Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe
MAAYI 4-10
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | OLUBEREBERYE 36-37
“Baganda ba Yusufu Baamukwatirwa Obuggya”
“Mbeegayiridde, Muwulire Ekirooto Kino”
Bayibuli etuddamu ekibuuzo ekyo. Egamba nti: “Baganda be bwe baalaba nga kitaabwe amwagala nnyo okusinga baganda be abalala bonna, ne bamukyawa era ne baba nga tebakyayogera naye mu mirembe.” (Olubereberye 37:4) Oboolyawo baalina ensonga lwaki baakwatirwa muganda waabwe obuggya, naye ekyo tekyali kirungi. (Engero 14:30; 27:4) Wali owuliddeko ng’okwatiddwa obuggya olw’okuba omuntu omulala afunye enkizo gy’obadde oyagala? Bwe kiba bwe kityo, jjukira baganda ba Yusufu. Obuggya bwabwe bwabaleetera okukola ebintu ebibi ennyo bye bejjusa oluvannyuma. Ekyo kiraga nti kiba kya magezi ‘okusanyuka n’abo abasanyuka.’—Abaruumi 12:15.
Yusufu ateekwa okuba nga yali akiraba nti baganda be baali bamukwatirwa obuggya. Ekyo kyamuleetera okukweka olugoye lwe buli lwe yalabanga baganda be? Oboolyawo yayagalanga okulukweka. Naye tusaanidde okukijjukira nti Yakobo yali ayagala olugoye olwo lube akabonero akalaga nti yali ayagala nnyo Yusufu. Yusufu naye yali ayagala okulaga nti asiima ekyo kitaawe kye yamukolera, bwe kityo yayambalanga olugoye olwo. Ekyo kituyigiriza ki? Wadde nga Kitaffe ow’omu ggulu tasosola, mu baweereza be oluusi mubaamu b’aba ayagala ennyo. Ate era kituyigiriza nti ayagala abaweereza be bonna babe ba njawulo ku bantu abakola ebintu ebibi. Okufaananako olugoye lwa Yusufu olwali olw’enjawulo, empisa ennungi Abakristaayo ab’amazima ze booleka zibafuula ba njawulo ku bantu abalala. Ekyo oluusi kireetera abantu abalala okubakwatirwa obuggya n’okubakyawa. (1 Peetero 4:4) Nga Yusufu bw’ataakweka kyambalo kye, n’Abakristaayo ab’amazima tebasaanidde kukweka balala ekyo kye bali.—Lukka 11:33.
“Mbeegayiridde, Muwulire Ekirooto Kino”
Ebirooto ebyo byava eri Yakuwa Katonda. Byali biraga ekyali kigenda okubaawo mu biseera eby’omu maaso, era Katonda yali ayagala Yusufu abuulire Kitaawe ne baganda be ebirooto ebyo. Yusufu yalina okubuulira kitaawe ne baganda be obubaka obuva eri Katonda nga bannabbi abalala bonna bwe bandikoze.
Yusufu yatuukirira baganda be n’abagamba nti: “Muwulire ekirooto kino kye nnaloose.” Bwe yakibabuulira, baganda be tekyabasanyusa n’akamu. Baamugamba nti: “Ky’otegeeza ogenda kwefuula kabaka waffe, oba nti olitufuga?” Bayibuli eyongera n’egamba nti: “Ne beeyongera okumukyawa olw’ebirooto bye n’olw’ebyo bye yayogera.” Yusufu bwe yabuulira kitaawe ne baganda be ekirooto eky’okubiri, nakyo tekyabasanyusa. Bayibuli egamba nti: “Kitaawe n’amunenya, n’amugamba nti: ‘Ekirooto kyo ekyo kitegeeza ki? Nze ne nnyoko ne baganda bo tulijja ne tukuvunnamira?’” Naye Yakobo yeeyongera okulowooza ku bigambo ebyo. Kirabika yakitegeera nti Yakuwa ye yali aloossezza Yusufu.—Olubereberye 37:6, 8, 10, 11.
