Okunoonya eby’Okuddamu Ebituufu
aNsobola ntya okwekuuma nga ndi mulamu bulungi?
Nyinza kukola ki okusobola okwongera ku ssanyu ly’ab’omu maka gange?
Nsobola ntya okukakasa nti sifiirwa mulimu gwange?
WALI weebuuzizzaako ebibuuzo ng’ebyo? Wafuna eby’okuddamu ebyakuyamba? Buli mwaka, ebitabo nga 2,000 eby’enjawulo bikubibwa okuwa amagezi ku nsonga enkulu ezo n’endala. Mu Bungereza yokka, abantu basaasaanya obukadde bwa doola z’Amerika nga 150 buli mwaka okugula ebitabo ebiwa amagezi ku ngeri y’okwaŋŋangamu ebizibu bye basanga mu bulamu. Mu Amerika, buli mwaka ssente eziva mu bitabo ebiyamba omuntu okumanya eky’okukola ku nsonga ezitali zimu ziwera doola z’Amerika obukadde 600. Si ggwe wekka anoonya amagezi ku ngeri y’okwaŋŋangamu ebizibu mu bulamu.
Ng’ayogera ku magezi agali mu nkumuliitu y’ebitabo bino, omuwandiisi omu yagamba nti: “Ebitabo bingi ebippya biddamu buzzi ebyo ebyawandiikibwako edda.” Mu butuufu, amagezi mangi agali mu bitabo bino gaddamu buzzi ebyo ebisangibwa mu kimu ku bitabo ebisingayo okuba ebikadde mu nsi. Ekitabo kino kye kisinze ebirala byonna okubunyisibwa mu nsi yonna. Kikyusiddwa mu nnimi nga 2,400. Kopi ezisukka mu buwumbi buna mu obukadde Lukaaga zikubiddwa mu nsi yonna. Ekitabo kino si kirala kyonna wabula Baibuli.
Baibuli eyogera kaati nti: “Buli ekyawandiikibwa kirina okuluŋŋamya kwa Katonda, era kigasa olw’okuyigirizanga, olw’okunenyanga, olw’okutereezanga, olw’okubuulirira okuli mu butuukirivu.” (2 Timoseewo 3:16) Mu butuufu, Baibuli teyawandiikibwa kuyamba buyambi muntu kuvvuunuka bizibu bye. Ekigendererwa kyayo ekikulu kwe kulaga abantu Katonda by’ayagala bakole. Wadde kiri kityo, Baibuli eyogera bingi ku ngeri y’okwaŋŋangamu ebizibu bye twolekagana nabyo mu bulamu, era esuubiza nti abo abagoberera obulagirizi bw’ewa bajja kuganyulwa. (Isaaya 48:17, 18) Omuntu yenna k’abeere wa ggwanga ki oba buyigirize ki, bw’akolera ku magezi Baibuli geewa aganyulwa.