime birala. Bwe kityo, omusajja oyo yalowooza ku ky’okumenya amawanika ge, azimbe amaneneko. Yagamba nti: “Omwo mwe nja okukuŋŋaanyiza ebirime byange byonna eby’empeke n’ebintu byange byonna ebirungi; era nja kwegamba nti: ‘Olina ebintu ebirungi bingi ebiterekeddwa eby’emyaka emingi; wummula, olye, onywe, era osanyuke.’” Kyokka omusajja oyo alina ekintu ekikulu kye yeerabira: Yali ayinza okufa ekiro ekyo.​—Luk. 12:16-20.

Bw’oba ogenda okaddiwa, oyinza okutandika okulowooza ku ky’okubaako ebintu bye weeterekera bikuyambe mu myaka gyo egy’obukadde. Ekyo kiyinza okukuleetera okukola ekisukkiridde oboolyawo n’otuuka n’okulagajjalira ebintu eby’omwoyo. Oba oyinza okuba ng’oli muvubuka era ng’okimanyi nti okuyingira obuweereza obw’ekiseera kyonna ye ngeri esingayo obulungi gy’oyinza okukozesaamu obulamu bwo. Kyokka oyinza okuba ng’owulira nti weetaaga okusooka okuba obulungi mu by’enfuna olyoke otandike okuweereza nga payoniya. Bw’oba n’endowooza ng’eyo, kijjukire nti kino kye kiseera okukola kyonna ekisoboka okuba omugagga mu maaso ga Katonda. Omanyi otya obanga onooba mulamu enkya?

Okukozesa obubi omwenge.

Engero 23:20 wagamba nti: “Tobanga ku muwendo gw’abo abeekamirira omwenge.” Omuntu bw’aba ayagala nnyo omwenge, ayinza okwekwasa obusongasonga okugunywa entakera. Ayinza okugamba nti ye anywa kuwummuza ku birowoozo, so si kutamiira. Bwe tuba nga naffe bwe tutyo bwe tuli, twetaaga okwekebera mu bwesimbu omutima gwaffe guleme okutulimbalimba.

Emikwano gye tulonda.

Kya lwatu nti tetusobola kwewalira ddala kukolagana na bantu abatasinza Yakuwa. Tubeera nabo ku ssomero, ku mirimu, era tubasanga nga tubuulira. Naye tetusaanidde kuba na nkolagana ya ku lusegere nabo. Oluusi abamu batera okwewolereza nga bagamba nti, ‘Abantu bano nabo balina engeri ennungi. Si kibi kubafuula mikwano gyaffe.’ Naye Bayibuli egamba nti: “Temulimbibwanga. Emikwano emibi gyonoona empisa ennungi.” (1 Kol. 15:33) Nga kazambi omutono bw’ayinza okwonoona amazzi amayonjo, okukola omukwano ku bantu abatasinza Yakuwa kiyinza okwonoona enkolagana yaffe ne Katonda era kiyinza okutuleetera okulowooza nga bo, okwambala nga bo, okwogera nga bo, n’okweyisa nga bo.

Eby’okwesanyusaamu bye tulonda.

Leero waliwo eby’okwesanyusaamu bingi, naye ebisinga obungi ku byo si birungi eri Abakristaayo. Omutume Pawulo yagamba nti: ‘Obutali bulongoofu obwa buli ngeri tebulina na kwogerwako mu mmwe.’ (Bef. 5:3) Watya singa tuwulira nga twagala okulaba oba okuwuliriza ebintu ebitali birongoofu? Tuyinza okutandika okugamba nti buli muntu yeetaaga okwesanyusaamu, era buli muntu y’alina okwesalirawo engeri gy’alina okwesanyusaamu. Naye kikulu nnyo okukolera ku bigambo bya Pawulo ebyo ne twewala okulaba oba okuwuliriza ebintu ebitali birongoofu.

TUSOBOLA OKUKOLA ENKYUKAKYUKA

Bwe kiba nti omutima gwaffe omulimba gutuleetedde okukwata ekkubo ekyamu, tusobola okukola enkyukakyuka. (Bef. 4:22-24) Lowooza ku byokulabirako bino ebibiri.

Miguela yalina okukyusa endowooza gye yalina ku bintu. Agamba nti: “Nze, mukyala wange, ne mutabani waffe tuva mu nsi abantu gye bettanira ennyo ebintu ebiri ku mulembe. Ekiseera kyatuuka ne ntandika okukola ennyo nsobole okufuna buli kintu ekiri ku mulembe, era nnali ndowooza nti ekyo nnali nsobola okukikola nga sitwaliriziddwa mwoyo gwa kwagala bintu. Kyokka oluvannyuma lw’ekiseera kitono, nnakiraba nti okunoonya ebintu tekuliiko kkomo. Nnasaba Yakuwa annyambe okukyusa endowooza yange n’ebiruubirirwa by’omutima gwange. Nnategeeza Yakuwa nti nze n’ab’omu maka gange twagala okumuweereza mu bujjuvu. Twasalawo okubaako ebintu bye twerekereza tusobole okugenda okubuulira mu bitundu awali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako. Oluvannyuma lw’ekiseera kitono, twatandika okuweereza nga bapayoniya. Tukirabye nti tetwetaaga kuba na bintu bingi okusobola okuba abasanyufu.”

Lee yalaga engeri okwekebera mu bwesimbu gye kyamuyamba okweggyako emikwano emibi. Yagamba nti: “Omulimu gwange gwandeeteranga okumala ebiseera bingi nga ndi wamu n’abantu be nnakolanga nabo bizineesi. Bwe nnabanga ŋŋenda okusisinkana abantu abo nnabanga nkimanyi nti wajja kubaayo n’okunywa omwenge, naye nnagendanga. Emirundi mingi nnanywanga ne mbulako katono okutamiira, naye ng’oluvannyuma nnejjusa. Nnalina okwekebera mu bwesimbu. Okubuulirira okuli mu Kigambo kya Katonda n’amagezi abakadde ge bampa byannyamba okukiraba nti nnali mmala ebiseera bingi nga ndi wamu n’abantu abatayagala Yakuwa. Kati ebiseera ebisinga bizineesi zange nzitambuliza ku ssimu era sitera kusisinkana bantu be nkola nabo bizineesi.”

Tulina okwekebera mu bwesimbu tusobole okumanya ebiruubirirwa by’omutima gwaffe. Ekyo tuyinza kukikola tutya? Nga tusaba Yakuwa, Oyo ‘amanyi ebyama eby’omu mutima.’ (Zab. 44:21) Era Katonda atuwadde Ekigambo kye ekiri ng’endabirwamu. (Yak. 1:22-25) Ate era tufuna amagezi amalungi okuyitira mu bitabo byaffe ne mu nkuŋŋaana zaffe! Ebintu ebyo byonna bisobola okutuyamba okukuuma omutima gwaffe n’okutambulira mu makubo ag’obutuukirivu.

a Amannya gakyusiddwa.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share