LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w17 Noovemba lup. 18-19
  • “Omuntu Omugabi Ajja Kuweebwa Emikisa”

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • “Omuntu Omugabi Ajja Kuweebwa Emikisa”
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2017
  • Similar Material
  • “Omulimu Munene”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2016
  • Kirage nti Osiima Ebyo Yakuwa by’Atukoledde
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Bye Baawaayo Byakola ku Byetaago by’Abalala
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • Yakuwa Awa Omukisa Abo Abawaayo n’Omutima Ogutawalirizibwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2017
w17 Noovemba lup. 18-19
Kaana ng’atutte Samwiri ku weema entukuvu

“Omuntu Omugabi Ajja Kuweebwa Emikisa”

OKUVA edda n’edda, abaweereza ba Katonda babaddenga bawaayo ssaddaaka eri Katonda. Abayisirayiri baawangayo ssaddaaka z’ensolo, ate bo Abakristaayo babaddenga bawaayo “ssaddaaka ey’okutendereza.” Naye era waliwo ssaddaaka endala ezisanyusa Katonda. (Beb. 13:15, 16) Abawaayo ssaddaaka ezo bafuna essanyu n’emikisa, ng’ebyokulabirako bino wammanga bwe biraga.

Omuweereza wa Yakuwa omwesigwa ow’edda ayitibwa Kaana yali ayagala omwana ow’obulenzi naye yali tazaala. Yasaba Yakuwa n’amugamba nti singa amusobozesa okuzaala omwana ow’obulenzi ‘yandimuwaddeyo eri Yakuwa obulamu bwe bwonna.’ (1 Sam. 1:10, 11) Oluvannyuma lw’ekiseera Kaana yafuna olubuto n’azaala omwana n’amutuuma Samwiri. Samwiri bwe yava ku mabeere, Kaana yamutwala ku weema entukuvu nga bwe yali yeeyamye. Yakuwa yawa Kaana emikisa olw’okwoleka omwoyo ogw’okwefiiriza. Kaana yazaalayo abaana abalala bataano era Samwiri yafuuka nnabbi era omu ku bawandiisi ba Bayibuli.​—1 Sam. 2:21.

Okufaananako Kaana ne Samwiri, ne leero Abakristaayo balina enkizo ey’okukozesa obulamu bwabwe okuweereza Omutonzi waabwe. Yesu yagamba nti bwe tubaako bye twefiiriza okusobola okuweereza Katonda, tujja kufuna emikisa mingi.​—Mak. 10:28-30.

Omukyala Omukristaayo ayitibwa Doluka eyaliwo mu kyasa ekyasooka yali amanyiddwa nnyo olw’okukola ‘ebikolwa ebirungi n’olw’okuyamba abaavu.’ Yeefiirizanga okusobola okuyamba abalala. Kyokka ekiseera kyatuuka ‘n’alwala n’afa,’ era ekyo kyanakuwaza nnyo ekibiina. Abayigirizwa bwe baakimanyaako nti Peetero yali mu kitundu ekyo, baamusaba ajje mu bwangu. Nga baasanyuka nnyo Peetero bwe yagendayo n’azuukiza Doluka era nga kino kye kyamagero eky’okuzuukiza omuntu ekisooka okwogerwako nga kikolebwa mutume! (Bik. 9:36-41) Katonda teyeerabira ssaddaaka Doluka ze yawaayo. (Beb. 6:10) Ebikwata ku Doluka byawandiikibwa mu Bayibuli tusobole okumukoppa.

Omutume Pawulo naye yassaawo ekyokulabirako ekirungi. Yawaayo ebiseera bye okusobola okuyamba abalala. Pawulo yawandiikira Bakristaayo banne ab’omu Kkolinso n’abagamba nti: “Nja kusanyuka okuwaayo buli kintu era nange kennyini nkozesebwe mu bujjuvu olw’obulamu bwammwe.” (2 Kol. 12:15) Pawulo yakiraba nti okwewaayo okuyamba abalala kireetera omuntu essanyu era n’okusinga byonna kimuviirako okusiimibwa Katonda n’okufuna emikisa.​—Bik. 20:24, 35.

Yakuwa kimusanyusa nnyo bwe tukozesa ebiseera byaffe n’amaanyi gaffe okukola omulimu gw’Obwakabaka n’okuyamba bakkiriza bannaffe. Naye waliwo engeri endala gye tusobola okuwagiramu omulimu gw’okubuulira? Yee! Ng’oggyeeko okukozesa ebiseera byaffe n’amaanyi gaffe mu mulimu ogwo, tusobola n’okuwaayo ssente n’ebintu ebirala okuguwagira. Ssente ezo n’ebintu ebyo bikozesebwa okutwala mu maaso omulimu gw’okubuulira, nga muno mwe muli okuyamba abaminsani n’abalala abali mu buweereza obw’ekiseera kyonna obw’enjawulo. Ate era ssente ezo ziyamba mu mulimu gw’okukuba n’okuvvuunula ebitabo byaffe ne vidiyo, okudduukirira abo ababa bagwiiriddwaako obutyabaga, n’okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka. Tusaanidde okukijjukira nti ‘omuntu omugabi aweebwa emikisa.’ Ate era, bwe tuwa Yakuwa ku bintu byaffe, kiba kiraga nti tumuwa ekitiibwa.​—Nge. 3:9; 22:9.

