‘Ka Tuweeyo Ekirabo eri Yakuwa’
OMUNTU bw’akukolera ekintu ekirungi, oyinza otya okulaga okusiima? Lowooza ku ngeri abakulu b’eggye lya Isiraeri gye baalagamu okusiima oluvannyuma lw’olutalo lwe baalwana n’Abamidiyaani. We baalwanira olutalo olwo, Abaisiraeri baali baakamala okwonoona nga basinza Baalipyoli. Katonda yabayamba okuwangula olutalo olwo, era omunyago gwe baaleeta gwagabanyizibwa wakati w’abasajja abalwanyi 12,000 n’Abaisiraeri abalala. Nga Yakuwa bwe yalagira, abasajja abalwanyi baawaayo ekitundu ku mugabo gwabwe eri bakabona, ate bo Abaisiraeri abalala ne baawaayo ekitundu ku mugabo gwabwe eri Abaleevi.—Kubal. 31:1-5, 25-30.
Kyokka, abakulu b’eggye baayagala okukola ekisingawo. Baagamba Musa nti: “Abaddu bo babaze omuwendo gw’abasajja abatabaazi be tutwala, so tekubuzeeko muntu n’omu ku ffe.” Baawaayo zaabu n’amajjolobera ng’ekirabo eri Yakuwa. Zaabu gwe baawaayo yali aweza paawundi 500 (kiro 190).—Kubal. 31:49-54.
Ne leero, abantu bangi booleka okusiima kwabwe eri Yakuwa olw’ebyo by’abakoledde. Kyokka abaweereza ba Katonda si be bokka abalaga okusiima ng’okwo. Lowooza ku kyokulabirako ky’omuvuzi wa bbaasi eyatwala ab’oluganda abaali bavudde mu nsi emu ku lukuŋŋaana olunene olw’ensi yonna olwali mu kibuga Bologna ekya Italy, mu 2009. Olw’okuba yali muvuzi mulungi, ab’oluganda baasalawo okumusiima nga bamuwandiikira kakaadi, ne bamuwa akasiimo awamu n’akatabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? Omuvuzi wa bbaasi oyo yagamba nti: “Kakaadi n’akatabo ŋŋenda kubitwala, naye ssente ze mubadde mumpadde nange nziwaddeyo zikozesebwe mu mulimu gwe mukola. Wadde nga siri omu ku Bajulirwa ba Yakuwa, ssente zino nziwaddeyo olw’okuba nkirabye nti byonna bye mukola mubikola olw’okuba mulina okwagala.”
Engeri emu gy’osobola okwoleka okusiima kwo eri Yakuwa olw’ebyo by’akukoledde, kwe kubaako ky’owaayo okuwagira omulimu gw’Abajulirwa ba Yakuwa ogukolebwa mu nsi yonna. (Mat. 24:14) Engeri ezitali zimu abamu gye basalawo okuwaayo ziragiddwa mu kasanduuko wammanga.
[Akasanduuko akali ku lupapula 20, 21]
ENGERI ABAMU GYE BAWAAYO
OKUWAGIRA OMULIMU MU NSI YONNA
Bangi balina omutemwa gwa ssente gwe bateeka mu kasanduuko akawandiikiddwako “Omulimu gw’Ensi Yonna.”
Buli mwezi, ebibiina biweereza ssente ezo ku ofiisi y’Abajulirwa ba Yakuwa eri mu nsi gye balimu. Era omuntu asobola okuwaayo ssente ng’aziweereza butereevu ku Watchtower Bible and Tract Society of New York, Inc., Attention Treasurer’s Office, 25 Columbia Heights, Brooklyn, New York 11201-2483, oba ku ttabi ly’Abajulirwa ba Yakuwa eriri mu nsi gy’alimu. (Ebintu ebisobola okuweebwayo ebyogerwako wammanga, bisobola n’okuweerezebwa ku ofiisi y’ettabi ly’Abajulirwa ba Yakuwa eri mu nsi yo.) Ceeke eziweerezebwa ku ndagiriro eyo waggulu zirina okuba nga ziraga nti ssente ezo ziweereddwa “Watchtower.” Ebintu ebirala eby’omuwendo nabyo bisobola okuweebwayo. Ebintu ng’ebyo birina okugenderako akabaluwa akalaga nti biweereddwayo ng’ekirabo.