Yusufu y’omu ku baweereza ba Katonda abaayogera obunnabbi obutaasanyusa bantu era obwabaviirako okukyayibwa n’okuyigganyizibwa. Yesu ye yasinga okukyayibwa olw’okubuulira abantu obubaka obuva eri Katonda, era yagamba abagoberezi be nti: “Bwe baba nga nze banjigganyizza, nammwe bajja kubayigganya.” (Yokaana 15:20) Abakristaayo bonna balina bingi bye bayigira ku Yusufu eyalina okukkiriza okw’amaanyi era eyali omuvumu.
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
it-1-E lup. 678
Edomu
Edomu (Kimyufu), Abeedomu.
Edomu lye linnya eddala eryaweebwa Esawu muganda wa Yakobo. (Lub 36:1) Lyamuweebwa olw’okuba yatunda omugabo gwe ogw’omwana omubereberye olw’enva emmyufu. (Lub 25:30-34) Okugatta ku ekyo, Esawu yazaalibwa nga yenna mumyufu (Lub 25:25), era ye ne bazzukulu be babeeranga mu nsi eyalina ettaka erimyufu.
it-1-E lup. 561-562
Okukuuma oba Okulabirira
Omusumba oba omulunzi bwe yagambanga nti ajja kukuuma oba okulabirira ekisibo yali alaga nti akkirizza obuvunaanyizibwa obwo. Era yabanga akakasa nnannyini kisibo nti ebisolo bye bijja kuliisibwanga era singa ekimu ku byo kyabbibwanga omusumba oyo ye yalinanga okusasula. Kyokka, teyalina buvunaanyizibwa bwa nkomeredde ku kisibo, kubanga amateeka gaali galaga nti singa wabaawo ekizibu eky’amaanyi ennyo ekyatuukanga ku kisibo gamba ng’okuliibwa ensolo, teyavunaanibwanga. Naye obutavunaanibwa yalinanga okuleetera nnannyini kisibo obukakafu gamba ng’ekisolo ekitaaguddwa. Nnannyini kisibo bwe yalabanga obukakafu obwo, yabanga asobola okwejjeereza omusumba oyo.
Omusingi ogwo gwali gukola ne ku muntu eyaweebwanga obuvunaanyizibwa okulabirira ebintu oba obuvunaanyizibwa obulala mu maka. Ng’ekyokulabirako, mu mateeka omwana omukulu ye yabanga avunaanyizibwa ku bato be. Eyo ye nsonga lwaki Lewubeeni, eyali omwana omukulu, yeeraliikirira nnyo baganda be bwe baali baagala okutta Yusufu nga bwe kiragibwa mu Olubereberye 37:18-30. ‘Yagamba nti: ‘Tetumutta.’ . . . ‘Temuyiwa musaayi. . . . temumukolako kabi.’ Yali agenderera kumuwonya baleme kumukolako kabi, asobole okumuzzaayo eri kitaawe.’ Lewubeeni bwe yasanga nga Yusufu taliiwo yeeraliikirira nnyo “n’ayuza ebyambalo bye” era n’agamba nti: “Omwana taliimu! Kale nze nnaakola ntya?” Yali akimanyi nti ajja kuvunaanibwa olw’okubula kwa Yusufu. Okusobola okweggyako omusango, baganda be bayiiya eky’okukola basobole okuleeta obukakafu obulaga nti Yusufu yataaguddwataaguddwa ensolo. Ekyo baakikola nga bannyika ekyambalo kya Yusufu mu musaayi gw’embuzi. Ekyambalo ekyo baakitwalira Yakobo, eyali kitaabwe ate nga mulamuzi. Bwe yalaba ekyambalo ekyo yakakasa nti kyali kya Yusufu era n’akkiriza nti yali attiddwa ensolo.—Lub 37:31-33.
MAAYI 11-17
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | OLUBEREBERYE 38-39
“Yakuwa Teyayabulira Yusufu”
“Nnyinza Ntya Okukola Ekibi Ekyenkanidde Awo?”