Engeri Abamu Gye Bawaayo Okuwagira Omulimu Mu Nsi Yonna

Nga bwe kyali mu kiseera ky’omutume Pawulo, ne leero bangi babaako ssente ze bawaayo nga baziteeka mu kasanduuko omuteekebwa ssente eziweebwayo okuwagira omulimu gw’okubuulira ogukolebwa mu nsi yonna. (1 Kol. 16:2) Ku nkomerero ya buli mwezi, ebibiina biweereza ssente ezo ku ofiisi y’ettabi ly’Abajulirwa ba Yakuwa. Ate era omuntu asobola okubaako ky’awaayo ng’akisindika butereevu ku ofiisi y’ettabi ly’Abajulirwa ba Yakuwa erabirira omulimu gw’okubuulira mu nsi ye. Bw’oba oyagala okumanya endagiriro ya ofiisi y’ettabi erabirira omulimu gw’okubuulira mu nsi yo, genda ku mukutu gwaffe ogwa www.pr418.com. Ebimu ku bintu by’osobola okuwaayo ng’okolagana butereevu ne ofiisi y’ettabi bye bino:

EBIWEEBWAYO OBUTEREEVU

  • Omuntu asobola okuwaayo ssente okuva ku akawunta ye eya bbanka ng’akozesa Intaneeti oba ng’akozesa debit card, oba credit card. Mu nsi ezimu, ekyo omuntu ayinza okukikola ng’akozesa jw.org oba omukutu gwa intaneeti omulala gwonna ogukozesebwa ofiisi y’ettabbi ly’Abajulirwa ba Yakuwa.

  • Ssente enkalu, amajolobero, oba ebintu ebirala eby’omuwendo. Owandiikirako ebbaluwa eraga nti ssente oba ebintu ebirala by’oba owaddeyo, obiwaddeyo ng’ekirabo.

OKUWAAYO OKULIKO AKAKWAKKULIZO

  • Omuntu awaayo ssente ze ne zikozesebwa ekibiina kya Yakuwa naye nga zisobola okumuddizibwa w’azaagalira.

  • Alina okuwandiikirako ebbaluwa eraga nti ssente z’awaddeyo ziriko akakwakkulizo.

OKUWAAYO OKW’ENGERI ENDALA

Ng’oggyeko okuwaayo ssente enkalu n’ebintu eby’omuwendo, waliwo engeri endala gy’oyinza okuwaayo okuwagira omulimu gw’Obwakabaka ogukolebwa mu nsi yonna. Engeri ezo ziragiddwa wammanga. Bw’oba oyagala okuwaayo ng’okozesa emu ku ngeri ezo, osaanidde okusooka okwebuuza ku ofiisi y’ettabi erabirira omulimu gw’okubuulira mu nsi yo. Okuva bwe kiri nti ensi ezitali zimu zirina amateeka ga njawulo agakwata ku by’emisolo, kikulu okusooka okwebuuza ku abo abamanyi obulungi amateeka n’eby’emisolo.

Yinsuwalensi: Omuntu akiraga mu buwandiike nti bw’afanga, ssente ze eza pensoni oba eza yinsuwalensi gye yasasula ku bulamu bwe, ziweebwe ekibiina ky’Abajulirwa ba Yakuwa.

Ssente Eziri mu Bbanka: Ng’agoberera amateeka ga bbanka ye, omuntu ayinza okulagira bbanka ye nti bw’afanga, ssente eziba ku akaawunta ye ziweebwe ekibiina ky’Abajulirwa ba Yakuwa.

Emigabo oba Ssente Ezaawolebwa: Omuntu ayinza okulagira nti emigabo gye oba ssente ze yawola kampuni oba gavumenti ziweebwe ekibiina ky’Abajulirwa ba Yakuwa.

Ettaka oba Ebizimbe: Ettaka oba ebizimbe ebiyinza okutundibwa bisobola okuweebwa ekibiina ky’Abajulirwa ba Yakuwa. Bwe kiba nti ennyumba omuntu gy’awaddeyo ate mw’asula, agibeeramu okutuusa lw’afa.

Ebiraamo oba Ssente Eziri mu Kampuni: Omuntu ayinza okukola ekiraamo n’alagira nti bw’afanga, ebintu bye, ssente ze, oba amagoba agava mu ssente ze yateeka mu kampuni, biweebwe ekibiina ky’Abajulirwa ba Yakuwa. Ssente ng’ezo bwe ziba ziweebwa kibiina kya ddiini, kampuni eziwaayo eyinza okukendeezebwa ku misolo gy’esasula.

Omuntu ayagala okuwaayo ng’ayitira mu emu ku ngeri zino asaanidde okusooka okukola enteekateeka ennungi. Waliwo brocuwa mu Lungereza ne mu Lusipeyini eyitibwa Charitable Planning to Benefit Kingdom Service Worldwide esobola okuyamba abo abaagala okuwaayo mu ngeri zino okuwagira omulimu ogukolebwa Abajulirwa ba Yakuwa mu nsi yonna. Brocuwa eno eraga engeri ezitali zimu omuntu mw’ayinza okuyitira okuwaayo mu buliwo oba ng’akola ekiraamo. Ebimu ku bintu ebiri mu brocuwa eno biyinza okuba nga tebikola mu mbeera yo okuva bwe kiri nti amateeka agakwata ku by’emisolo mu nsi yo gayinza okuba nga ga njawulo. Bangi ku abo abawagidde omulimu gwaffe ogw’obwannakyewa ogukolebwa mu nsi yonna nga bawaayo mu ngeri ng’ezo, ab’obuyinza babakendeerezza ku misolo gye basasula. Bw’oba oyagala brocuwa eyo, yogerako n’omuwandiisi w’ekibiina kyammwe agikufunire.

Okumanya ebisingawo, genda ku jw.org, onyige ku bigambo “Make a Donation to Our Worldwide Work” oba weebuuze ku ofiisi y’ettabi.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share