LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w13 2/15 lup. 13-16
  • Abakuumi ba Empula Baaweebwa Obujulirwa

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Abakuumi ba Empula Baaweebwa Obujulirwa
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Subheadings
  • Similar Material
  • PAWULO YABUULIRA “AWATALI KUZIYIZIBWA”
  • PAWULO YAWA ABANTU ABA WANSI N’ABA WAGGULU OBUJULIRWA
  • ‘BUULIRA EKIGAMBO KYA KATONDA AWATALI KUTYA’
  • ‘Okuwa Obujulirwa mu Bujjuvu’
    ‘Okuwa Obujulirwa Obukwata ku Bwakabaka bwa Katonda mu Bujjuvu’
  • Okulwanirira Amawulire Amalungi mu Mateeka
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2016
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
w13 2/15 lup. 13-16

Abakuumi ba Empula Baaweebwa Obujulirwa

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 13]

Mu mwaka gwa 59 E.E., omudduumizi w’ekibinja ky’abakuumi ba empula ayitibwa Julius awamu n’abasirikale be abaali bakooye ennyo baatuusa abasibe e Rooma. Baayingira Rooma nga bayitira mu mulyango oguyitibwa Porta Capena. Bwe baali bayingira, bateekwa okuba nga baalengera olubiri lwa Empula Nero olwali ku Lusozi Palatine.a Omukulu w’ekibinja ky’abasirikale yayisa abasibe ku katale n’abatwala ku Lusozi Viminal. Baayita ku kibangirizi omwali ebyoto bya bakatonda b’Abaruumi era ne bayita ne ku kibangirizi abasirikale we baatendekerwanga.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 13]

Ekifaananyi ky’abakuumi ba empula ekisuubirwa okuba nga kyakolebwa mu mwaka gwa 51 E.E.

Omutume Pawulo yali omu ku basibe abo. Emabegako Pawulo bwe yali ku lyato eryali lisuukundibwa ennyo omuyaga, malayika wa Katonda yamugamba nti: “Oteekwa okuyimirira mu maaso ga Kayisaali.” (Bik. 27:24) Kyandiba nti Pawulo yali anaatera okulaba ebigambo ebyo nga bituukirira? Pawulo bwe yalaba ekibuga ekikulu eky’obwakabaka bwa Rooma, ayinza okuba nga yajjukira ebigambo Yesu bye yamugamba ng’ali mu nkambi y’abasirikale ey’omu Yerusaalemi eyitibwa Antonia. Yamugamba nti: “Beera mugumu! Nga bw’obadde ompaako obujulirwa mu Yerusaalemi, era bw’otyo bw’oteekwa okumpaako obujulirwa mu Rooma.”​—Bik. 23:10, 11.

Bwe baali batambula, Pawulo ayinza okuba nga yeetegereza enkambi y’abakuumi ba empula eyitibwa Castra Praetoria, eyali yeetooloddwa ekisenge ekigulumivu ekyaliko eminaala. Enkambi eyo yali esuza ebibinjab by’abakuumi ba empula 12 n’ebibinja by’abapoliisi ebiwerako awamu n’ebibinja by’abasirikale abaalwaniranga ku mbalaasi. Abantu abaalabanga ku nkambi eyo, bateekwa okuba nga baategeeranga ensonga lwaki obwakabaka bwa Rooma bwali bwa maanyi nnyo. Okuva bwe kiri nti abakuumi ba empula era be baavunaanyizibwanga ku basibe mu matwale ga Rooma gonna, abasibe Julius be yali nabo yabatwala Rooma. Oluvannyuma lw’okumala emyezi egiwerako nga batambula, kya ddaaki Julius yatuusa abasibe abo e Rooma.​—Bik. 27:1-3, 43, 44.

PAWULO YABUULIRA “AWATALI KUZIYIZIBWA”

Waliwo ebintu ebyewuunyisa ebyaliwo ng’abasibe abo batwalibwa e Rooma. Omuyaga bwe gwali gusuukunda eryato mwe baali, Pawulo yafuna okwolesebwa n’akitegeera nti abantu bonna abaali mu lyato baali ba kutuuka mirembe. Omusota ogw’obusagwa gwaluma Pawulo naye n’atatuukibwako kabi konna. Pawulo aliko abantu abalwadde be yawonya ku kizinga Merita, era abantu baayo ne batandika okugamba nti yali katonda. Ebintu ebyo abakuumi ba empula abalala bayinza okuba nga baabitegeerako era nga baabyogerangako.

