Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
Ebyawandiikibwa byogera ku “kitabo kya Yasali” ne ku “kitabo eky’Entalo za Mukama.” (Yos. 10:13; Kubal. 21:14) Ebitabo ebyo byombi mu Baibuli tebiriimu. Kyandiba nti ebitabo ebyo byali byaluŋŋamizibwa naye ne bibula?
Tewali we tusinziira kulowooza nti ebitabo ebyo ebibiri byali byaluŋŋamizibwa naye ne bibula. Abo abaaluŋŋamizibwa okuwandiika Baibuli baayogera ku biwandiiko ebirala ebiwerako. Ebimu ku ebyo biyinza okuba nga bisangibwa mu Baibuli naye ng’amannya ge byayitibwanga mu kiseera kino tegamanyiddwa. Ng’ekyokulabirako, 1 Ebyomumirembe 29:29 woogera ku “bigambo bya Samwiri omulabi,” ku “bigambo bya Nasani nnabbi,” ne ku “bigambo bya Gaadi omulabi.” Ebigambo bya bannabbi abo abasatu biyinza okuba nga bye bisangibwa mu bitabo kati ebiyitibwa Samwiri Ekisooka n’Ekyokubiri, oba nga bisangibwa mu kitabo Ekyabalamuzi.
Ku luuyi olulala, ebigambo ebimu ebyogerwako biyinza okuba nga byali bisangibwa mu bitabo ebitali mu Baibuli, naye ng’amannya gaabyo gafaananako n’ag’ebitabo ebiri mu Baibuli. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku bitabo bino ebina eby’edda: ‘ekitabo eky’eby’omu mirembe gya bassekabaka ba Yuda,’ ‘Ekitabo kya Bassekabaka ba Yuda ne Isiraeri,’ ‘Ekitabo kya Bassekabaka ba Isiraeri,’ ‘n’Ekitabo kya Bassekabaka ba Isiraeri ne Yuda.’ Wadde ng’amannya ago gafaananako n’ag’ebitabo by’omu Baibuli ebiyitibwa 1 Bassekabaka ne 2 Bassekabaka, ebitabo ebyo ebina tebyaluŋŋamizibwa, era tebisangibwa mu Baibuli. (1 Bassek. 14:29; 2 Byom. 16:11; 20:34; 27:7) Kirabika byali bitabo eby’ebyafaayo era nga byaliwo mu kiseera nnabbi Yeremiya ne Ezera we baawandiikira ebitabo byabwe ebiri mu Baibuli.
Yee, abawandiisi ba Baibuli abamu baayogera oba baasoma ku bintu ebyali bisangibwa mu bitabo ebyaliwo mu kiseera ekyo naye nga tebyaluŋŋamizibwa. Bwe kityo, Eseza 10:2 woogera ku ‘Kitabo eky’eby’omu mirembe gya bassekabaka b’e Bumeedi n’e Buperusi.’ Mu ngeri y’emu, Lukka bye yawandiika mu Njiri ye ‘yabinoonyerezako n’obwegendereza okuviira ddala ku ntandikwa yaabyo.’ Kirabika yali ategeeza nti yanoonyereza mu bitabo ebyaliwo mu kiseera ekyo n’asobola okuwandiika olunyiriri lw’obuzaale bwa Yesu oluli mu Njiri ye. (Luk. 1:3, NW; 3:23-38) Wadde ng’ebitabo Lukka bye yanoonyerezaamu byali tebyaluŋŋamizibwa, yo Enjiri gye yawandiika yaluŋŋamizibwa, era ya muganyulo gye tuli.
Ebitabo ebibiri ebyayogeddwako mu kibuuzo, ‘ekitabo kya Yasali’ ‘n’ekitabo ky’Entalo za Mukama,’ birabika byaliwo mu kiseera ekyo, naye nga tebyaluŋŋamizibwa. Eno ye nsonga lwaki ebitabo ebyo Yakuwa teyabikuuma kusigalawo. Eky’okuba nti byogerwako mu Baibuli, abeekenneenya ba Baibuli kwe basinziira okugamba nti ebitabo ebyo byombi byali bya bitontome oba bya nnyimba ezikwata ku ntalo Abaisiraeri ze baalwananga n’abalabe baabwe. (2 Sam. 1:17-27) Ekitabo ekimu ekyogera ku Baibuli kigamba nti ebitabo ebyo byandiba nga byalimu “bitontome na nnyimba ebyali bimanyiddwa obulungi ebyaterekebwanga abayimbi b’omu Isiraeri ey’edda.” N’abamu ku basajja Katonda be yakozesa nga bannabbi baliko ebintu bye baawandiikanga naye nga tebyaluŋŋamizibwa Yakuwa, bwe kityo ne biba nga tebyateekebwa mu Byawandiikibwa ‘ebigasa olw’okuyigiriza, okunenya, n’okutereeza ebintu’ mu kiseera kyaffe.—2 Tim. 3:16; 2 Byom. 9:29; 12:15; 13:22.
Eky’okuba nti ebitabo ebimu byayogerwako mu Baibuli era byakozesebwanga tekyandituleetedde kulowooza nti byali byaluŋŋamizibwa. Yakuwa Katonda yakakasa nti ebiwandiiko byonna ebiri mu ‘kigambo kya Katonda waffe’ bikuumibwa bulungi era nti ‘binywerera ennaku zonna.’ (Is. 40:8) Yee, ebyo Yakuwa bye yasalawo biteekebwe mu bitabo bya Baibuli 66 bye byokka bye twetaaga okuba nga ‘tetulina kye tubulako, era nga tulina ddala byonna olwa buli mulimu omulungi.’—2 Tim. 3:16, 17.