Tambula lwa Kukkiriza, So Si lwa Kulaba!
“Tutambula olw’okukkiriza, si lwa kulaba.”—2 ABAKKOLINSO 5:7.
1. Kiki ekiraga nti omutume Pawulo yatambulanga lwa kukkiriza so si lwa kulaba?
GWALI mwaka gwa 55 C.E, nga waakayita emyaka nga 20 kasookedde Sawulo omuyigganya w’Abakristaayo afuuka Mukristaayo. Wadde waali wayiseewo ebbanga eryo lyonna, omusajja oyo, kati amanyiddwa nga Pawulo, teyaddirira mu kukkiriza. Yalina okukkiriza okunywevu wadde nga yali talabanga ku bya mu ggulu. Ng’awandiikira Abakristaayo abaafukibwako amafuta abaalina essuubi ery’okugenda mu ggulu, Pawulo yagamba nti: “Tutambula olw’okukkiriza, si lwa kulaba.”—2 Abakkolinso 5:7.
2, 3. (a) Tuyinza tutya okulaga nti tutambula lwa kukkiriza? (b) Kitegeeza ki okutambula olw’okulaba?
2 Okutambula olw’okukkiriza kizingiramu okuba n’obwesige mu Katonda nti asobola okuluŋŋamya amakubo gaffe. Tuteekwa okuba abakakafu nti amanyi bulungi bye twetaaga. (Zabbuli 119:66) Bwe tuba tulina bye tusalawo, tusaanidde okulowooza ku ‘ebyo ebitalabika.’ (Abaebbulaniya 11:1) Bino bizingiramu “eggulu eriggya n’ensi empya” ebyasuubizibwa. (2 Peetero 3:13) Ku luuyi olulala, bwe tutambula olw’okulaba kiba kitegeeza nti tusalawo nga tusinziira ku ebyo bye tulabako. Kino kiba kya kabi nnyo kubanga kiyinza okutuviirako obutakola Katonda by’ayagala.—Zabbuli 81:12; Omubuulizi 11:9.
3 Ka kibe nti tuli ba ‘kisibo kitono’ abalina essuubi ery’okugenda mu ggulu, oba nga tuli ba ‘ndiga ndala’ abalina essuubi ery’okubeera ku nsi, buli omu ku ffe asaanidde kutambula lwa kukkiriza so si lwa kulaba. (Lukka 12:32; Yokaana 10:16) Ka tulabe engeri okutambula olw’okukkiriza gye kiyinza okutuyamba okwewala ‘essanyu ly’ekibi eriggwaawo amangu,’ omwoyo gw’okwagala ebintu, n’engeri gye kiyinza okutuyamba okujjukira nti omulembe guno omubi gunaatera okukomezebwa. Ate era, tugenda kulaba n’akabi akali mu kutambula olw’okulaba.—Abaebbulaniya 11:25.
Okwewala ‘Essanyu ly’Ekibi Eriggwaawo Amangu’
4. Kiki Musa kye yasalawo okukola era lwaki?
4 Lowooza ku bulamu Musa mutabani wa Amulaamu bwe yandibaddemu. Olw’okuba yali akulidde mu lubiri lwa kabaka w’e Misiri eky’edda, yali asobola okufuna obuyinza, eby’obugagga n’ekitiibwa. Yali asobola okugamba nti: ‘Nnayigirizibwa mu magezi gonna ag’e Misiri; era ndi wa maanyi mu bigambo ne mu bikolwa. Singa nsigala mu lubiri muno, nja kusobola okuyamba baganda bange Abaebbulaniya ababonaabona!’ (Ebikolwa 7:22) Mu kifo ky’okwogera bwatyo, Musa yasalawo ‘okukolebwa obubi n’abantu ba Katonda.’ Lwaki yasalawo bw’atyo? Era, kiki ekyamuleetera okuleka ebyo byonna bye yandifunye e Misiri? Baibuli etuddamu bw’eti: “Olw’okukkiriza [Musa yaleka] Misiri, nga tatya busungu bwa kabaka: kubanga yagumiikiriza ng’alaba oyo atalabika.” (Abaebbulaniya 11:24-27) Olw’okuba Musa yalina okukkiriza okw’amaanyi mu bisuubizo bya Yakuwa eby’obutuukirivu, kyamuyamba okwewala ekibi n’amasanyu gaakyo ag’akaseera obuseera.
