Okuweereza Katonda ‘n’Omutima Gumu n’Endowooza Emu’
ABAYUDAAYA n’abakyufu bakuŋŋaanidde awali abayigirizwa ba Yesu Kristo. Abagenyi bano nabo bazze ku Mbaga ya Pentekoote, era okujja e Yerusaalemi, bavudde mu bitundu bya wala nnyo nga Ruumi ekiri mu bugwanjuba, ne Bupaazi ekiri mu buvanjuba. Boogera ennimi ezitali zimu. Kyokka ate, abayigirizwa ba Yesu aboogera gye bali Bagaliraaya. Abamu ku bagenyi bano beewuunya nnyo ne babuuza nti: “Kisoboka kitya buli omu ku ffe okuwulira nga boogera mu nnimi zaffe ez’obuzaaliranwa?”—Bik. 2:8, NW.
Omutume Peetero ayimirira n’annyonnyola lwaki ekyamagero ekyo kikoleddwa. Abantu bakkiririzaawo obubaka obwo era bangi nnyo babatizibwa! (Bik. 2:41) Wadde ng’ekibiina kyeyongera mangu obunene, kisigala nga kiri bumu. Omuwandiisi wa Baibuli Lukka agamba nti: “Bonna abakkiriza baalina omutima gumu n’endowooza emu.”—Bik. 4:32, NW.
Abantu bangi abaabatizibwa ku Pentekoote mu 33 E.E. baasalawo okugira nga basigala mu Yerusaalemi basobole okuyiga ebisingawo ku nzikiriza yaabwe empya. Naye ekyo baali tebakyetegekedde. Bwe kityo, waateekebwawo ensawo eyambeko mu kubalabirira. Abakkiriza abamu baatunda ebyabwe, ssente ezaavaamu ne bazireeta eri abatume ziyambe abaali mu bwetaavu. (Bik. 2:42-47) Nga baalaga omutima omugabi n’okwagala okw’amaanyi!
Abakristaayo ab’amazima bulijjo babadde booleka okwagala ng’okwo n’omutima omugabi. Na buli kati, ekibiina Ekikristaayo kikyaweereza Yakuwa ‘n’omutima gumu n’endowooza emu.’ Buli Mukristaayo awaayo ebiseera, amaanyi, ne ssente okuwagira omulimu gw’okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda.—Laba akasanduuko “Engeri Abamu gye Bawaayo.”
[Akasanduuko akali ku lupapula 6, 7]
ENGERI ABAMU GYE BAWAAYO
OKUWAGIRA OMULIMU MU NSI YONNA
Bangi balina omutemwa gwa ssente gwe bateeka mu kasanduuko akawandiikiddwako “Omulimu gw’Ensi Yonna.”
Buli mwezi, ebibiina biweereza ssente ezo ku ofiisi y’Abajulirwa ba Yakuwa eri mu nsi gye balimu. Era omuntu asobola okuwaayo ssente ng’aziweereza butereevu ku Watchtower Bible and Tract Society of New York, Inc., Attention Treasurer’s Office, 25 Columbia Heights, Brooklyn, New York 11201-2483, oba ku ttabi ly’Abajulirwa ba Yakuwa eriri mu nsi gy’alimu. Ceeke eziweerezebwa ku ndagiriro eyo waggulu zirina okuba nga ziraga nti ssente ezo ziweereddwa “Watchtower.” Ebintu ebirala eby’omuwendo nabyo bisobola okuweebwayo. Ebintu ng’ebyo birina okugenderako akabaluwa akalaga nti biweereddwayo ng’ekirabo.
OKUWAAYO OKULIKO AKAKWAKKULIZO
Omuntu asobola okuddira ssente n’azikwasa Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania egire ng’ezikozesa okuwagira omulimu mu nsi yonna. Kyokka ssente ezo zisobola okumuddizibwa wonna w’azisabira. Bw’oba oyagala okumanya ebisingawo, wandiikira Ofiisi y’Omuwanika ku ndagiriro eweereddwa waggulu, oba kuba essimu (718) 560-7500.