Waliwo ab’oluganda ab’omu Rooma ‘abaasisinkana Pawulo mu Katale ka Apiyo ne mu kifo ekiyitibwa Ebisulo Ebisatu.’ (Bik. 28:15) Pawulo yali ayagala okubuulira amawulire amalungi mu Rooma. Naye ekyo yandisobodde atya okukikola ng’ate musibe? (Bar. 1:14, 15) Abamu bagamba nti abasibe bwe baatwalibwanga e Rooma, baasookanga kutwalibwa eri omukulu w’abakuumi. Bwe kiba bwe kityo, Pawulo yasooka kutwalibwa eri Afranius Burrus, eyali omukulu w’abakuumi ba empula, oboolyawo nga ye yali addirira empula obukulu.c Ka kibe kityo oba nedda, kati Pawulo yali akuumibwa mukuumi wa empula omu owa bulijjo mu kifo ky’okukuumibwa abaduumizi b’ebibinja. Pawulo yali akkirizibwa okwefunira aw’okusula, okukyaza abagenyi, n’okubabuulira amawulire amalungi “awatali kuziyizibwa.”​—Bik. 28:16, 30, 31.

Abakuumi ba Empula mu Kiseera kya Nero

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 14]

Ekinusu ekiraga enkambi y’abakuumi ba empula

Abakuumi ba empula beeyamanga okukuuma empula awamu n’ab’omu maka ge. Bwe baabanga bagenda mu lutalo, baagendanga bakutte bbendera okwabanga obubonero bwa empula awamu n’engabo ezaabangako ebifaananyi by’enjaba, akabonero ka Kayisaali Tiberiyo. Abakuumi ba empula baabanga mu bibinja era buli kibinja kyabanga n’omudduumizi waakyo. Baakuumanga mu bifo awaabanga emizannyo era baayambangako ne mu kuzikiza omuliro. Baaweerezanga okumala emyaka 16, mu kifo ky’emyaka 25 abasirikale ba Rooma abalala gye baamalanga nga baweereza. Omusaala gwe baasasulwanga gwakubisangamu ogw’abasirikale abalala emirundi esatu, era bwe baawummulanga baawebwanga ensako nnene ddala. Be baatulugunyanga abasibe nga kw’otadde n’okubatta. Kiyinzika okuba nti abakuumi ba empula be batta Pawulo, ku mulundi ogw’okubiri gwe yasibibwa mu Rooma.​—2 Tim. 4:16, 17.

Courtesy Classical Numismatic Group, Inc./cngcoins.com

PAWULO YAWA ABANTU ABA WANSI N’ABA WAGGULU OBUJULIRWA

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 15]

Ebisenge bya Castra Praetoria nga bwe bifaanana leero

Bwe yali tannatwala Pawulo eri Nero, Burrus ayinza okuba nga yasooka kumuwozesa ng’ali mu nkambi y’abakuumi ba empula oba ng’ali mu lubiri lwa empula. Pawulo yakozesa akakisa ako okuwa “abantu aba wansi n’aba waggulu obujulirwa.” (Bik. 26:19-23) Ka kibe ki Burrus kye yawunzika nakyo, Pawulo teyasibibwa mu kkomera eryali mu nkambi y’abakuumi ba empula.d

Ennyumba Pawulo gye yali apangisa yali nnene ekimala ne kiba nti yasobolanga okukyaza “abakulu b’Abayudaaya” awamu n’abantu abalala ‘abajjanga mu bungi mu kifo we yali asula’ n’abawa obujulirwa. Ate era n’abakuumi ba empula baamuwuliranga ‘ng’awa Abayudaaya obujulirwa’ obukwata ku Bwakabaka ne ku Yesu, “okuva ku makya okutuukira ddala akawungeezi.”​—Bik. 28:17, 23.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 15]