Bayibuli egamba nti: “Yusufu ne bamutwala e Misiri, Potifaali Omumisiri omukungu wa Falaawo era omukulu w’abakuumi n’amugula ku Bayisimayiri abaamutwalayo.” (Olubereberye 39:1) Lowooza ku ngeri Yusufu gye yawuliramu ng’atundibwa omulundi ogw’okubiri. Yali nga kya maguzi! Kuba akafaananyi nga Yusufu agoberera mukama we omupya, omukungu Omumisiri, nga bayita mu kibuga ekyali kikolerwamu ennyo bizineesi era nga bagenda mu maka g’omukungu oyo.
Obulamu mu maka g’omukungu oyo bwali bwa njawulo nnyo ku obwo Yusufu bwe yakuliramu. Yusufu n’ab’ewaabwe baali balunzi ba ndiga abaasulanga mu weema, era tebaabeeranga mu kifo kimu. Naye bo abagagga b’e Misiri, gamba nga Potifaali, baabeeranga mu nnyumba ez’ebbeeyi era ezirabika obulungi. Abanoonyereza ku bintu eby’edda baakizuula nti Abamisiri ab’omu kiseera ekyo baabeeranga n’ebifo ebyabeerangako enkomera, nga birimu omuddo omulungi, emiti egy’okuwummuliramu, n’ebidiba ebyasimbibwangamu ebitoogo n’ebimuli. Ennyumba ezimu zaazimbibwanga mu bifo ng’ebyo, nga ziriko embalaza abantu kwe baawummuliranga, amadirisa amanene agaayingizanga empewo emala, era nga zirimu ebisenge bingi nga kw’otadde eddiiro n’ebisenge abakozi mwe baasulanga.
“Nnyinza Ntya Okukola Ekibi Ekyenkanidde Awo?”
Tumanyi kitono nnyo ku mbeera eyali mu makomera g’e Misiri mu kiseera ekyo. Abanoonyereza ku bintu eby’edda baazuula ebifo ebyalimu amakomera ago era baalaba obuduukulu n’ebinnya ebiwanvu. Yusufu bwe yali ayogera ku kkomera lye yasibibwamu yakozesa ekigambo ekitegeeza ekinnya, ekiraga nti kyali kifo ekitaliimu kitangaala. (Olubereberye 40:15) Ekitabo kya Zabbuli kiraga nti Yusufu yeeyongera okubonyaabonyezebwa. Kigamba nti: “Ebigere bye baabisiba enjegere, obulago bwe ne babussa mu byuma.” (Zabbuli 105:17, 18) Oluusi Abamisiri baasibanga abasibe akandooya nga bakozesa enjegere; abalala baabasibanga ebyuma mu bulago. Nga Yusufu ateekwa okuba nga yabonaabona nnyo ng’ate yali tazzizza musango gwonna!
Okugatta ku ebyo, Bayibuli egamba nti Yusufu “n’abeera eyo mu kkomera.” Yamala emyaka mingi ng’ali mu mbeera eyo eyali enzibu ennyo! Ate Yusufu yali tamanyi na kumanya oba ng’ekiseera kyandituuse n’ateebwa. Kiki ekyamuyamba obutaggwaamu maanyi na ssuubi mu kiseera kye yamala mu kkomera?
Bayibuli egamba nti: “Yakuwa yeeyongera okuba awamu ne Yusufu n’amulaganga okwagala okutajjulukuka.” (Olubereberye 39:21) Abaweereza ba Yakuwa ka babe nga bali mu mbeera ki, tewali kintu kyonna kiyinza kulemesa Yakuwa okubalaga okwagala okutajjulukuka. (Abaruumi 8:38, 39) Yusufu ateekwa okuba nga yasabanga Kitaawe ow’omu ggulu ng’amubuulira ennaku ye yonna era “Katonda ow’okubudaabuda kwonna” n’amuwa emirembe mu mutima n’asobola okusigala nga mukkakkamu. (2 Abakkolinso 1:3, 4; Abafiripi 4:6, 7) Kiki ekirala Yakuwa kye yakolera Yusufu? Bayibuli eraga nti Katonda yaleetera Yusufu okusiimibwa “mu maaso g’omukulu w’ekkomera.”
