Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Jjuuni 18
WIIKI ETANDIKA JJUUNI 18
Oluyimba 65 n’Okusaba
□ Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
fy sul. 16 ¶14-18, akas. ku lup 191 (Ddak. 25)
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Okukungubaga 3-5 (Ddak. 10)
Na. 1: Okukungubaga 5:1-22 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Engeri y’Okuddamu Abo Ababuuza nti, ‘Mukkiriza nti Maliyamu Yali Mbeerera?’—rs-E lup. 260 ¶4–lup. 261 ¶2 (Ddak. 5)
Na. 3: Ensonga Lwaki Tukkiriza nti Bayibuli Yaluŋŋamizibwa Katonda?—2 Tim. 3:16 (Ddak. 5)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 10: Ebirango. Akasanduuko k’Ebibuuzo. Kwogera.
Ddak. 25: “Enkuŋŋaana Zaffe eza Disitulikiti, Ziwa Obujulirwa obw’Amaanyi ku Mazima.” Kubuuza bibuuzo na kuddamu. Mukubaganye ebirowoozo ku ebyo ebituukirawo ebiri mu kitundu ekirina omutwe, “Okujjukizibwa Okukwata ku Lukuŋŋaana lwa Disitulikiti Olwa 2012.” Nga mukubaganya ebirowoozo ku katundu 9, saba omulabirizi w’obuweereza annyonnyole enteekateeka ezikoleddwa ez’okugaba obupapula obuyita abantu.
Oluyimba 24 n’Okusaba