5. Ekyo Musa kye yakola tukiyigirako ki?
5 Naffe tutera okwolekagana n’okusalawo okw’amaanyi ku nsonga nga zino: ‘Ndekeyo ebikolwa oba emize egimu egikontana n’emisingi gya Baibuli? Nzikirize okukola omulimu ogunangaggawaza wadde nga tegujja kunsobozesa kukulaakulana mu bya mwoyo?’ Ekyo Musa kye yakola kituyigiriza nti bwe tuba tusalawo, tetwandirese bintu bya mu nsi kutuziba maaso; wabula twandibadde tukuumira amaaso gaffe ku bisuubizo ‘by’Oyo atalabika’—Yakuwa Katonda. Okufaananako Musa, ka tukitwale nti okuba mikwano gya Yakuwa kikulu nnyo n’okusinga ebyo ensi by’eyinza okutuwa.
6, 7. (a) Esawu yalaga atya nti yali ayagala kutambula lwa kulaba? (b) Kiki kye tuyigira ku ebyo ebyatuuka ku Esawu?
6 Lowooza ku njawulo eriwo wakati w’ekyo Musa kye yakola, n’ekyo Esawu mutabani wa Isaaka kye yakola. Esawu yali ayagala ssanyu lya kaseera buseera. (Olubereberye 25:30-34) Olw’okuba ‘teyasiima bintu bitukuvu’ yatunda obusika bwe “olw’akawumbo k’emmere akamu.” (Abaebbulaniya 12:16) Yalemererwa okulowooza ku ekyo ekyandituuse ku nkolagana ye ne Yakuwa, n’ekyo ekyandituuse ku zzadde lye ng’atunze obusika bwe. Ate era yalemererwa okutunuulira ebintu mu ngeri ey’eby’omwoyo. Esawu teyafaayo ku bisuubizo bya Katonda era yali talaba bukulu bwabyo. Yatambula lwa kulaba so si lwa kukkiriza.
7 Leero, waliwo kye tuyigira ku ebyo ebyatuuka ku Esawu. (1 Abakkolinso 10:11) Bwe tuba tusalawo ekintu kyonna, tetulina kutwalirizibwa ppokopoko wa nsi ya Setaani akubiriza abantu okufunirawo ekyo kye baagala. Kiba kirungi ne twebuuza nti: ‘Bye nsalawo biraga nti nnina omwoyo gwe gumu ng’ogwa Esawu? Okufunirawo ekyo kye njagala kinansobozesa okuteeka eby’omwoyo mu kifo ekisooka? Ebyo bye nsalawo okukola byonoona enkolagana yange ne Katonda awamu n’ebiseera byange eby’omu maaso? Kyakulabirako ki kye nteerawo abalala?’ Singa okusalawo kwaffe kwoleka nti tusiima ebintu eby’omwoyo, Yakuwa ajja kutuwa emikisa gye.—Engero 10:22.
Okwewala Omutego gw’Okwagala Ebintu
8. Kulabula ki Abakristaayo b’omu Lawodikiya kwe baaweebwa, era lwaki okulabula okwo kutukwatako leero?
8 Mu kubikkulirwa omutume Yokaana kwe yafuna ng’ekyasa ekisooka kinaatera okuggwaako, Yesu Kristo eyali agulumiziddwa alina obubaka bwe yali awa ekibiina ky’e Lawodikiya ekiri mu Asiya Omutono. Obubaka obwo bwalimu okulabula okukwata ku mwoyo gw’okwagala ebintu. Abakristaayo b’omu Lawodikiya baali bagagga naye nga tebakola bulungi mu bya mwoyo. Mu kifo ky’okweyongera okutambula olw’okukkiriza, baaleka eby’obugagga ne bibaziba amaaso mu by’omwoyo. (Okubikkulirwa 3:14-18) Ne leero omwoyo gw’okwagala ebintu gukola kye kimu. Gusobola okunafuya okukkiriza kwaffe ne kitulemesa ‘okugumiikiriza nga tudduka empaka ez’obulamu eziteekeddwa mu maaso gaffe.’ (Abaebbulaniya 12:1) Bwe tutaba beegendereza “essanyu ery’omu bulamu buno” lisobola okutulemesa okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwaffe obw’eby’omwoyo ne tutuuka ‘n’okuggweramu ddala amaanyi.’—Lukka 8:14.
