Ofuna Essanyu Eriva mu Kugaba?
ABAKRISTAAYO abaali mu Firipi baali bamanyiddwa nnyo olw’omwoyo omugabi gwe baayolekanga mu kuwagira okusinza okw’amazima. Mu bbaluwa gye yabawandiikira, Pawulo yagamba nti: “Nneebaza Katonda wange buli lwe mbajjukira, buli lwe nneegayirira ku lwammwe, nga nneegayirira ne ssanyu olw’ebyo bye mukoze ku lw’amawulire amalungi okuviira ddala ku lunaku olwasooka n’okutuusiza ddala kati.” (Baf. 1:3-5) Pawulo yali ajjukira bulungi olunaku Liidiya n’ab’omu maka ge lwe baabatizibwa era Liidiya ne yeegayirira Pawulo awamu ne banne bayingire mu nnyumba ye babeere omwo.—Bik. 16:14, 15.
Nga waakayita ekiseera kitono, ekibiina ekyali kyakatandikibwawo mu Firipi, emirundi ebbiri kyaweereza Pawulo obuyambi bwe yali ne bakkiriza banne okumala wiiki eziwerako mu Ssessaloniika, ekifo ekyali kyesudde mayiro 100 okuva e Firipi. (Baf. 4:15, 16) Nga waakayita emyaka mitono, ab’oluganda mu Firipi awamu n’abo abaali mu Makedoni bwe baali babonaabona era nga “baavu nnyo,” baawulira nti Abakristaayo abaali bayigganyizibwa mu Yerusaalemi baali beetaaga obuyambi era ne basalawo okubayamba. Pawulo yagamba nti ekyo “kyasukka ku busobozi bwabwe.” Wadde kyali kityo, Pawulo yagamba nti: “Ab’oluganda abo baatusaba . . . era ne batwegayirira nnyo tubawe akakisa bawe abatukuvu ekirabo.”—2 Kol. 8:1-4; Bar. 15:26.
Nga wayise emyaka nga kkumi bukya ekibiina Ekikristaayo kitandikibwawo mu Firipi, ab’oluganda mu kibiina ekyo baali bakyalina omwoyo ogwo omugabi. Bwe baawulira nti Pawulo yali asibiddwa e Rooma, baasindika Epafulodito atwalire Pawulo obuyambi, nga kyali kimwetaagisa okutambula mayiro 800 ng’ayita ku lukalu ne ku mazzi. Tewali kubuusabuusa nti ab’oluganda mu Firipi baali baagala okuyamba Pawulo asobole okweyongera okubuulira n’okunyweza ab’oluganda, wadde nga yali mu kkomera.—Baf. 1:12-14; 2:25-30; 4:18.
Leero, Abakristaayo ab’amazima bagitwala nga nkizo okuwagira omulimu gw’okubuulira Obwakabaka n’okufuula abantu abayigirizwa. (Mat. 28:19, 20) Bakozesa ebiseera byabwe, amaanyi gaabwe, ne ssente zaabwe okuwagira omulimu ogwo. Akasanduuko akali wammanga kalaga engeri ezitali zimu naawe gy’osobola okuwagiramu omulimu gw’Obwakabaka.
[Akasanduuko akali ku empapula 22, 23]
ENGERI ABAMU GYE BAWAAYO
OKUWAGIRA OMULIMU MU NSI YONNA
Bangi balina omutemwa gwa ssente gwe bateeka mu kasanduuko akawandiikiddwako “Omulimu gw’Ensi Yonna.”
Buli mwezi, ebibiina biweereza ssente ezo ku ofiisi y’Abajulirwa ba Yakuwa eri mu nsi gye balimu. Era omuntu asobola okuwaayo ssente ng’aziweereza butereevu ku Watchtower Bible and Tract Society of New York, Inc., Attention Treasurer’s Office, 25 Columbia Heights, Brooklyn, New York 11201-2483, oba ku ttabi ly’Abajulirwa ba Yakuwa eriri mu nsi gy’alimu. (Ebintu ebisobola okuweebwayo ebyogerwako wammanga, bisobola n’okuweerezebwa ku ofiisi y’ettabi ly’Abajulirwa ba Yakuwa eri mu nsi yo.) Ceeke eziweerezebwa ku ndagiriro eyo waggulu zirina okuba nga ziraga nti ssente ezo ziweereddwa “Watchtower.” Ebintu ebirala eby’omuwendo nabyo bisobola okuweebwayo. Ebintu ng’ebyo birina okugenderako akabaluwa akalaga nti biweereddwayo ng’ekirabo.