“Nnyinza Ntya Okukola Ekibi Ekyenkanidde Awo?”
Bayibuli egamba nti: “Yakuwa yeeyongera okuba awamu ne Yusufu n’amulaganga okwagala okutajjulukuka.” (Olubereberye 39:21) Abaweereza ba Yakuwa ka babe nga bali mu mbeera ki, tewali kintu kyonna kiyinza kulemesa Yakuwa okubalaga okwagala okutajjulukuka. (Abaruumi 8:38, 39) Yusufu ateekwa okuba nga yasabanga Kitaawe ow’omu ggulu ng’amubuulira ennaku ye yonna era “Katonda ow’okubudaabuda kwonna” n’amuwa emirembe mu mutima n’asobola okusigala nga mukkakkamu. (2 Abakkolinso 1:3, 4; Abafiripi 4:6, 7) Kiki ekirala Yakuwa kye yakolera Yusufu? Bayibuli eraga nti Katonda yaleetera Yusufu okusiimibwa “mu maaso g’omukulu w’ekkomera.”
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
it-2-E lup. 555
Onani
Onani (kiva mu kigambo ekitegeeza “entandikwa y’amaanyi ag’okuzaala; amaanyi amangi ennyo”).
Mutabani wa Yuda ow’okubiri gwe yazaala mu mukazi Omukanani eyali muwala wa Suwa. (Lub 38:2-4; 1By 2:3) Eli mutabani wa Yuda omubereberye yakolanga ebinyiiza Yakuwa, bw’atyo Yakuwa n’amutta. Oluvannyuma Yuda yagamba Onani okuwasa Tamali eyali mukazi wa Eli, muganda we, amufunire ezzadde. Singa yazaala omwana omulenzi yandibadde tatwalibwa kuba mwana wa Onani era omwana oyo ye yanditutte eby’obusika by’omwana omubereberye owa Eli. Naye singa teyazaala mwana yenna Onani ye yandibadde atwala eby’obusika bya Eli. Onani bwe yeegatta ne Tamali “amazzi yagafuka wansi aleme okuzaalira muganda we omwana”. Ekyo Onani yakikola akigenderedde. Olw’okuba yajeemera kitaawe n’agaana okuzaalira muganda we abaana, kye yakola kyali kibi mu maaso ga Yakuwa, bw’atyo naye n’amutta, n’afa nga tazadde mwana yenna.—Lub 38:6-10; 46:12; Kbl 26:19.
w04-E 1/15 lup. 30 ¶4-5
Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
Tekyali kirungi Yuda obutawa Tamali mutabani we Seera amufumbirwe nga bwe yali asuubizza. Ate era, yeegatta n’omukazi gwe yali alowooza nti malaaya. Ekyo kyali kikontana n’ekigendererwa kya Katonda eky’okuba nti okwegatta kulina kubaawo mu bufumbo bwokka. (Olubereberye 2:24) Naye ekituufu kiri nti, Yuda teyeegatta na malaaya. Wabula, wadde nga yali takimanyi, yadda mu kifo kya Seera n’atuukiriza ekyo muganda wa bba kye yali asaanidde okukola mu mateeka, bw’atyo n’amufunira ezzadde.
Ne Tamali kye yakola tekyali kya bugwenyufu. Abaana abalongo be yazaala tebaatwalibwa kuba baana abaazaalibwa mu bwamalaaya. Bowaazi ow’e Besirekemu bwe yawasa Luusi Omumowaabu asobole okutuukiriza ekyo muganda wa bba kye yali asaanidde okukola, abakadde b’omu Besirekemu baayogera bulungi ku mutabani wa Tamali ayitibwa Pereezi bwe baagamba Bowaazi nti: “Ennyumba yo eneeva mu zzadde Yakuwa ly’anaakuwa mu mukazi ono k’ebeere ng’ennyumba ya Pereezi, Tamali gwe yazaalira Yuda.” (Luusi 4:12) Ate era, Pereezi ayogerwako mu lunyiriri lw’obuzaale bwa Yesu Kristo.—Matayo 1:1-3; Lukka 3:23-33.