9. Mu ngeri ki gye kiri eky’obukuumi okusiima n’okuba abamativu n’emmere ey’eby’omwoyo etuweebwa?
9 Ekinaatuyamba okusigala nga tuli banywevu mu by’omwoyo, kwe kuba abamativu n’ebyo bye tulina mu kifo ky’okuluubirira eby’obugagga. (1 Abakkolinso 7:31; 1 Timoseewo 6:6-8) Bwe tutambula olw’okukkiriza, tufuna essanyu mu lusuku lwa Katonda olw’eby’omwoyo oluliwo mu kiseera kino. ‘Tetufuna ssanyu’ bwe tulya ku mmere ey’eby’omwoyo? (Isaaya 65:13, 14) Ate era, kitusanyusa nnyo bwe tubeera n’abo abooleka ebibala eby’omwoyo gwa Katonda. (Abaggalatiya 5:22, 23) Nga kikulu nnyo okuba nti tuba bamativu n’emmere ey’eby’omwoyo Yakuwa gy’atuwa!
10. Bibuuzo ki bye tusaanidde okwebuuza?
10 Kiba kirungi okwebuuza ebibuuzo nga bino: ‘Okuluubirira eby’obugagga kirina kifo ki mu bulamu bwange? Eby’obugagga bwange mbikozesa mu kwejalabya oba mu kuwagira okusinza okw’amazima? Essanyu lyange liri mu kwesomesa Baibuli n’okugenda mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo, oba liri mu kutambulako ku wiikendi ne situukiriza buvunaanyizibwa bwange bwa Kikristaayo? Ebiseera byange eby’oku wiikendi mbimalira mu kwesanyusaamu mu kifo ky’okwenyigira mu buweereza bw’ennimiro n’emirimu emirala egikwataganyizibwa n’okusinza okulongoofu?’ Bwe tuba ab’okutambula olw’okukkiriza twetaaga okunyiikirira emirimu gy’Obwakabaka, nga tuli bakakafu nti ebisuubizo bya Yakuwa bijja kutuukirira.—1 Abakkolinso 15:58.
Okukuumira Enkomerero mu Birowoozo Byaffe
11. Okutambula olw’okukkiriza kiyinza kitya okutuyamba okukuumira enkomerero mu birowoozo byaffe?
11 Bwe tutambula olw’okukkiriza kituyamba okwewala endowooza egamba nti, enkomerero eri wala nnyo oba nti teriiyo. Okwawukana ku abo ababuusabuusa obunnabbi bwa Baibuli, ffe tumanyi bulungi engeri ebiriwo mu nsi gye bituukirizaamu obunnabbi obuli mu Kigambo kya Katonda obukwata ku kiseera kyaffe. (2 Peetero 3:3, 4) Ng’ekyokulabirako, endowooza y’abantu okutwalira awamu n’enneeyisa yaabwe, si bukakafu obulaga nti tuli mu “nnaku ez’oluvannyuma”? (2 Timoseewo 3:1-5) N’amaaso ag’okukkiriza, ffe tukiraba nti ebintu ebiriwo kati birina kye bitegeeza. Tukimanyi nti bye bikola ‘akabonero k’okubeerawo kwa Kristo n’ak’enkomerero y’emirembe gino.’—Matayo 24:1-14.
12. Ebigambo bya Yesu ebiri mu Lukka 21:20, 21 byatuukirizibwa bitya mu kyasa ekyasooka?
12 Lowooza ku ekyo ekyaliwo mu kyasa ekyasooka mu mbala eno, ekifaananako n’ekyo ekiriwo mu kiseera kyaffe. Ng’akyali ku nsi, Yesu Kristo yalabula abagoberezi be nti: “Bwe muliraba Yerusaalemi nga kyetooloddwa eggye, ne mulyoka mutegeera nti okuzikirira kwakyo kunaatera okutuuka. Mu biro ebyo ababanga mu Buyudaaya baddukiranga ku nsozi; n’ababanga wakati mu kyo bakifulumangamu; n’ababanga mu byalo tebakiyingirangamu.” (Lukka 21:20, 21) Mu kutuukirizibwa kw’obunnabbi buno, amagye g’Abaruumi geetooloola Yerusaalemi mu 66 C.E, nga gakulemberwa Cestius Gallus. Kyokka nga tekisuubirwa, gaagumbulukuka ne kisobozesa Abakristaayo ‘okuddukira mu nsozi.’ Mu 70 C.E., amagye g’Abaruumi gaakomawo ne galumba ekibuga Yerusaalemi era ne gazikiriza yeekaalu yaakyo. Okusinziira ku Josephus, Abayudaaya abasukka mu kakadde be battibwa ate abalala 97,000 baatwalibwa mu buwaŋŋanguse. Katonda yatuukiriza omusango gwe ku Bayudaaya abaaliwo mu kiseera ekyo. Abo abaatambula olw’okukkiriza era ne bagoberera okulabula kwa Yesu, baawonawo.
