Okugaba n’Omutima Omusanyufu
NG’AYOGERA ku kugaba, omutume Pawulo yagamba nti: “Buli muntu akole nga bw’amaliridde mu mutima gwe, si lwa nnaku oba olw’okuwalirizibwa, kubanga Katonda ayagala oyo agaba n’essanyu.” (2 Kol. 9:7) Yakuwa tawaliriza muntu yenna kuwagira kusinza okw’amazima. Aleka abaweereza be okwoleka okwagala kwabwe gy’ali nga bawaayo kyeyagalire n’omutima omusanyufu. Bwe batyo bwe babadde bakola okuva edda n’edda. Lowooza ku byokulabirako bisatu.
Oluvannyuma lw’okununula Abaisiraeri okuva mu Misiri, Yakuwa yabalagira okuzimba weema. Kino kyali kyetaagisa ebintu eby’okuzimbisa era Abaisiraeri baasabibwa okubiwaayo. Bwe kityo, “buli muntu omutima gwe gwe gwakubiriza” yaleeta zaabu ne ffeeza, amajjolobero, n’ebintu ebirala. Abantu baawaayo ebintu bingi nnyo ne kituuka n’okwetaagisa okubagamba okulekera awo.—Kuv. 35:5, 21; 36:6, 7.
Nga wayise ebyasa by’emyaka, abantu ba Katonda baafuna omukisa omulala okuwagira okusinza okw’amazima nga yeekaalu egenda okuzimbibwa. Kabaka Dawudi yawaayo ebintu bingi nnyo okuwagira omulimu ogwo era yakubiriza abalala nabo okuwaayo. Kino baakikola na kwagala. Zaabu yokka ne ffeeza bye baawaayo bibalirirwamu obuwumbi bwa doola z’Amerika obusukka mu 100! Abantu baasanyuka nnyo okufuna omukisa okubaako kye bawaayo okuwagira omulimu gwa Yakuwa.—1 Byom. 29:3-9; 2 Byom. 5:1.
Abagoberezi ba Yesu Kristo abaasooka nabo baalaga nti baalina omutima omugabi. Ku lunaku lwa Pentekooti 33 E.E., bangi ku bantu abawera nga 3,000 abaabatizibwa tebaali batuuze ba mu Yerusaalemi. Abo abaali batalina ssente zimala kusigala mu kibuga ekyo basobole okweyongera okuyiga ebikwata ku nzikiriza yaabwe empya baali beetaaga obuyambi. Bwe kityo ab’oluganda baatunda ebintu byabwe, ssente ne bazireeta eri abatume ziyambe abaali mu bwetaavu. Ng’ekikolwa kino ekiraga okukkiriza n’okwagala kirina okuba nga kyasanyusa nnyo Yakuwa!—Bik. 2:41-47.
Ne leero Abakristaayo bawaayo ebiseera byabwe, amaanyi gaabwe ne ssente okuwagira okusinza okw’amazima. Akasanduuko akali wammanga kalaga engeri ezitali zimu kino gy’oyinza okukikolamu.
[Akasanduuko akali ku lupapula 18, 19]
ENGERI ABAMU GYE BAWAAYO
OKUWAGIRA OMULIMU MU NSI YONNA
Bangi balina omutemwa gwa ssente gwe bateeka mu kasanduuko akawandiikiddwako “Omulimu gw’Ensi Yonna.”
Buli mwezi, ebibiina biweereza ssente ezo ku ofiisi y’Abajulirwa ba Yakuwa eri mu nsi gye balimu. Era omuntu asobola okuwaayo ssente ng’aziweereza butereevu ku Watchtower Bible and Tract Society of New York, Inc., Attention Treasurer’s Office, 25 Columbia Heights, Brooklyn, New York 11201-2483, oba ku ttabi ly’Abajulirwa ba Yakuwa eriri mu nsi gy’alimu. Ebintu ebisobola okuweebwayo ebyogerwako wammanga, bisobola n’okuweerezebwa ku ofiisi y’ettabi ly’Abajulirwa ba Yakuwa eri mu nsi yo. Ceeke eziweerezebwa ku ndagiriro eyo waggulu zirina okuba nga ziraga nti ssente ezo ziweereddwa “Watchtower.” Ebintu ebirala eby’omuwendo nabyo bisobola okuweebwayo. Ebintu ng’ebyo birina okugenderako akabaluwa akalaga nti biweereddwayo ng’ekirabo.