KUWAAYO OKULIKO AKAKWAKKULIZO
Omuntu asobola okuddira ssente n’azikwasa Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania egire ng’ezikozesa okuwagira omulimu mu nsi yonna. Kyokka ssente ezo zisobola okumuddizibwa wonna w’azisabira. Bw’oba oyagala okumanya ebisingawo, wandiikira Ofiisi y’Omuwanika ku ndagiriro eweereddwa waggulu, oba kuba essimu (718) 560-7500.
OKUWAAYO OKW’ENGERI ENDALA
Ng’oggyeko okuwaayo ssente enkalu, waliwo engeri endala ez’okuwaayo okuwagira omulimu gw’Obwakabaka ogukolebwa mu nsi yonna. Mu ezo mwe muli:
Yinsuwalensi: Omuntu ayinza okukiraga mu buwandiike nti bw’afanga, ssente ze eza pensoni oba eza yinsuwalensi gye yasasula ku bulamu bwe, ziweebwe Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania.
Ssente Eziri mu Banka: Ng’agoberera amateeka ga banka ye, omuntu ayinza okulagira banka ye nti bw’afanga, ssente eziba ku akaawunta ze ez’enjawulo ziweebwe Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania.
Emigabo oba Ssente Ezaawolebwa: Omuntu ayinza okulagira nti emigabo gye oba ne ssente ze yawola kampuni oba gavumenti ziweebwe Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania.
Ettaka oba Ebizimbe: Ettaka oba ebizimbe ebiyinza okutundibwa bisobola okuweebwayo. Bwe kiba nti ennyumba omuntu gy’awaddeyo ate mw’asula, agibeeramu okutuusa lw’afa. Bw’oba olina ekintu eky’engeri eno ky’oyagala okuwaayo, osaanidde okusooka okutegeeza ofiisi y’ettabi eri mu nsi yo.
Okuwaayo ng’Oddizibwa Buli Mwaka: Mu kuwaayo okw’engeri eno, omuntu awaayo ssente oba emigabo gye eri ekitongole kyonna eky’Abajulirwa ba Yakuwa ekimanyiddwa mu mateeka. Omuntu awaayo mu ngeri eno abaako ssente engereke ezimuweebwa buli mwaka okutuusa lw’afa, oba eziweebwa omuntu omulala nga bw’aba alagidde. Oyo aba awaddeyo bamukendeereza ku musolo gw’alina okusasula omwaka ogwo.
Ebiraamo oba Ssente Eziri mu Kampuni: Omuntu ayinza okukola ekiraamo n’alagira nti bw’afanga, ebintu bye oba ssente ze ziweebwe Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania, oba nti bw’afanga, amagoba agava mu ssente ze yateeka mu kampuni gaweebwe Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania. Ssente ng’ezo bwe ziba ziweebwa kibiina kya ddiini, kampuni eziwaayo eyinza okusalirwa ku misolo gy’esasula.
Omuntu ayagala okuwaayo mu emu ku ngeri zino alina okusooka okukola enteekateeka ennungi. Waliwo brocuwa mu Lungereza ne mu Lusipeyini eyitibwa Charitable Planning to Benefit Kingdom Service Worldwide esobola okuyamba abo abaagala okuwaayo mu ngeri zino okuwagira omulimu ogukolebwa Abajulirwa ba Yakuwa mu nsi yonna. Brocuwa eno eraga engeri ezitali zimu omuntu mw’ayinza okuyitira okuwaayo mu buliwo oba ng’akola ekiraamo. Oluvannyuma lw’okugisoma n’okwebuuza ku abo abamanyi obulungi amateeka n’eby’emisolo, bangi basobodde okuwagira omulimu gwaffe ogw’obwannakyewa ogukolebwa mu nsi yonna n’okukendeeza ku misolo gye basasula. Brocuwa eno omuntu asobola okugifuna ng’agiragiriza butereevu okuva ku Charitable Planning Office.
Okumanya ebisingawo, wandiikira Charitable Planning Office ku ndagiriro eno wammanga, oba kubayo essimu; ku luuyi olulala oyinza okuwandiikira ofiisi y’ettabi eri mu nsi yo.
Charitable Planning Office
Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
100 Watchtower Drive
Patterson, New York 12563-9204
Telephone: (845) 306-0707