MAAYI 18-24
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | OLUBEREBERYE 40-41
“Yakuwa Anunula Yusufu”
“Okutegeeza Amakulu Si kwa Katonda?”
Omuweereza wa Falaawo yali yeerabidde Yusufu, naye ye Yakuwa teyeerabira Yusufu. Lumu Katonda yaloosa Falaawo ebirooto bibiri Falaawo bye yali tayinza kwerabira. Mu kirooto ekyasooka, Falaawo yalaba ente musanvu ezirabika obulungi era engevvu, nga ziva mu Mugga Kiyira, oluvannyuma n’alaba ente endala musanvu ezirabika obubi, era nga nkovvu. Ente enkovvu ne zirya ente engevvu. Mu kirooto eky’okubiri, Falaawo yalaba ebirimba musanvu eby’eŋŋaano ebirungi nga bimera ku kikolo kimu. Oluvannyuma n’alaba ebirimba ebirala musanvu ebiwotofu, era ebirimba ebyo ebiwotofu ne bimira ebirimba ebirungi. Enkeera Falaawo yazuukuka nga mweraliikirivu nnyo, n’ayita abasajja be bonna abagezigezi n’abalaguzi bamunnyonnyole amakulu g’ebirooto ebyo. Bonna baalemwa okumunnyonnyola. (Olubereberye 41:1-8) Tetumanyi oba bonna baasirika busirisi oba baamubuulira ebikontana, naye ye Falaawo kye yali ayagala kwe kumanya amakulu g’ebirooto bye.
Kyaddaaki, omuweereza wa Falaawo eyali akulira abamuweereza eby’okunywa yajjukira Yusufu! Yabuulira Falaawo ebyaliwo emyaka ebiri emabega nga bali mu kkomera. Yamutegeeza nti Yusufu yannyonnyola amakulu g’ekirooto kye n’amakulu g’ekirooto kya munne eyali akulira abaweereza Falaawo emigaati. Amangu ddala, Falaawo yatumya Yusufu okuva mu kkomera.—Olubereberye 41:9-13.
“Okutegeeza Amakulu Si kwa Katonda?”
Yakuwa ayagala nnyo abantu abawombeefu era abeesigwa gy’ali, era yasobozesa Yusufu okutegeera amakulu g’ebirooto ebyali biremye abasajja abagezigezi n’abalaguzi. Yusufu yannyonnyola nti ebirooto bya Falaawo byalina amakulu ge gamu. Falaawo yaloota emirundi ebiri kubanga ebirooto ebyo byali biteekwa okutuukirira. Ente omusanvu ezirabika obulungi n’ebirimba by’eŋŋaano omusanvu ebirungi byali bitegeeza emyaka musanvu egy’ekyengera mu nsi y’e Misiri, ate ente omusanvu enkovvu n’ebirimba by’eŋŋaano omusanvu ebiwotofu byali bitegeeza emyaka emirala musanvu egy’enjala. Enjala eyo yandibadde ya maanyi nnyo.—Olubereberye 41:25-32.
“Okutegeeza Amakulu Si kwa Katonda?”
Falaawo yatuukiriza bye yayogera. Amangu ago Yusufu yayambazibwa ebyambalo ebirungi. Falaawo yawa Yusufu omukuufu ogwa zzaabu, empeta eramba, n’eggaali lye ery’okubiri asobole okutalaaga Misiri yonna ng’akuŋŋaanya emmere. (Olubereberye 41:42-44) Mu kaseera mpa we kaaga, Yusufu eyali omusibe yafuuka omukungu wa kabaka, era nga y’addirira Falaawo mu buyinza. Yusufu yaganyulwa nnyo olw’okuba n’okukkiriza okw’amaanyi. Yakuwa yali alaba engeri etali ya bwenkanya omuweereza we gye yayisibwangamu okumala emyaka mingi. Yayamba Yusufu mu kiseera ekituufu era mu ngeri entuufu. Ng’oggyeeko okuyamba Yusufu, Yakuwa era yali ayagala okuwonyaawo abantu abandivuddemu eggwanga lya Isirayiri. Ekyo yakikola atya? Ekibuuzo ekyo kijja kuddibwamu gye bujja mu kitundu nga kino ekifulumira mu katabo kano.
