LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 6/12 lup. 6
  • Akasanduuko K’ebibuuzo

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Akasanduuko K’ebibuuzo
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2012
  • Similar Material
  • Yakuwa Awa Omukisa Abo Abawaayo n’Omutima Ogutawalirizibwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • Kirage nti Osiima Ebyo Yakuwa by’Atukoledde
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Bye Baawaayo Byakola ku Byetaago by’Abalala
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2012
km 6/12 lup. 6

Akasanduuko K’ebibuuzo

◼ Biki bye tusaanidde okulowoozaako singa tuba twagala ebintu byaffe byonna oba ebimu ku byo biweebwe ekibiina kya Yakuwa nga tufudde?

Abantu bwe bafa baba tebakyalina buyinza ku bintu byabwe. (Mub. 9:5, 6) N’olw’ensonga eyo, bangi bakola ekiraamo ne balaga engeri gye baagala ebintu byabwe bigabanyizibwemu nga bafudde. (2 Bassek. 20:1) Omuntu bw’akola ekiraamo atera okulaga erinnya ly’oyo gw’aba ayagala akwasibwe obuyinza obw’okulabirira oba obw’okugabanyaamu ebintu bye ng’afudde. Ekiwandiiko kino bwe kiba tekyakolebwa, mu nsi ezimu ab’obuyinza be basalawo engeri y’okugabanyaamu ebintu by’omufu. N’olwekyo, bwe tuba twagala ebintu byaffe byonna oba ebimu ku byo biweebwe ekibiina kya Yakuwa, kikulu nnyo okukola ekiraamo ekikkirizibwa mu mateeka nga tulaga bulungi ekyo kye tuba tusazeewo ate era ne tulonda n’obwegendereza oyo gwe twagala okukwasa obuvunaanyizibwa obw’okutuukiriza ebyo bye tutadde mu kiraamo.

Oyo aba aweereddwa obuvunaanyizibwa obw’okulaba nti ebiri mu kiraamo bituukirizibwa aba n’omulimu gwa maanyi nnyo. Okusinziira ku bungi bw’ebintu omufu by’aba alese, eby’okukola biyinza okuba bingi ddala era ne kimutwalira ebiseera bingi okugabanyamu ebintu by’omufu. Okugatta ku ekyo, waliwo n’amateeka agakwata ku nsonga eyo agateekwa okugobererwa. Bwe kityo nno si buli wa luganda mu kibiina nti asobola okutuukiriza obulungi obuvunaanyizibwa obwo. Omuntu gwe tuba twagala okulonda asaanidde okuba nga mwesigwa, era nga mwetegefu okukolera ku ebyo bye tuba tusazeewo.​—Laba ekitundu, “Ensonga Lwaki Kya Magezi era Kya Muganyulo Okukola Ekiraamo,” ekiri mu Awake! eya Desemba 8, 1998.

Bw’Oba Oweereddwa Obuvunaanyizibwa obw’Okugabanyaamu Ebintu: Singa wabaawo ayagala okukuwa obuvunaanyizibwa obw’okulabirira oba obw’okugabanyaamu ebintu bye ng’afudde, sooka weekenneenye bulungi ebizingirwamu olabe obanga onoosobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa obwo. (Luk. 14:28-32) Oluvannyuma lw’okufa kw’omuntu oyo, buli alina okubaako kyaweebwa okusinziira ku kiraamo, oba olina okumutegeeza. Amangu ddala nga bwe kisoboka, oba olina okutandika okugabanyaamu ebintu mu ngeri ekkirizibwa mu mateeka era nga bwe walagirwa mu kiraamo. Oyo aweereddwa obuvunaanyizibwa obw’okugabanyaamu ebintu asaanidde okukimanya nti ebintu ka bibe bingi oba bitono, alina kukolera ddala nga bwe yalagirwa mu kiraamo. Ekintu kyonna omufu kye yalaga nti ayagala kiweebwe ekitongole ekimanyiddwa mu mateeka ekikozesebwa Abajulirwa ba Yakuwa, kiba kya kibiina kya Yakuwa.​—Luk. 16:10; 21:1-4.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share