OKUWAAYO OKW’ENGERI ENDALA
Ng’oggyeko okuwaayo ssente enkalu, waliwo engeri endala ez’okuwaayo okuwagira omulimu gw’Obwakabaka ogukolebwa mu nsi yonna. Mu ezo mwe muli:
Yinsuwalensi: Omuntu ayinza okukiraga mu buwandiike nti bw’afanga, ssente ze eza pensoni oba eza yinsuwalensi gye yasasula ku bulamu bwe, ziweebwanga Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania.
Ssente Eziri mu Banka: Ng’agoberera amateeka ga banka ye, omuntu ayinza okulagira banka ye nti bw’afanga, ssente eziba ku akaawunta ze ez’enjawulo ziweebwe Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania.
Emigabo oba Ssente Ezaawolebwa: Omuntu ayinza okulagira nti emigabo gye oba ne ssente ze yawola kampuni oba gavumenti ziweebwa Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania.
Ettaka oba Ebizimbe: Ettaka oba ebizimbe ebiyinza okutundibwa bisobola okuweebwayo. Bwe kiba nti ennyumba omuntu gy’awaddeyo ate mw’asula, agibeeramu okutuusa lw’afa. Bw’oba olina ekintu eky’engeri eno ky’oyagala okuwaayo, osaanidde okusooka okutegeeza ofiisi y’ettabi eri mu nsi mw’oli.
Okuwaayo ng’Oddizibwa Buli Mwaka: Mu kuwaayo okw’engeri eno, omuntu awaayo ssente oba emigabo gye eri ekitongole kyonna eky’Abajulirwa ba Yakuwa ekimanyiddwa mu mateeka. Omuntu awaayo mu ngeri eno abaako ssente engereke ezimuweebwa buli mwaka okutuusa lw’afa, oba eziweebwa omuntu omulala nga bw’aba alagidde. Oyo aba awaddeyo akendererezebwa ku musolo gw’alina okusasula omwaka ogwo.
Ebiraamo oba Ssente Eziri mu Kampuni: Omuntu ayinza okukola ekiraamo n’alagira nti bw’afa, ebintu bye oba ssente ze ziweebwe Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania, oba nti bw’afa, amagoba agava mu ssente ze yateeka mu kampuni gaweebwe Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania. Ssente ng’ezo bwe ziba ziweebwa kibiina kya ddiini, kampuni eziwaayo eyinza okusalirwa ku misolo gy’esasula.
Omuntu ayagala okuwaayo mu emu ku ngeri zino alina okusooka okukola enteekateeka ennungi. Waliwo brocuwa mu Lungereza ne mu Lusipeyini eyitibwa Charitable Planning to Benefit Kingdom Service Worldwide esobola okuyamba abo abaagala okuwaayo mu ngeri zino okuwagira omulimu ogukolebwa Abajulirwa ba Yakuwa mu nsi yonna. Brocuwa eyo eraga engeri ezitali zimu omuntu mw’ayinza okuyitira okuwaayo mu buliwo oba ng’akola ekiraamo. Oluvannyuma lw’okugisoma n’okwebuuza ku bamanyi obulungi amateeka n’eby’emisolo, bangi basobodde okuwagira omulimu gwaffe ogw’obwannakyewa ogukolebwa mu nsi yonna n’okukendeeza ku misolo gye basasula. Brocuwa eno omuntu asobola okugifuna ng’agiragiriza butereevu okuva ku Charitable Planning Office.
Okumanya ebisingawo, wandiikira Charitable Planning Office ku ndagiriro eyo wammanga, oba kubayo essimu; ku luuyi olulala oyinza okuwandiikira ofiisi y’ettabi eri mu nsi gy’olimu.
Charitable Planning Office
Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
100 Watchtower Drive
Patterson, New York 12563-9204
Telephone: (845) 306-0707