13, 14. (a) Kiki ekinaatera okubaawo? (b) Lwaki tusaanidde okufaayo ku kutuukirizibwa kw’obunnabbi bwa Baibuli?
13 Waliwo ekintu ekifaananako n’ekyo ekinaatera okubaawo mu kiseera kyaffe. Ensi eziri mu Kibiina ky’Amawanga Amagatte zirina kinene kye zijja okukola mu kutuukiriza omusango gwa Katonda. Okufaananako amagye g’Abaruumi ag’omu kyasa ekyasooka agaali gateekeddwawo okukuuma emirembe, n’Ekibiina ky’Amawanga Amagatte ekiriwo leero kiteekeddwawo okukuuma emirembe. Wadde amagye g’Abaruumi gaagezaako okukuuma emirembe mu nsi yonna mu kiseera ekyo, ate ge gaazikiriza Yerusaalemi. Mu ngeri y’emu leero, obunnabbi bwa Baibuli bulaga nti amagye g’Ekibiina ky’Amawanga Amagatte gajja kukyawa amadiini era gazikirize Yerusaalemi eky’omu kiseera kino—Kristendomu—n’ekitundu kya Babulooni Ekinene ekinaaba kisigaddewo. (Okubikkulirwa 17:12-17) Yee, amadiini gonna ag’obulimba ganaatera okuzikirizibwa.
14 Okuzikirizibwa kw’amadiini ag’obulimba y’ejja okuba entandikwa y’ekibonyoobonyo ekinene. Ekibonyoobonyo ekyo kijja kuggwa ng’enteekateeka y’ebintu eno embi yonna ezikirizibwa. (Matayo 24:29, 30; Okubikkulirwa 16:14, 16) Okutambula olw’okukkiriza kituyamba okulaba okutuukirizibwa kw’obunnabbi bwa Baibuli. Tukimanyi nti ebibiina ebyateekebwawo abantu, gamba ng’Ekibiina ky’Amawanga Amagatte Katonda si by’agenda okukozesa okuleeta emirembe n’obutebenkevu ku nsi. N’olwekyo, tetwandyeyisizza mu ngeri eraga nti tuli bakakafu nti “olunaku olukulu olwa Mukama, luli kumpi”?—Zeffaniya 1:14.
Kabi Ki Akali mu Kutambula olw’Okulaba?
15. Mu kifo ky’okusiima ebyo Katonda bye yali abakoledde, kiki Abaisiraeri kye baakola?
15 Ebyo ebyatuuka ku Baisiraeri ab’edda bukakafu obulaga nti omuntu bw’atambula olw’okulaba kiviirako okukkiriza kwe okunafuwa. Mu kifo ky’okubaako kye bayiga ku ngeri Katonda gye yafeebyamu bakatonda b’e Misiri ab’obulimba ng’akozesa ebibonoobono ekkumi, n’engeri ey’ekyamagero gye yabayisa mu Nnyanja Emmyufu, Abaisiraeri baamujeemera nga bakola ennyana eya zaabu era ne batandika okugisinza. Tebaali bagumiikiriza era baakoowa okulinda Musa ‘ng’aludde okukka okuva ku lusozi.’ (Okuva 32:1-4) Obutaba bagumiikiriza kyabaviirako okusinza ekifaananyi. Olw’okuba baali batambula lwa kulaba, Yakuwa yabanyiigira era n’azikiriza abasajja “nga enkumi ssatu.” (Okuva 32:25-29) Nga kiba kya nnaku nnyo omuweereza wa Yakuwa okusalawo mu ngeri eraga nti teyeesiga Yakuwa era nti abuusabuusa obusobozi bwe obw’okutuukiriza by’asuubiza!
16. Biki ebyavaamu Abaisiraeri bwe baatambula olw’okulaba?
16 Waliwo n’ebirala ebyavaamu Abaisiraeri bwe baatambula olw’okulaba. Kyabaleetera okutya abalabe baabwe. (Okubala 13:28, 32; Ekyamateeka 1:28) Ate era kyabaleetera okusoomooza obuyinza bwa Musa obwamuweebwa Katonda, n’okwemulugunya olw’embeera gye baalimu. Olw’okuba tebaalina kukkiriza baatandika okwegomba obulamu bw’e Misiri, ensi eyali wansi w’obuyinza bwa balubaale mu kifo ky’Ensi Ensuubize. (Okubala 14:1-4; Zabbuli 106:24) Nga Yakuwa ateekwa okuba yanakuwala nnyo okulaba ng’abantu be balaga obunyoomi obw’ekika ekya waggulu eri Kabaka waabwe atalabika!
