LIVING AS CHRISTIANS
Yamba Abaana Bo Okuba n’Okukkiriza Okunywevu mu Katonda
Ebitonde birangirira ekitiibwa kya Yakuwa. (Zb 19:1-4; 139:14) Kyokka, ensi ya Sitaani ereetera abantu okulowooza nti Katonda si ye yatonda ebintu. (Bar 1:18-25) Oyinza otya okuyamba abaana bo baleme kutwalirizibwa ndowooza ng’eyo? Okuviira ddala nga bakyali bato, bayambe okukitegeera nti Yakuwa gyali era nti abafaako. (2Ko 10:4, 5; Bef 6:16) Fuba okutegeera kye balowooza ku ebyo bye bayigirizibwa ku ssomero, era okozese ebintu ebitali bimu Yakuwa by’atuwadde osobole okubatuuka ku mitima.—Nge 20:5; Yak 1:19.
MULABE VIDIYO, BAVUBUKA BANNO KYE BAGAMBA—OKUKKIRIRIZA MU KATONDA, OLUVANNYUMA MUKUBAGANYE EBIROWOOZO KU BIBUUZO BINO:
- Bwe kituuka ku kukkiririza mu Katonda, abantu bangi balina ndowooza ki enkyamu? 
- Ku ssomero gy’osomera babayigiriza ki ku nsonga eyo? 
- Kiki ekikukakasa nti Yakuwa gyali? 
- Oyinza otya okuyamba omuntu okukkiriza nti Katonda ye yatonda ebintu byonna?