OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Sigala ng’Oli Mwesigwa ng’Omu ku b’Omu Maka Go Agobeddwa mu Kibiina
Mulabe vidiyo erina omutwe Nywerera ku Mitindo gya Yakuwa —Weewale Aboonoonyi Abateenenya, oluvannyuma muddemu ebibuuzo bino:
Mbeera ki eyagezesa obwesigwa bwa bazadde ba Sonja?
Kiki ekyabayamba okusigala nga beesigwa?
Okusigala nga beesigwa eri Yakuwa kyayamba kitya Sonja?