Abasirikale baawuliranga Pawulo ng’aliko b’abuulira eby’okuwandiika mu mabaluwa

Buli lunaku, ku ssaawa ey’omunaana, ekibinja ky’abakuumi ba empula kyakyusibwanga. N’omusirikale eyabanga akuuma Pawulo ayinza okuba nga naye yakyusibwanga buli lunaku. Emyaka ebiri Pawulo gye yamala ng’asibiddwa, abasirikale bangi baamuwuliranga ng’aliko baabuulira ebigambo eby’okuwandiikira Abeefeso, Abafiripi, Abakkolosaayi, n’Abebbulaniya, era baamulaba ng’awandiikira Firemooni ebbaluwa. Bwe yali mu kkomera, Pawulo yayamba, Onesimo, omuddu eyadduka ku mukama we. Pawulo yali atwala Onesimo ng’omwana ‘gwe yazaalira mu busibe’ era yamugamba okuddayo eri mukama we. (Fir. 10) Pawulo ateekwa okuba nga yanyumyangako n’abasirikale abaali bamukuuma. (1 Kol. 9:22) Ng’ekyokulabirako, Pawulo ayinza okuba ng’aliko omusirikale gwe yabuuza ebikwata ku by’okulwanyisa ebitali bimu Abaruumi bye baakozesanga era oluvannyuma n’akozesa ebyo omusirikale oyo bye yamugamba ng’awandiikira Abeefeso ebbaluwa.​—Bef. 6:13-17.

‘BUULIRA EKIGAMBO KYA KATONDA AWATALI KUTYA’

Abakuumi ba empula baakolagananga n’abantu bangi mu bitundu ebitali bimu eby’obwakabaka bwa Rooma, nga mw’otwalidde empula, ab’omu maka ge, abaweereza be, n’abaddu be. N’olwekyo, okusibibwa kwa Pawulo kwaviirako “amawulire amalungi okubunyisibwa” mu bakuumi ba empula ne mu bantu abalala bangi, era abamu ku bo baafuuka Abakristaayo. (Baf. 1:12, 13; 4:22) Obuvumu Pawulo bwe yayoleka bwaleetera ab’oluganda mu Rooma okubuulira “ekigambo kya Katonda awatali kutya.”​—Baf. 1:14.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 16]

Ka tube mu mbeera ki, tusobola okuwa obujulirwa

Ebyo bye tusoma ku ngeri Pawulo gye yawaamu obujulirwa mu Rooma bituzzaamu nnyo amaanyi ne tusobola ‘okubuulira ekigambo mu biseera ebirungi ne mu biseera ebizibu.’ (2 Tim. 4:2) Ng’ekyokulabirako, abamu ku ffe tuyinza okuba nga tetukyasobola kuva waka, nga tuli mu ddwaliro, oba nga tusibiddwa mu makomera olw’okukkiriza kwaffe. Ka tube mu mbeera ki, tusobola okuwa obujulirwa abo ababa bazze okutulabako oba abo abatukolera emirimu egitali gimu. Bwe tufuba okukozesa buli kakisa ke tufuna okuwa obujulirwa, naffe tujja kukiraba nti “ekigambo kya Katonda tekisibiddwa.”​—2 Tim. 2:8, 9.

Sextus Afranius Burrus

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 16]

Ejjinja eririko erinnya lya Sextus Afranius Burrus

Burrus ayinza okuba nga yazaalibwa mu kibuga Vaison-la-Romaine, ekisangibwa mu bukiikaddyo bwa Bufalansa, gye baasanga ejjinja okwali erinnya lye mu 1884 E.E. Mu mwaka gwa 51 E.E., Agulupina, eyali mukyala wa Kayisaali Kulawudiyo, yakuza Burrus n’amufuula omukulu w’abakuumi ba empula. Okusobola okuteekateeka mutabani we Nero okufuuka empula, Agulupina yamukwasa abasomesa babiri okumutendeka. Burrus yamutendeka mu by’ekijaasi ate Seneka eyali omufirosoofo, n’amuwagala obwongo. Ekiseera kyatuuka, Agulupina n’awa bba obutwa. Abantu bwe baali tebannamanya nti Kulawudiyo yali afudde, Burrus yatwala Nero mu nkambi y’abakuumi ba empula n’alagira Nero alangirirwe nga empula, era n’olukiiko olukulu lwawalirizibwa okukkiriza Nero okuba empula. Nero bwe yakola olukwe n’atta maama we mu mwaka gwa 59 E.E., Burrus yamubikkirira. Munnabyafaayo Omuruumi ayitibwa Suetonius ne Cassius Dio baagamba nti mu mwaka gwa 62 E.E., Nero yawa Burrus obutwa n’amutta.

Musée Calvet Avignon

a Laba akasanduuko “Abakuumi ba Empula mu Kiseera kya Nero.”

b Buli kibinja ky’abasirikale ba Rooma kyabangamu abasirikale abatasukka 1,000.

c Laba akasanduuko “Sextus Afranius Burrus.”

d Kayisaali Tiberiyo yasiba Kerode Agulipa mu kkomero eryo (36/37 E.E.) olw’okuba Kerode yagamba nti yali ayagala Kaligula afuuke empula. Kaligula bwe yafuuka empula yafuula Kerode kabaka.​—Bik. 12:1.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share