OKUWAAYO OKULIKO AKAKWAKKULIZO
Omuntu asobola okuddira ssente n’azikwasa Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania egire ng’ezikozesa okuwagira omulimu mu nsi yonna. Kyokka ssente ezo zisobola okumuddizibwa wonna w’azisabira. Bw’oba oyagala okumanya ebisingawo, wandiikira Ofiisi y’Omuwanika ku ndagiriro eweereddwa waggulu, oba kuba essimu (718) 560-7500.
OKUWAAYO OKW’ENGERI ENDALA
Ng’oggyeko okuwaayo ssente enkalu, waliwo engeri endala ez’okuwaayo okuwagira omulimu gw’Obwakabaka ogukolebwa mu nsi yonna. Mu ezo mwe muli:
Yinsuwalensi: Omuntu ayinza okukiraga mu buwandiike nti bw’afanga, ssente ze eza pensoni oba eza yinsuwalensi gye yasasula ku bulamu bwe, ziweebwanga Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania.
Ssente Eziri mu Banka: Ng’agoberera amateeka ga banka ye, omuntu ayinza okulagira banka ye nti bw’afanga, ssente eziba ku akaawunta ez’enjawulo ziweebwe Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania.
Emigabo oba Ssente Ezaawolebwa: Omuntu ayinza okulagira nti emigabo gye oba ne ssente ze yawola kampuni oba gavumenti ziweebwe Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania.
Ettaka oba Ebizimbe: Ettaka oba ebizimbe ebiyinza okutundibwa bisobola okuweebwayo. Bwe kiba nti ennyumba omuntu gy’awaddeyo ate mw’asula, agibeeramu okutuusa lw’afa. Bw’oba olina ekintu eky’engeri eno ky’oyagala okuwaayo, osaanidde okusooka okutegeeza ofiisi y’ettabi eri mu nsi mw’oli.
Okuwaayo ng’Oddizibwa Buli Mwaka: Mu kuwaayo okw’engeri eno, omuntu awaayo ssente oba emigabo gye eri ekitongole kyonna eky’Abajulirwa ba Yakuwa ekimanyiddwa mu mateeka. Omuntu awaayo mu ngeri eno abaako ssente engereke ezimuweebwa buli mwaka okutuusa lw’afa, oba eziweebwa omuntu omulala nga bw’aba alagidde. Oyo aba awaddeyo bamukendereza ku musolo gw’alina okusasula omwaka ogwo.
Ebiraamo oba Ssente Eziri mu Kampuni: Omuntu ayinza okukola ekiraamo n’alagira nti bw’afa, ebintu bye oba ssente ze ziweebwe Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania, oba nti bw’afa, amagoba agava mu ssente ze yateeka mu kampuni gaweebwe Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania. Ssente ng’ezo bwe ziba ziweebwa kibiina kya ddiini, kampuni eziwaayo eyinza okusalirwa ku misolo gy’esasula.
Omuntu ayagala okuwaayo mu emu ku ngeri zino alina okusooka okukola enteekateeka ennungi. Waliwo brocuwa mu Lungereza ne mu Lusipeyini eyitibwa Charitable Planning to Benefit Kingdom Service Worldwide esobola okuyamba abo abaagala okuwaayo mu ngeri zino okuwagira omulimu ogukolebwa Abajulirwa ba Yakuwa mu nsi yonna. Brocuwa eno eraga engeri ezitali zimu omuntu mw’ayinza okuyitira okuwaayo mu buliwo oba ng’akola ekiraamo. Oluvannyuma lw’okugisoma n’okwebuuza ku bamanyi obulungi amateeka n’eby’emisolo, bangi basobodde okuwagira omulimu gwaffe ogw’obwannakyewa ogukolebwa mu nsi yonna n’okukendeeza ku misolo gye basasula. Brocuwa eno omuntu asobola okugifuna ng’agiragiriza butereevu okuva ku Charitable Planning Office.
Okumanya ebisingawo, wandiikira Charitable Planning Office ku ndagiriro eno wammanga, oba kubayo essimu; ku luuyi olulala oyinza okuwandiikira ofiisi y’ettabi eri mu nsi gy’olimu.
Charitable Planning Office
Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
100 Watchtower Drive
Patterson, New York 12563-9204
Telephone: (845) 306-0707