17. Kiki ekyaviirako Abaisiraeri mu kiseera kya Samwiri okugaana obulagirizi bwa Yakuwa?
17 Ne mu kiseera kya nnabbi Samwiri, Abaisiraeri baali batambula lwa kulaba. Baali baagala kabaka gwe balabako. Wadde Yakuwa yali abalaze nti ye Kabaka waabwe, ekyo tekyabaleetera kutambula lwa kukkiriza. (1 Samwiri 8:4-9) Baagaana obulagirizi bwa Yakuwa era ne beegomba okuba ng’amawanga agaali gabeetoolodde.—1 Samwiri 8:19, 20.
18. Biki bye tuyigira ku kabi akali mu kutambula olw’okulaba?
18 Ng’Abajulirwa ba Yakuwa ab’omu kiseera kino, tusiima enkolagana ennungi gye tulina ne Katonda. Tuli beetegefu okuyigira ku ebyo ebyaliwo edda. (Abaruumi 15:4) Abaisiraeri bwe baatambula olw’okulaba, beerabira nti Katonda yali akozesa Musa okubawa obulagirizi. Naffe bwe tuteegendereza tusobola okwerabira nti Yakuwa Katonda ne Yesu Kristo Musa Asinga Obukulu be bawa ekibiina Ekikristaayo obulagirizi mu kiseera kino. (Okubikkulirwa 1:12-16) Tetusaanidde kuba na ndowooza nkyamu ku kibiina kya Yakuwa eky’oku nsi. Endowooza ng’eyo esobola okutuleetera okwemulugunyiza abo abakiikirira Yakuwa n’obutasiima mmere ya bya mwoyo etuweebwa “omuddu omwesigwa era ow’amagezi.”—Matayo 24:45.
Beera Mumalirivu Okutambula olw’Okukkiriza
19, 20. Kiki ky’omaliridde okukola, era lwaki?
19 Baibuli egamba nti: “Tetumeggana na musaayi na mubiri, wabula n’abaamasaza, n’ab’obuyinza, n’abafuga ensi ab’omu kizikiza kino, n’emyoyo egy’obubi mu bifo ebya waggulu.” (Abaefeso 6:12) Omulabe waffe lukulwe ye Setaani Omulyolyomi. Ayagala tulekere awo okukkiririza mu Yakuwa. Akozesa obukodyo obwa buli kika okutulemesa okuweereza Katonda. (1 Peetero 5:8) Kiki ekinaatuyamba obutatwalirizibwa ebyo bye tulaba mu nsi ya Setaani? Kwe kutambula olw’okukkiriza so si olw’okulaba. Bwe tuba n’obwesige nti ebisuubizo bya Yakuwa bijja kutuukirizibwa, kijja kutuyamba ‘obutafiirwa kukkiriza kwaffe.’ (1 Timoseewo 1:19) N’olwekyo ka tubeere bamalirivu okweyongera okutambula olw’okukkiriza nga tuli bakakafu nti Yakuwa ajja kutuwa emikisa. Ka tweyongera okusaba tusobole okudduka ebyo byonna ebigenda okujja.—Lukka 21:36.
20 Bwe tutambula olw’okukkiriza, ne tutatambula lwa kulaba, tuba tukoppa Yesu Kristo. Baibuli egamba nti: “Kristo yabonyaabonyezebwa ku lwammwe, n’abalekera ekyokulabirako, mulyoke mutambulirenga mu bigere bye.” (1 Peetero 2:21) Mu kitundu ekiddako tujja kulaba engeri gye tuyinza okutambula nga Kristo bwe yatambulanga.
Ojjukira?
• Kiki ky’oyigidde ku Musa ne Esawu ku bikwata ku kutambula olw’okukkiriza so si olw’okulaba?
• Kiki ekinaatuyamba okwewala omwoyo gw’okwagala ebintu?
• Okutambula olw’okukkiriza kinaatuyamba kitya obutalowooza nti enkomerero eri wala nnyo?
• Lwaki kya kabi nnyo okutambula olw’okulaba?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 9]
Musa yatambulanga lwa kukkiriza
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 10]
Eby’okwesanyusaamu bitera okukulemesa okutuukiriza emirimu gya teyokulase?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 12]
Mu ngeri ki gye kiri eky’obukuumi okussaayo omwoyo ku Kigambo kya Katonda?