OKUWAAYO OKULIKO AKAKWAKKULIZO
Omuntu asobola okuddira ssente n’azikwasa Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania egire ng’ezikozesa okuwagira omulimu mu nsi yonna. Kyokka ssente ezo zisobola okumuddizibwa wonna w’azisabira. Bw’oba oyagala okumanya ebisingawo, wandiikira Ofiisi y’Omuwanika ku ndagiriro eweereddwa waggulu, oba kuba essimu (718) 560-7500.
OKUWAAYO OKW’ENGERI ENDALA
Ng’oggyeko okuwaayo ssente enkalu, waliwo engeri endala ez’okuwaayo okuwagira omulimu gw’Obwakabaka ogukolebwa mu nsi yonna. Mu ezo mwe muli:
Yinsuwalensi: Omuntu ayinza okukiraga mu buwandiike nti bw’afanga, ssente ze eza pensoni oba eza yinsuwalensi gye yasasula ku bulamu bwe, ziweebwanga Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania.
Ssente Eziri mu Banka: Ng’agoberera amateeka ga banka ye, omuntu ayinza okulagira banka ye nti bw’afanga, ssente eziba ku akaawunta ze ez’enjawulo ziweebwe Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania.
Emigabo oba Ssente Ezaawolebwa: Omuntu ayinza okulagira nti emigabo gye oba ne ssente ze yawola kampuni oba gavumenti ziweebwe Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania.
Ettaka oba Ebizimbe: Ettaka oba ebizimbe ebiyinza okutundibwa bisobola okuweebwayo. Bwe kiba nti ennyumba omuntu gy’awaddeyo ate mw’asula, agibeeramu okutuusa lw’afa. Bw’oba olina ekintu eky’engeri eno ky’oyagala okuwaayo, osaanidde okusooka okutegeeza ofiisi y’ettabi eri mu nsi mw’oli.
Okuwaayo ng’Oddizibwa Buli Mwaka: Mu kuwaayo okw’engeri eno, omuntu awaayo ssente oba emigabo gye eri ekitongole kyonna eky’Abajulirwa ba Yakuwa ekimanyiddwa mu mateeka. Omuntu awaayo mu ngeri eno abaako ssente engereke ezimuweebwa buli mwaka okutuusa lw’afa, oba eziweebwa omuntu omulala nga bw’aba alagidde. Oyo aba awaddeyo bamukendereza ku musolo gw’alina okusasula omwaka ogwo.
Ebiraamo oba Ssente Eziri mu Kampuni: Omuntu ayinza okukola ekiraamo n’alagira nti bw’afa, ebintu bye oba ssente ze ziweebwe Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania, oba nti bw’afa, amagoba agava mu ssente ze yateeka mu kampuni gaweebwe Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania. Ssente ng’ezo bwe ziba ziweebwa kibiina kya ddiini, kampuni eziwaayo eyinza okusalirwa ku misolo gy’esasula.
Omuntu ayagala okuwaayo mu emu ku ngeri zino alina okusooka okukola enteekateeka ennungi. Waliwo brocuwa mu Lungereza ne mu Lusipeyini eyitibwa Charitable Planning to Benefit Kingdom Service Worldwide esobola okuyamba abo abaagala okuwaayo mu ngeri zino okuwagira omulimu ogukolebwa Abajulirwa ba Yakuwa mu nsi yonna. Brocuwa eno eraga engeri ezitali zimu omuntu mw’ayinza okuyitira okuwaayo mu buliwo oba ng’akola ekiraamo. Oluvannyuma lw’okugisoma n’okwebuuza ku abo abamanyi obulungi amateeka n’eby’emisolo, bangi basobodde okuwagira omulimu gwaffe ogw’obwannakyewa ogukolebwa mu nsi yonna n’okukendeeza ku misolo gye basasula. Brocuwa eno omuntu asobola okugifuna ng’agiragiriza butereevu okuva ku Charitable Planning Office.
Okumanya ebisingawo, wandiikira Charitable Planning Office ku ndagiriro eno wammanga, oba kubayo essimu; ku luuyi olulala oyinza okuwandiikira ofiisi y’ettabi eri mu nsi gy’olimu.
Charitable Planning Office
Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
100 Watchtower Drive
Patterson, New York 12563-9204
Telephone: (845) 306-0707