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
Obadde Okimanyi?
Lwaki Yusufu yamwako enviiri nga tannagenda eri Falaawo?
Ekitabo kya Bayibuli eky’Olubereberye, kiraga nti Falaawo bwe yaloota ebirooto ebyamutiisa, yatumya mangu Yusufu okuva mu kkomera amunnyonnyole amakulu gaabyo. Mu kiseera ekyo Yusufu yali yaakamala emyaka mingi mu kkomera. Wadde nga Falaawo yamutumya mu bwangu, Yusufu yasooka kwemwa n’alyoka agenda eri Falaawo. (Olubereberye 39:20-23; 41:1, 14) Olw’okuba omuwandiisi yawandiika ku kintu kino ekirabika ng’ekitono, kiraga nti yali amanyi bulungi obulombolombo bw’Abamisiri.
Mu mawanga mangi nga mw’otwalidde n’Abebbulaniya, abantu baakuzanga ebirevu. Okusinziira ku kitabo ekimu ekiyitibwa Cyclopedia of Biblical, Theological, and Ecclesiastical Literature ekyawandiikibwa McClintock ne Strong, “Abamisiri ab’edda be bantu bokka ab’ebuvanjuba abataakuzanga birevu.”
Tebaamwanga birevu byokka. Magazini emu eyitibwa Biblical Archaeology Review egamba nti mu mikolo gy’Abamisiri egimu, abasajja baalinga okweteekateeka nga tebannagenda eri Falaawo nga bwe baakolanga nga tebannagenda mu yeekaalu. Ne Yusufu yalina okusooka okumwa ebirevu, omutwe, n’omubiri gwe gwonna.
Okulaga Empisa Ennungi ng’Abaweereza ba Katonda
Mu biseera bya Bayibuli, abazadde abatya Katonda baayigirizanga abaana baabwe empisa ennungi awaka. Lowooza ku ngeri Ibulayimu ne mutabani we Isaaka gye baayogeramu mu Olubereberye 22:7. Kyeyoleka bulungi nti ne Yusufu yali yatendekebwa bazadde be. Bwe yali mu kkomera, yeeyisa bulungi eri bonna, nga mw’otwalidde ne basibe banne. (Lub. 40:8, 14) Engeri gye yayogeramu ne Falaawo eraga nti yali yayigirizibwa okwogera obulungi n’abantu ab’ekitiibwa.—Lub. 41:16, 33, 34.
MAAYI 25-31
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | OLUBEREBERYE 42-43
“Yusufu Yeefuga”
“Nze Ndi mu Kifo kya Katonda?”
Ye Yusufu yali akyajjukira baganda be? Yusufu olwabalaba, yabategeererawo! N’ekirala, bwe yalaba nga bamuvunnamira, yajjukira ebyaliwo ng’akyali muto. Bayibuli egamba nti “Yusufu n’ajjukira ebirooto” Yakuwa bye yamuloosa ng’akyali muto, ebyali biraga nti ekiseera kyandituuse baganda be ne bamuvunnamira, era bwe kityo bwe kyali! (Olubereberye 37:2, 5-9; 42:7, 9) Kati kiki Yusufu kye yandikoze? Yandibeesasuzza oba yandibagudde mu kifuba?
“Nze Ndi mu Kifo kya Katonda?”
Oboolyawo ggwe oyinza obutaba mu mbeera ng’eyo. Naye, leero amaka mangi galimu obukuubagano n’enjawukana. Bwe tuba mu maka ng’ago, tuyinza okwesanga nga tukoze ekyo omutima gwaffe kye gutugamba. Mu kifo ky’ekyo, kiba kirungi okukoppa Yusufu nga tufuba okumanya ekyo Katonda ky’ayagala tukole. (Engero 14:12) Kijjukire nti nga bwe kiri ekikulu okuleetawo emirembe nga tukolagana n’ab’omu maka gaffe, kikulu nnyo okuba mu mirembe ne Yakuwa era n’Omwana we.—Matayo 10:37.
“Nze Ndi mu Kifo kya Katonda?”
Yusufu yatandika okugezesa baganda be mu ngeri ez’enjawulo asobole okutegeerera ddala ekiri mu mitima gyabwe. Ng’akozesa omuvvuunuzi, yayogera nabo mu ngeri ey’obukambwe ng’abalumiriza okuba abakessi. Nga beewozaako, baamubuulira ebikwata ku maka gye baali bavudde era ne bamutegeeza nti baalina ne muganda waabwe omuto eyali asigaddeyo. Yusufu teyabalaga nti bye baali bamugambye byali bimusanyusizza. Ddala muto we yali akyali mulamu? Yusufu yamanya ky’alina okuzzaako. Yabagamba nti: “Mugenda kugezesebwa,” era nti ateekwa okulaba muganda waabwe eyali asigaddeyo. Oluvannyuma yabakkiriza baddeyo ewaabwe baleete muganda waabwe omuto, naye omu ku bo yalina okusigala e Misiri ng’asibiddwa.—Olubereberye 42:9-20.
it-2-E lup. 108 ¶4
Yusufu
Olw’ebyo ebyaliwo, baganda ba Yusufu baakiraba nti Katonda yali ababonereza olw’okutunda muganda waabwe mu buddu. Bwe baali mu maaso ga muganda waabwe gwe baali batannaba kutegeera nti ye Yusufu, baatandika okwejjusa olw’ekyo kye baakola. Yusufu bwe yategeera ebigambo bye baali boogera ebyali biraga nti beenenya, yakwatibwako nnyo n’ava we baali n’atandika okukaaba. Bwe yakomawo, yatwala Simiyoni n’amusiba okutuusa lwe bandikomyewo ne muganda waabwe asembayo obuto.—Lub 42:21-24.
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
it-2-E lup. 795
Lewubeeni
Lewubeeni yalaga nti alina engeri ennungi bwe yagamba baganda be omwenda okusuula Yusufu mu kinnya ekikalu mu kifo ky’okumutta, asobole okukomawo nga tebamanyi amuggyemu. (Lub 37:18-30) Oluvannyuma lw’emyaka egisukka mu 20, bwe baabasibaako omusango gw’okuba abakessi mu nsi y’e Misiri, baganda be ne bagamba nti kyava kukuba nti baayisa bubi muganda waabwe Yusufu, Lewubeeni yabajjukiza nti teyawagira kye baakola. (Lub 42:9-14, 21, 22) Ate era, Yakobo bwe yagaana okuleka Benyamini okugenda ne baganda be e Misiri, Lewubeeni yawaayo abaana be ababiri ng’omusingo n’agamba nti: “Bwe sirikomyawo Benyamini gy’oli, batabani bange bombi obattanga. Munkwase, era nja kumukomyawo gy’oli.”—Lub 42:37.
Ebikulu Okuva mu Kitabo ky’Olubereberye—II
43:32—Lwaki okulya emmere n’Abebbulaniya kyali kya muzizo eri Abamisiri? Kino kiteekwa okuba nga kyali bwe kityo olw’obusosoze mu by’eddiini n’okwenyumiriza mu ggwanga. N’ekirala, Abamisiri baali tebaagalira ddala basumba. (Olubereberye 46:34) Lwaki? Kyandiba ng’abasumba batwalibwanga nga ba wansi nnyo mu Misiri. Oba kiyinzika okuba nti, okuva ettaka eririmirwako bwe lyali ettono, Abamisiri baayisangamu amaaso abo abaanoonyezanga ebisolo byabwe omuddo.